Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
“Ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange.”—YER. 24:7.
1, 2. Lwaki abantu abamu baagala nnyo ebibala by’emitiini?
WALI olidde ku bibala by’emitiini? Abayudaaya baawoomerwanga nnyo ebibala by’emitiini. (Nak. 3:12; Luk. 13:6-9) Leero abantu bangi mu bitundu by’ensi ebitali bimu balima emitiini. Ebibala by’emitiini birimu ekiriisa era abantu abamu bagamba nti omuntu bw’abirya kiyamba omutima gwe okuba omulamu obulungi.
2 Lumu Yakuwa yageraageranya abantu ku bibala by’emitiini. Yali tayogera ku migaso egiri mu kulya ebibala by’emitiini, naye yali ayogera ku mutima ogw’akabonero. Ebyo Katonda bye yayogera ffenna bisobola okutuganyula awamu n’abaagalwa baffe. Nga twetegereza ebyo bye yayogera, lowooza ku ngeri gye bitukwatako ffenna ng’Abakristaayo.
3. Ebibala by’emitiini ebyogerwako mu Yeremiya essuula 24 bikiikirira ki?
3 Mu mwaka gwa 617 E.E.T., eggwanga lya Yuda lyali mu mbeera mbi nnyo ey’eby’omwoyo. Okuyitira mu kwolesebwa, Katonda yalaga Yeremiya ekyo ekyali kigenda okutuuka ku ggwanga eryo. Yalaga Yeremiya ebibala by’emitiini bya mirundi ebiri: ‘ebirungi ennyo n’ebibi ennyo.’ (Soma Yeremiya 24:1-3.) Ebibala by’emitiini ebibi byali bikiikirira Kabaka Zeddekiya n’abalala abaali nga ye Kabaka Nebukadduneeza awamu n’eggye lye be baabonereza. Ate ebibala by’emitiini ebirungi byali bikiikirira abantu abalungi, gamba nga Ezeekyeri, Danyeri ne banne abasatu abaali baamala edda okutwalibwa e Babulooni, awamu n’Abayudaaya abamu abaali banaatera okutwalibwa e Babulooni. Abamu ku Bayudaaya abo oluvannyuma baddayo ku butaka ne baddamu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu.—Yer. 24:8-10; 25:11, 12; 29:10.
4. Lwaki ebyo Katonda bye yayogera ku bantu abaali ng’ebibala by’emitiini ebirungi bituzzaamu amaanyi?
4 Yakuwa yayogera bw’ati ku abo abaali ng’ebibala by’emitiini ebirungi: “Ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange.” (Yer. 24:7) Ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi kubanga biraga nti Katonda mwetegefu okutuwa ‘omutima okumumanya.’ Tewali kubuusabuusa nti oyagala okuba ‘n’omutima’ ng’ogwo n’okuba omu ku bantu ba Katonda. Okusobola okufuna omutima ng’ogwo kikwetaagisa okuyita mu mitendera gino: okuyiga Bayibuli n’okukolera ku ebyo by’oyiga, okwenenya n’okukyuka, okwewaayo eri Katonda, n’okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu. (Mat. 28:19, 20; Bik. 3:19) Oyinza okuba nga wamala ddala okuyita mu mitendera egyo, oba oyinza okuba ng’okuŋŋaana wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa obutayosa era ng’ofuba okulaba nti oyita mu mitendera egyo.
5. Obubaka obuli mu kitabo kya Yeremiya okusingira ddala bwali bukwata ku baani?
5 Ne bwe kiba nti twamala dda okuyita mu mitendera egyo, tulina okufuba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okufaayo ku ngeri gye tweyisaamu. Ebintu ebirala Yeremiya bye yawandiika ebikwata ku mutima bijja kutuyamba okulaba ensonga lwaki ekyo kikulu nnyo. Wadde ng’ekitabo kya Yeremiya kyogera ne ku mawanga agaali geetoolodde Yuda, okusingira ddala ebyo ebikirimu bikwata ku ggwanga lya Yuda mu kiseera ky’obufuzi bwa bakabaka baalyo bataano. (Yer. 1:15, 16) N’olwekyo, obubaka obuli mu kitabo kya Yeremiya okusingira ddala bwali bukwata ku bantu abaali baamala edda okwewaayo eri Yakuwa. Mu kiseera kya Musa, Abaisiraeri beewaayo kyeyagalire eri Yakuwa. (Kuv. 19:3-8) Ne mu kiseera kya Yeremiya abantu baagamba Yakuwa nti: “Tuzze gy’oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.” (Yer. 3:22) Naye abantu abo baalina omutima omulungi?
