LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 9/15 lup. 20-24
  • Dduka Osobole Okufuna Ekirabo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Dduka Osobole Okufuna Ekirabo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Tweyambuleko Buli Ekizitowa Kyonna”
  • “Ekibi Ekitwezingako Amangu”
  • Engeri ‘gy’Osobola Okufunamu’ Ekirabo
  • Dduka Embiro z’Empaka n’Obugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • ‘Maliriza Embiro’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Abo Abaagala Yakuwa, “Tebaliiko Kibeesittaza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Weetikke by’Osobola Ebirala Obyeggyeko
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 9/15 lup. 20-24

Dduka Osobole Okufuna Ekirabo

“Mudduke mu ngeri eneebasobozesa okukifuna.”​—1 KOL. 9:24.

1, 2. (a) Kyakulabirako ki Pawulo kye yakozesa okuzzaamu Abakristaayo Abebbulaniya amaanyi? (b) Kiki Pawulo ky’atukubiriza okukola?

MU BBALUWA ye eri Abebbulaniya, omutume Pawulo yakozesa ekyokulabirako eky’embiro ez’empaka okuzzaamu Bakristaayo banne amaanyi. Yabajjukiza nti si be bokka abaali mu mbiro ez’obulamu. Waaliwo ‘n’ekibinja ekinene eky’abajulirwa’ ekyali kibeetoolodde, abaali badduse embiro ezo ne bazimalako bulungi. Okulowooza ku bikolwa by’abajulirwa abo eby’okukkiriza awamu n’okufuba okw’amaanyi kwe baayoleka, kyandiyambye Abakristaayo abo Abebbulaniya okweyongera okudduka n’obugumiikiriza embiro ez’empaka.

2 Mu kitundu ekyayita, twalaba ebyokulabirako by’abamu ku abo abali mu ‘kibinja ky’abajulirwa.’ Okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina kwabayamba okusigala nga beesigwa eri Katonda okutuukira ddala okufa. Badduka embiro z’empaka ne bazimalako. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kyabwe? Pawulo yagamba nti: “Ka tweyambuleko buli ekizitowa kyonna n’ekibi ekitwezingako amangu, era ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.”​—Beb. 12:1.

3. Kiki kye tuyigira ku ebyo Pawulo bye yayogera ku baddusi abeetabanga mu mizannyo gy’Abayonaani?

3 Nga kyogera ku mbiro z’empaka, ogumu ku mizannyo egyanyumiranga ennyo abantu mu biseera by’edda, ekitabo ekiyitibwa Backgrounds of Early Christianity kigamba nti “Abayonaani beetendekanga bali bwereere era baddukanga bali bwereere.”a Abaddusi abeetabanga mu mizannyo gy’Abayonaani, beggyangako buli kintu kyonna ekizitowa ekyali kisobola okubalemesa okudduka obulungi. Wadde nga leero okudduka obwereere kiyinza okulabika ng’ekitasaana era ekyesisiwaza, ekyo baakikolanga basobole okuwangula ekirabo. Pawulo yali alaga nti okusobola okufuna ekirabo mu mbiro ez’obulamu, abaddusi mu mbiro ezo kibeetaagisa okweggyako ebizitowa byonna. Amagezi ago gaali malungi nnyo eri Abakristaayo Abebbulaniya, era malungi nnyo gye tuli leero. Bintu ki ebiyinza okutuzitooweerera nga tudduka embiro ez’obulamu ne bitulemesa okufuna ekirabo?

