LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 5/15 lup. 6
  • “Omulabirizi Omulungi era ow’Omukwano Ennyo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Omulabirizi Omulungi era ow’Omukwano Ennyo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Ekirango eky’Enjawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Tuutuno! Mututume!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Olukuŋŋaana olw’Ebyafaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Emyaka Ensanvu gye Mmaze nga Nneekutte ku Lukugiro lw’Omuyudaaya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 5/15 lup. 6

“Omulabirizi Omulungi era ow’Omukwano Ennyo”

JOHN (JACK) BARR, eyali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yamaliriza obulamu bwe obw’oku nsi ku Lwomukaaga ku makya, nga Ddesemba 4, 2010. Yalina emyaka 97 egy’obukulu. Yali amanyiddwa “ng’omulabirizi omulungi era ow’omukwano ennyo.”

Ow’oluganda Jack Barr yazaalibwa mu kibuga Aberdeen, eky’omu Scotland, era ye yali asingayo obuto mu baana abasatu bazadde be be baazaala. Bazadde be bombi baali baafukibwako amafuta. Ow’oluganda Barr yateranga okwogera obulungi ku ngeri bazadde be gye baabakuzaamu; yeenyumiririzanga nnyo mu kyokulabirako ekirungi taata we ne maama we kye baamuteerawo.

Bwe yali yaakayingira emyaka gye egy’obutiini, Jack yakaluubirirwanga nnyo okwogera n’abantu b’atamanyi. Naye yafuba nnyo okulaba nti avvuunuka obuzibu obwo, era lwali lumu ku Ssande mu 1927, ng’olwo alina emyaka 14, n’agamba taata we nti yali mwetegefu okugenda naye okubuulira nnyumba ku nnyumba. Eyo ye yali entandikwa y’obuweereza bwe eri Yakuwa. Okuva olwo okutuusa lwe yafa, Ow’oluganda Barr yasigala munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi.

Akabenje ak’amaanyi maama we ke yafuna n’abulako katono okufa, kaaleetera Jack okulowooza ennyo ku kigendererwa ky’obulamu, bw’atyo mu 1929 yeewaayo eri Yakuwa era akakisa bwe keeyoleka mu 1934, teyalonzalonza kubatizibwa. Mu 1939, yatandika okuweereza mu maka ga Beseri e London, mu Bungereza. Bw’atyo yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna bwe yamalamu emyaka 71.

Nga Okitobba 29, 1960, Ow’oluganda Barr yawasa Mildred Willett, eyali amaze emyaka egiwerako ng’aweereza nga payoniya era ng’omuminsani. Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Barr baali bamanyiddwa ng’abafumbo abassaawo ekyokulabirako ekirungi, era abeesigwa ennyo. Mildred yamaliriza obulamu bwe obw’oku nsi mu Okitobba 2004. Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Barr tebalina lunaku na lumu lwe baayosa kusomera wamu Bayibuli mu myaka gyonna gye baamala mu bufumbo.

Jack Barr yali amanyiddwa ng’ow’oluganda eyawanga amagezi amalungi ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa era ng’agawa mu ngeri ey’ekisa. Yali wa luganda munyiikivu, afaayo ku balala, mulabirizi mulungi era ow’omukwano omwesigwa. Ebyo bye yayogeranga, emboozi ze yawanga, awamu n’essaala ze byalaganga nti yali ayagala nnyo amazima era nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.

Wadde nga twasaalirwa nnyo Ow’oluganda Barr, tuli basanyufu okuba nti yafuna ekirabo eky’obulamu obutayinza kuzikirizibwa—enkizo gye yali yeesunga era gye yayogerangako ennyo. Enkizo eno yali agitwala nga ya muwendo nnyo.​—1 Kol. 15:53, 54.a

[Obugambo obuli wansi]

a Osobola okusoma ku byafaayo by’Ow’oluganda John E. Barr, mu Watchtower eya Jjulaayi 1, 1987, olupapula 26 okutuuka ku 31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share