LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 6/15 lup. 20-24
  • Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa Kiyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa Kiyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kitegeeza Ki Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa?
  • “Ekiseera eky’Okusirikiramu, n’Ekiseera eky’Okwogereramu”
  • Ebikolwa eby’Ekisa Bituyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi
  • Tuzzeemu Abalala Amaanyi nga Twogera mu Ngeri ey’Ekisa
  • Okukozesa Ebigambo eby’Ekisa mu Maka
  • Okwogera Ebintu Ebirungi Okuviira Ddaala ku Mutima
  • Okusonyiwa Okuviira Ddala mu Mutima
  • Kozesa Bulungi Olulimi Lwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Mwogerenga Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • “Wangulanga Obubi” ng’Ofuga Obusungu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 6/15 lup. 20-24

Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa Kiyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi

“Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa.”​—BAK. 4:6.

1, 2. Birungi ki ebyava mu kuba nti ow’oluganda yayogera mu ngeri ey’ekisa?

OW’OLUGANDA omu agamba nti, “Bwe nnali mbuulira nnyumba ku nnyumba, nnasanga omusajja eyankambuwalira ennyo era n’omubiri gwe gwonna ne gutandika okukankana. Mu bukkakkamu, nnagezaako okumunnyonnyola nga nkozesa Ebyawandiikibwa naye ng’obusungu bwe bweyongera bweyongezi kulinnya. Mukyala we n’abaana be bwe baamwegattako mu kunvuma, nnakiraba nti kyali kya magezi okubaviira. Nnabagamba nti nnazze mu mirembe era njagala kugenda mu mirembe. Nnabasomera Abaggalatiya 5:22 ne 23, awoogera ku kwagala, obukkakkamu, okwefuga, n’emirembe. Bwe nnamala ekyo ne ŋŋenda.

2 “Oluvannyumako, bwe nnali mbuulira ku mayumba agali ku luuyi olulala olw’ekkubo, nnalengera omusajja oyo wamu n’ab’omu maka ge nga batudde ku lubalaza lw’ennyumba yaabwe. Baampita. Muli ne nneebuuza, ‘Kati oba bagenda kuŋŋamba ki?’ Omusajja yali alina jjaaga y’amazzi agannyogoga era yampaako nnywe. Yanneetondera olw’okumpisa obubi era n’ansiima nnyo olw’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Twayawukana mu mirembe.”

3. Lwaki tetusaanidde kukkiriza balala kutuleetera kusunguwala?

3 Mu nsi eno ejjudde emitawaana, tetusobola kwewala kusanga bantu bakambwe, ne bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro. Bwe tubasanga, kiba kitwetaagisa okwoleka ‘obukkakkamu n’okubassaamu ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15) Singa ow’oluganda ayogeddwako waggulu naye yasunguwala olw’okuba yali ayisiddwa bubi, osanga omusajja oyo teyandikyusizza ndowooza ye; oboolyawo yandyeyongedde okukambuwala. Naye olw’okuba ow’oluganda yeefuga era n’ayogera mu ngeri ey’ekisa, ebyavaamu byali birungi.

Kitegeeza Ki Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa?

4. Lwaki kikulu nnyo okwogera mu ngeri ey’ekisa?

4 Ka tube nga twogera n’abo abali mu kibiina oba abo abali ebweru waakyo, nga kw’otadde n’abo be tubeera nabo mu maka, twetaaga okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo.” (Bak. 4:6) Okwogera mu ngeri ng’eyo kituyamba okuteekawo empuliziganya ennungi n’abalala era kireetawo emirembe.

5. Kiki okuba n’empuliziganya ennungi n’abalala kye kitategeeza? Waayo ekyokulabirako.

5 Okuba n’empuliziganya ennungi n’abalala tekitegeeza kubabuulira buli ky’olowooza oba ekikuli ku mutima buli kiseera, naddala ng’onyiize. Ebyawandiikibwa biraga nti obutafuga busungu kaba kabonero akalaga obunafu, so si maanyi. (Soma Engero 25:28; 29:11.) Musa​—‘eyali omuwombeefu okusinga abantu bonna’ abaaliwo mu kiseera kye​—lumu yakkiriza eggwanga lya Isiraeri eryali ejjeemu okumuleetera okusunguwala n’alemererwa okuwa Katonda ekitiibwa. Wadde nga Musa yayogerera ddala ekyo ekyamuli ku mutima, Yakuwa tekyamusanyusa. Oluvannyuma lw’emyaka 40 ng’akulembera Abaisiraeri, Musa teyakkirizibwa kubayingiza mu Nsi Ensuubize.​—Kubal. 12:3; 20:10, 12; Zab. 106:32.

