LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w11 7/15 lup. 4-9
  • Abantu ba Yakuwa Bawangula Omusango!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abantu ba Yakuwa Bawangula Omusango!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Emitwe emitono
  • BAWEEBWA EDDEMBE!
  • OKUNOONYEREZA KUTANDIKA
  • BAYIBULI MU KKOOTI
  • BABULWA OBUJULIZI
  • TUWANGULA OMUSANGO NAYE TEBIKOMA AWO
  • TUWANGULWA​—NAYE TEBIKOMA AWO
  • BEEYONGERA OKUTULWANYISA
  • “BUBE OBUJULIRWA”
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 7/15 lup. 4-9

Abantu ba Yakuwa Bawangula Omusango!

OMUSANGO guno gwatandika mu 1995 era gwakulungula emyaka 15 miramba. Mu kiseera ekyo kyonna, abalabe mu Russia baali bagezaako okulinnyirira eddembe ly’Abakristaayo ab’amazima ery’okusinza. Abalabe abo baali baagala okusaanyaawo Abajulirwa ba Yakuwa mu Moscow ne mu bitundu ebirala. Wadde kyali kityo, Yakuwa yayamba baganda baffe ne bannyinnaffe abo abeesigwa ab’omu Russia okutuuka ku buwanguzi. Naye kiki ekyaviirako abalabe bano okutandika okuyigganya abantu ba Katonda?

BAWEEBWA EDDEMBE!

Mu myaka gya 1990, ab’oluganda mu Russia baddamu okuweebwa eddembe ly’okusinza eryali lyabagibwako mu 1917. Mu 1991 gavumenti ya Soviet Union yawandiisa Abajulirwa ba Yakuwa ng’eddiini entongole. Gavumenti ya Soviet Union bwe yagwa, gavumenti ya Russia eyaddawo nayo yakkiriza okuwandiisa Abajulirwa ba Yakuwa ng’eddiini entongole mu Russia. Gavumenti eyo empya yakiraba nti gavumenti eyaliwo yali etulugunyizza nnyo baganda baffe. Mu 1993, Ekitongole Ekiramuzi mu Moscow kyawandiisa Abajulirwa ba Yakuwa nga Moscow Community of Jehovah’s Witnesses. Mu mwaka ogwo gwennyini, Russia yakola ssemateeka omuggya eyali awa abantu eddembe ly’okusinza. Ekyo kyaleetera omu ku baganda baffe okugamba nti, “Twali tetukirowoozangako nti tulifuna eddembe ng’eryo!” Yagattako nti, “Kino kye kintu kye twali tulindiridde okumala emyaka 50!”

Baganda baffe ne bannyinnaffe mu Russia baakozesa ‘ebiseera ebyo ebyali ebirungi’ ne banyiikirira omulimu gw’okubuulira, era abantu bangi baayiga amazima. (2 Tim. 4:2) Mu kiseera kitono, omuwendo gw’ababuulizi, bapayoniya, n’ogw’ebibiina gweyongera nnyo. Mu butuufu, okuva mu 1990 okutuuka mu 1995, omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Moscow gweyongerayongera okuva ku 300 ne gusukka mu 5,000! Kino kyaleetera abalabe b’Abajulirwa ba Yakuwa okweraliikirira era ne basalawo okutandika okubayigganya nga babatwala mu mbuga z’amateeka.

OKUNOONYEREZA KUTANDIKA

Mu Jjuuni 1995, baganda baffe baggulwako omusango. Abantu abawagira Ekkereziya y’Abasoddookisi mu Moscow baggulawo omusango ku b’oluganda nga bagamba nti baali beenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka. Mu Jjuuni 1996, abo abaalondebwa okunoonyereza ku nsonga eyo baakizuula nti tewaaliwo bujulizi bwonna bwali bulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baali beenyigidde mu bikolwa ng’ebyo. Wadde kyali kityo, abantu abo baddamu okutwala baganda baffe mu kkooti emirundi emirala esatu, naye ku buli mulundi, kyazuulibwa nti tewaaliwo bujulizi bulumiriza baganda baffe. Kya ddaaki nga Apuli 13, 1998, omusango ogwo gwaggalwawo.

