LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 11/15 lup. 24-28
  • Yamba Abasajja Okukulaakulana mu by’Omwoyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abasajja Okukulaakulana mu by’Omwoyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okweyimirizaawo
  • Okutya Abantu
  • Okwenyooma
  • Yamba Abasajja Bangi Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa
  • Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okusalawo Okuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • ‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 11/15 lup. 24-28

Yamba Abasajja Okukulaakulana mu by’Omwoyo

“Okuva leero ojja kuvubanga bantu.”​—LUK. 5:10.

1, 2. (a) Kiki abasajja bangi kye baakolanga bwe baawulira nga Yesu abuulira? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

YESU n’abayigirizwa be baali bamaze ekiseera nga babuulira mu Ggaliraaya. Lumu baalinya eryato okugenda mu kifo awataali bantu okuwummulako. Naye abantu bangi baabagoberera nga batambuza bigere. Abo abajja ku olwo baali “abasajja ng’enkumi ttaano nga tobaliddeeko bakazi na baana.” (Mat. 14:21) Ku mulundi omulala, abantu bangi bajja eri Yesu nga baagala okuwonyezebwa n’okuwulira bye yali ayigiriza. Mu bantu abo mwalimu “abasajja enkumi nnya.” (Mat. 15:38) Kino kiraga nti mu bantu abajjanga eri Yesu nga baagala okuwulira bye yali ayigiriza mwabangamu n’abasajja bangi. Yesu yali akimanyi nti waliwo n’abasajja abalala bangi abandikkirizza amazima, kubanga bwe yamala okukola ekyamagero obutimba bw’abayigirizwa be ne bujjula ebyennyanja, yagamba omuyigirizwa we Simooni nti: “Okuva leero ojja kuvubanga bantu.” (Luk. 5:10) Yesu yali alaga nti omulimu gw’abayigirizwa be ogw’okubuulira gwandifaananyeeko omulimu gwabwe ogw’okuvuba. Yandibayambye okufuna abantu bangi abandikkirizza amazima. Mu bantu abo mwandibaddemu n’abasajja bangi.

2 Ne leero, waliwo abasajja bangi abakkiriza obubaka bwaffe era ne bakkiriza okuyiga Bayibuli. (Mat. 5:3) Naye era waliwo abasajja bangi abatandika okuyiga Bayibuli naye ne batakulaakulana mu by’omwoyo. Tuyinza tutya okubayamba? Wadde nga Yesu teyateekawo kaweefube wa njawulo kunoonya basajja, yayogera ku bintu bingi ebyali byeraliikiriza abasajja abaaliwo mu kiseera kye. Tugenda kulaba engeri Yesu gye yayambamu abasajja era n’engeri gye tusobola okumukoppa. Tugenda kulaba ebintu bisatu ebiremesa abasajja leero okuyiga amazima: (1) okweyimirizaawo, (2) okutya abantu, (3) okwenyooma.

Okweyimirizaawo

3, 4. (a) Bintu ki abasajja bangi bye basinga okutwala ng’ebikulu mu bulamu? (b) Lwaki abasajja abamu balowooza nti okukola ssente kikulu nnyo okusinga ebintu eby’omwoyo?

3 Omu ku bawandiisi yagamba Yesu nti: “Omuyigiriza, nja kukugobereranga yonna gy’onoogenda.” Yesu yamugamba nti: “Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” Bayibuli teraga nti omusajja oyo yafuuka omu ku bagoberezi ba Kristo. Kiyinzika okuba nti yeeraliikirira wa gye yandiggye eky’okulya ne wa gye yandisuze.​—Mat. 8:19, 20.

4 Abasajja bangi bakitwala nti okuba n’eby’obugagga kikulu nnyo okusinga ebintu eby’omwoyo. Okufuna obuyigirize obwa waggulu n’okuba n’omulimu omulungi bye batwala ng’ebintu ebisinga obukulu mu bulamu bwabwe. Bangi balowooza nti okukola ssente kibaganyula nnyo kati okusinga okuyiga Bayibuli n’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Bayinza okusanyuka okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza, naye “okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino, n’obulimba bw’obugagga” bibalemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. (Mak. 4:18, 19) Lowooza ku ngeri Yesu gye yayambamu abayigirizwa be okumanya ebyo bye baali basaanidde okukulembeza mu bulamu bwabwe.

5, 6. Kiki ekyayamba Andereya, Peetero, Yakobo, ne Yokaana okumanya omulimu gwe baali basaanidde okukulembeza mu bulamu bwabwe?

