Funa Ekiwummulo nga Weenyigira mu Bintu eby’Omwoyo
“Mwetikke ekikoligo kyange era . . . , mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.”—MAT. 11:29.
1. Nteekateeka ki Katonda gye yateekawo ku Lusozi Sinaayi, era lwaki?
MU NDAGAANO y’Amateeka eyatongozebwa ku Lusozi Sinaayi, mwalimu enteekateeka ey’okukwata Ssabbiiti eya buli wiiki. Ng’ayitira mu mwogezi we Musa, Yakuwa yalagira eggwanga lya Isiraeri nti: “Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw’omusanvu wummulanga: ente yo n’endogoyi yo ziryoke ziwummule, n’omwana ow’omuzaana wo, ne munnaggwanga ba[ddemu] amaanyi.” (Kuv. 23:12) Yee, olw’okufaayo ku abo abaali wansi w’Amateeka, Yakuwa yateekawo olunaku olw’okuwummula kiyambe abantu be ‘okuddamu amaanyi.’
2. Abaisiraeri baaganyulwa batya mu kukwata Ssabbiiti?
2 Ssabbiiti lwali lunaku lwa kuwummula buwummuzi? Nedda, olunaku olwo Abaisiraeri baalina okulukozesa okusinza Yakuwa. Okukwata Ssabbiiti kyayamba emitwe gy’amaka okufuna obudde okuyigiriza ab’omu maka gaabwe “okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby’obutuukirivu.” (Lub. 18:19) Era kyasobozesanga ab’omu maka n’ab’emikwano okubeerako awamu okufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa era n’okusanyukirako awamu. (Is. 58:13, 14) N’ekisinga obukulu, Ssabbiiti yali esonga ku kiseera ekiwummulo ekya nnamaddala we kiribeererawo okuyitira mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Bar. 8:21) Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Abakristaayo ab’amazima, abaagala amakubo ga Yakuwa, bayinza kufunira wa ekiwummulo ng’ekyo era bayinza kukifuna batya?
Funa Ekiwummulo ng’Oli Wamu ne Bakristaayo Banno
3. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baayambagana batya, era ekyo kyavaamu ki?
3 Omutume Pawulo yayogera ku kibiina Ekikristaayo ‘ng’empagi era omusingi ogw’amazima.’ (1 Tim. 3:15) Abakristaayo mu kyasa ekyasooka bazziŋŋanangamu amaanyi era baazimbagananga mu kwagala, era ekyo kyabaganyula nnyo. (Bef. 4:11, 12, 16) Bwe yali mu Efeso, Pawulo yaddamu amaanyi bwe yakyalirwa ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso. Weetegereze engeri Pawulo gye yakwatibwako. Yagamba nti: “Nsanyukira nnyo okubeerawo kwa Siteefana, Folutunaato, ne Akayiko.” Yagattako nti: “Basanyusizza omwoyo gwange.” (1 Kol. 16:17, 18) Mu ngeri y’emu, Tito bwe yagenda okuweereza ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso, oluvannyuma Pawulo yawandiikira ekibiina ekyo ng’agamba nti: “Mwazzaamu omwoyo gwe amaanyi.” (2 Kol. 7:13) Ne leero Abajulirwa ba Yakuwa bazzibwamu nnyo amaanyi bwe babeerako awamu ne Bakristaayo bannaabwe.
4. Enkuŋŋaana z’ekibiina zituzzaamu zitya amaanyi?
4 Oteekwa okuba ng’okimanyi bulungi nti enkuŋŋaana z’ekibiina zituleetera essanyu lingi. Bwe tuba mu nkuŋŋaana, buli omu ‘azzaamu munne amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwe.’ (Bar. 1:12) Baganda baffe ne bannyinnaffe mu kibiina tetubatwala butwazi ng’abantu be tumanyi obumanyi, wabula tubatwala nga mikwano gyaffe egya nnamaddala, be twagala era be tuwa ekitiibwa. Tufuna essanyu lingi era ne tubudaabudibwa nnyo bwe tubeerako awamu nabo mu nkuŋŋaana zaffe.—Fir. 7.