Omuwaabi wa gavumenti yagamba nti tewaaliwo bujulizi bwonna bulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baali beenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka. Wadde kyali kityo yagamba ab’oludda oluwaabi nti engeri endala gye baali bayinza okukomyamu omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa kwe kubatwala mu kkooti, bo bennyini be baba bawoza nabo nga tebayitidde mu muwaabi wa gavumenti. Munnamateeka ow’omu kibuga Moscow yakkiriza okubayamba mu kuggulawo omusango ku Bajulirwa ba Yakuwa.a Nga Ssebutemba 29, 1998, omusango gwatandika okuwulirwa mu kkooti y’e Golovinsky mu Moscow.

BAYIBULI MU KKOOTI

Ku mulundi guno looya eyali akiikiridde oludda oluwaabi yali mukyala ayitibwa Tatyana Kondratyeva. Yajuliza etteeka eryayisibwa mu 1997 okulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baalina omusango. Etteeka eryo ligamba nti eddiini y’Abasoddookisi, ey’Abasiraamu, ey’Ekiyudaaya, n’ey’Ababbudda ze ddiini zokka entongole mu Russia.b Etteeka eryo liremesa amadiini amalala okuwandiisibwa mu mateeka. Ate era liwa kkooti obuyinza okuwera eddiini yonna esiga obusosoze mu bantu. Ng’asinziira ku tteeka eryo, looya oyo yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa basiga obukyayi mu bantu era nti baleetera amaka g’abantu okusasika, n’olw’ensonga eyo basaanidde okuwerebwa.

Ppuliida eyali awolereza baganda baffe yamugamba nti: “Nokolayo Abajulirwa ba Yakuwa abali mu Moscow b’omanyi abamenya etteeka eryo?” Looya w’oludda oluwaabi teyasobola kunokolayo wadde omu bw’ati. Kyokka yagamba nti ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa bisiga obukyayi mu bantu. Okusobola okukkaatiriza ekyo kye yali ayogedde, yasomayo obutundu mu Watchtower, Awake! ne mu bitabo ebirala (laba ekifaananyi waggulu). Bwe yabuuzibwa ensonga lwaki yali agamba nti ebitabo ebyo bisiga obukyayi mu bantu, yaddamu nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza nti be bali mu ddiini ey’amazima.”

Ppuliida omulala, omu ku baganda baffe, yakwata Bayibuli bbiri, emu n’agikwasa omulamuzi endala n’agikwasa looya ow’oludda oluwaabi. Yabasomera Abeefeso 4:5 awagamba nti: “Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu.” Omulamuzi, looya ow’oludda oluwaabi, ne ppuliida waffe baakubaganya ebirowoozo ne ku byawandiikibwa ebirala, gamba nga Yokaana 17:18 ne Yakobo 1:27. Omulamuzi yabuuza nti: “Ebyawandiikibwa bino bireetera abantu okukyawa abo abatali ba nzikiriza yaabwe?” Looya w’oludda oluwaabi yaddamu nti ye ebya Bayibuli yali tabimanyi nnyo. Ppuliida waffe yabalaga ebitabo ebyakubibwa Ekkereziya y’Abasoddookisi ey’omu Russia ebyali bivumirira Abajulirwa ba Yakuwa era n’abuuza nti: “Ebyo ebiri mu bitabo bino tebimenya tteeka eryo?” Looya w’oludda oluwaabi yaddamu nti: “Sirina kya maanyi kye nsobola kwogera ku bintu ebyawandiikibwa abakulembeze b’eddiini.”

BABULWA OBUJULIZI

Ng’ayagala okulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baviirako amaka okusattulukuka, looya w’oludda oluwaabi yagamba nti tebakuza nnaku nkulu, gamba nga Ssekukkulu. Kyokka, oluvannyuma yamala n’akkiriza nti ssemateeka wa Russia talagira bantu kukuza Ssekukkulu. Abantu bonna mu Russia​—nga mw’otwalidde n’Abajulirwa ba Yakuwa​—ba ddembe okugikuza oba obutagikuza. Ate era yagamba nti Abajulirwa ‘tebawa baana baabwe budde bumala kuwummula wadde okusanyukako.’ Kyokka, bwe baamusaba okuwa obukakafu ku nsonga eyo, yagamba nti tayogerangako na mwana yenna akulidde mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa. Ppuliida waffe bwe yamubuuza obanga yali agenzeeko mu nkuŋŋaana zaffe, yagamba nti: “Siraba nsonga entwalayo.”