6. Kitegeeza ki okukozesa amagezi nga twogera?

6 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okwefuga n’okukozesa amagezi nga twogera. “Mu lufulube lw’ebigambo temubula kusobya: naye oyo aziyiza emimwa gye akola eby’amagezi.” (Nge. 10:19; 17:27) Kyokka, okuba n’amagezi tekitegeeza kusirika busirisi. Kitegeeza okwogera mu ngeri ‘ey’ekisa,’ ng’okozesa olulimi lwo okuwonya so si okulumya.​—Soma Engero 12:18; 18:21.

“Ekiseera eky’Okusirikiramu, n’Ekiseera eky’Okwogereramu”

7. Bintu ki bye tusaanidde okwewala, era lwaki?

7 Nga bwe twetaaga okuba ab’ekisa nga twogera ne bakozi bannaffe oba n’abo be tusanga mu buweereza bw’ennimiro, twetaaga okukola kye kimu nga twogera n’ab’oluganda era n’abo be tubeera nabo mu maka. Okwogera mu ngeri ey’obukambwe nga tetulowoozezza ku ebyo ebiyinza okuvaamu kisobola okuba eky’akabi gye tuli n’eri abalala. (Nge. 18:6, 7) Enneewulira embi ze tufuna​—olw’obutali butuukirivu bwaffe​—tusaanidde okuzifuga. Tulina okwewala okuvuma, okujerega, obukyayi, n’obusungu. (Bak. 3:8; Yak. 1:20) Ebintu ng’ebyo biyinza okwonoona enkolagana yaffe n’abantu era ne Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Buli asigala ng’asunguwalidde muganda we ajja kuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka; era buli anyooma muganda we ng’akozesa ebigambo ebimuweebuula, ajja kuvunaanibwa mu Lukiiko Olukulu; era oyo agamba nti ‘Musirusiru ggwe!’ agwanira okusuulibwa mu Ggeyeena.”​—Mat. 5:22.

8. Ddi lwe kiyinza okwetaagisa okwogera ekituli ku mutima, era tusaanidde kukyogera mu ngeri ki?

8 Kyokka waliwo ebintu ebimu bye tuyinza okulaba nti twetaaga okubyogerako. Singa wabaawo ekintu ow’oluganda ky’ayogedde oba ky’akoze ne kikuyisa bubi era n’owulira nga tosobola kukibuusa maaso, weewale okuleka obukyayi okusimba amakanda mu mutima gwo. (Nge. 19:11) Omuntu bw’akunyiiza, fuga obusungu bwo era okole ekyetaagisa okugonjoola ensonga. Pawulo yawandiika nti: “Enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu.” Ekizibu bwe kyeyongera okukumalako emirembe, funa ekiseera ekituufu okyogereko. (Soma Abeefeso 4:26, 27, 31, 32.) Yogera ne muganda wo ku nsonga eyo mu ngeri ey’ekisa ng’olina ekigendererwa eky’okuzzaawo emirembe.​—Leev. 19:17; Mat. 18:15.

9. Lwaki tusaanidde okufuga obusungu nga tetunnaba kutuukirira balala?

9 Kya lwatu nti kyetaagisa okufuna ekiseera ekituufu okwogera ku nsonga eba ezzeewo. Waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Mub. 3:1, 7) Ate era “omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza [okusobola] okwanukula.” (Nge. 15:28) Oluusi kiyinza okukwetaagisa okulindako okwogera ku kizibu. Okwogera ku kizibu ng’okyali musunguwavu kiyinza okwonoona obwonoonyi embeera; naye ate tekiba kya magezi kulwawo nnyo kukyogerako.

