LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 1/1 lup. 13-15
  • “Ekiseera eky’Okwagaliramu n’Ekiseera eky’Okukyayiramu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ekiseera eky’Okwagaliramu n’Ekiseera eky’Okukyayiramu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Enjawulo Eriwo Wakati w’Okwagala Kwa Katonda n’Obukyayi Bwe
  • Lwe Kiba Kyetaagisa Okukyawa
  • Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Kwagala n’Okukyawa
  • Okwagala Kutuyamba Okugumira Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?—Kiki Bayibuli ky’egamba?
    Ensonga Endala
  • Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 1/1 lup. 13-15

“Ekiseera eky’Okwagaliramu n’Ekiseera eky’Okukyayiramu”

“KATONDA kwagala.” Mu bitundu ebimu abantu batimba ebigambo ebyo ku bisenge mu mayumba gaabwe. Mu butuufu, ebyo bigambo birungi nnyo ebiraga ekyo Katonda ky’ali, kwe kugamba ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’okwagala.

Kyokka, abantu bangi tebakimanyi nti ebigambo ebyo biva mu Bayibuli. Omutume Yokaana ye yawandiika ng’agamba nti: “Oyo atalina kwagala tamanyanga Katonda, kubanga Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ate era Yokaana yawandiika ku kwagala Katonda kw’alina eri ensi ng’agamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16.

Ekyo kireetera abamu okulowooza nti, buli kye tukola Katonda ajja kukibuusa amaaso. Balowooza nti ne bwe beeyisa obubi, Katonda tajja kubavunaana olw’ebikolwa byabwe. Naye ddala ekyo kituufu? Katonda ayagala buli omu, omulungi n’omubi? Ddala waliwo ekiseera Katonda lw’ayinza okukyawa omuntu?

Enjawulo Eriwo Wakati w’Okwagala Kwa Katonda n’Obukyayi Bwe

Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Buli kintu kiriko entuuko yakyo, na buli kigambo ekiri wansi w’eggulu kiriko ekiseera kyakyo . . . ekiseera eky’okwagaliramu, n’ekiseera eky’okukyayiramu.” (Omubuulizi 3:1, 8) Okusinziira ku musingi guno, wadde nga Katonda alina okwagala kungi era nga wa kisa, waliwo ekiseera lw’ayinza okukyawa omuntu.

Okusooka, ekigambo “obukyayi” nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli kirina makulu ki? Ekitabo ekimu kigamba nti: “Mu Byawandiikibwa, ekigambo ‘obukyayi’ kirina amakulu ag’enjawulo. Kiyinza okutegeeza obukambwe, n’okwagaliza abalala obubi. Obukyayi ng’obwo buyinza okuleetera omuntu okwagala okulumya omulala.” Gano ge makulu ge tusinga okumanya, era tulaba ebintu ebibi bingi mu nsi yonna ebivudde mu bukyayi obw’engeri eno. Naye ekitabo kye kimu kigattako nti: “‘Obukyayi’ kiyinza okutegeeza obutaagalira ddala kintu naye nga tolina kigendererwa kyonna kya ku kirumya.”

Amakulu gano ag’okubiri ge tugenda okwogerako mu kitundu kino. Obutaagalira ddala kintu naye nga tolina kigendererwa kya ku kirumya oba okukituusaako akabi. Katonda asobola okuba n’obukyayi obw’engeri eno? Weetegereze ebigambo ebiri mu Engero 6:16-19: “Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by’akyawa; weewaawo, musanvu bya muzizo gy’ali: amaaso ag’amalala, olulimi olulimba, n’engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; omujulirwa w’obulimba ayogera eby’obulimba, n’oyo asiga okukyawagana mu b’oluganda.”

Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraze, waliwo ebikolwa Katonda by’akyawa. Naye ng’ate aba takyaye abo ababa bakoze ebikolwa ng’ebyo. Afaayo ku ekyo ekiba kibaviiriddeko okukola ekintu ng’ekyo, gamba ng’obunafu bw’omubiri, embeera gye babaamu, engeri gye baakuzibwamu, n’obutamanya. (Olubereberye 8:21; Abaruumi 5:12) Omuwandiisi w’ekitabo kya Engero annyonnyola ensonga eno ng’akozesa ekyokulabirako ekirungi, agamba nti: “Mukama gw’ayagala gw’anenya; era nga kitaawe w’omwana we gw’asanyukira.” (Engero 3:12) Omuzadde ayinza okukyawa ebikolwa by’omwana we ebibi, naye aba akyamwagala era akola kyonna ekisoboka okumuyamba ng’amubonereza asobole okuleka ebikolwa ebyo ebibi. Olw’okwagala kw’alina, Yakuwa akola kye kimu ng’ayagala omuntu omwonoonyi akyuse enneeyisa ye.

Lwe Kiba Kyetaagisa Okukyawa

Ate watya, singa omuntu amanya ekyo Katonda ky’ayagala naye n’agaana okukikola? Ekyo tekijja kuleetera Katonda kwagala muntu oyo wabula okumukyawa. Omuntu oyo bw’akola mu bugenderevu ebintu Yakuwa by’akyawa, Yakuwa amukyawa. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yekkaanya abatuukirivu n’ababi, era oyo yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe amukyawa.” (Zabbuli 11:5, NW) Omuntu ng’oyo ateenenya tayinza kusonyiyibwa, ng’omutume Pawulo bwe yakyoleka mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, ng’agamba nti: “Bwe tukola ekibi mu bugenderevu oluvannyuma lw’okutegeerera ddala amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka ndala eweebwayo olw’ebibi byaffe, naye wabaawo entiisa ey’okulindiirira okusalirwa omusango, era wabaawo n’obuggya obw’omuliro obugenda okusaanyaawo abo abaziyiza Katonda.” (Abebbulaniya 10:26, 27) Lwaki Katonda ow’okwagala akola ekintu nga kino?

Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi mu bugenderevu, ekibi ekyo kiyinza okusimba amakanda mu mutima gwe n’aba nga tasobola ku kireka. Ayinza okufuuka omubi ennyo era atayinza kukyuka. Bayibuli egeraageranya omuntu ng’oyo ku ngo etayinza kukyusa mabala gaayo. (Yeremiya 13:23) Olw’okuba aba yagaanira ddala okwenenya, omuntu ng’oyo akola ekyo Bayibuli ky’eyita ‘ekibi eky’olubeerera,’ ekitayinza kusonyiyibwa.​—Makko 3:29.

Adamu ne Kaawa ne Yuda Isukalyoti nabo bwe batyo bwe baali. Okuva bwe kiri nti Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde, era nga bombi baategeera bulungi ekiragiro Katonda kye yali abawadde, kyeyoleka kaati nti baayonoona mu bugenderevu ne kiba nti baali tebayinza kusonyiyibwa. Ebyo Katonda bye yabagamba nga bamaze okwonoona byalaga nti baali tebayinza kusonyiyibwa. (Olubereberye 3:16-24) Wadde nga Yuda yali tatuukiridde, yalina enkolagana ey’oku lusegere n’Omwana wa Katonda kyokka yamala n’amulyamu olukwe. Yesu yamwogerako nga “omwana w’okuzikirira.” (Yokaana 17:12) Ate era Bayibuli eraga nti Sitaani mwonoonyi atayinza kwenenya era alindiridde obulindirizi okuzikirizibwa. (1 Yokaana 3:8; Okubikkulirwa 12:12) Abantu bano baakola ebintu ebyaleetera Katonda okubakyawa.

Wadde kiri kityo, kizzaamu amaanyi okukimanya nti si buli muntu aba ayonoonye nti aba tayinza kutereera. Yakuwa mugumiikiriza nnyo era tekimusanyusa kubonereza abo ababa boonoonye olw’obutamanya. (Ezeekyeri 33:11) Abakubiriza beenenye basobole okusonyiyibwa. Agamba nti: “Omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.”​—Isaaya 55:7.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Kwagala n’Okukyawa

Okuva bwe kiri nti Abakristaayo ab’amazima bakoppa Katonda, beetaaga okumanya ddi lwe kiba “ekiseera eky’okwagaliramu, n’ekiseera eky’okukyayiramu.” Enneewulira y’omuntu eyinza okumuleetera okuba n’endowooza egudde olubege ku ngeri okwagala n’ekisa gye bisaanidde okulagibwamu. Naye ebigambo by’omuyigirizwa Yuda bisobola okutuyamba obutagwa lubege ku ngeri gye tusaanidde okulagamu ekisa n’okukyawa ekibi. Yagamba nti: “Mweyongere [okusaasira abalala], nga mukikola mu kutya, era nga mukyawa n’ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.” (Yuda 22, 23) N’olwekyo tusaanidde okukyawa ekibi so si kukyawa muntu akikoze.

Ate era, Abakristaayo balagirwa okwagala abalabe baabwe nga babakolera ebirungi. Yesu yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” (Matayo 5:44) Eyo y’ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa enfunda n’enfunda babuulira baliranwa baabwe amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda wadde nga abamu ku bo tebasiima bubaka obwo. (Matayo 24:14) Olw’okuba balina endowooza ya Bayibuli, Abajulirwa ba Yakuwa bakitwala nti buli muntu asobola okuganyulwa mu kwagala kwa Yakuwa n’ekisa kye. Abantu be bafuba okuyamba bwe batasiima, bwe babagoba, oba bwe babayigganya, Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera okubuulirira kw’omutume Pawulo okugamba nti: “Musabirenga emikisa abo ababayigganya; musabirenga abalala emikisa era temukolimanga . . . Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.” (Abaruumi 12:14, 17) Bakimanyi nti Yakuwa y’ajja okusalawo abo abagwanidde okwagalibwa n’abo abagwanidde okukyayibwa. Ye mulamuzi omukulu ku nsonga ezikwata ku bulamu n’okufa.​—Abebbulaniya 10:30.

Mu butuufu, “Katonda kwagala.” N’olwekyo tusaanidde okulaga okusiima olw’okwagala kwe n’okufuba okumanya ebyo by’ayagala era ne tubikola. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo beetegefu okukuyamba okuyiga ebyo Katonda by’ayagala n’engeri gy’oyinza okubikolerako nga bakozesa Bayibuli yo. Bw’onookola bw’otyo, Katonda tajja kukukyawa, wabula ajja kukwagala.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]

“Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by’akyawa; weewaawo, musanvu bya muzizo gy’ali: amaaso ag’amalala, olulimi olulimba, n’engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; omujulirwa w’obulimba ayogera eby’obulimba, n’oyo asiga okukyawagana mu b’oluganda.”​—ENGERO 6:16-19

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]

“Bwe tukola ekibi mu bugenderevu oluvannyuma lw’okutegeerera ddala amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka ndala eweebwayo olw’ebibi byaffe, naye wabaawo entiisa ey’okulindiirira okusalirwa omusango.”​—ABEBBULANIYA 10:26, 27

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 15]

“Omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira . . . kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.”​—ISAAYA 55:7

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Omuzadde ayagala omwana we amukangavvula asobole okumuyamba

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Abasibe bangi baganyuddwa mu kwagala kwa Katonda n’ekisa kye

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share