Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Malayika ki Katonda gwe yatuma okukulembera Abaisiraeri nga bava e Misiri? (Kuv. 23:20, 21)
Awatali kubuusabuusa, malayika ono eyalina ‘erinnya lya Yakuwa mu nda ye,’ ye Mwana wa Katonda omubereberye, oluvannyuma eyafuuka Yesu.—9/15, olupapula 21.
• Ezimu ku nsonga ezireetera abantu okukola ebintu ebibi ze ziruwa?
Ezimu ku nsonga enkulu mwe muli okunyigirizibwa, okwagala ssente, obuteefiirayo bw’abakwasisa amateeka, n’okwekkiriranya nga bakemeddwa. (Mub. 7:7; 8:11; 1 Tim. 6:10; Yak. 1:14, 15)—10/1, olupapula 4.
• Lwaki kirungi okuwuliriza n’okwessa mu mbeera mukwano gwo omulwadde gy’alimu?
Mukwano gwo omulwadde ayinza okuba nga ky’asinga okwetaaga ye muntu anaamuwuliriza, so si anaamubuulira eky’okukola. Yandiba ng’ayagala otegeerere ddala bwe yeewulira nga talina kweraliikirira kwonna nti ogenda kumunenya. (Mub. 3:1, 7; Yak. 1:19)—10/1, olupapula 10, 11.
• Lwaki omwami n’omukyala buli omu asaanidde okwebuuza ku munne?
Yakuwa Katonda atunuulira abafumbo ‘ng’omubiri ogumu.’ (Mat. 19:3-6) Okusobola okukuuma enkolagana yaabwe nga nnywevu, beetaaga okubeera n’empuliziganya ennungi.—10/1, olupapula 15.
• Abazadde bayinza batya ‘okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako’ mu kubeera abantu ab’obuvunaanyizibwa? (Yok. 13:15)
Okufaananako Yesu, abazadde basaanidde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi era basaanidde okubannyonnyola kye kitegeeza okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa.—10/1, olupapula 19.
• Ebimu ku bintu ebinaakuyamba okuganyulwa mu kusoma Baibuli bye biruwa?
Gisome ng’olina ekigendererwa ekirungi. (Yak. 1:23-25) Kozesa enzivuunula ya Baibuli eyeesigika. Saba Yakuwa akuyambe. (Zab. 119:18) Gisome buli lunaku. (Yos. 1:8) Gisome mu ngeri ez’enjawulo. Fumiitiriza ku bintu by’osoma. (Zab. 119:97) Saba abalala bakuyambe okugitegeera. (2 Peet. 3:16)—10/1, olupapula 21-23.
• Bwe kituuka ku kusinza okw’amazima, nsonga ki Katonda z’atakkiriza?
‘Mulimu muzibu nnyo. Saagala kugukola. Nnina by’okukola bingi. Sirina bisaanyizo. Waliwo eyanyiiza.’ Tetulina kwekwasa nsonga ng’ezo kulemererwa kugondera biragiro bya Katonda.—10/15, olupapula 12-15.
• Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zizimba?
Tegeka nga bukyali. Beerawo obutayosa. Tuuka nga bukyali. Leeta ebitabo byonna eby’okukozesa. Weewale ebikuwugula. Wenyigiremu. Ddamu mu bumpimpi. Tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Siima abo abenyigira mu lukuŋŋaana. Nnyumyako n’abalala.—10/15, olupapula 22.
• Kiki kye tuyigira ku ky’okuba nti Alooni yekkiriranya ng’apikiriziddwa?
Musa bwe yali nga taliiwo, Abaisiraeri baagamba Alooni abakolere katonda. Yekkiriranya n’akikola. Ekyo kiraga nti abavubuka si be bokka abasobola okwekkiriranya nga bapikiriziddwa, n’abantu abakulu abaagala okukola ekituufu basobola okwekkiriranya. Tulina okuziyiza okupikirizibwa.—11/15, olupapula 8.