Ebikolwa eby’Ekisa Bituyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi

10. Ebikolwa eby’ekisa biyinza bitya okutuyamba okulongoosa enkolagana yaffe n’abalala?

10 Okwogera mu ngeri ey’ekisa n’okuba n’empuliziganya ennungi kituyamba okuleetawo n’okukuuma enkolagana ennungi n’abalala. Mu butuufu, bwe tukola kyonna kye tusobola okulongoosa enkolagana yaffe n’abalala kituyamba okuba n’empuliziganya ennungi nabo. Okukolera abalala ebintu eby’ekisa​—nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okubayamba, okubawa ebirabo nga tulina ebigendererwa ebirungi, n’okubasembeza​—kisobola okulongoosa empuliziganya yaffe nabo. Ebikolwa ng’ebyo biyinza ‘n’okutuuma amanda agaaka’ ku muntu ne kimuleetera okwoleka engeri ennungi, bwe kityo ne kiba kyangu okwogera n’omuntu oyo ku nsonga eba ezzeewo.​—Bar. 12:20, 21.

11. Yakobo yakola ki okusobola okuzzaawo enkolagana ne Esawu, era biki ebyavaamu?

11 Kino Yakobo yali akimanyi bulungi. Muganda we Esawu bwe yamusunguwalira, Yakobo yadduka ng’atya nti yali ayinza okumutta. Oluvannyuma lw’emyaka mingi, Yakobo yakomawo. Esawu yajja n’abasajja be 400 okumusisinkana. Yakobo yasaba Yakuwa amuyambe. Bwe yali tannaba kumusisinkana, Yakobo yaweereza Esawu ebisolo bingi ng’ekirabo. Okuwa muganda we ekirabo ekyo kyavaamu ebirungi. We baasisinkanira, Esawu yali amaze okukyusa endowooza ye, era yadduka n’agwa Yakobo mu kifuba.​—Lub. 27:41-44; 32:6, 11, 13-15; 33:4, 10.

Tuzzeemu Abalala Amaanyi nga Twogera mu Ngeri ey’Ekisa

12. Lwaki tusaanidde okukozesa ebigambo eby’ekisa nga twogera ne baganda baffe?

12 Abakristaayo baweereza Katonda, so si bantu balala. Wadde kiri kityo, ffenna twagala okusiimibwa abalala. Ebigambo byaffe eby’ekisa bisobola okuwewula ku migugu baganda baffe ne bannyinnaffe gye beetisse. Kyokka, okubakolokota kiyinza okwongera obuzito ku migugu gye beetisse era ne kireetera n’abamu okulowooza nti Yakuwa takyabaagala. N’olwekyo, ka tufube okuzzaamu abalala amaanyi nga twogera “ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.”​—Bef. 4:29.

13. Abakadde basaanidde kujjukira ki (a) nga baliko be babuulirira? (b) nga baliko amabaluwa ge bawandiika?

13 Okusingira ddala abakadde basaanidde okuba ‘abakwatampola’ nga bayisa ekisibo mu ngeri ey’ekisa. (1 Bas. 2:7, 8) Abakadde kibeetagisa okuba ‘abateefu’ nga baliko be babuulirira, ka babe ‘bajeemu.’ (2 Tim. 2:24, 25) Era abakadde basaanidde okukozesa ebigambo eby’ekisa nga baliko amabaluwa ge bawandiikira obukiiko bw’abakadde obulala oba ofiisi y’ettabi. Basaanidde okuba ab’ekisa era abeegendereza nga bakolera ku musingi oguli mu Matayo 7:12.

Okukozesa Ebigambo eby’Ekisa mu Maka

14. Kubuulirira ki Pawulo kw’awa abaami, era lwaki?

14 Ebintu bye twogera, endabika ey’oku maaso, n’engeri gye tukozesaamu ebitundu by’omubiri nga twogera birina kinene kye bikola ku balala okusinga ne bwe tulowooza. Ng’ekyokulabirako, abasajja abamu bayinza obutategeerera ddala ngeri bigambo byabwe gye bikosaamu bakazi baabwe. Mwannyinaffe omu yagamba nti, “Kinkanga nnyo okuwulira omwami wange ng’amboggolera.” Ebigambo ebitali bya kisa bisobola okukosa ennyo abakazi okusinga abasajja era biyinza okubasigala ku mutima okumala ebbanga ddene. (Luk. 2:19) Kino kituufu naddala singa ebigambo ng’ebyo biba byogeddwa omuntu omukazi gw’ayagala era gw’assaamu ekitiibwa. Pawulo yakubiririza abaami nti: “Mwagalenga bakyala bammwe era temubasunguwaliranga.”​—Bak. 3:19.