Ab’oludda oluwaabi baaleeta omusawo w’obwongo mu kkooti abeeko ky’ayogera. Omusawo oyo yagamba nti okusoma ebitabo byaffe kireetera abantu okufuna obuzibu ku bwongo. Ppuliida waffe bwe yakiraga nti ebigambo by’omusawo oyo byali bifaanagana n’ebyo ebyali mu kiwandiiko ky’abakulembeze b’eddiini y’Ekisoddookisi ab’omu Moscow, omusawo oyo yakkiriza nti bingi ku bigambo bye, yali abikoppye bukoppi mu kiwandiiko ky’abakulembeze b’eddiini abo. Ate era kyazuulibwa nti omusawo oyo yali tajjanjabangako Mujulirwa wa Yakuwa yenna. Kyokka bwe baaleeta omusawo w’obwongo omulala, ye yategeeza kkooti nti yali yeetegerezza Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 100 mu Moscow n’akizuula nti tebaalina buzibu bwonna ku bwongo era nti oluvannyuma lw’okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa abantu abo baatandika okukolagana obulungi n’abantu ab’amadiini amalala okusinga bwe kyali nga tebannafuuka Bajulirwa.

TUWANGULA OMUSANGO NAYE TEBIKOMA AWO

Nga Maaki 12, 1999, omulamuzi yateekawo akakiiko k’abantu abayivu bataano keekenneenye ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, era n’ayongezaayo omusango okumala ekiseera. Naye ekyo bwe kyali tekinnabaawo, Ekitongole Ekiramuzi mu Russia kyali kyateekawo akakiiko k’abayivu okwekenneenya ebitabo byaffe. Nga Apuli 15, 1999, akakiiko ako ak’Ekitongole Ekiramuzi kaafulumya alipoota eyalaga nti ebitabo byaffe byali tebirina mutawaana gwonna. Bwe kityo, nga Apuli 29, 1999, Ekitongole Ekiramuzi kyasalawo nti Abajulirwa ba Yakuwa basaanidde okugenda mu maaso nga batwalibwa ng’eddiini entongole mu Russia. Wadde kyali kityo, kkooti y’omu Moscow yasalawo nti nayo yalina okuteekawo akakiiko kanoonyereze ku bitabo byaffe. Kino kyali kyewuunyisa kubanga Ekitongole Ekiramuzi mu ggwanga lyonna erya Russia kyali kitwala Abajulirwa ba Yakuwa ng’eddiini entongole, kyokka nga mu kiseera ky’ekimu, Ekitongole Ekiramuzi eky’omu kibuga Moscow kyali kinoonyereza ku Bajulirwa nga kigamba nti baali bamenya amateeka!

Oluvannyuma lw’emyaka ng’ebiri omusango gwaddamu okuwulirwa. Nga Febwali 23, 2001, omulamuzi Yelena Prokhorycheva yawa ensala ye. Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyo akakiiko ke yateekawo okunoonyereza bye kaali kazudde, yagamba nti: “Tewali nsonga yonna lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bawerebwa mu Moscow.” Kkooti yasalawo nti baganda baffe tebaalina musango gwonna! Kyokka, looya w’oludda oluwaabi yagaana ebyo ebyali bisaliddwawo era n’ajulira mu kkooti enkulu mu Moscow. Oluvannyuma lw’emyezi esatu, nga Maayi 30, 2001, kkooti eyo yasazaamu ebyo byonna ebyali bisaliddwawo omulamuzi Prokhorycheva. Kkooti eyo yalagira balonde omulamuzi omulala addemu okuwulira omusango ogwo.

TUWANGULWA​—NAYE TEBIKOMA AWO

Nga Okitobba 30, 2001, omusango gwaddamu okuwulirwa omulamuzi Vera Dubinskaya.c Looya w’oludda oluwaabi yaddamu okutwala Abajulirwa ba Yakuwa mu kkooti ng’agamba nti basiga obukyayi mu bantu. Yagamba nti gavumenti esaanidde okuwera Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Moscow kubanga okubawera kigasa bo! Olwawulira ebyo, Abajulirwa bonna 10,000 abaali mu Moscow baasitukiramu ne bassa omukono ku kiwandiiko ekiraga nti baali tebakkiriziganya na bigambo bya looya oyo.

Looya oyo yagamba nti kyali tekimwetaagisa na kuleeta bujulizi bulaga nti Abajulirwa baalina omusango. Yagamba nti obuzibu tebuli ku ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakola, wabula buli ku bitabo byabwe n’ebyo bye bayigiriza. Yagamba nti yali agenda kuleeta omwogezi w’ekkereziya y’Abasoddookisi okuwa obujulizi. Ekyo kyalaga lwatu nti abakulembeze b’eddiini be baali emabega w’olukwe olw’okuwera Abajulirwa ba Yakuwa. Nga Maayi 22, 2003, omulamuzi yalagira wateekebwewo akakiiko k’abantu abakugu kaddemu okwekenneenya ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa.

