Abo Abaagala Yakuwa, “Tebaliiko Kibeesittaza”
“Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; so tebaliiko kibeesittaza.”—ZAB. 119:165.
1. Ekyokulabirako ky’omuddusi omu kiraga kitya nti tetusaanidde kulekulira?
OKUVIIRA ddala mu myaka gye egy’obutiini, Mary Decker yali amanyiddwa ng’omuddusi omulungi ennyo. Abantu abasinga obungi baali basuubira nti ye yali agenda okuwangula omudaali gwa zzaabu mu misinde egya mita 3,000 mu mpaka za Olympics ezaaliwo mu 1984. Kyokka, teyasobola kumalako misinde egyo. Bwe baali badduka, Mary yeekoona ku muddusi munne n’agwa. Yafuna ebisago era ne bamuggya mu kisaawe. Kyokka Mary eby’okudduka teyabivaako. Waali tewannayita na mwaka, Mary n’addamu okudduka emisinde egy’empaka era n’awangula empaka z’abakazi ezaaliwo mu 1985 era n’amenya likodi.
2. Mbiro ki Abakristaayo ab’amazima ze balimu, era kiruubirirwa ki kye tusaanidde okuba nakyo?
2 Ffenna Abakristaayo tuli mu mbiro ez’akabonero. Tusaanidde okudduka embiro ezo n’ekiruubirirwa eky’okuziwangula. Embiro ze tudduka si za kafubutuko. Ate si za kudduka mpolampola nga bwe tugenda tuyimiriramu. Mu kifo ky’ekyo, embiro ze tulimu ziyinza okugeraageranyizibwa ku mbiro empanvu ezeetaagisa abaddusi okuba abagumiikiriza. Bwe yali awandiikira Abakristaayo abaali mu Kkolinso, ekibuga ekyateranga okubaamu empaka z’okudduka, omutume Pawulo yagamba nti: “Temumanyi nti abaddusi mu mbiro ez’empaka bonna badduka naye omu yekka y’afuna ekirabo? Mudduke mu ngeri eneebasobozesa okukifuna.”—1 Kol. 9:24.
3. Baani abasobola okuwangula embiro ez’obulamu obutaggwaawo?
3 Bayibuli etugamba okudduka embiro zino ez’akabonero. (Soma 1 Abakkolinso 9:25-27.) Ekirabo abaddusi kye bawangula bwe bulamu obutaggwaawo. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ba kubufunira mu ggulu ate bo abaddusi abalala ba kubufunira ku nsi. Obutafaananako mbiro z’empaka ezisinga obungi, abaddusi bonna abali mu mbiro zino basobola okufuna ekirabo singa bagumiikiriza ne bazimalako. (Mat. 24:13) Ekintu kyokka ekiyinza okulemesa omuddusi okufuna ekirabo bwe butagoberera mateeka ga mbiro zino oba okulemererwa okuzimalako. Zino ze mbiro zokka omuntu mw’ayinza okufunira ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.
4. Lwaki si kyangu kudduka mbiro ez’obulamu ne tuzimalako?
4 Si kyangu kudduka mbiro ez’obulamu ne tuzimalako. Ffenna twetaaga okwefuga n’okuba abamalirivu okusobola okumalako embiro ezo. Yesu Kristo ye muntu yekka eyasobola okumalako embiro ezo nga teyeesittadde. Naye omuyigirizwa Yakobo yagamba nti abagoberezi ba Kristo ‘emirundi mingi bonna basobya.’ (Yak. 3:2) Ekyo kituufu ddala! Obutali butuukirivu bwaffe oba obutali butuukirivu bw’abalala ffenna busobola okutuleetera okwesittala ne tukendeeza sipiidi kwe tuddukira oba buyinza n’okutuleetera okugwa. Naye bwe tugwa, tusobola okuyimuka ne tuddamu okudduka. Abamu ekigwo kye bagwa kiba kya maanyi nnyo ne kiba nti baba beetaaga okuyambibwa okusituka basobole okuddamu okudduka embiro ez’obulamu. Mu butuufu, ffenna tusobola okwesittala okumala akaseera oba emirundi egiwerako.—1 Bassek. 8:46.
Singa ogwa, kkiriza okukuyamba oyimuke oddemu okudduka
BWE WEESITTALA, TOVA MU MBIRO
5, 6. (a) Mu ngeri ki Omukristaayo ‘gy’ataliiko kimwesittaza,’ era bwe yeesittala kiki ekiyinza okumuyamba ‘okuyimuka’? (b) Lwaki abamu bwe beesittala balemererwa okuyimuka?