5 Andereya ne muganda we Simooni Peetero baali bakolera wamu omulimu gw’okuvuba. Era ne Yokaana awamu ne muganda we Yakobo ne kitaabwe, Zebedaayo nabo baali bakolera wamu omulimu gw’okuvuba. Bizineesi yaabwe yali etambula bulungi ne kiba nti baali beetaaga n’okufunayo abapakasi okubayambako. (Mak. 1:16-20) Andereya ne Yokaana bwe baawulira ebikwata ku Yesu okuva eri Yokaana Omubatiza, baakitegeererawo nti baali bazudde Masiya. Andereya yabuulirako muganda we Simooni Peetero ebikwata ku Yesu, era kirabika Yokaana naye yabuulirako muganda we Yakobo. (Yok. 1:29, 35-41) Mu myezi egyaddirira, Yesu yali wamu n’abasajja abo abana ng’abuulira mu Ggaliraaya, mu Buyudaaya, ne mu Samaliya. Oluvannyuma, abasajja abo baddayo okuvuba. Abasajja abo baali baagala ebintu Yesu bye yali ayigiriza, naye mu kiseera ekyo omulimu gw’okubuulira si kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwabwe.

6 Nga wayise ekiseera, Yesu yagamba Peetero ne Andereya okumugoberera basobole okufuuka “abavubi b’abantu.” Abasajja abo bombi baakola ki? ‘Amangu ago baaleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.’ Yakobo ne Yokaana nabo bwe batyo bwe baakola. ‘Amangu ago baaleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera.’ (Mat. 4:18-22) Kiki ekyayamba abasajja abo okusalawo okufuuka ababuulizi ab’ekiseera kyonna? Kyandiba nti baakwatibwa kinyegenyege? Nedda! Baali batambuddeko ne Yesu okumala emyezi, nga bawulidde bye yali ayigiriza, nga bamulabye ng’akola eby’amagero, nga balabye engeri gye yali ayagalamu ebikolwa eby’obutuukirivu, era nga balabye n’engeri abantu gye baali bakwatiddwako ebyo bye yali ayigiriza. Bwe kityo, okukkiriza kwabwe mu Yakuwa kwanywera era ne beeyongera okumwesiga!

7. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Bayibuli okwongera okwesiga Yakuwa?

7 Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okwongera okwesiga Yakuwa? (Nge. 3:5, 6) Engeri gye tubayigirizaamu erina kinene ky’esobola okukola mu kubayamba. Bwe tuba tubayigiriza, tusobola okussa essira ku mikisa Yakuwa gy’atuwa bwe tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Soma Malaki 3:10; Matayo 6:33.) Wadde nga tusobola okukozesa ebyawandiikibwa ebitali bimu okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be, tetusaanidde kwerabira nti n’ekyokulabirako kye tubateerawo kirina kinene kye kibayigiriza. Bwe tubuulira abayizi baffe engeri Yakuwa gy’atuyambyemu, ekyo kiyinza okubayamba nabo okwongera okumwesiga. Era tuyinza n’okubabuulira ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi bye tuba tusomyeko mu bitabo byaffe.a

8. (a) Lwaki kikulu omuyizi wa Bayibuli ‘okulega n’ategeera nti Yakuwa mulungi’? (b) Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okulaba obulungi bwa Yakuwa mu bulamu bwabwe?

8 Omuyizi wa Bayibuli okusobola okunyweza okukkiriza kwe, talina kukoma ku kuwulira oba ku kusoma busomi ku ngeri Yakuwa gy’ayambyemu abantu be. Aba yeetaaga okukiraba mu bulamu bwe nti ddala Yakuwa mulungi. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.” (Zab. 34:8) Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okulaba nti Yakuwa mulungi? Ng’ekyokulabirako, omuyizi wa Bayibuli ayinza okuba ng’alina obuzibu bw’eby’enfuna ate nga mu kiseera kye kimu agezaako okuvvuunuka omuze omubi, gamba ng’okunywa sigala, okukuba zzaala, oba okunywa ennyo omwenge. (Nge. 23:20, 21; 2 Kol. 7:1; 1 Tim. 6:10) Olowooza okuyigiriza omuyizi oyo okusaba Yakuwa amuyambe okuvvuunuka omuze ogwo tekiimuyambe okulaba obulungi bwa Yakuwa? Ate era lowooza ne ku ekyo ekiyinza okubaawo singa tumukubiriza okukulembeza ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okufissaayo akadde buli wiiki musome naye Bayibuli awamu n’okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okuzibaamu. Omuyizi wa Bayibuli bw’anaalaba engeri Yakuwa gy’amuyambyemu, okukkiriza kwe kujja kweyongera okunywera!

Okutya Abantu

9, 10. (a) Lwaki Nikodemu ne Yusufu ow’e Alimasaya baali tebaagala bantu balala bakitegeere nti baali bakkiririza mu Yesu? (b) Lwaki abasajja abamu leero batya okufuuka abagoberezi ba Kristo?