Nga Febwali 17, 2004, kkooti yatandika okwekenneenya ebyo akakiiko ako bye kaali kazudde. Abakugu abo baakizuula nti ebitabo byaffe biyigiriza abantu “engeri gye basobola okufuna essanyu mu maka ne mu bufumbo bwabwe.” Waliwo n’abayivu abalala abakkiriziganya nabo. Omulamuzi yabuuza profesa mu byafaayo by’eddiini nti: “Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa babuulira?” Profesa yagamba nti: “Buli Mukristaayo alina okubuulira. Ekyo ebitabo by’Enjiri kye biraga era ekyo kye kintu Kristo kye yalagira abagoberezi be okukola​—‘mugende mubuulire mu nsi zonna.’” Wadde kyali kityo, nga Maaki 26, 2004, omulamuzi yawera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Moscow. Nga Jjuuni 16, 2004, kkooti enkulu mu Moscow yakkiriziganya n’ekyo omulamuzi kye yasalawo.d Ng’ayogera ku nsala y’omusango ogwo, ow’oluganda omu amaze ebbanga eddene ng’aweereza Yakuwa yagamba nti: “Mu biseera by’edda, abantu bonna mu Russia baalina kuba nga tebakkiririza mu Katonda, naye leero abantu bonna mu Russia balina kuba Basoddookisi.”

Ab’oluganda baakola ki ng’omulimu gwabwe guwereddwa? Baakoppa ekyokulabirako kya Nekkemiya. Mu kiseera kye, abalabe b’abantu ba Katonda baagezaako okumulemesa okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi, naye Nekkemiya awamu n’Abayudaaya abalala tebakkiriza kuwugulibwa balabe baabwe kuva ku mulimu. Mu kifo ky’ekyo, beeyongera ‘okuzimba n’okussaayo omwoyo eri omulimu.’ (Nek. 4:1-6) Mu ngeri y’emu, ab’oluganda mu Moscow tebakkiriza balabe baabwe kubawugula kuva ku mulimu ogulina okukolebwa leero ogw’okubuulira amawulire amalungi. (1 Peet. 4:12, 16) Baali bakakafu nti Yakuwa yali ajja kubayamba, era baali beetegefu okulwanirira eddembe lyabwe ery’okusinza Yakuwa.

BEEYONGERA OKUTULWANYISA

Nga Agusito 25, 2004, baganda baffe baawandiika ekiwandiiko nga bajulira ewa Vladimir Putin, mu kiseera ekyo eyali pulezidenti wa Russia. Mu kiwandiiko ekyo, baamutegeeza engeri ebyo kkooti z’omu Moscow bye zaali zisazeewo gye byabayisaamu. Ekiwandiiko ekyo kyaliko emikono egisukka mu 315,000. Mu kiseera ekyo, abakulembeze b’eddiini y’Ekisoddookisi baalagira ddala ekyo kyennyini kye baali. Omwogezi waabwe yagamba nti: “Tetwagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa.” Omu ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyisiraamu naye yagamba nti okuwera Abajulirwa ba Yakuwa “bwali buwanguzi bwa maanyi obwali butuukiddwako.”

Abantu abamu mu Russia baali balowooza nti ebyo ebyali byogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa byali bituufu era baatandika okubayigganya. Ab’oluganda abamu bwe baabanga babuulira abantu baabakubanga ebikonde abalala ne babasamba tteke. Okugeza, omusajja omu eyali aswakidde yagoba mwannyinaffe mu kizimbe n’amusamba mu mugongo n’agwa n’akubawo omutwe. Mwannyinaffe yafuna obuvune bw’amaanyi nnyo; kyokka poliisi teyavunaana musajja oyo eyamukuba. Abajulirwa abalala poliisi yabakwatanga, n’ebaggyako ebinkumu, n’ebakuba ebifaananyi, era n’ebasuza mu budduukulu. Bamaneja b’ebifo Abajulirwa bye baapangisanga okufuniramu enkuŋŋaana baagambibwa nti baali baakufiirwa emirimu gyabwe bwe bandigenze mu maaso n’okupangisa Abajulirwa ba Yakuwa ebifo ebyo. Mu kiseera kitono ebibiina bingi byali tebikyalina bifo wa kukuŋŋaanira. Ng’ekyokulabirako, waaliwo ebibiina 40 ebyali bikuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka bina ebyali ku kalina emu. Ekimu ku bibiina ebyo kyatandikanga olukuŋŋaana lw’Emboozi ya Bonna ku ssaawo emu n’ekitundu ez’oku makya. Omulabirizi omu atambula yagamba nti, “Ab’oluganda okusobola okutuuka mu budde, kyali kibeetaagisa okuzuukuka ku ssaawa nga kkumi n’emu ez’oku makya, era ekyo baakikola okumala ebbanga erisukka mu mwaka.”

