Oyinza otya ‘Okutuuka ku Buwanguzi’?
OBUWANGUZI kye ekintu buli omu ky’ayagala okutuukako! Waliwo abantu bangi abasobodde okugaggawala ennyo oba abasobodde okwekolera erinnya, bwe batyo ne bawulira nga batuuse ku buwanguzi. Abalala bakoze kyonna ekisoboka okulaba nti batuuka ku buwanguzi naye balemereddwa.
Obuwanguzi businziira nnyo ku ekyo ky’otwala ng’ekisingayo okuba ekikulu mu bulamu. Era businziira ne ku ngeri gy’okozesaamu ebiseera byo, amaanyi go, n’obusobozi bwo obw’okuyiiya.
Abakristaayo bangi bakizudde nti okwemalira ku kuweereza Katonda kibaviiriddemu essanyu lingi nnyo. Okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna kisobozesezza ab’oluganda bangi abato n’abakulu okutuuka ku buwanguzi. Kyokka abamu bawulira nti tebafuna ssanyu mu kuweereza Katonda, bwe kityo basazeewo okukulembeza ebintu ebirala mu bulamu bwabwe. Ekyo kiyinza kitya okukutuukako? Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti tolagajjalira bintu ebisinga obukulu mu bulamu? Era oyinza otya ‘okutuuka ku buwanguzi’?—Yos. 1:8, NW.
Emizannyo gy’Amasomero n’Ebintu Ebirala
Abavubuka Abakristaayo balina okufuba okulaba nti tebagwa lubege bwe kituuka ku kuweereza Katonda ow’amazima n’okwenyigira mu bintu ebirala. Abo abatagwa lubege mu nsonga eyo bajja kutuuka ku buwanguzi mu bulamu era basaanidde okusiimibwa ennyo.
Kyokka abavubuka abamu Abakristaayo beemalira nnyo ku mizannyo n’ebintu ebirala ebibanyumira ebikolebwa ku ssomero. Ebintu ebyo ku bwabyo biyinza obutaba bibi. Naye abavubuka Abakristaayo basaanidde okwebuuza: ‘Ebintu ebyo binantwalira biseera byenkana wa? Mikwano gya ngeri ki gye nnaabeera nagyo? Ebintu ebyo binandeetera kukulaakulanya mwoyo ki? Era binandeetera kukulembeza ki mu bulamu bwange?’ Oyinza okuba nga naawe okiraba nti ebintu ebyo bisobola okutwaliriza omuntu n’aba nga takyalina biseera na maanyi kukola ku bintu eby’omwoyo. N’olwekyo, kikulu nnyo okumanya ebintu bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu.—Bef. 5:15-17.
Lowooza ku Wiktor.a Agamba nti: “Nneegatta ku ttiimu y’essomero ezannya omupiira nga ndi wa myaka 12. Oluvannyuma lw’ekiseera nnawangula ebirabo bingi. Nnali nsobola okufuuka omuzannyi omututumufu.” Kyokka, Wiktor yakiraba nti okuzannya omupiira kyali kitandise okumukosa mu by’omwoyo. Lumu, bwe yali asoma Bayibuli, yeesanga ng’otulo tumututte. Ate era yakiraba nti yali takyafuna ssanyu mu mulimu gw’okubuulira. Agamba nti, “Omupiira gwankooyanga nnyo, era nnakiraba nti nnali ntandise okuddirira mu by’omwoyo. Nnakizuula nti nnali sikyaweereza Katonda n’omutima gwange gwonna.”
Obuyigirize Obwa Waggulu
Ebyawandiikibwa biraga nti Omukristaayo alina obuvunaanyizibwa okulabirira ab’omu maka ge era nga kino kizingiramu okubawa ebyetaago byabwe eby’omubiri. (1 Tim. 5:8) Naye ddala Omukristaayo yeetaaga okuba ne diguli okusobola okulabirira ab’omu maka ge?