5. Tuyinza tutya okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli ku nkuŋŋaana ennene?
5 Ekintu ekirala ekituzzaamu amaanyi ze nkuŋŋaana zaffe ennene eza buli mwaka. Ng’oggyeko okufuna amazzi ag’obulamu okuva mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, enkuŋŋaana zino ennene zituwa akakisa ‘okugaziwa,’ nga tufuna emikwano emirala. (2 Kol. 6:12, 13) Ate kiri kitya singa tuwulira nti tulina ensonyi era nga kituzibuwalira okwogera n’abantu? Engeri emu gye tuyinza okukola omukwano ku baganda baffe ne bannyinnaffe kwe kwennyigira mu mirimu egikolebwa ku nkuŋŋaana ennene. Mwannyinaffe omu eyeenyigira mu mirimu egyakolebwa ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna, agamba nti: “Ng’oggyeko ab’omu maka gaffe n’abalala abatonotono, nnali sirina bangi be mmanyiiyo. Naye bwe nneenyigira mu mulimu gw’okuyonja, nnasobola okufuna omukwano ku b’oluganda bangi! Ekyo kyandeetera essanyu lingi nnyo!”
6. Tuyinza tutya okuzzibwamu amaanyi nga tugenze okuwummulako?
6 Abaisiraeri baalina embaga ssatu ze baagendangako buli mwaka e Yerusaalemi. (Kuv. 34:23) Bangi ku bo baalinanga okuleka ennimiro zaabwe n’amaduuka gaabwe ne batambula okumala ennaku eziwerako ku nguudo ezaabanga zijjudde enfuufu. Wadde kyali kityo, okugenda mu yeekaalu kyabaleeteranga “essanyu lingi” okuva bwe kiri nti abo abaabangayo ‘baatenderezanga Yakuwa.’ (2 Byom. 30:21) Mu ngeri y’emu leero, bangi ku baweereza ba Yakuwa bakizudde nti okutambulako awamu ng’amaka okugenda okukyalira amaka ga Beseri, oba ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eribali okumpi, kivaamu essanyu lingi. Kino oyinza okukirowoozaako ng’oteekateeka okugenda okuwummulako n’ab’omu maka go ku mulundi oguddako?
7. (a) Okubeerako awamu ku kabaga kituganyula kitya? (b) Kiki ekiyinza okukolebwa okukakasa nti bonna abali ku kabaga bazimbagana era bazzibwamu amaanyi?
7 Okubeerako awamu n’ab’omu maka gaffe era ne mikwano gyaffe ku kabaga nakyo kiyinza okutuzzaamu amaanyi. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n’okunywa n’okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe.” (Mub. 2:24) Okusanyukirako awamu ku kabaga tekikoma ku kutuzzaamu maanyi, naye era kinyweza okwagala kwe tulina eri Bakristaayo bannaffe bwe tweyongera okubamanya. Abo bonna abali ku kabaga okusobola okuzimbagana n’okuzzibwamu amaanyi, akabaga kasaanidde okuba akatonotono era tulina okukakasa nti tekavaamu mitawaana, naddala singa kabaako omwenge.
Obuweereza Bwaffe Butuzzaamu Nnyo Amaanyi
8, 9. (a) Njawulo ki eri wakati w’obubaka Yesu bwe yabuulira n’obw’abawandiisi n’Abafalisaayo. (b) Tuganyulwa tutya bwe tubuulira amazima agali mu Baibuli?
8 Yesu yali munyiikivu mu buweereza bwe, era yakubiriza abayigirizwa be okumukoppa. Ekyo kyeyolekera mu bigamba bye bino: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Mat. 9:37, 38) Obubaka Yesu bwe yabuulira bwali buzzaamu nnyo amaanyi; gaali ‘mawulire malungi.’ (Mat. 4:23; 24:14) Obubaka bwe bwali bwa njawulo nnyo ku bw’Abafalisaayo abaawanga abantu amateeka amazibu ennyo.—Soma Matayo 23:4, 23, 24.
9 Bwe tubuulira abantu obubaka bw’Obwakabaka, tubazzaamu amaanyi era naffe tweyongera okumanya n’okusiima amazima ag’omuwendo agali mu Baibuli. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mutendereze Ya, mmwe abantu, kubanga kirungi okuyimbira Katonda waffe; kubanga kisanyusa.” (Zab. 147:1, NW) Osobola okwongera ku ssanyu ly’ofuna mu kutendereza Yakuwa ng’obuulira abalala?
