Ebirimu
Maaki 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
APULI 29, 2013–MAAYI 5, 2013
Abo Abaagala Yakuwa, “Tebaliiko Kibeesittaza”
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 45, 32
MAAYI 6-12, 2013
Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 62, 60
MAAYI 13-19, 2013
Okuva Bwe Mumaze ‘Okumanya Katonda’—Musaanidde Kukola Ki?
OLUPAPULA 13 • ENNYIMBA: 81, 135
MAAYI 20-26, 2013
Yakuwa—Kifo Kyaffe eky’Okubeeramu
OLUPAPULA 19 • ENNYIMBA: 51, 95
MAAYI 27, 2013–JJUUNI 2, 2013
Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
OLUPAPULA 24 • ENNYIMBA: 27, 101
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Abo Abaagala Yakuwa, “Tebaliiko Kibeesittaza”
Ffenna Abakristaayo tuli mu mbiro, era ekirabo kye tukolerera bwe bulamu obutaggwaawo. Naye olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twesittala. Mu kitundu kino tujja kulaba ebintu bitaano ebiyinza okutuleetera okwesittala era tujja kulaba engeri gye tuyinza okwewala ebintu ebyo okutulemesa okumalako embiro ez’obulamu.
▪ Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
Waliwo ebintu bingi ebikwata ku mutima ebyogerwako mu kitabo kya Yeremiya. Ekitundu kino kijja kutuyamba okumanya kye kitegeeza okuba ‘n’omutima ogutali mukomole,’ era n’ensonga lwaki tusaanidde okwewala okuba n’omutima ng’ogwo. Ate era kijja kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuba ‘n’omutima ogumanyi’ Yakuwa?—Yer. 9:26; 24:7.
▪ Okuva Bwe Mumaze ‘Okumanya Katonda’—Musaanidde Kukola Ki?
Mitendera ki gye tuyitamu okumanya Katonda n’okumanyibwa Katonda? Lwaki tusaanidde okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo ne bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa, era ekyo tuyinza kukikola tutya? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
▪ Yakuwa—Kifo Kyaffe eky’Okubeeramu
Ensi gye tulimu tetwagala, naye ekyo tekirina kutuleetera kutya. Ekitundu kino kiraga nti Yakuwa Katonda waffe kye kifo kyaffe eky’okubeeramu omuli obukuumi.
▪ Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
Okumanya erinnya lya Katonda kitegeeza ki? Kitegeeza ki okutambulira mu linnya lya Katonda? Era Katonda atwala atya abo abatassa kitiibwa mu linnya lye? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
18 Budaabudibwa nga Naawe bw’Obudaabuda Abalala
29 Ddala Josephus Ye Yabiwandiika?
KU DDIBA: Finland erina olubalama lw’ennyanja oluwanvu n’ebizinga bingi. Era erina ennyanja nnyingi, naddala mu masekkati ne mu buvanjuba bwayo. Ababuulizi abamu abagenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, bakozesa amaato nga bagenda mu bitundu ebyo
FINLAND
ABANTU:
5,375,276
Buli Mujulirwa alina okubuulira abantu 283
BAPAYONIYA ABA BULIJJO:
1,824