5 Oyinza okuba ng’otera okukozesa ebigambo “okwesittala” oba “okugwa” ng’oyogera ku mbeera y’omuntu ey’eby’omwoyo. Mu Bayibuli, ebigambo ebyo oluusi biba n’amakulu ge gamu. Ng’ekyokulabirako, Engero 24:16 wagamba nti: “Omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n’ayimuka nate: naye ababi obuyinike bubasuula [“bubaleetera okwesittala,” NW].”
6 Abo abeesiga Yakuwa bwe beesittala oba bwe bagwa, Yakuwa asobola okubayamba okuyimuka. Bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba nga tufunye ebizibu oba nga tukoze ensobi. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba ‘okuyimuka’ tusobole okweyongera okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Ng’ekyo kizzaamu nnyo amaanyi abo bonna abaagala Yakuwa! Ababi bwe bagwa tebaagala kuyimuka. Tebakkiriza buyambi Katonda bw’awa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu ne mu bantu be. Ku luuyi olulala, abo ‘abaagala amateeka ga Yakuwa,’ tebaliiko kintu kiyinza kubeesittaza ne kibaleetera okuva mu mbiro ez’obulamu.—Soma Zabbuli 119:165.
7, 8. Omuntu ayinza atya ‘okugwa’ naye n’asigala ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda?
7 Oluusi omuntu ayinza okukola ensobi etali ya maanyi olw’okuba alina obunafu obw’engeri emu oba endala. Ayinza n’okukola ensobi y’emu enfunda n’enfunda. Naye omuntu oyo ayinza okusigala ng’abalibwa ng’omutuukirivu mu maaso ga Yakuwa singa ‘ayimuka’ buli lw’agwa, kwe kugamba, singa yeenenya mu bwesimbu era n’afuba okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa. Kino tukirabira ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’Abaisiraeri. (Is. 41:9, 10) Ensonga enkulu eri mu Engero 24:16, lwe tulabye waggulu, si kulaga nti omuntu “agwa,” wabula kulaga nti Katonda waffe omusaasizi asobola okuyamba omuntu aba agudde ‘okuyimuka.’ (Soma Isaaya 55:7.) Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bakakafu nti tujja kweyongera okukola ekituufu, era bwe twesittala oba bwe tugwa batukubiriza ‘okuyimuka.’—Zab. 86:5; Yok. 5:19.
8 Omuntu bw’aba ng’adduka embiro empanvu ne yeesittala oba n’agwa, asobola okuzimalako singa asitukawo mangu n’addamu okudduka. Tetumanyi ‘lunaku na kiseera’ embiro ez’obulamu obutaggwaawo lwe zinaakomekerezebwa. (Mat. 24:36) Wadde kiri kityo, singa tufuba okwewala okwesittala, kijja kutwanguyira okudduka embiro ez’obulamu tuzimaleko. Kati olwo tuyinza tutya okwewala okwesittala?
EBINTU EBIYINZA OKUTULEETERA OKWESITTALA
9. Bintu ki ebiyinza okutuleetera okwesittala bye tugenda okwetegereza?
9 Kati ka twetegereze ebintu bitaano ebiyinza okutuleetera okwesittala: obunafu bwaffe, okwegomba okw’omubiri, bakkiriza bannaffe bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, okubonaabona oba okuyigganyizibwa, awamu n’obutali butuukirivu bw’abalala. Bwe weesittala, kijjukire nti Yakuwa mugumiikiriza nnyo era tajja kwanguwa kukutwala ng’omuntu atali mwesigwa.
10, 11. Bunafu ki Dawudi bwe yalina?
10 Obunafu bwaffe buyinza okugeraageranyizibwa ku mayinja agali mu luguudo abantu mwe baddukira. Kabaka Dawudi n’omutume Peetero bombi baalina obunafu. Dawudi oluusi yalemererwanga okwefuga, ate ye omutume Peetero yalina ekizibu ky’okutya abantu.
11 Lumu Kabaka Dawudi yalemererwa okwefuga n’ayenda ku Basuseba. Ate olulala Nabbali bwe yamunyiiza, Dawudi yabulako katono okumutta. Wadde ng’oluusi Dawudi yalemererwanga okwefuga, teyalekera awo kufuba kusanyusa Yakuwa. Ebiseera ebimu Dawudi bwe yeesittalanga oba bwe yagwanga, abantu abalala baamuyambanga okuyimuka.—1 Sam. 25:5-13, 32, 33; 2 Sam. 12:1-13.