“BUBE OBUJULIRWA”

Abajulirwa baali baagala okulaga nti kkooti z’omu Moscow okulagira omulimu gwabwe guwerebwe kyali kimenya mateeka. Bwe kityo mu Ddesemba 2004, bappuliida baffe baajulira mu kkooti ya Bulaaya eyitibwa European Court of Human Rights. (Laba akasanduuko “Lwaki Omusango Gwekenneenyezebwa mu Bufalansa?” ku lupapula 6.) Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga, nga Jjuuni 10, 2010, kkooti ya Bulaaya yasalawo nti Abajulirwa ba Yakuwa tebaalina musango gwonna!e Kkooti eyo yagamba nti ebyo byonna ebyali biboogeddwako tebyaliko mutwe na magulu. Era yagamba nti gavumenti ya Russia yali erina okulekera awo okutulugunya abajulirwa ba Yakuwa era n’okutereeza ebyo ebyasoba.​—Laba akasanduuko “Ebyo Kkooti Bye Yasalawo,” ku lupapula 8.

Kkooti yagamba nti endagaano eyakolebwa eyitibwa European Convention on Human Rights erwanirira eddembe ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’okusinza, si mu Russia mwokka wabula ne mu mawanga amalala 46 agali mu kibiina ekikola ku ddembe ly’obuntu mu Bulaaya. Tewali kubuusabuusa nti abayizi abasoma amateeka, abalamuzi, abo abakola amateeka, n’abantu abalwanirira eddembe ly’obuntu okwetooloola ensi yonna bajja kwagala okumanya ebyo kkooti ya Bulaaya bye yasalawo. Lwaki? Kubanga abalamuzi bwe baali basala omusango ogwo, baajuliza ebyo bye baali baasalawo emabegako ku misango munaana Abajulirwa ba Yakuwa gye baawangula. Era baajuliza n’emisango emirala mwenda Abajulirwa ba Yakuwa gye baawangula mu kkooti enkulu ez’omu Amerika, Argentina, Bungereza, Canada, Japan, Russia, South Africa, ne Spain. Kati Abajulirwa ba Yakuwa bonna okwetooloola ensi basobola okukozesa ebyo ebyasalibwawo kkooti ya Bulaaya okulwanirira eddembe lyabwe ery’okusinza.

Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali n’eri amawanga.” (Mat. 10:18) Omusango guno ogwakulungula emyaka 15 gwawa baganda baffe akakisa okumanyisa erinnya lya Yakuwa mu Moscow ne mu bitundu by’ensi ebirala. Byonna ebyaliwo mu kiseera ekyo byasobozesa “obujulirwa” obw’amaanyi okuweebwa era ekyo kyayamba “amawulire amalungi okubunyisibwa.” (Baf. 1:12) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba babuulira mu Moscow abantu batera okubabuuza, “Naye mmwe tebaabawera?” Ekyo kitera okuwa baganda baffe akakisa okubannyonnyola ebisingawo ebikwata ku nzikiriza yaffe. Kyeyoleka kaati nti tewali muntu yenna oba kintu kyonna kisobola kutulemesa kweyongera kubuulira mawulire amalungi ag’Obwakabaka. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kwongera okuwa omukisa n’okunyweza baganda baffe abeesigwa ab’omu Russia.

[Obugambo obuli wansi]

a Omusango ogwo gwaggulwawo nga Apuli 20, 1998. Nga waakayita wiiki bbiri zokka, nga Maayi 5, Russia yakkiriza okussa omukono ku ndagaano y’ekibiina kya Bulaaya ekikola ku ddembe ly’obuntu ekiyitibwa European Convention on Human Rights.

b “Ekkereziya y’Abasoddookisi mu Russia ye yasaba gavumenti okuteekawo etteeka eryo olw’okwagala okusigaza obuwagizi bw’erina mu Russia n’okulaba nti Abajulirwa ba Yakuwa bawerebwa.”​​—Associated Press, Jjuuni 25, 1999.

