Osiima Emikisa Gyonna Katonda gy’Akuwa?
OLUVANNYUMA lw’okununulibwa mu ngeri ey’ekyamagero okuva mu buddu e Misiri, abaana ba Isiraeri mu kusooka baali basanyufu nnyo olw’eddembe lye baali bafunye okusinza Yakuwa. (Kuv. 14:29–15:1, 20, 21) Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, endowooza yaabwe yakyuka. Baatandika okwemulugunya olw’embeera gye baalimu. Lwaki? Kubanga baggya ebirowoozo byabwe ku ebyo Yakuwa bye yali abakoledde ne batandika okutunuulira embeera enzibu gye baalimu mu ddungu. Baagamba Musa nti: “Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? Kubanga tewali kya kulya, so tewali mazzi; n’obulamu bwaffe butamiddwa eky’okulya kino ekyangu [Emmaanu].”—Kubal. 21:5.
Nga wayise ebyasa by’emyaka, Kabaka Dawudi owa Isiraeri yagamba nti: “Naye nneesiga okusaasira kwo; omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo: N[n]aayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde obulungi obungi.” (Zab. 13:5, 6) Dawudi teyeerabira bikolwa eby’ekisa Yakuwa bye yali amukoledde. Mu kifo ky’ekyo, yafunanga ebiseera n’abifumiitirizaako. (Zab. 103:2) Naffe Yakuwa atukoledde ebirungi bingi, era kiba kya magezi obutabibuusa maaso. Kati ka tulabeyo egimu ku mikisa Katonda gy’atuwa leero.
“Ekyama kya Mukama”
Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya.” (Zab. 25:14) Nga tulina enkizo ya maanyi ey’okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa wadde nga tetutuukiridde! Naye kiri kitya singa twesanga nga tutwaliriziddwa ebintu ebya bulijjo ne tutuuka n’okubulwa ebiseera eby’okusaba? Lowooza ku ekyo ekiyinza okutuuka ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Nga Mukwano gwaffe, Yakuwa atusuubira okumwesiga n’okumweyabiza okuyitira mu kusaba, nga tumubuulira ebitweraliikiriza ne bye twagala. (Nge. 3:5, 6; Baf. 4:6, 7) Ekyo tekiraga nti tulina okulowooza ennyo ku ngeri gye tusabamu?
Omujulirwa omu omuto ayitibwa Paul bwe yafumiitiriza ku ngeri gye yali asabamu, yakiraba nti yali yeetaaga okulongoosa mu ssaala ze.a Yagamba nti, “Nnakiraba nti nnali nkozesa ebigambo bye bimu buli lwe nnali nsaba.” Paul bwe yanoonyereza ebikwata ku kusaba mu Watch Tower Publications Index, yakizuula nti mu Bayibuli mulimu essaala nga 180. Mu ssaala ezo, abaweereza ba Yakuwa ab’edda baamubuuliranga ebyabali ku mutima. Paul yagamba nti: “Okufumiitiriza ku ssaala ezo eziri mu Byawandiikibwa, kyannyamba okuyiga okwogera ekyo kyennyini ekiba ku mutima gwange nga nsaba. Kino kinnyambye okweyabiza Yakuwa. Kati mpulira njagala nnyo okumutuukirira mu kusaba.”
‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’
Omukisa omulala Yakuwa gw’atuwadde ge mazima ge tuyize okuva mu Byawandiikibwa. Buli lwe tulya ku mmere ey’eby’omwoyo ennyingi gye tulina tuba n’ensonga nnyingi ezituleetera ‘okuyimba ng’omutima gwaffe musanyufu.’ (Is. 65:13, 14) Kyokka, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kulekera awo kutwala mazima ge tuyize ng’ekintu eky’omuwendo. Ng’ekyokulabirako, okuwuliriza ebyo bakyewaggula bye boogera kiyinza okwonoona ebirowoozo byaffe era kiyinza okutuleetera okulekera awo okusiima ‘emmere ejjira mu kiseera ekituufu’ Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’—Mat. 24:45-47.
André, eyali amaze ekiseera ng’aweereza Yakuwa, yatwalirizibwa endowooza za bakyewaggula. Yali alowooza nti okugendako ku mukutu gwa bakyewaggula ogwa internet okumala akaseera katono tekyalina mutawaana. Agamba nti: “Mu kusooka, nnali njagala kumanya bakyewaggula kye bagamba. Gye nneeyongera okwetegereza ebyo bye bayigiriza, gye nneeyongera okulowooza nti siba mukyamu kuva mu kibiina kya Yakuwa. Naye oluvannyuma, bwe nnanoonyereza ku ebyo bakyewaggula bye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa, nnalaba obukuusa obuli mu bayigiriza abo ab’obulimba. Ebintu bye baayogeranga tebyalina musingi mutuufu kwe byesigamye. N’olwekyo, nnasalawo okuddamu okusoma ebitabo byaffe n’okugenda mu nkuŋŋaana. Nnakiraba nti nnali nfiiriddwa ebintu bingi.” Eky’essanyu kiri nti André yakomawo mu kibiina.
