Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
“Mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde.”—1 BYOM. 28:9.
NOONYA EBY’OKUDDAMU MU BIBUUZO BINO:
Omutima ogw’akabonero kye ki?
Tuyinza tutya okukebera omutima gwaffe?
Tuyinza tutya okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?
1, 2. (a) Kitundu ki eky’omubiri Bayibuli ky’etera okwogerako ennyo mu ngeri ey’akabonero? (b) Lwaki twetaaga okutegeera omutima ogw’akabonero ogwogerwako mu Bayibuli?
BAYIBULI etera okwogera ku bitundu by’omubiri mu ngeri ey’akabonero. Ng’ekyokulabirako, Yobu yagamba nti: ‘Temuli kyejo mu ngalo zange.’ Kabaka Sulemaani yagamba nti: ‘Ebigambo ebirungi bigezza amagumba.’ Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: ‘Nfudde ekyenyi kyo ng’alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery’embaalebaale.’ Era ne Yesu yagamba nti: “Singa eriiso lyo likwesittaza, liggyemu olisuule.”—Yob. 16:17; Nge. 15:30; Ez. 3:9; Mat. 18:9.
2 Naye waliwo ekitundu ky’omubiri Bayibuli ky’eyogerako ennyo mu ngeri ey’akabonero okusinga ebitundu by’omubiri ebirala. Ekitundu ekyo gwe mutima. Kaana bwe yali asaba yagamba nti: ‘Omutima gwange gujaguliza Mukama.’ (1 Sam. 2:1) Abawandiisi ba Bayibuli baakozesa ekigambo omutima emirundi nga lukumi, ng’emirundi egisinga bakikozesa mu ngeri ya kabonero. Twetaaga okutegeera omutima ogw’akabonero ogwogerwako mu Bayibuli, kubanga Bayibuli etukubiriza okugukuuma.—Soma Engero 4:23.
OMUTIMA OGW’AKABONERO KYE KI?
3. Bayibuli etuyamba etya okutegeera omutima ogw’akabonero? Waayo ekyokulabirako.
3 Bayibuli etuyamba etya okutegeera omutima ogw’akabonero? Lowooza ku kino. Watya singa waliwo omuntu akoze ekifaananyi ekinene ekirabika obulungi ng’akozesa obuyinja lukumi obutonotono. Okusobola okutegeera obulungi ekifaananyi ky’aba akoze, tuba tulina okutunuulira obuyinja bwonna obukola ekifaananyi ekyo. Mu ngeri y’emu, bwe tuba ab’okutegeera omutima ogw’akabonero ogwogerwako mu Bayibuli, tuba tulina okwekenneenya ennyiriri ezitali zimu ezoogera ku “mutima.” Kati olwo omutima ogw’akabonero kye ki?
4. (a) Ekigambo “omutima” kitegeeza ki? (b) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 22:37 bitegeeza ki?
4 Bayibuli ekozesa ekigambo “omutima” okutegeeza ekyo omuntu ky’ali munda. Ekyo kizingiramu ebintu omuntu bye yeegomba, by’alowooza, enneewulira ye, endowooza ye, obusobozi bwe, by’ayagala, n’ebiruubirirwa bye. (Soma Ekyamateeka 15:7; Engero 16:9; Ebikolwa 2:26.) Naye ebiseera ebimu ekigambo, “omutima” kiba tekitegeeza bintu ebyo byonna. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Mat. 22:37) Mu lunyiriri olwo, ekigambo “omutima” kitegeeza enneewulira z’omuntu n’ebintu bye yeegomba. Mu kwawula omutima ku bulamu ne ku magezi, Yesu yali alaga nti enneewulira yaffe, engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe, n’engeri gye tukozesaamu amagezi gaffe birina okulaga nti twagala Yakuwa. (Yok. 17:3; Bef. 6:6) Naye ekigambo “omutima” bwe kikozesebwa kyokka, kiba kitegeeza ekyo omuntu ky’ali munda.
LWAKI TWETAAGA OKUKUUMA OMUTIMA GWAFFE?
5. Lwaki twetaaga okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?
5 Kabaka Dawudi yagamba Sulemaani nti: “Mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde n’emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo.” (1 Byom. 28:9) Yakuwa akebera emitima gyonna, nga mw’otwalidde n’egyaffe. (Nge. 17:3; 21:2) Tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi singa ebyo Yakuwa by’alaba mu mitima gyaffe bimusanyusa. Bwe kityo, kya magezi okukolera ku bigambo bya Dawudi ebyo nga tufuba okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.
6. Bwe kituuka ku kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kiki kye tulina okujjukira?
6 Obunyiikivu bwe twoleka nga tuweereza Yakuwa bulaga nti twagala okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Naye tulina okukijjukira nti ensi ya Sitaani awamu n’obutali butuukirivu bwaffe bisobola okutulemesa okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (Yer. 17:9; Bef. 2:2) Bwe kityo, okusobola okwewala ekyo okututuukako, tuba tulina okukebera omutima gwaffe buli kiseera. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
7. Kiki ekisobola okulaga ekyo kyennyini ekiri mu mutima gwaffe?
7 Nga bwe watali muntu asobola kulaba ekyo ekiri munda mu muti, tewali muntu asobola kulaba ekyo kye tuli munda. Wadde kiri kityo, mu Kwogera kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti ebibala by’omuti bisobola okulaga ekyo kye guli munda. Mu ngeri y’emu, ebintu bye tukola bisobola okulaga ekyo kyennyini ekiri mu mutima gwaffe. (Mat. 7:17-20) Ka tulabeyo ekimu ku bintu ebyo.
ENGERI EMU GYE TUYINZA OKUKEBERA OMUTIMA GWAFFE
8. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33, kiki ekiyinza okulaga ekyo ekiri mu mutima gwaffe?
8 Mu Kwogera kwe okw’Oku Lusozi, Yesu era yagamba abo abaali bamuwuliriza ekyo kye baalina okukola okulaga nti baagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Yagamba nti: “Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.” (Mat. 6:33) Mu butuufu, ebyo bye tukulembeza mu bulamu bwaffe bisobola okulaga ebyo bye twegomba, bye tulowooza, n’ebiruubirirwa byaffe. N’olwekyo, ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okulaba obanga tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna kwe kulowooza ennyo ku bintu bye tukulembeza mu bulamu bwaffe.
9. Kiki Yesu kye yagamba abantu be yasanga ng’agenda e Yerusaalemi, era ebyo bye baamuddamu byalaga ki?
9 Lowooza ku ekyo ekyaliwo oluvannyuma lwa Yesu okugamba abayigirizwa be ‘okusooka okunoonya obwakabaka.’ Ekyo ekyaliwo kiraga nti tusobola okutegeera ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu bwe tulaba ebintu by’akulembeza mu bulamu. Lukka yagamba nti Yesu ‘yamalirira okugenda e Yerusaalemi’ wadde nga yali amanyi bulungi ekyo ekyali kijja okumutuukako ng’ali eyo. Yesu n’abatume be “bwe baali mu kkubo nga batambula,” Yesu yasanga abantu n’abagamba okufuuka abagoberezi be. Abantu abo baali baagala okufuuka abagoberezi be naye baalina ebintu ebirala bye baali baagala okusooka okukola. Omu ku bo yagamba Yesu nti: “Nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” Omulala ye yamugamba nti: “Nja kukugoberera Mukama wange; naye sooka onzikirize mmale okusiibula ab’ewaffe.” (Luk. 9:51, 57-61) Nga waaliwo enjawulo y’amaanyi wakati wa Yesu eyali amaliridde okukola Katonda by’ayagala n’abantu abo abaagaana okufuuka abagoberezi be nga beekwasa obusongasonga! Abantu abo baakulembeza ebintu ebyabwe ku bwabwe mu kifo ky’okukulembeza Obwakabaka, era ekyo kyalaga nti tebaali beetegefu kuweereza Katonda n’omutima gwabwe gwonna.
10. (a) Yesu bwe yatuyita okufuuka abagoberezi be, kiki kye twakola? (b) Kyakulabirako ki Yesu kye yawa?
10 Obutafaananako basajja abo, ffe twakkiriza okufuuka abagoberezi ba Yesu era kati tuweereza Yakuwa buli lunaku. Ekyo kye kiraga nti twagala Yakuwa. Naye tusaanidde okukijjukira nti wadde nga tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, omutima gwaffe gukyayinza okwonooneka. Mu ngeri ki? Eky’okuddamu tukisanga mu ebyo Yesu bye yagamba abasajja be yali ayise okufuuka abagoberezi be. Yagamba nti: “Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n’atunula emabega, asaanira obwakabaka bwa Katonda.” (Luk. 9:62) Ekyokulabirako ekyo Yesu kye yawa kituyigiriza ki?
TUFUBA ‘OKUNYWERERA KU KIRUNGI’?
