Abavubuka—Muziyize Okupikirizibwa
“Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga . . . nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.”—BAK. 4:6.
1, 2. Abavubuka bawulira batya bwe balowooza ku ky’okuba ab’enjawulo, era lwaki?
KYA lwatu nti ekigambo “okupikirizibwa” si kipya gy’oli, era naawe oteekwa okuba nga wali opikiriziddwako. Oboolyawo oluusi wabaawo abantu abakugamba okukola ekintu ky’omanyi nti kikyamu. Ekyo kikuyisa kitya? Christopher ow’emyaka 14 agamba nti, “Oluusi mba njagala ettaka limire oba si ekyo mbeere nga bayizi bannange, nneme kuba wa njawulo.”
2 Muli owulira ng’oyagala okukola kyonna bavubuka banno kye bakugamba okukola? Bwe kiba kityo, lwaki? Kyandiba nti toyagala kubanyiiza? Kino ku bwakyo si kikyamu. Mu butuufu, n’abantu abakulu tebaagala kunyiiza bannaabwe. Tewali n’omu—k’abe muto oba mukulu—yandyagadde kukyayibwa balala. Ekituufu kiri nti, abantu abamu tebasanyuka kukulaba ng’onyweredde ku kituufu. Bwe kityo bwe kyali ne ku Yesu. Wadde kyali kityo, Yesu yanywerera ku kituufu. Wadde nga waaliwo abaagoberera Omwana wa Katonda era ne bafuuka abayigirizwa be, abalala baamunyooma era “ne [ba]tamuyitamu ka buntu.”—Is. 53:3.
Okupikirizibwa—Kwa Maanyi Kwenkana Wa?
3. Lwaki tekiba kituufu kusalawo kutambulira ku mitindo gya bavubuka banno?
3 Oluusi oyinza okusalawo okutambulira ku mitindo gy’abavubuka banno olw’okwagala okubasanyusa. Naye ekyo tekiba kituufu. Abakristaayo tebasaanidde kuba nga ‘baana bato, nga balinga abasuukundibwa amayengo.’ (Bef. 4:14) Kyangu abaana abato okukkiriza okukola kyonna abalala kye babagamba okukola. Kyokka ng’omuvubuka, mu kiseera ekitali kya wala ojja kuba muntu mukulu. Bwe kityo, bw’oba ng’okiraba nti ddala emitindo gya Yakuwa gya muganyulo gy’oli, ba mumalirivu okuginywererako. (Ma. 10:12, 13) Ekyo bw’otokikola, oba ng’akkirizza okuzinira ku ntoli z’abalala. Mu butuufu, bwe weekkiriranya ng’opikirizibwa abalala, oba ng’afuuse akagologoosi kaabwe.—Soma 2 Peetero 2:19.
4, 5. (a) Alooni yekkiriranya atya ng’apikiriziddwa, era ekyo kituyigiriza ki? (b) Bavubuka banno bayinza batya okukupikiriza?
4 Lumu ne muganda wa Musa, Alooni, yekkiriranya bwe yapikirizibwa. Abaisiraeri bwe baamugamba okubakolera ennyana eya zaabu, yakkiriza okugikola. Alooni teyali musajja mutiitiizi. Emabegako, yagenda ne Musa ewa Falaawo, omusajja eyali asinga okuba n’obuyinza mu Misiri. Nga bali eyo, Alooni yayogera n’obuvumu obubaka bwa Katonda eri Falaawo. Naye Baisiraeri banne bwe baamupikiriza, Alooni yekkiriranya. Ng’okupikirizibwa okuva mu bannaffe kuba kwa maanyi nnyo! Alooni kyamwanguyira okuziyiza okupikirizibwa okwava eri kabaka wa Misiri okusinga okuziyiza okupikirizibwa kwa Baisiraeri banne.—Kuv. 7:1, 2; 32:1-4.
5 Ng’ekyokulabirako kya Alooni bwe kiraga, tekiri nti abavubuka oba abo abaagala okukola ekikyamu be bokka abayinza okwekkiriranya nga bapikiriziddwa, naye n’abo abaagala okukola ekituufu, nga naawe mw’oli, basobola okwekkiriranya nga bapikiriziddwa. Bavubuka banno bayinza okukukaka okukola ekintu ky’omanyi nti kikyamu nga bakutiisatiisa, nga bakujerega, oba nga bakuvuma. Okupikirizibwa ka kube kwa ngeri ki, tekuba kwangu kuziyiza. Okusobola okukuziyiza, kikwetaagisa okusooka okukakasa nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu.