12. Wadde ng’ebiseera ebimu Peetero yakolanga ensobi, kiki ekyamuyamba okweyongera okudduka embiro ez’obulamu?
12 Wadde ng’ebiseera ebimu Peetero yakolanga ensobi ez’amaanyi olw’okutya abantu, yasigala nga mwesigwa eri Yesu n’eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lumu yeegaana Yesu emirundi esatu miramba. (Luk. 22:54-62) Ku mulundi omulala, Peetero yalemererwa okweyisa ng’Omukristaayo bwe yayisa bakkiriza banne Ab’amawanga mu ngeri eraga nti baali ba wansi ku Bakristaayo Abayudaaya abaali abakomole. Naye omutume Pawulo yali akimanyi nti Abakristaayo tebasaanidde kusosolagana. Peetero kye yali akoze kyali kikyamu. Bwe kityo, okusobola okutangira obusosoze okusaasaana mu kibiina, Pawulo yasalawo okunenya Peetero maaso ku maaso. (Bag. 2:11-14) Ekyo kyaleetera Peetero okunyiiga n’alekera awo okudduka embiro ez’obulamu? Nedda. Peetero yassaayo omwoyo ku ebyo Pawulo bye yamugamba, n’abikolerako, era ne yeeyongera okudduka embiro ez’obulamu.
13. Obulwadde buyinza butya okutuleetera okwesittala?
13 Ebiseera ebimu obulwadde buyinza okutuleetera okwesittala. Buyinza n’okutuleetera okuggwamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bwe waali waakayita emyaka 17 bukya mwannyinaffe omu abeera mu Japan abatizibwa, yafuna obulwadde obw’amaanyi. Olw’okuba ebirowoozo bye byonna yatandika okubimalira ku bulwadde bwe, mwannyinaffe oyo yaddirira mu by’omwoyo era n’alekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Abakadde babiri baamukyalira. Bye baayogera naye byamuzzaamu nnyo amaanyi era n’addamu okugenda mu nkuŋŋaana. Mwannyinaffe oyo agamba nti, “Ku lunaku lwe nnaddamu okugenda mu nkuŋŋaana, ab’oluganda bansanyukira nnyo era ekyo kyankwatako nnyo ne nkaaba n’amaziga.” Mwannyinaffe oyo yaddamu okudduka embiro ez’obulamu.
14, 15. Bwe tufuna okwegomba okubi, kiki kye tulina okumalirira okukola? Waayo ekyokulabirako.
14 Okwegomba okw’omubiri kuleetedde abantu bangi okwesittala. Bwe tukemebwa okukola ebyo omubiri bye gwegomba, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tusigala nga tuli bayonjo mu birowoozo, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. Yesu yagamba nti tulina ‘okusuula’ ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okwesittala, ka gabe maaso gaffe oba emikono gyaffe. Ekyo kitegeeza nti tulina okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu era tetulina na kubirowoozaako.—Soma Matayo 5:29, 30.
15 Okuviira ddala mu buto, ow’oluganda omu yali awulira nga yeegomba okulya ebisiyaga. Wadde nga yakulira mu maka Makristaayo, ow’oluganda oyo yagamba nti yali awulira ng’aliko ekikyamu era ng’awulira nti talina w’agya. We yawereza emyaka 20, ow’oluganda oyo yali aweereza nga payoniya era nga muweereza mu kibiina. Kyokka yakola ensobi ey’amaanyi, n’akangavvulwa, era abakadde ne bamuyamba. Okusaba, okusoma Ekigambo kya Katonda, n’okufuba okuyamba abalala byamuyamba okusituka n’addamu okuweereza Yakuwa. Nga wayise emyaka egiwerako, yagamba nti: “Ebiseera ebimu ebirowoozo ebibi binzijira, naye sibikkiriza kundeetera kukola kibi. Nkirabye nti Yakuwa tasobola kuleka muntu kukemebwa kusukka ku busobozi bwe. N’olwekyo nzikiriza nti Katonda akimanyi nti nja kusobola okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali.” Ow’oluganda oyo awunzika ng’agamba nti: “Nkimanyi nti bwe nnaasigala nga ndi mwesigwa eri Katonda, ajja kumpa empeera mu nsi empya. Saagala kusubwa mpeera eyo! Nga bwe nnindirira ekiseera ekyo, nja kweyongera okufuba okukola ekituufu.” Ow’oluganda oyo mumalirivu okusigala mu mbiro ez’obulamu.
16, 17. (a) Kiki ekyayamba ow’oluganda omu eyali alowooza nti yali ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya okutereeza endowooza ye? (b) Okusobola okwewala okwesittala, kiki kye tusaanidde okujjukira?