‘Ab’oluganda Bonna’
Okuba nti tuli bumu ng’ab’oluganda mu nsi yonna nagwo mukisa okuva eri Yakuwa. (Zab. 133:1) Eyo y’ensonga lwaki omutume Peetero yagamba nti: “Mwagalenga baganda bammwe bonna.” (1 Peet. 2:17) Abakristaayo bannaffe bano abalinga bataata, bamaama, baganda baffe ne bannyinnaffe mu by’omwoyo batuzzaamu nnyo amaanyi.—Mak. 10:29, 30.
Wadde kiri kityo, oluusi tufuna obutategeeragana ne baganda baffe. Ng’ekyokulabirako, kyangu okuleka ensobi z’abalala okutunyiiza ne tutandika n’okubakolokota. Singa kino kibaawo, olowooza tekyandibadde kya magezi okukijjukira nti Yakuwa ayagala abaweereza be bonna wadde nga tebatuukiridde? Era tusaanidde okukijjukira nti, “bwe tugamba nti: ‘Tetulina kibi,’ tuba twerimba era amazima tegaba mu ffe.” (1 Yok. 1:8) N’olwekyo, tetwandifubye ‘okweyongera okugumiikirizagana n’okusonyiwagana’?—Bak. 3:13.
Ebyo omuvubuka ayitibwa Ann bye yayitamu byamuleetera okutandika okutwala ab’oluganda bonna mu kibiina nga ba muwendo. Okufaananako omwana omujaajaamya ayogerwako mu lugero lwa Yesu, Ann yava mu kibiina Ekikristaayo. Oluvannyuma, yeekuba mu kifuba n’akomawo mu kibiina. (Luk. 15:11-24) Ebyo Ann bye yayitamu byamuyigiriza ki? Agamba nti: “Okuva lwe nnakomawo mu kibiina kya Yakuwa, ab’oluganda bonna mbatwala nga ba muwendo wadde nga tebatuukiridde. Edda nnalina omuze ogw’okubanoonyangamu ensobi. Naye kati ndi mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kundeetera kufiirwa nkolagana ennungi gye nnina ne bakkiriza bannange. Tewali kintu kyonna mu nsi kisinga lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo.”
Siima Emikisa Gyonna gy’Ofuna
Essuubi lye tulina mu Bwakabaka bwa Katonda obujja okumalawo ebizibu by’abantu byonna kya bugagga eky’omuwendo ennyo. Nga twasanyuka nnyo, omulundi gwe twasooka okuwulira ku ssuubi lino! Twawulira ng’omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu ‘eyatunda ebintu byonna bye yalina’ asobole okugula “luulu ey’omuwendo omungi.” (Mat. 13:45, 46) Yesu teyagamba nti omusuubuzi oyo oluvannyuma yalekera awo okusiima luulu eyo. Mu ngeri y’emu, naffe tetusaanidde kulekera awo kusiima ssuubi ery’ekitalo lye tulina.—1 Bas. 5:8; Beb. 6:19.
Lowooza ku kyokulabirako kya Jean, mwannyinaffe amaze emyaka egisukka mu 60 ng’aweereza Yakuwa. Agamba nti: “Ekinnyambye okukuumira essuubi ly’Obwakabaka bwa Katonda mu birowoozo byange kwe kulibuulirako abalala. Bwe ndaba engeri abantu gye bakwatibwako nga bategedde ebikwata ku Bwakabaka, nange kinzizaamu nnyo amaanyi. Okulaba engeri amazima gye gakyusaamu obulamu bw’abayizi ba Bayibuli, kindeetera muli okuwulira nti, ‘Ddala nnina amazima ag’omuwendo ennyo ge nnina okubuulirako abalala.’”
Tulina ensonga nnyingi ezandituleetedde okusiima emikisa emingi Katonda gy’atuwa. Wadde nga waliwo ebintu bingi ebitumalamu amaanyi, omuli okuyigganyizibwa, obulwadde, obukadde, okwennyamira, okufiirwa abaagalwa baffe, n’obuzibu obw’eby’enfuna, tukimanyi nti ebintu ebyo byonna bya kaseera buseera. Mu Bwakabaka bwa Katonda, tujja kufuna n’emikisa emirala mingi. Okubonaabona kwonna kwe twolekagana nakwo leero kujja kuggwaawo mu nteekateeka ey’ebintu empya.—Kub. 21:4.
Nga bwe tulindirira ebyo byonna, ka tweyongere okusiima emikisa gyonna Katonda gy’atuwa era twoleke okusiima kwaffe ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, Ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli: tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika obungi.”—Zab. 40:5.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Tuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo mu biseera ebizibu