c Ku olwo lwennyini lwe gyali giweze emyaka kkumi bukya gavumenti ya Russia eyisa ekiwandiiko ekiraga nti gavumenti ya Soviet Union yatulugunya nnyo Abajulirwa ba Yakuwa olw’enzikiriza yaabwe.

d Ekyo kyali kitegeeza nti Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu Moscow baali tebakyalina kibiina kimanyiddwa mu mateeka kibakiikirira. Abalabe baali balowooza nti ekyo kyali kijja kuleetera baganda baffe okulekera awo okubuulira.

e Nga Noovemba 22, 2010, abalamuzi bataano abali ku ddaala erisingayo okuba erya waggulu mu kkooti ya Bulaaya baagaana okukkiriza okusaba kwa gavumenti ya Russia eyali eyagala omusango ogukwata ku Bajulirwa guddemu okuwulirwa. Ekyo kyalaga nti ebyo ebyali bisaliddwawo kkooti eyo nga, Jjuuni 10, 2010, byali bya nkomeredde era bisaanidde okukolerwako.

[Akasanduuko/​kifaananyi ku lupapula 6]

Lwaki Omusango Gwekenneenyezebwa mu Bufalansa?

Nga Febwali 28, 1996, Russia yassa omukono ku ndagaano eyitibwa European Convention on Human Rights. (Nga Maayi 5, 1998, Russia yatongoza endagaano eyo.) Mu kussa omukono ku ndagaano eyo, gavumenti ya Russia yalaga nti abantu baayo balina

‘eddembe ly’okusinza mu maka gaabwe ne mu lujjudde era nti balina eddembe okukyusa eddiini bwe baba baagadde.’​—Akatundu 9.

‘eddembe okwogera n’okuwandiika mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa ebyo bye baba balowooza era n’okutuusa obubaka ku bantu abalala.’​​—Akatundu 10.

‘eddembe okukuŋŋaana awamu kasita baba nga tebatabangudde mirembe.’​​—Akatundu 11.

Abantu oba ebibiina singa bawulira nti ebyo ebiba bisaliddwawo bikontana n’ebyo ebiri mu ndagaano eno era nga bagezezaako okujulira mu kkooti zonna eziri mu nsi zaabwe naye ne bigaana, baba basobola okujulira mu kkooti ya Bulaaya eyitibwa European Court of Human Rights eri mu kibuga Strasbourg, ekya Bufalansa (Laba ekifaananyi waggulu). Kkooti eyo erina abalamuzi 47​—ng’omuwendo guno gwenkanankana n’ogw’amawanga agassa omukono ku ndagaano eyitibwa European Convention on Human Rights. Ebyo kkooti eyo by’esalawo, amawanga ago gaba galina okubikolerako. Amawanga agaateeka omukono ku ndagaano eyo galina okukkiriza byonna ebiba bisaliddwawo kkooti eyo.

[Akasanduuko akali ku lupapula 8]

Ebyo Kkooti Bye Yasalawo

Bino bye bimu ku bintu kkooti ya Bulaaya bye yasalawo.

Abajulirwa ba Yakuwa baali bavunaanibwa omusango gw’okusattulula amaka. Kkooti yalaga nti ekyo tekyali kituufu. Yagamba nti:

“Obuzibu buva ku ba mu maka gaabwe abatali bakkiriza abatali beetegefu kukkiriza na kussa kitiibwa mu ddembe lya bannaabwe ery’okusinza.”​​—Kat. 111.

Kkooti ya Bulaaya era teyafuna bujulizi bulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baggyako abantu eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Yagamba nti:

“Kkooti [z’omu Russia] zaalemererwa okuwaayo erinnya ly’omuntu wadde omu bw’ati eyakakibwa okukola ekintu ky’ateeyagalidde.”​​—Kat. 129.

Omusango omulala Abajulirwa ba Yakuwa gwe baali bavunaanibwa gwe gw’okuba nti bateeka obulamu bw’abagoberezi baabwe mu kabi nga babagaana okuteekebwako omusaayi. Naye kkooti yakiraga nti ekyo tekyali kituufu. Yagamba nti:

“Buli muntu alina eddembe okukkiriza oba okugaana enzijanjaba ezimu era wa ddembe okulonda enzijanjaba yonna gy’aba ayagadde. Okuva bwe kiri nti omuntu omukulu wa ddembe okukkiriza oba okugaana okulongoosebwa oba enzijanjaba endala yonna, bw’atyo wa ddembe okukkiriza oba okugaana okuteekebwako omusaayi.”​​—Kat. 136.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza