Abantu Abeesigwa ab’Edda—Baakulemberwa Omwoyo gwa Katonda
“Mukama Katonda antumye n’omwoyo gwe.”—IS. 48:16.
1, 2. Kiki ekituyamba okuba n’okukkiriza, era okwetegereza ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda kituyamba kitya?
WADDE nga waliwo abantu bangi abazze booleka okukkiriza okuviira ddala mu kiseera kya Abbeeri, “okukkiriza si kwa bonna.” (2 Bas. 3:2) Kati olwo kiki ekiyamba omuntu okuba n’engeri eno, era kiki ekimuyamba okusigala nga mwesigwa? Okusingira ddala, okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira Ekigambo kya Katonda. (Bar. 10:17) Okukkiriza y’emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) N’olwekyo, twetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.
2 Tewali muntu azaalibwa ng’alina okukkiriza. Abaweereza ba Katonda abeesigwa be tusomako mu Bayibuli ‘baali bantu nga ffe.’ (Yak. 5:17) Baalina obunafu, ebintu ebibeeraliikiriza, era oluusi nabo baawuliranga nti tebasobola kukola bintu ebimu, naye omwoyo gwa Katonda ‘gwabafuula ba maanyi’ ne basobola okugumira embeera enzibu. (Beb. 11:34) Okwetegereza engeri omwoyo gwa Yakuwa gye gwabayambamu kijja kutukubiriza okweyongera okuba abeesigwa eri Katonda, naddala mu kiseera kino nga waliwo ebintu bingi ebisobola okunafuya okukkiriza kwaffe.
Omwoyo gwa Katonda Gwawa Musa Amaanyi
3-5. (a) Kiki ekiraga nti omwoyo omutukuvu gwayamba Musa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe? (b) Ekyokulabirako kya Musa kituyamba kitya okumanya engeri Yakuwa gy’agabamu omwoyo gwe?
3 Musa “yali muwombeefu nnyo, okusinga” abantu bonna abaaliwo mu mwaka gwa 1513 E.E.T. (Kubal. 12:3) Musa yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo mu ggwanga lya Isiraeri. Omwoyo gwa Katonda gwawa Musa amaanyi n’asobola okwogera obunnabbi, okulamula abantu, okuwandiika ebitabo bya Bayibuli, okukulembera Abaisiraeri, n’okukola ebyamagero. (Soma Isaaya 63:11-14.) Naye lumu, Musa yagamba nti obuvunaanyizibwa bwe yali yeetisse bwali bumuyitiriddeko. (Kubal. 11:14, 15) Bwe kityo, Yakuwa yamuggyako ogumu ku mwoyo ogwamuliko n’aguteeka ku bakadde 70 bamuyambeko okwetikka obuvunaanyizibwa bwe yalina. (Kubal. 11:16, 17) Wadde nga Musa yali alaba nti obuvunaanyizibwa bwe yali yeetisse bwali buzito nnyo, ekituufu kiri nti yali tabwetisse yekka. Era n’abakadde 70 be yalonda nabo tebandibwetisse bokka.
4 Yakuwa yali awadde Musa omwoyo omutukuvu ogumala okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa bwe yalina. N’oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa abakadde 70 omwoyo omutukuvu, Musa yali akyalina omwoyo ogumala gwe yali yeetaaga. Musa teyalina mwoyo mutono nnyo ng’ate abakadde 70 bo balina mungi nnyo. Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu okusinziira ku bwetaavu bwaffe. “Agaba omwoyo gwe mu bungi” okuva “mu ebyo by’alina mu bungi.”—Yok. 1:16; 3:34.
5 Olina ebizibu by’oyolekagana nabyo? Owulira ng’olina eby’okukola bingi nnyo ne kiba nti owulira nga tokyalina biseera bimala? Ofuba okulabirira ab’omu maka go mu by’omwoyo ne mu by’omubiri wadde ng’emiwendo gy’ebintu gigenda gyeyongera okulinnya oba ng’olina obulwadde obugenda bweyongera okukunafuya? Olina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe weetisse mu kibiina? K’obe mu mbeera ki, ba mukakafu nti Katonda asobola okukozesa omwoyo gwe okukuwa amaanyi ge weetaaga.—Bar. 15:13.