10. Okuba nti tutuukirizza obuweereza bwaffe kisinziira ku kuba nti abantu bawulirizza obubaka bwaffe? Nnyonnyola.
10 Kituufu nti mu bitundu ebimu abantu baagala okuwuliriza amawulire amalungi okusinga mu bitundu ebirala. (Soma Ebikolwa 18:1, 5-8.) Bwe kiba nti mu kitundu mw’oli abantu abasinga tebaagala kuwuliriza bubaka bw’Obwakabaka, fuba okuteeka ebirowoozo byo ku bintu ebirungi ebiva mu buweereza bwo. Kijjukire nti okufuba kwo mu kulangirira erinnya lya Yakuwa si kwa bwereere. (1 Kol. 15:58) Ate era, okuba nti tutuukirizza obuweereza bwaffe tekisinziira ku ngeri abantu gye bawulirizzaamu amawulire amalungi. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuyamba abantu ab’emitima emirungi okufuna akakisa okuwulira obubaka bw’Obwakabaka.—Yok. 6:44.
Okusinza kw’Amaka Kutuzzaamu Nnyo Amaanyi
11. Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bw’awadde abazadde, era bayinza batya okubutuukiriza?
11 Abazadde abatya Katonda balina obuvunaanyizibwa okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge. (Ma. 11:18, 19) Bw’oba oli muzadde, ofuna ebiseera okuyigiriza abaana bo ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu? Okusobola okukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno obw’amaanyi era n’okukola ku byetaago by’ab’omu maka go, Yakuwa atuwadde emmere ey’eby’omwoyo mu bungi okuyitira mu bitabo, magazini, vidiyo, n’obutambi bw’amaloboozi.
12, 13. (a) Ab’omu maka bayinza batya okuganyulwa mu kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka? (b) Abazadde bayinza kukola ki okulaba nti okusinza kw’amaka kuzzaamu buli omu amaanyi?
12 Okugatta ku ekyo, omuddu omwesigwa era ow’amagezi ataddewo enteekateeka y’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka. Kano ke kawungeezi amaka ge kateekawo okusomera awamu Baibuli buli wiiki. Bangi bakizudde nti enteekateeka eno ebayambye okunyweza okwagala kwe balina mu maka era n’enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Naye abazadde bayinza kukola ki okulaba nti okusinza kw’amaka kuzzaamu buli omu amaanyi mu by’omwoyo?
13 Akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kasaanidde okuba akanyuvu. Tusinza “Katonda omusanyufu,” Oyo ayagala tumusinze nga tuli basanyufu. (1 Tim. 1:11; Baf. 4:4) Okuba n’akawungeezi ak’enjawulo okwogera ku mazima agali mu Baibuli mukisa gwa maanyi. Abazadde bayinza okukyusakyusa mu ngeri gye bayigirizaamu, nga bafuba okuba abayiiya era nga bayamba abaana baabwe okukuba akafaananyi. Ng’ekyokulabirako, abazadde mu maka agamu baawa mutabani waabwe, Brandon ow’emyaka ekkumi, akakisa okwogera ku mutwe ogugamba nti “Lwaki Yakuwa Yakozesa Omusota Okukiikirira Sitaani?” Ensonga eno yali emaze ebbanga ng’etawaanya Brandon. Olw’okuba ayagala nnyo emisota, kyali kimuyisa bubi okulaba nga gikwataganyizibwa ne Sitaani. Amaka agamu oluusi gasalawo okuzannya emizannyo egyesigamiziddwa ku Baibuli oba okusoma ekitundu mu Baibuli nga buli omu aliko omuntu gw’akiikirira. Okuyigiriza abaana mu ngeri eyo tekikoma ku kufuula kusoma kunyuvu naye era kibakubiriza okukwenyigiramu mu bujjuvu, ekyo ne kibayamba okutegeera obulungi emisingi gya Baibuli.a
Weewale Ebintu Ebiyinza Okukumalamu Amaanyi
14, 15. (a) Ebintu ebyeraliikiriza byeyongedde bitya mu nnaku ez’oluvannyuma? (b) Bizibu ki ebirala bye tuyinza okwolekagana nabyo?
14 Mu nnaku zino ez’oluvannyuma ez’enteekateeka y’ebintu eno embi, waliwo ebintu bingi ebireetera abantu okweraliikirira. Ebbula ly’emirimu n’okugootaana kw’eby’enfuna bikosezza obukadde n’obukadde bw’abantu. N’abo abalina emirimu bawulira nti ssente ze bafuna ntono nnyo era tezisobola kukola ku byetaago byabwe n’eby’ab’omu maka gaabwe. (Geraageranya Kaggayi 1:4-6.) Bannabyabufuzi era n’abakulembeze abalala tebasobodde kumalawo bikolwa bya bannalukalala n’ebikolwa ebirala eby’obumenyi bw’amateeka. Abantu bangi bennyamivu olw’ensobi ze baakola olw’obutali butuukirivu bwabwe.—Zab. 38:4.