15. Kyakulabirako ki ekiraga ensonga lwaki omusajja asaanidde okuyisa mukazi we mu ngeri ey’ekisa.

15 Ku nsonga eno, ow’oluganda omu amaze emyaka mingi mu bufumbo yalaga ensonga lwaki abasajja basaanidde okukwata bakazi baabwe “ng’ekibya ekinafu.” Yagamba nti, “Bw’oba ositudde ekibya eky’omuwendo era ekyatika amangu, tolina kukinyigiriza kubanga kiyinza okwatika. Ne bw’okiddaabiriza, olwatika luyinza okusigala nga lukyalabika. Singa omwami akozesa ebigambo ebitali bya kisa ng’ayogera ne mukazi we, ayinza okumulumya. Kino kiyinza okuleeta olwatika olw’amaanyi ku nkolagana yaabwe.”​—Soma 1 Peetero 3:7.

16. Omukazi ayinza atya okuzimba amaka ge?

16 Abasajja nabo basobola okuzzibwamu amaanyi oba okumalibwamu amaanyi ebigambo by’abalala, nga mw’otwalidde ne bya bakazi baabwe. “Omukazi omutegeevu,” oyo bba gwe ‘yeesiga,’ aba afaayo ku nneewulira za bba, nga naye bwe yandyagadde bba afeeyo ku nneewulira ze. (Nge. 19:14; 31:11) Mu butuufu, omukyala alina kinene nnyo ky’ayinza okukola mu kufuula amaka ag’essanyu oba agataliimu ssanyu. “Buli mukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n’emikono gye ye.”​—Nge. 14:1.

17. (a) Abaana basaanidde kwogera batya ne bazadde baabwe? (b) Abantu abakulu basaanidde kwogera batya n’abaana, era lwaki?

17 Mu ngeri y’emu, abazadde n’abaana basaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa buli omu eri munne. (Mat. 15:4) Bwe tuba twogera n’abaana abato, okulowooza ku bye twogera kijja kutuyamba okwewala ‘okubanyiiza.’ (Bak. 3:21; Bef. 6:4) Wadde nga kyetaagisa okukangavvula abaana, abazadde n’abakadde basaanidde okubawa ekitiibwa nga boogera nabo. Bwe bakola batyo, n’abavubuka kibanguyira okutereeza amakubo gaabwe era ne bakuuma enkolagana yaabwe ne Katonda. Tusaanidde okwewala okubalaga nti tewali kalungi kasobola kubavaamu, ekintu ekiyinza okubaleetera okuwulira nti tebalina mugaso. Abaana bayinza obutajjukira bigambo byonna ebibagambibwa, naye bajja kujjukira engeri abalala gye boogeramu nabo.

Okwogera Ebintu Ebirungi Okuviira Ddaala ku Mutima

18. Tuyinza tutya okweggyamu endowooza n’enneewulira embi?

18 Okufuga obusungu tekitegeeza kulabika bulabisi ng’omuntu omukkakkamu. Tulina okukola ekisingawo ku kwewala obwewazi okwoleka busungu bwaffe. Okugezaako okulaga nti tuli bakkakkamu kyokka nga munda obusungu bwesera kyongera kizibu ku kizibu. Kiba nga kulinnya ku kiziyiza ky’emmotoka ne ku muliro gwayo mu kiseera kye kimu. Kino kireetera emmotoka obuzibu obw’amaanyi era kiyinza n’okugyonoona. N’olwekyo, weewale okusibira obusungu mu mutima gwo ekiyinza okukuviirako okubuubuuka oluvannyuma. Saba Yakuwa akuyambe okweggyamu enneewulira embi. Leka omwoyo gwa Yakuwa gukuyambe okukyusa ebirowoozo byo n’omutima gwo okusobola okutuukana n’ebyo by’ayagala.​—Soma Abaruumi 12:2; Abeefeso 4:23, 24.