BAALI BEETAAGA OKUKOMOLA OMUTIMA GWABWE
6. Lwaki ebigambo Katonda bye yayogera ku mutima bikulu nnyo gye tuli?
6 Abasawo basobola okukozesa ebyuma okukebera omutima gwaffe n’okulaba engeri gye gukolamu. Kyokka Yakuwa asingira wala abasawo abo kubanga ye asobola n’okukebera omutima gwaffe ogw’akabonero. Katonda yagamba nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya? Nze Mukama nkebera omutima, . . . okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa bye.” (Yer. 17:9, 10) Katonda asobola okumanya ebyo ebiri mu mutima gwaffe, kwe kugamba, ebyo bye twagala, bye tulowooza, enneewulira yaffe, n’ebiruubirirwa byaffe. Wadde nga Katonda asobola okukebera omutima gwo, naawe kennyini osobola okugezaako okugukebera.
7. Kiki Yeremiya kye yayogera ku mutima gw’Abayudaaya abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kye?
7 Okusobola okukebera omutima gwaffe ogw’akabonero, ka tusooke twekenneenye ebyo Yeremiya bye yayogera ku mutima gw’Abayudaaya abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kye. Yeremiya yagamba nti: ‘Ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.’ Yeremiya yali tayogera ku kukomolebwa kw’abasajja Abayudaaya, ng’Amateeka bwe gaali galagira, kubanga yagamba nti: ‘Laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abaakomolebwa naye nga si bakomole.’ Bwe kityo n’abasajja Abayudaaya abaali abakomole tebaali “bakomole mu mutima.” (Yer. 9:25, 26) Naye ebigambo ebyo byali bitegeeza ki?
8, 9. Kiki Abayudaaya abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kya Yeremiya kye baalina okukola?
8 Ebyo Katonda bye yagamba Abayudaaya okukola bisobola okutuyamba okutegeera kye kitegeeza ‘obutaba bakomole mu mutima.’ Yabagamba nti: ‘Muggyeko ebikuta eby’emitima gyammwe, mmwe abasajja ba Yuda n’abali mu Yerusaalemi; ekiruyi kyange kireme okufuluma olw’obubi obw’ebikolwa byammwe.’ Naye ebikolwa byabwe ebibi byali bisibuka wa? Byali bisibuka mu mutima gwabwe. (Soma Makko 7:20-23.) Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Katonda yalaga ekyo ekyali kiviirako Abayudaaya okukola ebintu ebibi. Baalina omutima omujeemu era tebaali beetegefu kukyusa nneeyisa yaabwe. Ebiruubirirwa byabwe n’ebirowoozo byabwe byali tebisanyusa Katonda. (Soma Yeremiya 5:23, 24; 7:24-26.) Katonda yabagamba nti: ‘Mwekomole eri Mukama, muggyeko ebikuta eby’emitima gyammwe.’—Yer. 4:4; 18:11, 12.
9 Okufaananako Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa, n’Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Yeremiya baali beetaaga ‘okukomola omutima gwabwe’ ogw’akabonero. (Ma. 10:16; 30:6) Abayudaaya abo baalina ‘okuggyako ebikuta by’emitima gyabwe.’ Ekyo kitegeeza nti baalina okweggyako ebintu ebyali bikakanyazza emitima gyabwe, kwe kugamba, endowooza zaabwe, ebintu bye baali beegomba, awamu n’ebiruubirirwa byabwe ebyali bikontana n’ebyo Katonda by’ayagala.—Bik. 7:51.
OKUBA ‘N’OMUTIMA OGUMANYI’ YAKUWA
10. Okufaananako Dawudi, kiki kye tusaanidde okukola?
10 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda atuyambye okutegeera omutima ogw’akabonero! Naye ddala naffe abaweereza ba Yakuwa twetaaga okufaayo ku mbeera y’omutima gwaffe? Abantu abasinga obungi abali mu kibiina Ekikristaayo baweereza Yakuwa n’obwesigwa era balina empisa ennungi. Tebali ng’ebibala by’emitiini ebibi. Naye tusaanidde okukijjukira nti n’omusajja omwesigwa Dawudi yasaba Yakuwa nti: ‘Onkebere, Ai Katonda, omanye omutima gwange: onkeme, omanye ebirowoozo byange: olabe obanga ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze.’—Zab. 17:3; 139:23, 24.
11, 12. (a) Lwaki buli omu ku ffe asaanidde okukebera omutima gwe? (b) Kiki Katonda ky’atasobola kukola?
11 Yakuwa ayagala buli omu ku ffe abe n’enkolagana ennungi naye era aleme kugifiirwa. Yeremiya yagamba nti: “Ggwe, Ai Yakuwa ow’eggye, okebera omutuukirivu; olaba ensigo n’omutima.” (Yer. 20:12, NW) Bwe kiba nti Omuyinza w’Ebintu Byonna akebera n’omutima gw’omuntu omutuukirivu, olowooza buli omu ku ffe teyandifubye okukebera omutima gwe? (Soma Zabbuli 11:5.) Bwe twekebera mu bwesimbu, tuyinza okukiraba nti mu mutima gwaffe mulimu ebirowoozo oba ebiruubirirwa ebitali birungi. Tuyinza okulaba ‘ekikuta ku mutima gwaffe,’ kwe kugamba, ekintu ekireetera omutima gwaffe okuba omukakanyavu kye twetaaga okweggyako. Bwe tweggyako ekintu ekyo tuba ng’abakomodde omutima gwaffe. Bintu ki ebibi ebiyinza okuba mu mutima gwaffe ogw’akabonero? Era tuyinza tutya okukola enkyukakyuka ezeetaagisa?—Yer. 4:4.