16 Bakkiriza bannaffe bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya kiyinza okutuleetera okwesittala. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu mu Bufalansa, eyali aweereza ng’omukadde, yawulira nti yali ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya era n’anyiiga nnyo. N’ekyavaamu, yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira. Abakadde babiri baamukyalira era ne bamuwuliriza bulungi ng’ababuulira ekyo ekyali kimuluma. Abakadde abo baamukubiriza okubuulira Yakuwa ekizibu kye era ne bamulaga nti ekisinga obukulu kwe kukola ekyo ekisanyusa Yakuwa. Ow’oluganda oyo yakolera ku ebyo bye baamugamba era n’addamu okudduka embiro ez’obulamu.
17 Ffenna tusaanidde okukijjukira nti Yesu Kristo ye Mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo era tetusaanidde kukkiriza ebyo abantu abatatuukiridde bye bakola kutuleetera kwesittala. Yesu, oyo alina amaaso agali “ng’ennimi ez’omuliro,” alaba byonna ebigenda mu maaso mu kibiina n’okutusinga. (Kub. 1:13-16) Ng’ekyokulabirako, oluusi ffe tuyinza okulowooza nti ab’oluganda mu kibiina batuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya naye ng’ate ye Yesu akiraba nti ffe abakitegedde obubi. Yesu akola ku nsonga eba ezzeewo mu kibiina mu ngeri entuufu era mu kiseera ekituufu. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna mukkiriza munnaffe ky’aba akoze kutuleetera kwesittala.
18. Kiki ekiyinza okutuyamba okugumira ebizibu?
18 Okubonaabona oba okuyigganyizibwa n’obutali butuukirivu bwa bakkiriza bannaffe bye bintu ebirala ebiyinza okutuleetera okwesittala. Mu lugero lwe olw’omusizi, Yesu yagamba nti “okubonaabona oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo” kwandireetedde abantu abamu okwesittala. Abantu ‘abatalina mirandira’ oba abatali banywevu mu by’omwoyo bwe bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe, baliraanwa baabwe, oba ab’obuyinza, ekyo kiyinza okubaleetera okwesittala. (Mat. 13:21) Naye bwe tuba abamalirivu okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bujja kutuyamba okuba abanywevu mu kukkiriza. Bwe tufuna ebizibu, tusaanidde okufuba okulowooza ku bintu ebirungi. (Soma Abafiripi 4:6-9.) Yakuwa ajja kutuyamba okugumira ebizibu tuleme kwesittala.
Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kumalako mbiro ez’obulamu!
19. Bwe wabaawo omuntu atunyiizizza, kiki ekiyinza okutuyamba obuteesittala?
19 Kya nnaku nti abantu abamu bakkiriza obutali butuukirivu bw’abalala okubaleetera okulekera awo okudduka embiro ez’obulamu. Ate abalala beesittala abalala bwe bakola ebintu omuntu waabwe ow’omunda by’atabakkiriza kukola. (1 Kol. 8:12, 13) Omuntu bw’atunyiiza, ekyo tunaakikkiriza okutuleetera okwesittala? Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okulekera awo okusalira abalala omusango era ebakubiriza okusonyiwa abalala ne bwe kiba nti waliwo ensonga entuufu eyandibaleetedde okunyiiga. (Luk. 6:37) Bw’owulira nti waliwo akunyiizizza, weebuuze: ‘Kyandiba nti nsalira abalala omusango nga nsinziira ku ngeri nze gye njagala bakolemu ebintu? Nnakkiriza obutali butuukirivu bw’abalala okundeetera okulekera awo okudduka embiro ez’obulamu?’ Bwe tuba nga twagala Yakuwa tetujja kukkiriza ebyo abantu abalala bye bakola okutuleetera okulekera awo okudduka embiro ez’obulamu.
DDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA ERA WEEWALE OKWESITTALA
20, 21. Bwe kituuka ku mbiro ez’obulamu, kiki ky’omaliridde okukola?
20 Oli mumalirivu okudduka embiro ez’obulamu ozimaleko? (2 Tim. 4:7, 8) Bwe kiba bwe kityo, fuba okusoma Bayibuli awamu n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Fuba okunoonyereza n’okufumiitiriza ku by’osoma osobole okumanya ebintu ebiyinza okukuleetera okwesittala kikuyambe okubyewala. Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo. Era kijjukire nti singa weesittala oba singa ogwa, osobola okuyimuka ne weeyongera okudduka embiro ez’obulamu n’ozimalako. Ate era osobola okuyigira ku nsobi zo ne kikuyamba okudduka obulungi embiro ez’obulamu.
21 Bayibuli ekiraga bulungi nti bwe tuba twagala okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo, tulina okudduka embiro ez’obulamu ne tuzimalako. Abo bonna abali mu mbiro ez’obulamu, Yakuwa abawa “emirembe mingi.” (Zab. 119:165) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba mu kiseera kino era nti ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo singa tudduka embiro ez’obulamu ne tuzimalako.—Yak. 1:12.