Omwoyo Omutukuvu Gwayamba Bezaleeri
6-8. (a) Omwoyo gwa Katonda gwayamba Bezaleeri ne Okoliyaabu kukola mulimu ki? (b) Kiki ekiraga nti Bezaleeri ne Okoliyaabu baakulemberwa omwoyo gwa Katonda? (c) Lwaki ekyokulabirako kya Bezaleeri kituzzaamu nnyo amaanyi?
6 Ekyokulabirako kya Bezaleeri, omusajja eyaliwo mu kiseera kya Musa, nakyo kiraga engeri omwoyo gwa Katonda gye gusobola okutukulembera. (Soma Okuva 35:30-35.) Yakuwa yawa Bezaleeri omulimu ogw’okukola ebintu ebyanditeekeddwa mu weema entukuvu. Naye Yakuwa bwe yali tannamuwa mulimu ogwo, Bezaleeri yali alina obumanyirivu mu kukola emirimu gy’emikono? Ayinza okuba nga yabulina, naye omulimu gwe yali asembyeyo okukola gwali gwa kukuba matofaali mu Misiri. (Kuv. 1:13, 14) Kati olwo Bezaleeri yandisobodde atya okukola omulimu ogwo omuzibu Katonda gwe yali amuwadde? Yakuwa “[yamujjuza] omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y’okukola: n’okuyiiya emirimu egy’amagezi.” Yakuwa yamusobozesa okukola ebintu eby’ekikugu ebya buli ngeri. Bezaleeri ne Okoliyaabu bayinza okuba nga baalina obusobozi bw’okukola emirimu gy’emikono, naye Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu n’abayamba okwongera ku busobozi bwabwe. Bateekwa okuba nga baategeera bulungi eky’okukola, kubanga baasobola okukola omulimu ogwo era ne bayigiriza n’abalala engeri y’okugukolamu.
7 Ekintu ekirala ekiraga nti Bezaleeri ne Okoliyaabu baakulemberwa omwoyo gwa Katonda kiri nti ebintu bye baakola byawangaala nnyo. Ebintu ebyo byali bikyakozesebwa emyaka nga 500 oluvannyuma lw’okubikola. (2 Byom. 1:2-6) Abantu abasinga obungi leero abakola ebintu baagala abalala okubatendereza, naye Bezaleeri ne Okoliyaabu si bwe batyo bwe baali. Baali baagala ettendo n’ekitiibwa byonna bidde eri Yakuwa.—Kuv. 36:1, 2.
8 Ne leero, tuyinza okubaako ebintu bye twetaaga okukola ebyetaagisa obukugu, gamba ng’okuzimba, okukuba ebitabo, okutegeka enkuŋŋaana ennene, okuyamba ab’oluganda ababa bagwiriddwa obutyabaga, oba okunnyonnyola abasawo ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nkozesa y’omusaayi. Oluusi emirimu ng’egyo gikolebwa abo abalina obukugu, naye ebiseera ebisinga obungi gikolebwa bannakyewa abatalina bukugu. Omwoyo gwa Katonda gubayamba okugikola obulungi. Owulira ng’otya okukkiriza emirimu egimu mu kibiina kya Yakuwa ng’olowooza nti waliwo abalala abasobola okugikola obulungi okukusinga? Kijjukire nti omwoyo gwa Yakuwa gusobola okwongera ku kumanya n’obusobozi by’olina ne kikuyamba okukola omulimu gwonna gw’aba akuwadde.