“Tweyambuleko Buli Ekizitowa Kyonna”

4. Bintu ki abantu bye baali beemaliddeko mu kiseera kya Nuuwa?

4 Pawulo yagamba nti: “Tweyambuleko buli ekizitowa kyonna.” Ebizitowa ebyo bizingiramu ekintu kyonna ekisobola okutulemesa okwemalira ku mbiro ez’obulamu oba ekiyinza okutulemesa okukola kyonna ekisoboka okuzimalako. Ebimu ku bintu ebyo bye biruwa? Yesu atuyamba okubitegeera. Yayogera ku kiseera kya Nuuwa, omu ku bantu abaalina okukkiriza Pawulo be yayogerako. Yagamba nti: “Nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu nnaku z’Omwana w’omuntu.” (Luk. 17:26) Kyo kituufu nti ebigambo ebyo biraga nti abantu ababi bajja kuzikirizibwa nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa. Naye okusingira ddala Yesu yali alaga nti abantu b’omu kiseera kyaffe bandibadde beeyisa ng’abantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa. (Soma Matayo 24:37-39.) Abantu abasinga obungi mu kiseera kya Nuuwa baali tebaagala kumanya bikwata ku Katonda wadde okukola by’ayagala. Bintu ki ebyali bibawugudde? Ebintu ebya bulijjo​—okulya, okunywa, n’okuwasa oba okufumbirwa. Nga Yesu bwe yagamba, ‘tebeefiirayo.’

5. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okudduka obulungi embiro ez’empaka ne tuzimalako?

5 Okufaananako Nuuwa n’ab’omu maka ge, naffe tuba n’eby’okukola bingi buli lunaku. Tulina okukola okusobola okufuna ssente era tulina okwerabirira awamu n’ab’omu maka gaffe. Ekyo kisobola okututwalira ebiseera bingi n’amaanyi mangi. Ate bwe tuba n’obuzibu bw’eby’enfuna, ekyo kiyinza okutuleetera okweraliikirira engeri gye tunaafunamu ebyetaago byaffe eby’omubiri. Ate era olw’okuba twewaayo eri Yakuwa, tulina n’obuvunaanyizibwa obulala. Tulina okubuulira, okutegeka enkuŋŋaana n’okuzibeeramu, okwesomesa n’okusinziza awamu ng’amaka. Wadde nga Nuuwa yalina eby’okukola bingi ng’aweereza Katonda, yakola ebintu byonna nga Katonda bwe yamulagira. (Lub. 6:22) Bwe tuba twagala okudduka obulungi embiro z’empaka ez’Ekikristaayo, twetaaga okwewala ebintu ebizitowa ebiteetaagisa ebiyinza okutulemesa okuzimalako.

6, 7. Bigambo ki Yesu bye yayogera bye tusaanidde okujjukiranga?

6 Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti tweyambuleko “buli ekizitowa kyonna”? Yali tategeeza nti tweggyeko obuvunaanyizibwa bwonna bwe tulina. Ku nsonga eno, lowooza ku bigambo bya Yesu bino: “Temweraliikiriranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ Ebintu bino byonna amawanga bye geemalirako. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga.” (Mat. 6:31, 32) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti n’ebintu ebikulu mu bulamu, gamba ng’eby’okulya n’eby’okwambala bisobola okutufuukira ebintu ebizitowa singa bye tukulembeza mu bulamu bwaffe.

7 Weetegereze ebigambo bya Yesu bino: “Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga.” Kino kiraga nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, ajja kukola ku byetaago byaffe. Kya lwatu nti ebigambo “ebintu bino byonna” tebitegeeza nti twandibadde n’ebintu byonna bye twagala. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yatugamba obuteeraliikirira ne bwe kituuka ku bintu bye twetaaga mu bulamu kubanga bwe tweraliikirira tuba ng’abantu ab’amawanga abeemalidde ku bintu ebyo. Lwaki kya kabi okweraliikirira bwe kituuka ku bintu bye twetaaga mu bulamu? Yesu yagamba nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya, ku kunywa, n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku olwo luleme kubagwako bugwi ng’ekyambika.”​—Luk. 21:34, 35.