Kirungi okulowooza ku ngeri okufuna obuyigirize obwa waggulu gye kisobola okukwata ku nkolagana yo ne Yakuwa. Lowooza ku kyokulabirako kino okuva mu Byawandiikibwa.
Baluki yali akola ng’omuwandiisi wa nnabbi Yeremiya. Naye ekiseera kyatuuka Baluki n’atandika okulowooza ku kwenoonyeza ebintu mu kifo ky’okulowooza ku nkizo ze yalina ng’aweereza Yakuwa. Ekyo Yakuwa yakiraba era ng’ayitira mu Yeremiya yamulabula ng’agamba nti: “Weenoonyeza ebikulu? Tobinoonya.”—Yer. 45:5.
Bintu ki “ebikulu” Baluki bye yali yeenoonyeza? Ayinza okuba nga yali ayagala okwekolera erinnya mu nteekateeka y’ebintu ey’Ekiyudaaya. Oba ayinza okuba nga yali yeenoonyeza bya bugagga. Ka kibe ki kye yali yeenoonyeza, yali atandise okulagajjalira ebintu ebisinga obukulu mu bulamu, nga bino bye bintu eby’omwoyo. (Baf. 1:10) Kyokka, Baluki yawuliriza okulabula Yakuwa kwe yamuwa ng’ayitira mu Yeremiya, bw’atyo yasobola okuwonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa.—Yer. 43:6.
Ekyokulabirako kino kituyigiriza ki? Okuba nti Baluki yalabulwa kiraga nti waaliwo ekyali kitagenda bulungi. Yali yeenoonyeza ebintu ebikulu. Bw’oba ng’olina engeri gy’osobola okweyimirizaawo, ddala kiba kikwetaagisa okumala ebiseera byo, ssente zo, n’amaanyi go ku buyigirize obwa waggulu olw’okwagala okutuukiriza ebirooto byo oba okusanyusa obusanyusa bazadde bo oba ab’eŋŋanda zo?
Lowooza ku Grzegorz, omukugu mu bya kompyuta. Mikwano gye baamukubiriza okweyongerayo okusoma. Oluvannyuma lw’ekiseera, yali takyalina biseera kukola ku bintu eby’omwoyo. Agamba nti: “Nnawulira nga ndi ku kalebwerebwe. Omuntu wange ow’omunda yannumirizanga olw’okuba nnali nneetadde mu mbeera eyali tensobozesa kutuuka ku biruubirirwa byange eby’omwoyo.”
Okwemalira ku Mulimu
Ekigamba kya Katonda kikubiriza Abakristaayo okukola ennyo n’okubeera abakozi oba abakozesa ab’obuvunaanyizibwa. Pawulo yagamba nti: “Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa so si abantu.” (Bak. 3:22, 23) Naye wadde nga kirungi okukola ennyo, waliwo ekintu ekikulu n’okusinga okukola ennyo—enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe. (Mub. 12:13) Omukristaayo bwe yeemalira ennyo ku mulimu gwe, alemererwa okukulembeza ebintu eby’omwoyo.
Omukristaayo bwe yeemalira ennyo ku mulimu gwe, ayinza okukoowa ennyo n’aba nga takyasobola kwerabirira awamu n’okulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Olubatu lumu wamu n’okutereera lusinga embatu bbiri wamu n’okutegana n’okugoberera empewo.” Singa Omukristaayo yeemalira nnyo ku mulimu gwe, ekyo kiyinza okumuleetera okweraliikirira ennyo. Omulimu gwe guyinza okumufuula omuddu era ne gumukutula. Bwe kiba bwe kityo, ddala asobola “okusanyuka . . . n’okusanyukira ebirungi mu kutegana kwe kwonna”? (Mub. 3:12, 13; 4:6) N’ekisinga obukulu, ddala anaaba n’amaanyi ageetaagisa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu maka n’okukola ku bintu eby’omwoyo?