11. Okusinziira ku kyokulabirako Yesu kye yawa, kiki ekyatuuka ku mulimu gw’omukozi eyali alima, era lwaki?
11 Ka tubeeko ebintu ebirala bye tulowoozaako ebinaatuyamba okubaako kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu ekyo. Kuba akafaananyi ng’omukozi alima mu nnimiro. Naye bw’aba ng’alima, asigala alowooza ku bantu be ne mikwano gye be yalese eka. Era alowooza ne ku bintu, gamba ng’emmere gye yandibadde alya, ennyimba ze yandibadde awuliriza, enseko ze yandibadde aseka, n’ekisiikirize mwe yandibadde awummulira. Awulira ng’asubwa nnyo ebintu ebyo. Oluvannyuma lw’okumala akaseera ng’alima, omukozi oyo yeeyongera okwagala ebintu ebyo n’akyuka n’atunuulira ebintu bye yalese “emabega.” Wadde ng’aba akyalina omulimu munene ogw’okukola okutuusa lw’anaasimba ensigo, omukozi oyo awugulibwa n’atasobola kukola bulungi mulimu gwe. Tewali kubuusabuusa nti mukama we anyiiga nnyo olw’okuba omukozi oyo alemereddwa okwoleka obugumiikiriza.
12. Leero, Omukristaayo ayinza atya okufaananako omukozi ayogerwako mu kyokulabirako Yesu kye yawa?
12 Kati lowooza ku ngeri ekyo gye kiyinza okubaawo leero. Omukozi ayinza okukiikirira Omukristaayo yenna alabika ng’aweereza Yakuwa n’obunyiikivu naye ng’ali mu kabi ak’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda atera okubaawo mu nkuŋŋaana era atera okubuulira naye ng’omutima gwe gukyegomba ebintu ebiri mu nsi era ng’abyagala nnyo. Oluvannyuma lw’okuweereza Katonda okumala ekiseera, ow’oluganda oyo yeeyongera okwegomba ebimu ku bintu ebyo era asalawo okutunuulira ebintu bye yaleka “emabega.” Wadde nga wakyaliwo omulimu munene ogw’okukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, ow’oluganda oyo awugulibwa n’alekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu nga bwe yali akola mu kusooka. (Baf. 2:16) Yakuwa, “Nnannyini makungula,” kimunakuwaza nnyo okulaba ng’omu ku bakozi be alekedde awo okwoleka obugumiikiriza.—Luk. 10:2.
13. Kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?
13 Ekyokulabirako Yesu kye yawa kituyigiriza ki? Ng’oggyeko okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, waliwo n’ebintu ebirala bye twetaaga okukola okulaga nti tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (2 Byom. 25:1, 2, 27) Singa Omukristaayo yeeyongera okwagala ebintu bye yaleka “emabega,” kwe kugamba, ebintu ebiri mu nsi, asobola okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. (Luk. 17:32) N’olwekyo, bwe tuba ab’okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, tulina ‘okukyawa ekibi, ne tunywerera ku kirungi.’ (Bar. 12:9; Luk. 9:62) Wadde ng’ebintu ebimu ebiri mu nsi ya Sitaani biyinza okulabika ng’ebirungi oba eby’omugaso, tetusaanidde kubikkiriza kutulemesa kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.—2 Kol. 11:14; soma Abafiripi 3:13, 14.
SIGALA NG’OLI BULINDAALA!
14, 15. (a) Kiki Sitaani ky’akola okulaba nti tulekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Sitaani gy’ayinza okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe.
14 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwatukubiriza okwewaayo gy’ali. Era okumala emyaka mingi, bangi ku ffe tukiraze nti tuli bamalirivu okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Wadde kiri kityo, Sitaani akyayagala okutuggya ku Yakuwa. Ayagala okwonoona omutima gwaffe. (Bef. 6:12) Sitaani akimanyi nti Omukristaayo tasobola kulekera awo kuweereza Yakuwa mulundi gumu. Bwe kityo, Sitaani akozesa enteekateeka eno ey’ebintu okutuleetera okugenda nga tuddirira mpolampola mu buweereza bwaffe eri Katonda. (Soma Makko 4:18, 19.) Lwaki Sitaani asobodde okukozesa akakodyo ako okuggya abantu bangi ku Yakuwa?
15 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku kyokulabirako kino. Watya singa olina ebikopo kkumi eby’ebinyeebwa mu kibbo. Singa obaako gy’olaze n’okomawo n’osanga ng’ekibbo kikalu, omanyirawo nti ebinyeebwa byo baabitutte era n’obaako ky’okolawo. Naye, watya singa omwana wo ayoolako olubatu lumu olw’ebinyeebwa n’abimeketta. Osobola okutegeera nti ebinyeebwa byo byatooleddwako? Nedda. Ate singa enkeera yeeyongera n’ayoolako embatu bbiri? Oyinza okutegeera nti yabitoddeko? Nedda. Lwaki? Kubanga ebinyeebwa byo bigenda bikendeera mpolampola ne kiba nti tosobola kukiraba nti bikendedde. Mu ngeri y’emu, ensi ya Sitaani eyinza okutuleetera okugenda nga tuddirira mpolampola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Omukristaayo bw’aba teyeegenderezza, ayinza n’obutakiraba nti agenda addirira mpolampola mu buweereza bwe.—Mat. 24:42; 1 Peet. 5:8.