8. Lwaki tulina ‘okweyambulako buli ekizitowa kyonna’ kati?

8 Tunaatera okutuuka ku kaguwa awamalirwa. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kumalako mbiro zaffe. Eyo ye nsonga lwaki tulina okweggyako buli ekizitowa kyonna n’okuba abamativu n’ebintu bye tulina. Ebigambo bya Pawulo bino bya makulu nnyo gye tuli: “Okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba.” (1 Tim. 6:6) Okukolera ku bigambo bya Pawulo ebyo, kijja kutuyamba okudduka obulungi embiro zaffe tusobole okufuna ekirabo.

“Ekibi Ekitwezingako Amangu”

9, 10. (a) Ebigambo “ekibi ekitwezingako amangu” birina makulu ki? (b) Kiki ekiyinza okutuuka ku kukkiriza kw’Omukristaayo?

9 Pawulo era yalaga ekintu ekirala kye tulina okweyambulako. Yagamba nti tulina okweyambulako “ekibi ekitwezingako amangu.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ekitwezingako amangu” kirabika omulundi gumu gwokka mu Bayibuli, mu lunyiriri luno mwokka. Omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Albert Barnes yagamba nti omuddusi mu biseera by’edda yeewalanga nnyo okwambala engoye ezaali zisobola okwezinga ku magulu ge ne zimulemesa okudduka obulungi. Era yagamba nti, mu ngeri y’emu, Omukristaayo tasaanidde kukkiriza kintu kyonna kumulemesa kudduka mbiro ez’obulamu. Omukristaayo tasaanidde kukkiriza kintu kyonna kumwezingako, kwe kugamba, okuleetera okukkiriza kwe okunafuwa oba okuggwerawo ddala. Okukkiriza kw’Omukristaayo kuyinza kutya okuggwaawo?

10 Okukkiriza kw’Omukristaayo tekuggwaawo mu lunaku lumu lwokka. Kuyinza okugenda nga kunafuwa mpolampola, oboolyawo nga takitegedde na kukitegeera. Mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, Pawulo yabalabula ku kabi ako. Yabakubiriza okwegendereza baleme “kuwaba” okuva mu kukkiriza era baleme ‘kufuna mutima mubi ogutalina kukkiriza.’ (Beb. 2:1; 3:12) Singa engoye z’omuddusi zeezinga ku magulu ge, ebiseera ebisinga obungi yeesanga agudde. Bwe kityo, omuddusi alina okukimanya nti waliwo engoye z’atasaanidde kuddukiramu. Naye kiki ekiyinza okuleetera omuddusi obuteefiirayo ku nsonga eyo? Buyinza okuba obulagajjavu, okwekakasa ekisukkiridde, oba wayinza okubaawo ebimuwugula. Ebigambo bya Pawulo ebyo bituyigiriza ki?

11. Bintu ki ebiyinza okuleetera okukkiriza kwaffe okuggwaawo?

11 Tusaanidde okukijjukira nti ebintu Omukristaayo by’akola bye biyinza okuleetera okukkiriza kwe okuggwaawo. Omwekenneenya wa Bayibuli omulala naye yayogera ku ‘kibi ekitwezingako amangu.’ Yagamba nti embeera gye tubaamu, abantu be tukolagana nabo, n’okwegomba kwaffe okubi birina kinene nnyo kye bisobola okutukolako. Ebintu ebyo bisobola okuleetera okukkiriza kwaffe okunafuwa oba okuggwerawo ddala.​—Mat. 13:3-9.