15 Ebizibu ebiri mu nteekateeka ya Sitaani Abakristaayo ab’amazima nabo bibakosa. (1 Yok. 5:19) Ate era abayigirizwa ba Kristo bayinza okwolekagana n’ebizibu ebirala olw’okuba bafuba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Oba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) Kyokka ne bwe tuba nga “tuyigganyizibwa,” “tetwabulirwa.” (2 Kol. 4:9) Lwaki kiri bwe kityo?
16. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli basanyufu?
16 Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” (Mat. 11:28) Bwe tukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo, tubanga abeetadde mu mikono gya Yakuwa. Bwe kityo, tufuna “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukola ‘ng’omuyambi,’ era gutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe ne tusobola okugumira ebizibu era ne tusigala nga tuli basanyufu.—Yok. 14:26; Yak. 1:2-4.
17, 18. (a) Mwoyo ki gwe tusaanidde okwewala? (b) Kiki ekiyinza okuvaamu singa twemalira ku by’amasanyu?
17 Ng’Abakristaayo ab’amazima, tusaanidde okwewala okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogukubiriza abantu okwemalira ku by’amasanyu. (Soma Abeefeso 2:2-5.) Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tutwaliriziddwa “okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.” (1 Yok. 2:16) Oba tuyinza okutandika okulowooza nti okugoberera okwegomba kw’omubiri kijja kutuviiramu essanyu erya nnamaddala. (Bar. 8:6) Ng’ekyokulabirako, abantu abamu basazeewo okukozesa ebiragalalagala, okwekamirira omwenge, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, okulaba emizannyo egy’akabi, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu okusobola okufuna essanyu. Sitaani akozesa “enkwe” ze okubuzaabuza abantu balowooze nti ebintu ng’ebyo bye bijja okubaleetera essanyu.—Bef. 6:11.
18 Kyo kituufu nti okulya, okunywa, n’okwesanyusaamu si bibi bwe biba nga bikoleddwa ku kigero ekisaana. Wadde kiri kityo, tusaanidde okwewala okukulembeza ebintu ng’ebyo mu bulamu bwaffe. N’olwekyo, kikulu nnyo obutagwa lubege n’okwefuga naddala mu biseera bino ebizibu bye tulimu. Okwenoonyeza ebintu kiyinza okutumalamu amaanyi ne kituleetera okufuuka “abagayaavu oba abantu abatabala bibala,” ekyo ne kitulemesa ‘okussa mu nkola bye tutegeeredde ddala obulungi ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.’—2 Peet. 1:8.
19, 20. Tuyinza tutya okufuna ekiwummulo ekya nnamaddala?
19 Bwe tufuba okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, kituyamba okukiraba nti eby’amasanyu byonna ebiri mu nsi eno bya kaseera buseera. Ekyo Musa yakitegeera bulungi, era naffe tusaanidde okukitegeera. (Beb. 11:25) Ekituufu kiri nti ekiwummulo ekya nnamaddala, ekireeta essanyu ery’olubeerera n’obumativu, kiva mu kukola Kitaffe ow’omu ggulu by’ayagala.—Mat. 5:6.
20 Ka tweyongere okufuna ekiwummulo nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo. Ekyo kijja kutuyamba “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi . . . nga tulindirira essuubi ery’ekitalo, n’okulabisibwa okw’ekitiibwa okwa Katonda omukulu, n’okw’Omulokozi waffe Kristo Yesu.” (Tit. 2:12, 13) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okweyongera okwetikka ekikoligo kya Yesu nga tukkiriza obuyinza bwe n’obulagirizi bw’atuwa. Bwe tunaakola tutyo, tujja kufuna essanyu n’ekiwummulo ekya nnamaddala!
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okufuulamu okusoma kw’amaka okunyuvu era okw’omuganyulo, laba Our Kingdom Ministry aka Ddesemba 1990, olupapula 1-2.
Wandizzeemu Otya?
• Abantu ba Yakuwa bafuna batya ekiwummulo leero?
• Obuweereza bwaffe butuzzaamu butya amaanyi era buzzaamu butya amaanyi abo be tubuulira?
• Emitwe gy’amaka bayinza kukola ki okulaba nti okusinza kw’amaka kuzzaamu buli omu amaanyi?
• Bintu ki ebiyinza okutumalamu amaanyi mu by’omwoyo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Bwe twetikka ekikoligo kya Yesu, tuba n’ebintu bingi ebituzzaamu amaanyi