Omwoyo gwa Katonda Gwayamba Yoswa
9. Mbeera ki Abaisiraeri gye beesangamu bwe baali baakava e Misiri, era ekyo kyaleetawo kibuuzo ki?
9 Omwoyo gwa Katonda era gwayamba Yoswa, omusajja eyaliwo mu kiseera kya Musa ne Bezaleeri. Abantu ba Katonda bwe baali baakava e Misiri, Abamaleki baabalumba. Abaisiraeri baali tebalina bumanyirivu mu kulwana. Naye baalina okulwana olutalo lwabwe olusooka oluvannyuma lw’okuva mu buddu. (Kuv. 13:17; 17:8) Baali beetaaga omuntu okubakulembera mu lutalo olwo. Ani yandibakulembedde?
10. Lwaki Yoswa n’Abaisiraeri baawangula olutalo?
10 Yakuwa yalonda Yoswa okukulembera Abaisiraeri mu lutalo, naye teyamulonda lwa kuba nti yalina obumanyirivu mu kuduumira amagye. Yoswa yali talina ky’amanyi ku bya kulwana. Mu Misiri, yali muddu ng’akuba matofaali. Mu ddungu, yali akuŋŋaanya mmaanu. Kyo kituufu nti jjajja wa Yoswa Erisaama yali mukulu wa kika kya Efulayimu era yakulemberanga eggye ly’abasajja 108,100. (Kubal. 2:18, 24; 1 Byom. 7:26, 27) Wadde kyali kityo, Yakuwa teyagamba Musa kulonda Erisaama wadde mutabani we Nuuni, naye yamugamba alonde Yoswa okukulembera eggye eryali ligenda okulwana n’abalabe. Olutalo lw’amala kumpi olunaku lulamba. Olw’okuba Yoswa yagondera Katonda era n’akolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, Abaisiraeri baasobola okuwangula olutalo olwo.—Kuv. 17:9-13.
11. Okufaananako Yoswa, kiki ekinaatuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe eri Katonda?
11 Oluvannyuma Yoswa, omusajja eyali “ajjudde omwoyo ogw’amagezi,” yaddira Musa mu bigere. (Ma. 34:9) Omwoyo omutukuvu tegwasobozesa Yoswa kwogera bunnabbi oba kukola byamagero nga bwe gwasobozesa Musa okukola, wabula gwamusobozesa okukulembera Abaisiraeri nga bawamba ensi ya Kanani. Leero, tuyinza okuwulira nga tetulina bumanyirivu oba nga tetulina bisaanyizo kukola bintu ebimu mu buweereza bwaffe eri Katonda. Naye okufaananako Yoswa, naffe tusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe eri Katonda singa tukolera ku bulagirizi bw’atuwa.—Yos. 1:7-9.
‘Omwoyo gwa Yakuwa Gwajja ku Gidiyooni’
12-14. (a) Okuba nti abasajja ba Gidiyooni 300 baasobola okuwangula Abamidiyaani kituyigiriza ki? (b) Yakuwa yanyweza atya okukkiriza kwa Gidiyooni? (c) Yakuwa atuyamba atya leero?
12 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Yakuwa yeeyongera okukozesa omwoyo gwe okuwa abaweereza be abeesigwa amaanyi. Ekitabo Ekyabalamuzi kirimu ebyokulabirako by’abantu bangi “abaali abanafu ne bafuulibwa ab’amaanyi.” (Beb. 11:34) Ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Katonda yayamba Gidiyooni okulwanirira Abaisiraeri. (Balam. 6:34) Eggye lya Gidiyooni lyali tono nnyo bw’oligeraageranya ku ly’Abamidiyaani, nga buli musirikale wa Isiraeri alina okulwana n’abasirikale b’Abamidiyaani bana. Kyokka ye Yakuwa yali alaba nti n’eggye eryo lyali likyali ddene nnyo. Emirundi ebiri, yagamba Gidiyooni okukendeeza ku ggye eryo okutuusa nga buli musirikale wa Isiraeri alina kulwana n’Abamidiyaani 450. (Balam. 7:2-8; 8:10) Ogwo gwe muwendo gw’abasirikale Yakuwa gwe yali ayagala. Bwe kityo, Abaisiraeri bwe bandiwangudde olutalo olwo, tewali n’omu yandigambye nti obuwanguzi obwo baali babutuuseeko mu maanyi gaabwe oba mu magezi gaabwe.