12. Kulabula ki kwe tulina okukolerako bwe tuba ab’okukuuma okukkiriza kwaffe?

12 Okumala emyaka mingi, omuddu omwesigwa era ow’amagezi abadde atulabula okwegendereza ebintu bye tulaba ne bye tuwuliriza, kubanga ebintu ebyo birina kinene kye bikola ku mitima gyaffe ne ku birowoozo byaffe. Era abadde atulabula ku kabi akali mu kululunkanira ssente n’ebintu. Singa twemalira ku by’okwesanyusaamu eby’ensi eno oba singa twagala okugula buli kintu ekiba ku mulembe, ekyo kiyinza okutuleetera okulagajjalira ebintu ebisinga obukulu. Kiba kya kabi obutafaayo ku kulabula ng’okwo nga tulowooza nti kutukugira nnyo. Tetusaanidde kulowooza nti tulina okukkiriza kwa maanyi nnyo era nti okulabula okwo ffe tekutukwatako, kukwata ku balala. Sitaani akozesa endowooza z’ensi n’okwegomba kwayo okutuleetera okusambajja okulabula okwo. Tayagala tumaleko mbiro ez’obulamu. Obulagajjavu, okwekakasa ekisukkiridde, oba okuwugulibwa ebintu by’ensi kiviiriddeko okukkiriza kw’abamu okuggwaawo. Ekyo bwe kitutuukako, kisobola okutuleetera okufiirwa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.​—1 Yok. 2:15-17.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okulowooza ng’abantu b’ensi?

13 Buli lunaku, abantu abali mu nsi ya Sitaani bagezaako okutuleetera okulowooza nga bo, okweyisa nga bo, n’okuba n’ebiruubirirwa ng’ebyabwe. (Soma Abeefeso 2:1, 2.) Naye tebasobola kututwaliriza okuggyako ng’ekyo naffe tukikkirizza. Endowooza y’abantu b’ensi, Pawulo yagigeraageranya ku ‘mpewo’ etwetoolodde. Naye endowooza eyo eringa empewo ey’obutwa. Tusaanidde okufuba okulaba nti tetussa mpewo eyo, tuleme okuziyira, ekintu ekiyinza okutulemesa okumalako embiro ez’obulamu. Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tudduka embiro ez’obulamu? Okukoppa ekyokulabirako kya Yesu, omuntu eyasingayo okudduka obulungi embiro ez’obulamu n’azimalako. (Beb. 12:2) Ate era tulina n’ekyokulabirako kya Pawulo. Yadduka embiro z’obulamu era n’akubiriza bakkiriza banne okumukoppa.​—1 Kol. 11:1; Baf. 3:14.

Engeri ‘gy’Osobola Okufunamu’ Ekirabo

14. Eky’okumalako embiro ez’obulamu, Pawulo yakitwala atya?

14 Eky’okumalako embiro ez’obulamu, Pawulo yakitwala atya? Bwe yali ayogera n’abakadde b’omu Efeso omulundi ogwasembayo, Pawulo yagamba nti: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita ntuukiriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu.” (Bik. 20:24) Yali mwetegefu okwefiiriza buli kimu, nga mw’otwalidde n’obulamu bwe, okusobola okumalako embiro z’empaka. Pawulo yali akitwala nti okufuba kwe kwonna mu kubuulira amawulire amalungi kwandibadde kwa bwereere bw’atandimazeeko mbiro ez’obulamu. Yeewala okwekakasa ekisukkiridde; teyakitwala nti ekirabo yali amaze okukifuna. (Soma Abafiripi 3:12, 13.) Kyokka, bwe yali anaatera okufa, yali asobola okugamba nti: “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye.”​—2 Tim. 4:7.

15. Kiki Pawulo kye yakubiriza baddusi banne okukola?

15 Pawulo yali ayagala ne Bakristaayo banne badduke embiro bazimaleko. Ng’ekyokulabirako, yakubiriza Abakristaayo ab’omu Firipi okukolerera ennyo obulokozi bwabwe. Yabakubiriza ‘okunywerera ku kigambo eky’obulamu.’ Yagattako nti: “Nsobole okuba ne kye nneenyumiririzaamu mu lunaku lwa Kristo, nti saddukira bwereere era saafubira bwereere.” (Baf. 2:16) Mu ngeri y’emu, yagamba Abakristaayo b’omu Kkolinso nti: “Mudduke mu ngeri eneebasobozesa [okufuna ekirabo].”​—1 Kol. 9:24.