“Mwegezese Mumanyire Ddala Ekyo Kye Muli”
6, 7. (a) Lwaki kikulu okukakasa nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu, era ekyo oyinza kukikola otya? (b) Bibuuzo ki by’oyinza okwebuuza okusobola okukakasa nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu?
6 Okusobola okuziyiza okupikirizibwa, weetaaga okusooka okukakasa nti ebyo by’okkiririzaamu era n’emitindo kw’otambulira bituufu. (Soma 2 Abakkolinso 13:5.) Ekyo kijja kukuyamba okufuna obuvumu, ne bw’oba ng’oli mutiitiizi. (2 Tim. 1:7, 8) Omuntu ne bw’aba nga muvumu, kiyinza okumubeerera ekizibu okunywerera ku kintu ky’atakkiririzaamu bulungi. N’olwekyo, lwaki tofuba okukakasa obanga ebyo by’oyigiriziddwa okuva mu Baibuli ddala ge mazima? Tandikira ku njigiriza ezisookerwako. Ng’ekyokulabirako, okkiriza nti Katonda gy’ali era omanyi n’ensonga lwaki abalala bakkiriza nti gy’ali. Kati weebuuze, ‘Nkakasiza ku ki nti ddala Katonda gy’ali?’ Ekigendererwa ky’ekibuuzo ekyo si kukuleetera kubuusabuusa, wabula kukuyamba kunyweza kukkiriza kwo. Ate era weebuuze, ‘Kiki ekiraga nti Ebyawandiikibwa byaluŋŋamizibwa Katonda?’ (2 Tim. 3:16) ‘Nkakasiza ku ki nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma”?’ (2 Tim. 3:1-5) ‘Lwaki nzikkiriza nti emitindo gya Yakuwa gya muganyulo gyendi?’—Is. 48:17, 18.
7 Oyinza okutya okwebuuza bibuuzo ng’ebyo, ng’olowooza nti tojja kufuna bya kuddamu. Naye ekyo kibanga kutya kutunula ku kalimi k’amafuta, ng’olowooza nti kajja kulaga nti tanka y’emmotoka yo nkalu! Tanka y’emmotoka yo bw’eba eweddemu amafuta, ekyo weetaaga okukimanya osobole okubaako ky’okolawo. Mu ngeri y’emu, kiba kirungi okumanya wa w’oteekakasa bulungi kikuyambe okubaako ky’okolawo.—Bik. 17:11.
8. Nnyonnyola engeri gy’oyinza okukakasaamu nti kya magezi okugondera ekiragiro kya Katonda ekikwata ku bwenzi.
8 Lowooza ku kyokulabirako kino. Baibuli etulagira ‘okudduka obwenzi.’ Weebuuze, ‘Lwaki kya magezi okugondera ekiragiro ekyo?’ Lowooza ku nsonga ezitali zimu ezireetera bavubuka banno okwenyigira mu muze ogwo. Era lowooza ne ku nsonga lwaki omuntu akola obwenzi aba ‘akoze ekibi ku mubiri gwe.’ (1 Kol. 6:18) Kati ng’omaze okulowooza ku nsonga ezo, weebuuze: ‘Kkubo ki ettuufu okukwata? Ddala kya magezi okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?’ Era oyinza okwongera okwebuuza, ‘Nnaawulira ntya oluvannyuma lw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?’ Okubyenyigiramu kiyinza okusanyusa abamu ku bavubuka banno, naye oluvannyuma onoowulira otya ng’oli ne bazadde bo oba ne Bakristaayo banno ku Kizimbe ky’Obwakabaka? Onoowulira otya ng’osaba Katonda? Ddala kiba kya magezi okufiirwa enkolagana yo ne Katonda olw’okwagala okusanyusa bayizi banno?
9, 10. Okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu kinaakuyamba kitya okuba omuvumu ng’oli ne bavubuka banno?
9 Bw’oba oli mutiini, kati oli mu myaka obusobozi bwo obw’okutegeera mwe businga okukulira. (Soma Abaruumi 12:1, 2.) Kozesa ekiseera kino okulowooza ennyo ku nsonga lwaki kikulu okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kijja kukuyamba okukakasa nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu. N’ekinaavaamu, bw’onooyolekagana n’okupikirizibwa, ojja kuba osobola okuddamu nga weekakasa. Ojja kuwulira nga mwannyinaffe omuvubuka eyagamba nti: “Bwe nziyiza okupikirizibwa, mba ndaga abalala ekyo kye ndi. Mba mbalaga nti enzikiriza yange ngitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Obulamu bwange, ebigendererwa byange, ebirowoozo byange, era n’empisa zange byonna byesigamiziddwa ku nzikiriza yange.”