Janusz, abeera mu buvanjuba bwa Bulaaya, yatandika okwemalira ennyo ku bizineesi ye. Agamba nti: “Abantu b’ensi baali baneenyumiririzaamu nnyo olw’okuba nnali muyiiya era nga nkola bulungi emirimu gyange. Naye nnaddirira mu by’omwoyo era ne ndekera awo okubuulira. Waayita akaseera katono ne ndekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Nnafuna amalala ne ŋŋaana okukolera ku kubuulirira abakadde kwe bampa era ne nva mu kibiina.”
Osobola Okutuuka ku Buwanguzi
Tulabye ebintu bisatu Omukristaayo by’asobola okwemalirako ennyo n’atuuka n’okuddirira mu by’omwoyo. Waliwo ekimu ku byo ky’olaba nga naawe okyemaliddeko nnyo? Bwe kiba kityo, ebibuuzo bino, ebyawandiikibwa bino, n’amagezi gano wammanga bisobola okukuyamba okulaba obanga ddala okutte ekkubo erinaakutuusa ku buwanguzi.
Emizannyo gy’amasomero n’ebintu ebirala: Biseera byenkana wa by’omalira ku mizannyo egyo? Emizannyo gikutwalira ebiseera bye wali okozesa ku bintu eby’omwoyo? Owulira nga tokyanyumirwa kubeerako wamu ne bakkiriza banno? Bwe kiba kityo, lwaki tofuba okukoppa Kabaka Dawudi eyasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu.”—Zab. 143:8.
Omulabirizi w’ekitundu yayamba Wiktor, eyayogeddwako waggulu. Omulabirizi w’ekitundu yamugamba nti: “Engeri gy’oyogeramu eraga nti weenyumiririza nnyo mu kuzannya omupiira.” Wiktor agamba nti, “Ekyo kyaneewuunyisa nnyo. Nnakiraba nti nnali nneemalidde nnyo ku kuzannya omupiira. Mangu ddala nneekutula ku mikwano gy’ensi be nnazanyanga nabo omupiira ne nfuna emikwano emirungi mu kibiina.” Leero, Wiktor aweereza Yakuwa n’obunyiikivu mu kibiina kye. Agamba nti: “Kiba kya magezi okubuuza mikwano gyo, bazadde bo, oba abakadde mu kibiina bakubuulire obanga bakiraba nti emizannyo egibeera ku ssomero gikuleetedde okusemberera Yakuwa oba gyeyongedde kwonoona nkolagana yo naye.”
Lwaki totegeeza bakadde mu kibiina nti wandyagadde okwenyigira mu bintu ebitali bimu ebikolebwa mu kibiina? Osobola okufunayo akadde okunyumyako n’ab’oluganda abakaddiye, okubayambako okugula ebintu, oba okubakolerako emirimu gy’awaka? K’obe wa myaka emeka, osobola okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, osobole okubuulirako abalala amawulire amalungi agaleetera Abakristaayo essanyu.
Obuyigirize obwa waggulu: Yesu yalabula ku kabi akali mu ‘kwenoonyeza ekitiibwa.’ (Yok. 7:18) Bw’oba olowooza ku buyigirize bw’oyagala okufuna, ofuba “okumanya ebintu ebisinga obukulu” mu bulamu?—Baf. 1:9, 10.
Grzegorz, omukugu mu bya kompyuta, yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe. Yagamba nti: ‘Nnakolera ku magezi abakadde ge bampa eby’okweyongerayo okusoma ne mbivaako. Mu butuufu nnakiraba nti nnali seetaaga kweyongerayo kusoma kubanga ekyo kyandibadde kintwalira ebiseera bingi n’amaanyi mangi.’ Grzegorz yayongera ku biseera bye yali amala mu buweereza bwe. Oluvannyuma lw’ekiseera, yasobola okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, kati eriyitibwa Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina. Yee, ‘yeegulira ebiseera’ n’asobola okwongera okuyigirizibwa Katonda.—Bef. 5:16 ftn.