16. Lwaki tusaanidde okukuumira ebirowoozo byaffe ku kirabo eky’obulamu?

16 Mu mbiro empanvu, omuddusi bw’aba atandika okudduka, aba talengera kaguwa awamalirwa. Naye bw’aba adduka, ebirowoozo bye aba abitadde ku kaguwa ako ng’akimanyi nti buli lwe yeeyongera okudduka, yeeyongera okukasemberera. Era bw’akimanya nti anaatera okutuuka awamalirwa, aba mumalirivu okumalako empaka ezo. Bwe kityo bwe kisaanidde okuba ne ku mbiro ez’obulamu ze tudduka. Ebirowoozo byaffe tusaanidde okubikuumira ku kirabo eky’obulamu. Ekyo kijja kutuyamba okuba abamalirivu okumalako embiro z’empaka tusobole okufuna ekirabo eky’obulamu.

17. Okukkiriza kutuyamba kutya okukuumira ebirowoozo byaffe ku kirabo eky’obulamu?

17 Pawulo yawandiika nti: “Okukkiriza kwe kulindirira n’obwesige ebintu ebisuubirwa, kwe kuba abakakafu ddala ku bintu wadde nga tebinnalabibwa.” (Beb. 11:1) Ibulayimu ne Saala baali beetegefu okuleka obulamu obulungi bwe baalimu ne bafuuka ‘abagenyi era abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.’ Kiki ekyabayamba okukola ekyo? “[Ebisuubizo bya Katonda] baabirengerera wala.” Musa yagaana ‘essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera n’obugagga bw’e Misiri.’ Kiki ekyamuyamba okuba n’okukkiriza n’obumalirivu okukola ekyo? “Yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa.” (Beb. 11:8-13, 24-26) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Pawulo yakozesa ebigambo “olw’okukkiriza,” bwe yali atandika okwogera ku buli omu ku bantu abo. Okukkiriza kwabayamba obutamalira birowoozo byabwe ku mbeera enzibu ze baalimu naye ne babiteeka ku ebyo Katonda bye yali abakoledde n’ebyo bye yali agenda okubakolera mu biseera eby’omu maaso.

18. Kiki ekisobola okutuyamba okweyambulako “ekibi ekitwezingako amangu”?

18 Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza aboogerwako mu Abebbulaniya essuula 11 era ne tufuba okubakoppa, tujja kusobola okuba n’okukkiriza era tujja kusobola okweyambulako “ekibi ekitwezingako amangu.” (Beb. 12:1) Ate era okukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaffe abafuba okuzimba okukkiriza kwabwe, kisobola okuyamba ‘buli omu ku ffe okulowoozanga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’​—Beb. 10:24.

19. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okudduka embiro ez’obulamu leero?

19 Tunaatera okutuuka ku nkomerero y’embiro zaffe. Tuyinza n’okugamba nti akaguwa awamalirwa tukalengera. Olw’okuba tulina okukkiriza okw’amaanyi era tulina obuyambi bwa Yakuwa, tusobola ‘okweyambulako buli ekizitowa kyonna n’ekibi ekitwezingako amangu.’ Yee, tusobola okudduka mu ngeri eneetusobozesa okufuna ekirabo Kitaffe, Yakuwa, ky’atusuubizza.

[Obugambo obuli wansi]

a Kino kyesisiwazanga nnyo Abayudaaya abaaliwo mu kiseera ekyo. Ekitabo kya 2 Makabbiizi kigamba nti Abayudaaya bangi baanyiiga nnyo, kabona asinga obukulu Jason eyali afuuse kyewaggula bwe yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ekizimbe abazannyi b’emizannyo mwe bandyetendekedde ekifaananako eky’Abayonaani.—2 Maka. 4:7-17.

Okyajjukira?

• Tuyinza tutya okweyambulako “buli ekizitowa kyonna”?

• Kiki ekiyinza okuleetera okukkiriza kw’Omukristaayo okuggwaawo?

• Lwaki tusaanidde okukuumira ebirowoozo byaffe ku kirabo eky’obulamu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

“Ekibi ekitwezingako amangu” kye kiruwa, era kiyinza kitya okutwezingako?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share