10 Yee, kikwetaagisa okufuba ennyo okusobola okunywerera ku kituufu. (Luk. 13:24) Naye oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki kikulu okunywerera ku kituufu. Kijjukire nti: Abalala bwe bakiraba nti tonywerera ku ky’oba osazeewo, bajja kweyongera okukupikiriza okwenyigira mu bikolwa ebibi. Ku luuyi olulala, singa okiraga nti onywerera ku ekyo ky’omanyi nti kye kituufu, kiyinza okukwewuunyisa okulaba nga bavubuka banno balekedde awo okukupikiriza.—Geraageranya Lukka 4:12, 13.
‘Fumiitiriza nga Tonnayanukula’
11. Lwaki kikulu okweteekerateekera okupikirizibwa?
11 Ekintu ekirala ekiyinza okukuyamba okuziyiza okupikirizibwa kwe kweteekateeka. (Soma Engero 15:28.) Ekyo kizingiramu okulowooza ku mbeera eyinza okubaawo. Okweteekateeka nga bukyali kiyinza okukuyamba okuziyiza okupikirizibwa ne bwe kuba kwa maanyi kwenkana wa. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’oliko gy’ogenda n’olengera bayizi banno mu kkubo nga banywa sigala. Kyandiba nti banaayagala obeeyungeko mu kunywa sigala? Okulowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo, kyandikuleetedde kukola ki? Engero 22:3 wagamba: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka.” Okukwata ekkubo eddala kijja kukuyamba okwewala okupikirizibwa. Okukola ekyo tekiraga nti oli mutiitiizi; wabula kiraga nti oli wa magezi.
12. Oyinza otya okuddamu omuntu akubuuza ekibuuzo mu ngeri esoomooza?
12 Watya singa weesanga mu mbeera gy’otasobola kwewala? Okugeza, singa muvubuka munno akubuuza nti, “Okyali mbeerera?” Kiba kirungi okukolera ku magezi agali mu Abakkolosaayi 4:6 awagamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, engeri gy’oddamu ekibuuzo eky’engeri eyo ejja kusinziira ku mbeera eriwo. Kiyinza obutakwetaagisa kukozesa Baibuli kumuddamu. Oyinza n’okumuddamu obutereevu. Ng’ekyokulabirako, omuntu akubuuzizza obanga okyali mbeerera oyinza okumuddamu nti, “Yee,” oba nti, “Ekyo kyama kyange.”
13. Okutegeera ensonga lwaki muvubuka munno akubuuzizza ekibuuzo kiyinza kitya okukuyamba okumuddamu obulungi?
13 Emirundi mingi Yesu bwe yalabanga nga tewali kalungi kajja kuva mu kibuuzo kye yabanga abuuziddwa, teyatawananga kunnyonnyola. Ate olulala Kerode bwe yamubuuza ebibuuzo, Yesu teyamuddamu. (Luk. 23:8, 9) Oluusi bw’obuuzibwa ebibuuzo ebisoomooza, kiba kya magezi okusirika. (Nge. 26:4; Mub. 3:1, 7) Ku luuyi olulala, oyinza okukiraba nti omuntu akubuuza ebibuuzo—ku bintu gamba ng’eby’okwetaba—akikola mu bwesimbu wadde nga mu kusooka ayinza okukuvuma. (1 Peet. 4:4) Mu mbeera ng’eyo, kiyinza okukwetaagisa okumunnyonnyola ng’okozesa Baibuli. Toleka kutya kukulemesa kumulaga nnyimirira yo. Bulijjo ba ‘mwetegefu okuddamu buli muntu akubuuza’ ebikwata ku nzikiriza yo.—1 Peet. 3:15.
14. Mu ngeri ey’amagezi, oyinza otya okusoomooza abo ababa bakupikiriza?
14 Oluusi naawe kiyinza okukwetaagisa okusoomooza abo ababa bakupikiriza. Naye kino olina okukikola mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, singa muyizi munno ayagala okukuwa sigala, oyinza okumugamba nti, “Saagala” era oyinza okugattako nti, “Mbadde sisuubira muntu nga ggwe kunywa sigala!” Okiraba nti awo naawe oba omusoomoozezza? Mu kifo ky’okunnyonnyola muyizi munno ensonga lwaki tonywa sigala, omuleetera okwebuuza ensonga lwaki ye amunywa.a
15. Ddi lwe kiyinza okukwetaagisa okuviira abo ababa bakupikiriza, era lwaki?
15 Ate kiri kitya singa bavubuka banno beeyongera okukupikiriza wadde ng’ofubye okubalaga ennyimirira yo? Mu mbeera ng’eyo, kiba kya magezi okutambula n’obaviira. Ekyo bw’otokikola mu bwangu, oyinza okwesanga nga wekkiriranyizza. N’olwekyo, baviire mu bwangu. Okukola ekyo tekiraga nti oli mutiitiizi. Ggwe ate oba, osobodde okufuna obuvumu okubaviira. Tofuuse kagologoosi ka bavubuka banno, era osanyusizza omutima gwa Yakuwa.—Nge. 27:11.
