LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/00 lup. 8
  • Okupikirizibwa n’Enkizo Yo ey’Okubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okupikirizibwa n’Enkizo Yo ey’Okubuulira
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • Abavubuka—Muziyize Okupikirizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Nnyinza Ntya Okwewala Okutwalirizibwa Okupikirizibwa?
    Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
  • Osobola Okuwa Obujulirwa Embagirawo!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 12/00 lup. 8

Okupikirizibwa n’Enkizo Yo ey’Okubuulira

1 Okupikirizibwa kulina kinene nnyo kye kuyinza okukola​—olw’obulungi oba olw’obubi. Be tuweereza nabo Yakuwa balina kinene kye bakola okutukubiriza okwenyigira mu bikolwa by’Ekikristaayo ebirungi. (Beb. 10:24) Kyokka, ab’omu maka abatali Bajulirwa, be tukola nabo, be tusoma nabo, baliraanwa baffe, oba abalala abamanyi bayinza okutupikiriza okugoberera ekkubo erikontana n’emitindo gy’Ekikristaayo. Bayinza ‘okuvumirira empisa zaffe ennungi ez’omu Kristo.’ (1 Peet. 3:16) Tuyinza tutya okusigala nga tuli bamalirivu okweyongera okubuulira wadde nga twolekaganye n’okupikirizibwa?

2 Ab’Omu Maka: Ebiseera ebimu, omwami era taata atali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ayinza obutayagala mukyala we n’abaana okwenyigira mu buweereza. Eno y’embeera eyali mu maka agamu mu Mexico. Muka omusajja omu n’abaana musanvu bajja mu mazima. Okusooka yabaziyiza kubanga yali tayagala ab’omu maka ge okubuulira n’okugaba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli nnyumba ku nnyumba. Yalowooza nti kino kyali kibafeebya. Kyokka, mukyala we n’abaana banywerera mu kusalawo kwabwe okuweereza Yakuwa era n’okwenyigira mu buweereza obutayosa. Nga wayiseewo ekiseera, omusajja yatandika okulaba omuwendo gw’okukkiriza enteekateeka ya Katonda ey’omulimu gw’okubuulira, era naye ne yeewaayo eri Yakuwa. Kyamutwalira emyaka 15 okukkiriza amazima, naye yandisobodde okukikola singa ab’omu maka ge baali tebanyweredde ku nkizo yaabwe ey’okubuulira?​—Luk. 1:74; 1 Kol. 7:16.

3 Be Tukola Nabo: Okufuba kwo okubuulira b’okola nabo abamu bayinza obutakusanyukira. Mwannyinaffe omu yagamba nti bwe wajjawo okukubaganya ebirowoozo ku nkomerero y’ensi mu ofiisi, yasekererwa kubanga yabagamba nti basome Matayo essuula 24. Kyokka, bwe waayitawo ennaku ntono, omu ku bakozi banne yamugamba nti yali asomye essuula eyo era nti yamuwuniikiriza. Ekitabo kyagabibwa, era enteekateeka zaakolebwa okutandika okusoma nayeawamu n’omwami we. Okusoma okwasooka kwatuukira ddala ku ssaawa munaana ez’ekiro. Oluvannyuma lw’okusoma omulundi ogw’okusatu, baatandika okubaawo mu nkuŋŋaana, era amangu ddala baalekera awo okunywa ttaba era ne batandika okwenyigira mu buweereza. Kino kyandibadde kibeerawo singa mwannyinaffe yali tafubye okubuulira abalala essuubi lye?

4 Be Tusoma Nabo: Kya bulijjo abavubuka Abajulirwa okupikirizibwa ku ssomero era n’okutya nti abavubuka abalala bajja kubanyooma olw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Omuvubuka omu Omukristaayo mu Amereka yagamba: “Nnatyanga okubuulira abavubuka abalala kubanga nnali ntya okusekererwa.” N’olwekyo, teyakozesa mikisa egy’okubuulira banne ku ssomero ne mu kitundu ekyo. Oyinza otya okukulaakulanya obuvumu obw’okwolekagana n’okupikirizibwa? Weesige Yakuwa, ng’onoonya okusiimibwa gy’ali. (Nge. 29:25) Weenyumirize mu busobozi bwo obw’okukozesa Ekigambo kya Katonda mu buweereza bwo. (2 Tim. 2:15) Omuvubuka ayogeddwako yatandika okusaba Yakuwa, ng’amusaba amuyambe okwogera ne basomi banne. Yatandika okubuulira embagirawo ku ssomero, ebyavaamu byali birungi, era mangu ddala yali ayogera na buli muntu yenna gwe yali amanyi. Yakomekkereza bw’ati: “Abavubuka abo beetaaga era baagala essuubi ery’omu biseera eby’omu maaso, era Yakuwa atukozesa okubayamba.”

5 Baliraanwa: Tuyinza okubeera ne baliraanwa oba abantu abalala be tumanyi abatunyiigira olw’ekyo kye tuli n’olw’enzikkiriza zaffe. Bw’oba otya ekyo kye balowooza, weebuuze: ‘Bamanyi amazima agakulembera okutuuka ku bulamu obutaggwaawo? Kiki kye nnyinza okukola okutuuka ku mitima gyabwe?’ Omulabirizi wa circuit yagamba nti okubuulira kuvaamu ebibala bwe kukolebwa ku kipimo ekitonotono obutayosa. Weegayirire Yakuwa buli kiseera akuwe amaanyi n’amagezi ageetaagisa okweyongera okunoonya ab’emitima emyesigwa.​—Baf. 4:13.

6 Bwe twekiriranya olw’okupikirizibwa kiyinza okusanyusa abatuziyiza, naye okukikola kyandibaganyudde​—wadde naffe? Yesu yaziyizibwa abantu ab’omu kitundu kye waabwe. Era yagumira n’ebigambo ebisongovu ebya baganda be. Naye yamanya nti yandiyinziza okubayamba singa anywerera ku ekyo Katonda kye yali amutumye okukola. Bwe kityo, Yesu “[ya]gumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez’abakola ebibi ku bo bennyini.” (Beb. 12:2, 3) Tuteekwa okukola kye kimu. Beera mumalirivu okukozesa ennyo enkizo yo ey’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Bw’okola bw’otyo, “olyerokola wekka era n’abo abakuwulir[iza].”​—1 Tim. 4:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share