9 Abasajja abamu bayinza okulemererwa okugoberera Kristo olw’okutya ekyo abalala kye bayinza okulowooza. Nikodemu ne Yusufu ow’e Alimasaya baatya okukyoleka mu lwatu nti baali bakkiririza mu Yesu. Baali batya ekyo Bayudaaya bannaabwe kye bandyogedde oba kye bandikoze bwe bandikitegedde. (Yok. 3:1, 2; 19:38) Abakulembeze b’eddiini baakyawa nnyo Yesu ne kiba nti buli muntu yenna eyamukkiririzangamu baamugobanga mu kkuŋŋaaniro.​—Yok. 9:22.

10 Mu bitundu ebimu leero, singa omusajja alaga nti ayagala nnyo Katonda, Bayibuli, oba eddiini, ayinza okutandika okuyigganyizibwa bakozi banne, mikwano gye, oba ab’eŋŋanda ze. Mu bitundu ebirala, kiyinza n’okuba eky’akabi eri omuntu singa agamba nti ayagala okuva mu ddiini ye. Ate era singa omusajja aba mu magye, mu by’obufuzi, oba ng’alina ekifo eky’amaanyi mu kitundu gy’abeera, kiyinza okumubeerera ekizibu ennyo okugumira ebyo abalala bye bayinza okumwogerako singa akyusa enzikiriza ye. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu mu Bugirimaani yagamba nti: “Nkimanyi nti mmwe Abajulirwa ba Yakuwa bye muyigiriza ge mazima. Naye singa leero nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa, we bunaakeerera enkya buli omu ajja kuba amaze okukitegeera. Bakozi bannange, baliraanwa bange, ne mikwano gyange banaalowooza ki? Ekyo sisobola kukigumira.”

11. Yesu yayamba atya abayigirizwa be obutatya bantu?

11 Wadde ng’abatume ba Yesu bonna baali bavumu, emirundi egimu nabo baatyanga abantu. (Mak. 14:50, 66-72) Yesu yabayamba atya okukulaakulana mu by’omwoyo wadde nga bandyolekaganye n’okuyigganyizibwa? Yesu yabayamba okwetegekera okuyigganyizibwa kwe bandyolekaganye nakwo. Yabagamba nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga, era ne bavumaganya erinnya lyammwe ku lw’Omwana w’omuntu.” (Luk. 6:22) Yesu yagamba abagoberezi be nti bandisuubidde okuvumibwa. Naye yabagamba nti bandivumiddwa “ku lw’Omwana w’omuntu.” Era yabagamba nti Katonda yandibayambye bwe bandimwesize. (Luk. 12:4-12) Ate era Yesu yakubiriza abo abaali baakatandika okumugoberera okukola omukwano ku bayigirizwa be.​—Mak. 10:29, 30.

12. Tuyinza tutya okuyamba abapya okulekera awo okutya abantu?

12 Naffe twetaaga okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okulekera awo okutya abantu. Kiba kyangu okwolekagana n’ekizibu singa kijja ng’omuntu akisuubira. (Yok. 15:19) Ng’ekyokulabirako, lwaki toyamba muyizi wo okutegekayo eby’okuddamu ebyangungu mu bibuuzo bakozi banne oba abantu abalala bye bayinza okumubuuza? Ng’oggyeko okumufuula mukwano gwo, lwaki tomwanjulira ab’oluganda abalala mu kibiina, naddala abo abalina ebintu bye bafaanaganya naye? N’okusingira ddala, tusaanidde okumukubiriza okusaba obutayosa n’okusaba okuviira ddala ku mutima gwe. Ekyo kisobola okumuyamba okusemberera Katonda n’okufuula Yakuwa Ekiddukiro kye era Olwazi lwe.​—Soma Zabbuli 94:21-23; Yakobo 4:8.

Okwenyooma

13. Lwaki abasajja abamu bagaana okuyiga amazima?

13 Abasajja abamu bagaana okuyiga amazima olw’okuba baba tebasobola kusoma bulungi oba kunnyonnyola bulungi bintu. Abalala balina ensonyi era tekibanguyira kwogera mu lujjudde. Bwe balowooza ku ky’okwesomesa Bayibuli, okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana, oba okubuulirako abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe, muli bawulira obuzibu obw’amaanyi. Ow’oluganda omu agamba nti, ‘Bwe nnali omuto, tekyannyanguyiranga kubuulira. Nnateranga okugenda mangu ku luggi, ne nneefuula akonkona, ne mala ne nvaawo mangu nga saagala wabeewo andaba. Buli lwe nnalowoozanga ku ky’okubuulira nnyumba ku nnyumba, nnalwalanga n’okulwala.’