TULINA OKUNYIIKIRIRA OKUSABA
16. Kiki ekinaatuyamba okuziyiza enkwe za Sitaani?
16 Kiki ekinaatuyamba okuziyiza enkwe za Sitaani tusobole okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? (2 Kol. 2:11) Tulina okunyiikirira okusaba. Pawulo yakubiriza bakkiriza banne “okuba abanywevu nga [ba]ziyiza enkwe z’Omulyolyomi.” Era yabakubiriza ‘okweyongera okusaba buli kiseera mu mwoyo, nga bakozesa okusaba n’okwegayirira okwa buli ngeri.’—Bef. 6:11, 18; 1 Peet. 4:7.
17. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yasabamu?
17 Okusobola okuziyiza Sitaani, twetaaga okukoppa Yesu, eyanyiikirira okusaba era eyali ayagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Lukka bye yawandiika ebikwata ku ngeri Yesu gye yasabamu mu kiro akyasembayo amale attibwe: “Bwe yalumizibwa ennyo, ne yeeyongera okusaba ennyo.” (Luk. 22:44) Bulijjo Yesu yasabanga nnyo, naye mu kiro ekyo, ng’ali mu mbeera enzibu ennyo, “yeeyongera okusaba ennyo,” era okusaba kwe kwaddibwamu. Ekyokulabirako kya Yesu ekyo kiraga nti ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okusaba ennyo okusinga bwe tusaba bulijjo. N’olwekyo, bwe twesanga mu mbeera enzibu ennyo era ne tukiraba nti Sitaani atutaddeko amaanyi mangi, tuba twetaaga ‘okweyongera okusaba ennyo’ Yakuwa asobole okutuyamba.
18. (a) Bwe kituuka ku kusaba, kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza, era lwaki? (b) Bintu ki ebisobola okutuyamba okukuuma omutima gwaffe, era biguyamba bitya? (Laba akasanduuko ku lupapula 16.)
18 Okunyiikirira okusaba kituganyula kitya? Pawulo yagamba nti: “Mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe.” (Baf. 4:6, 7) Bwe tuba ab’okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tulina okunyiikirira okusaba. (Luk. 6:12) Kati weebuuze, ‘Nnyiikirira okusaba era nfuba okusaba ennyo?’ (Mat. 7:7; Bar. 12:12) Engeri gy’oddamu ekibuuzo ekyo esobola okulaga obanga oyagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna.
19. Kiki ky’omaliridde okukola okusobola okusigala ng’oweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna?
19 Nga bwe tulabye, ebintu bye tukulembeza mu bulamu bwaffe bisobola okulaga ekyo ekiri mu mutima gwaffe. Tetwagala kukkiriza bintu bye twaleka emabega oba ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani kutulemesa kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (Soma Lukka 21:19, 34-36.) N’olwekyo, okufaananako Dawudi, ka buli omu ku ffe abe mumalirivu okwegayirira Yakuwa ‘agatte awamu omutima gwe.’—Zab. 86:11.
[Akasanduuko akali ku lupapula 16]
EBINTU BISATU EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKUKUUMA OMUTIMA GWAFFE
Waliwo ebintu bye tuyinza okukola okusobola okukuuma omutima gwaffe nga mulamu bulungi. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku mutima gwaffe ogw’akabonero. Lowooza ku bintu bino ebisatu:
1 Emmere gye tulya: Twetaaga okulya emmere erimu ekiriisa okusobola okukuuma omutima gwaffe nga mulamu bulungi. Mu ngeri y’emu, okusobola okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero nga mulamu bulungi, twetaaga okulya obulungi mu by’omwoyo nga twesomesa obutayosa, nga tufumiitiriza ku bye tusoma, era nga tufuba okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa.—Zab. 1:1, 2; Nge. 15:28; Beb. 10:24, 25.
2 Okukola dduyiro: Omutima gwaffe okusobola okuba omulamu obulungi ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okukola ebintu ebiyinza okuguleetera okwongera ku sipiidi kwe gukubira. Mu ngeri y’emu, tusobola okwongera ku sipiidi omutima gwaffe ogw’akabonero kwe gukubira nga tubuulira n’obunyiikivu, oboolyawo nga twongera ku biseera bye tumala nga tubuulira.—Luk. 13:24; Baf. 3:12.
3 Abantu be tubeeramu: Olw’okuba tubeera mu bantu abatatya Katonda era nga be tukoleramu, ebiseera ebisinga emitima gyaffe gizitoowererwa. Naye tusobola okukendeeza ku buzito obwo singa tufuba okubeerangako awamu ne bakkiriza bannaffe abatufaako mu bwesimbu era abaagala Katonda n’omutima gwabwe gwonna.—Zab. 119:63; Nge. 13:20.