13 Gidiyooni n’abasajja be beeteekerateekera olutalo. Singa wali omu ku basajja ba Gidiyooni abo abaali abatono, kyandikugumizza bwe wandirabye ng’abasajja abatiitiizi n’abo abataali bulindaala nga baggiddwa mu ggye lyammwe? Oba wanditidde bwe wandirowoozezza ku ebyo ebyali biyinza okuddirira? Tewali kubuusabuusa nti Gidiyooni yeesiga Katonda. Yakola ekyo Katonda kye yamugamba okukola! (Soma Ekyabalamuzi 7:9-14.) Yakuwa teyanyiigira Gidiyooni olw’okumusaba akabonero akandiraze nti yandibadde wamu naye. (Balam. 6:36-40) Mu kifo ky’ekyo, yanyweza okukkiriza kwa Gidiyooni.
14 Tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kununula bantu be. Asobola okubanunula okuva mu mbeera yonna enzibu gye baba boolekagana nayo, era kino asobola okukikola ng’akozesa n’abo abalabika ng’abanafu. Ebiseera ebimu tuyinza okuwulira ng’abalabe baffe bangi oba nga tetumanyi kya kukola. Tetusuubira Katonda kutuwa bubonero ng’obwo bwe yawa Gidiyooni, naye asobola okutugumya n’okutuwa obulagirizi ng’ayitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye ekikulemberwa omwoyo gwe. (Bar. 8:31, 32) Ebisuubizo bya Yakuwa binyweza okukkiriza kwaffe era bituyamba okwongera okumwesiga nti asobola okutuyamba!
‘Omwoyo gwa Yakuwa Gwajja ku Yefusa’
15, 16. Lwaki muwala wa Yefusa yali mwetegefu okwefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa, era ekyo kiyigiriza ki abazadde?
15 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Abaisiraeri bwe baali bagenda okulwana n’Abaamoni, omwoyo gwa Yakuwa ‘gwajja ku Yefusa.’ Olw’okuba yali ayagala okutuuka ku buwanguzi asobole okuweesa Yakuwa ekitiibwa, Yefusa yakola obweyamo. Okusobola okusasula obweyamo obwo, yalina okuwaayo ekintu ekyali eky’omuwendo ennyo gy’ali. Yeeyama nti Katonda bwe yandimusobozesezza okuwangula Abaamoni, omuntu eyandisoose okumusisinkana ng’azzeeyo eka, yandimuwaddeyo eri Yakuwa. Yefusa bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Abaamoni, muwala we yajja ng’adduka okumusisinkana. (Balam. 11:29-31, 34) Ekyo Yefusa kyamwewuunyisa? Oboolyawo nedda, kubanga yalina omwana omu yekka. Yasasula obweyamo bwe ng’awaayo muwala we oyo okuweereza ku weema ya Yakuwa entukuvu mu Siiro. Olw’okuba yali muweereza wa Yakuwa mwesigwa, muwala wa Yefusa yali mwetegefu okukolera ku ekyo kitaawe kye yali yeeyamye. (Soma Ekyabalamuzi 11:36.) Omwoyo gwa Yakuwa gwawa Yefusa ne muwala we amaanyi ge baali beetaaga.