19. Tuyinza kukola ki okusobola okwewala okuyomba?

19 Baako ky’okolawo. Bwe weesanga mu mbeera enzibu era n’okizuula nti obusungu bwo bulinnye, kiyinza okuba eky’amagezi okuviira oyo aba akunyiizizza osooke omale okukkakkana. (Nge. 17:14) Bw’okiraba nti oyo gw’oyogera naye atandise okunyiiga, kola kyonna ekisoboka okwogera naye mu ngeri ey’ekisa. Jjukira nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.” (Nge. 15:1) Ebigambo ebitali bya kisa, ka bibe nga byogeddwa mu ngeri ey’obukkakkamu, biyinza okwongera okwonoona embeera. (Nge. 26:21) N’olwekyo, singa weesanga mu mbeera eyinza okukulemesa okwefuga, ‘lwawo okwogera era lwawo okusunguwala.’ Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe gukuyambe okwogera ebintu ebirungi, so si ebibi.​—Yak. 1:19.

Okusonyiwa Okuviira Ddala mu Mutima

20, 21. Kiki ekiyinza okutuyamba okusonyiwa abalala, era lwaki tulina okukikola?

20 Eky’ennaku kiri nti tewali n’omu ku ffe asobola kufugira ddala lulimi lwe. (Yak. 3:2) Wadde ng’ab’oluganda mu kibiina era n’abo be tubeera nabo mu maka bafuba okwogera mu ngeri ey’ekisa, oluusi bayinza okwogera ebintu ebitulumya. Mu kifo ky’okwanguwa okusunguwala, fuba okumanya ensonga lwaki boogedde bwe batyo. (Soma Omubuulizi 7:8, 9.) Kyandiba nti embeera enzibu, okutya, obuteewulira bulungi, oba ekizibu ekirala kyonna kye kibaleetedde okwogera batyo?

21 Ebintu ng’ebyo tebyandituleetedde kwogera mu ngeri ya bukambwe. Naye okubitegeera kiyinza okutuyamba okumanya ensonga lwaki abantu oluusi boogera ebintu bye batasaanidde kwogera era ekyo kisobola okutukubiriza okubasonyiwa. Ffenna tusobola okwogera oba okukola ebintu ebirumya abalala, era tusuubira nti bajja kutusonyiwa. (Mub. 7:21, 22) Yesu yagamba nti okusobola okusonyiyibwa Katonda, naffe tulina okusonyiwa abalala. (Mat. 6:14, 15; 18:21, 22, 35) N’olwekyo, tusaanidde okwanguwa okwetonda n’okusonyiwa abalala, tusobole okukuuma okwagala​—‘okunywereza ddala obumu’​—mu maka gaffe ne mu kibiina.​—Bak. 3:14.

22. Lwaki tusaanidde okufuba okwogera mu ngeri ey’ekisa?

22 Ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera, kiyinza okweyongera okuba ekizibu okukuuma essanyu lyaffe n’obumu. Naye okukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda kijja kutuyamba okukozesa olulimi lwaffe mu ngeri ennungi, so si embi. Kino kijja kutuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne bannaffe mu kibiina ne mu maka, era ekyokulabirako kyaffe ekirungi kijja kuwa obujulirwa ku Yakuwa, ‘Katonda waffe omusanyufu.’​—1 Tim. 1:11.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki kikulu okufuna ekiseera ekituufu okwogera ku kizibu ekiba kizzeewo?

• Lwaki buli omu mu maka asaanidde okwogera ne munne mu ngeri ‘ey’ekisa’?

• Tuyinza tutya okwewala okwogera ebintu ebirumya abalala?

• Kiki ekiyinza okutuyamba okusonyiwa abalala?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Sooka okkakkane, oluvannyuma ofune ekiseera ekituufu okwogera ku nsonga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Omusajja asaanidde okwogera ne mukazi we mu ngeri ey’ekisa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share