Omulimu: Weemalidde nnyo ku mulimu gwo ne kiba nti tokyafuna biseera kukola ku bintu eby’omwoyo? Ofuna obudde obumala okubeerako awamu n’ab’omu maka go? Okyasobola okuteekateeka obulungi emboozi eziba zikuweereddwa mu kibiina? Ate kiri kitya bwe kituuka ku kunyumyako n’abalala ebintu ebizimba? “Otyanga Katonda [ow’amazima], okwatanga ebiragiro bye,” bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna emikisa gya Yakuwa era ‘ojja kulaba ebirungi mu kutegana kwo.’—Mub. 2:24; 12:13.
Janusz, eyayogeddwako waggulu, teyatuuka ku buwanguzi mu bizineesi ye, kubanga bizineesi ye yagwa. Nga ssente zimuweddeko era ng’ali mu mabanja, yasalawo okudda eri Yakuwa. Janusz yakola enkyukakyuka ezeetaagisa era kati aweereza nga payoniya owa bulijjo era ng’omukadde mu kibiina. Agamba nti: “Bwe nfuna ebyetaago eby’omubiri, era ne nkozesa ebiseera byange n’amaanyi gange ku bintu eby’omwoyo, nfuna emirembe mu mutima.”—Baf. 4:6, 7.
Funa akaseera weekebere mu bwesimbu olabire ddala ebyo by’okulembeza mu bulamu. Okuweereza Yakuwa kye kituusa omuntu ku buwanguzi obwa nnamaddala. Weemalire ku kuweereza Yakuwa.
Kiyinza okukwetaagisa okukola enkyukakyuka ezitali zimu, oboolyawo n’okweggyako ebintu ebitali bikulu nnyo osobole okukakasa “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Naye osobola ‘okutuuka ku buwanguzi’ singa omuweereza n’omutima gwo gwonna.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Engeri gy’Oyinza Okutuuka ku Buwanguzi
Wadde nga waliwo ebintu bingi ebisobola okukuwugula, oyinza otya okusigala ng’okulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu? Funa ekiseera weekebere olabe ebiruubirirwa byo n’ebyo by’okulembeza mu bulamu ng’okozesa ebibuuzo bino wammanga:
EMIZANNYO GY’AMASOMERO N’EBINTU EBIRALA
▪ Emizannyo egyo gikubiriza mwoyo ki?
▪ Biseera byenkana wa by’omalira ku mizannyo egyo?
▪ Kyandiba nti gy’otandise okukulembeza mu bulamu bwo?
▪ Gitwala ebiseera bye wakozesanga ku bintu eby’omwoyo?
▪ Mikwano gya ngeri ki gy’oba nagyo?
▪ Kikusanyusa okubeera n’emikwano egyo okusinga okubeera ne bakkiriza banno?
OBUYIGIRIZE OBWA WAGGULU
▪ Bw’oba ng’olina engeri gy’osobola okweyimirizaawo, ddala kiba kikwetaagisa okumala ebiseera byo, ssente zo, n’amaanyi go ku buyigirize obwa waggulu?
▪ Okusobola okweyimirizaawo, ddala weetaaga okuba ne diguli?
▪ Onoosobola okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa?
▪ Ofuba “okumanya ebintu ebisinga obukulu” mu bulamu?
▪ Kyandiba nti kikwetaagisa okwongera okwesiga Yakuwa nti ajja kusobola okukola ku byetaago byo eby’omubiri?
OMULIMU
▪ Omulimu gw’okola gukusobozesa ‘okusanyuka n’okulaba ebirungi mu kutegana kwo kwonna’?
▪ Gukusobozesa okuba n’amaanyi ageetaagisa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo mu maka n’okukola ku bintu eby’omwoyo?
▪ Ofuna obudde obumala okubeerako awamu n’ab’omu maka go?
▪ Weemalidde nnyo ku mulimu gwo ne kiba nti ebintu eby’omwoyo tokyabiteeka mu kifo ekisooka?
▪ Okyasobola okuteekateeka obulungi emboozi eziba zikuweereddwa mu kibiina?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Yakuwa yalabula Baluki ku kabi akali mu kwenoonyeza ebintu