16 Lwaki muwala wa Yefusa yali mwetegefu okwefiiriza bw’atyo okusobola okuweereza Yakuwa? Tewali kubuusabuusa nti okukkiriza kwe kweyongera okunywera bwe yalaba obunyiikivu bwa kitaawe n’engeri gye yali yeemalidde ku Katonda. Abazadde, mukijjukire nti abaana bammwe beetegereza ekyokulabirako kye muteekawo. Basobola okulaba obanga ebyo bye mwogera bye mukola. Abaana bammwe babawuliriza nga musaba, bawulira ebyo bye mubayigiriza, era balaba n’ebyo bye mukola nga muweereza Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna. Ebyo byonna bisobola okubayamba okwagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, era nammwe ekyo kijja kubaleetera essanyu lingi.
‘Omwoyo gwa Yakuwa Gwajja ku Samusooni’
17. Kiki omwoyo gwa Katonda kye gwasobozesa Samusooni okukola?
17 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Abafirisuuti bwe baawamba Isiraeri, ‘omwoyo gwa Yakuwa gwasindika’ Samusooni okununula Isiraeri. (Balam. 13:24, 25) Katonda yawa Samusooni amaanyi mangi nnyo nga tewali muntu mulala yenna agalina. Abafirisuuti bwe baasendasenda Abaisiraeri ne bakwata Samusooni, ‘omwoyo gwa Yakuwa gwamujjako, era emiguwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.’ (Balam. 15:14) Wadde nga yali anafuye mu mubiri olw’ensobi gye yali akoze, Samusooni yafuulibwa wa maanyi “olw’okukkiriza.” (Beb. 11:32-34; Balam. 16:18-21, 28-30) Omwoyo gwa Yakuwa gwayamba Samusooni mu ngeri ey’enjawulo. Wadde nga Yakuwa tagenda kutuwa maanyi nga ge yawa Samusooni, ekyokulabirako kye kituzzaamu nnyo amaanyi. Mu ngeri ki?
18, 19. (a) Ekyokulabirako kya Samusooni kituzzaamu kitya amaanyi? (b) Ebyokulabirako bye tulabye mu kitundu kino bikuganyudde bitya?
18 Naffe omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba nga bwe gwayamba Samusooni. Omwoyo ogwo gutuyamba nga tukola omulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be, ‘ogw’okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.’ (Bik. 10:42) Ebiseera ebimu tekiba kyangu kukola mulimu ogwo. Naye kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa atuwa omwoyo gwe okutuyamba okukola omulimu ogwo. Bwe kityo, tukkiriziganya n’ebigambo bya nnabbi Isaaya bino: “Mukama Katonda antumye n’omwoyo gwe.” (Is. 48:16) Yee, omwoyo gwa Katonda gwe gututuma! Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba okukola omulimu gwe obulungi nga bwe yayamba Musa, Bezaleeri, ne Yoswa. Tukozesa “ekitala eky’omwoyo, nga kino kye Kigambo kya Katonda,” era tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuwa amaanyi ageetaagisa nga bwe yagawa Gidiyooni, Yefusa, ne Samusooni. (Bef. 6:17, 18) Bwe twesiga Yakuwa okutuyamba, ajja kutuwa amaanyi mu by’omwoyo nga bwe yawa Samusooni amaanyi.
19 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa omukisa abo bonna abawagira okusinza okw’amazima. Okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera bwe tukkiriza omwoyo gwa Katonda omutukuvu okutukulembera. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani namwo mulimu ebyokulabirako by’abantu abaakulemberwa omwoyo gwa Katonda. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri omwoyo gwa Yakuwa gye gwayambamu abaweereza be abeesigwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ng’olunaku lwa Pentekooti 33 E.E. terunnatuuka n’oluvannyuma lwalwo.
Okumanya engeri omwoyo gwa Katonda gye gwayambamu abaweereza ba Katonda bano kikuzizzaamu kitya amaanyi?
• Musa.
• Bezaleeri.
• Yoswa.
• Gidiyooni.
• Yefusa.
• Samusooni.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 22]
Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuwa amaanyi mu by’omwoyo nga bwe gwawa Samusooni amaanyi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Abazadde, ekyokulabirako kyammwe ekirungi kisobola okuyamba abaana bammwe okwagala okuweereza Yakuwa