14. Lwaki abayigirizwa ba Yesu tebaasobola kuwonya mulenzi eyaliko dayimooni?

14 Lowooza ku ngeri abayigirizwa ba Yesu gye baawuliramu nga balemereddwa okuwonya omulenzi eyaliko dayimooni. Kitaawe w’omulenzi oyo yajja eri Yesu n’amugamba nti: “[Omwana wange] agwa ensimbu era ali mu mbeera mbi. Atera okugwa mu muliro ne mu mazzi; era nnamuleese eri abayigirizwa bo naye ne batasobola kumuwonya.” Yesu yagoba dayimooni eyo bw’atyo n’awonya omulenzi oyo. Oluvannyuma abayigirizwa bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: “Lwaki twalemereddwa okugigoba?” Yesu yabagamba nti: “Kubanga okukkiriza kwammwe kutono. Mazima mbagamba nti, singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ luveewo, era tewali kijja kubalema.” (Mat. 17:14-20) Omuntu bw’aba ow’okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi ebiringa olusozi, aba yeetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Naye singa omuntu asalawo okukola ebintu mu magezi ge, ajja kulemererwa, era ekyo kiyinza okumuleetera okuwulira nga tasaanira kuweereza Yakuwa.

15, 16. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okulekera awo okwenyooma?

15 Singa omuyizi wa Bayibuli aba yeenyooma, tusobola okumukubiriza obuteesigama ku busobozi bwe naye yeesige Yakuwa nti ajja kumuyamba. Peetero yawandiika nti: “Mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, asobole okubagulumiza ng’ekiseera kituuse; nga mumukwasa byonna ebibeeraliikiriza.” (1 Peet. 5:6, 7) Tusaanidde okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukula mu by’omwoyo. Omuntu akuze mu by’omwoyo aba atwala ebintu eby’omwoyo nga bya muwendo. Aba ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda era afuba okwoleka ‘ekibala ky’omwoyo’ mu bulamu bwe. (Bag. 5:22, 23) Okusaba aba akutwala ng’ekintu ekikulu ennyo. (Baf. 4:6, 7) Aba akimanyi nti Katonda asobola okumuwa amaanyi n’obuvumu okusobola okwolekagana n’embeera yonna oba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obuba bumuweereddwa.​—Soma 2 Timoseewo 1:7, 8.

16 Abayizi ba Bayibuli abamu baba balina okuyambibwa okuyiga okusoma, okunyumya n’abalala, oba okwogera eri abantu. Abalala bayinza okuwulira nti tebasaanira kuweereza Katonda olw’okuba balina ebintu ebibi bye baakola nga tebannategeera Yakuwa. Mu mbeera ng’ezo, twetaaga okubalaga okwagala n’okuba abagumiikiriza nga tubayamba. Yesu yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde be bamwetaaga.”​—Mat. 9:12.

Yamba Abasajja Bangi Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa

17, 18. (a) Tuyinza tutya okutuusa obubaka bwaffe ku basajja bangi nga bwe kisoboka nga tubuulira? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Bayibuli ye yokka erimu obubaka obusobola okuyamba abantu okufuna essanyu erya nnamaddala, era twagala okuyamba abasajja bangi nga bwe kisoboka okukkiriza obubaka obwo. (2 Tim. 3:16, 17) Kati olwo tuyinza tutya okutuusa obubaka obwo ku basajja bangi nga bwe kisoboka nga tubuulira? Kino tusobola okukikola nga tubuulira akawungeezi, olw’eggulo ku wiikendi, oba ku nnaku ez’okuwummula, ebiseera abasajja bangi we babeerera awaka. Bwe tuba tubuulira, tuyinza okusaba okwogerako ne ssemaka. Tusobola okubuulira abasajja be tukola nabo ku mulimu awamu n’abaami abatali bakkiriza aba bannyinaffe abali mu kibiina.

18 Bwe tufuba okubuulira abantu bonna be tuba tusanze, tusobola okuba abakakafu nti tujja kufuna abantu ab’emitima emirungi abajja okukkiriza okuyiga amazima. Ka tufube okwoleka obugumiikiriza nga tuyamba abantu abaagala amazima. Naye tuyinza tutya okuyamba abasajja ababatize abali mu kibiina okukulaakulana basobole okuweereza mu kibiina kya Katonda? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba obutabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses awamu n’ebyokulabirako by’ab’oluganda ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Awake!

Wandizzeemu Otya?

• Tuyinza tutya okuyamba abasajja okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwabwe?

• Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Bayibuli okulekera awo okutya abantu?

• Tuyinza tutya okuyamba omuntu okulekera awo okwenyooma?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Ofuba okutuusa amawulire amalungi ku basajja bangi nga bwe kisoboka?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Oyinza otya okuyamba omuyizi wo owa Bayibuli okwetegekera okugezesebwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share