Kola ‘Enteekateeka’ Ennungi
16. Bavubuka banno abeetwala okuba Abakristaayo bayinza batya okukupikiriza?
16 Oluusi okupikirizibwa kuyinza okuva mu bavubuka banno abeetwala okuba abaweereza ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, watya singa ogenda ku kabaga omu ku bavubuka ng’abo k’ateeseteese kyokka n’okizuula nti tekaliiko muntu mukulu n’omu? Oba watya singa omuvubuka eyeeyita Omukristaayo aleeta omwenge ku kabaga, ate nga mwenna abakaliko temunnaweza myaka muntu kw’akkiririzibwa kunywa mwenge? Waliwo n’embeera endala nnyingi mwe kiyinza okukwetaagisiza okusalawo ng’osinziira ku muntu wo ow’omunda atendekeddwa Baibuli. Mwannyinaffe omu omutiini agamba nti: “Lumu nze ne muganda wange twasalawo okuva mu firimu eyalimu ebigambo eby’obuwemu. Naye abalala be twali nabo baasigala bagiraba. Bazadde baffe baatusiima nnyo olw’ekyo kye twakola. Kyokka bannaffe be twali nabo baatunyiigira olw’okuba ekyo kye twakola kyabaleetera okulabika ng’abantu ababi.”
17. Bw’oba ogenda ku kabaga, kiki ky’oyinza okukola okulaba nti onywerera ku mitindo gya Katonda?
17 Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraga, okukolera ku bulagirizi bw’omuntu wo ow’omunda atendekeddwa Baibuli kiyinza okuleetera abalala okukitwala obubi. Naye osaanidde okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kye kituufu. Weeteeketeeke bulungi. Bw’oba ogenda ku kabaga, lowooza ku ekyo ky’oyinza okukola singa ebintu biba tebigenda nga bw’obadde osuubira. Abavubuka abamu bagamba bazadde baabwe nti singa wabaawo obuzibu bwonna, bajja kubakubira essimu babakimeko nga bukyali. (Zab. 26:4, 5) ‘Enteekateeka ng’ezo zivaamu ebirungi.’—Nge. 21:5, NW.
“Sanyukira Obuvubuka Bwo”
18, 19. (a) Lwaki oli mukakafu nti Yakuwa ayagala obeere musanyufu? (b) Katonda akwatibwako atya bw’alaba abo abaziyiza okupikirizibwa?
18 Yakuwa yakutonda ng’osobola okunyumirwa obulamu, era ayagala obeere musanyufu. (Soma Omubuulizi 11:9.) Kijjukire nti bangi ku bavubuka banno bali “mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” (Beb. 11:25) Katonda ow’amazima ayagala ofune essanyu erisingira ddala eryo. Ayagala obeere musanyufu emirembe gyonna. N’olwekyo, bw’okemebwa okukola ekintu ky’omanyi nti kibi mu maaso ga Katonda, kijjukire nti oluvannyuma lw’ekiseera ojja kukiraba nti ekyo Yakuwa ky’akugamba okukola kiganyula ggwe.
19 Ng’omuvubuka, olina okukimanya nti ne bw’ofuba okukola ebyo ebisanyusa mikwano gyo, oluvannyuma lw’ekiseera bangi ku bo bajja kuba tebakyakujjukira na linnya. Ku luuyi olulala, bw’onooziyiza okupikirizibwa, Yakuwa tajja kukwerabira era tajja kwerabira bwesigwa bw’oyolese. Ajja ‘kukuggulirawo ebituli eby’omu ggulu, akufukire omukisa waleme kuba na bbanga we gugya.’ (Mal. 3:10) Ate era ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okuziyiza okupikirizibwa. Yee, Yakuwa asobola okukuyamba okuziyiza okupikirizibwa!
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekipande “Okwetegekera Okupikirizibwa” mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2, olupapula 132 ne 133.
Ojjukira?
• Lwaki okupikirizibwa okuva mu bannaffe kuba kwa maanyi nnyo?
• Okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu kikuyamba kitya okuziyiza okupikirizibwa?
• Oyinza otya okwetegekera okupikirizibwa?
• Kiki ekiraga nti obwesigwa bwo Yakuwa abutwala ng’ekintu eky’omuwendo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Lwaki Alooni yakkiriza okukola ennyana eya zaabu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Weeteeketeeke—salawo nga bukyali ky’onooyogera