12 Waliwo ekintu ffenna kye tulina okumanya: Yakuwa tasobola kutukaka kukola nkyukakyuka. Yagamba abo abaali ‘ng’ebibala by’emitiini ebirungi’ nti yali ajja kubawa ‘omutima okumumanya.’ Teyagamba nti yali ajja kukyusa omutima gwabwe ku mpaka. Baalina okuba n’omutima ogwagala okumanya Katonda. Naffe twetaaga okuba n’omutima ng’ogwo.
Bwe tukebera omutima gwaffe era ne tweggyamu okwegomba okubi tujja kufuna emikisa mingi
13, 14. Mu ngeri ki ebyo ebiba mu mutima gw’omuntu gye biyinza okuba eby’akabi gy’ali?
13 Yesu yagamba nti: “Mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola.” (Mat. 15:19) Kya lwatu nti singa ow’oluganda akkiriza omutima gwe okumuleetera okugwa mu bwenzi oba mu bukaba naye n’agaana okwenenya, enkolagana ye ne Katonda esobola okufiira ddala. Kyokka n’omuntu atannaba kukola kibi ng’ekyo eky’amaanyi, ayinza okuba ng’alese okwegomba okubi okusimba amakanda mu mutima gwe. (Soma Matayo 5:27, 28.) Omuntu ali mu mbeera ng’eyo aba yeetaaga nnyo okukebera omutima gwe. Olina okwegomba okubi eri omuntu gw’otofaanaganya naye kikula? Okiraba nti kikwetaagisa okweggyamu okwegomba okwo okubi?
14 Ate era ow’oluganda ayinza okunyiigira mukkiriza munne n’atuuka n’okumukyawa. (Leev. 19:17) Ow’oluganda ng’oyo aba yeetaaga okufuba ennyo okulaba nti teyeeyongera kusunguwalira mukkiriza munne.—Mat. 5:21, 22.
15, 16. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Omukristaayo gy’ayinza okuba ‘n’omutima ogutali mukomole.’ (b) Lwaki ‘omutima ogutali mukomole’ tegusobola kusanyusa Yakuwa?
15 Eky’essanyu kiri nti, Abakristaayo abasinga obungi tebalina buzibu ng’obwo obwogeddwako waggulu. Kyokka Yesu yakiraga nti mu mutima musobola okubaamu n’endowooza enkyamu. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okulowooza nti okuba omwesigwa eri ab’eŋŋanda ze kikulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. Kya lwatu nti Abakristaayo ab’amazima baagala ab’eŋŋanda zaabwe, era tebaagala kuba ng’abantu abasinga obungi abaliwo mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma abataagala ba ŋŋanda zaabwe.’ (2 Tim. 3:1, 3) Naye omuntu bw’ategendereza ayinza okwesanga ng’agudde olubege mu nsonga eyo. Abantu abamu enkolagana gye balina n’ab’eŋŋanda zaabwe bagitwala nga nkulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. Bwe kityo bayinza okuwolereza oba okuwagira ab’eŋŋanda zaabwe ne bwe baba nga bali mu nsobi. Endowooza ng’eyo enkyamu yaleetera bannyina ba Dina okutta abantu. (Lub. 34:13, 25-30) Ate era endowooza ng’eyo yaleetera Abusaalomu okutta Amunoni. (2 Sam. 13:1-30) Mu butuufu, “ebirowoozo ebibi” bisobola okuleetera omuntu okukola ebintu ebibi.
16 Kya lwatu nti Abakristaayo ab’amazima tebasobola kutemula bannaabwe. Naye ab’oluganda abamu banyiiga nnyo bwe wabaawo ow’oluganda aba ayisizza obubi omu ku b’eŋŋanda zaabwe. Oba bayinza okunyiiga ennyo ne bwe baba nga balowooza bulowooza nti ow’oluganda oyo yayisa bubi omu ku b’eŋŋanda zaabwe. Bayinza n’okutandika okwewala ow’oluganda oyo oba okugaana okumukyaza mu maka gaabwe. (Beb. 13:1, 2) Ab’oluganda abeeyisa bwe batyo baba tebalina kwagala. Mu butuufu, Yakuwa, Oyo akebera emitima ayinza okukitwala nti ab’oluganda abo ‘emitima gyabwe si mikomole.’ (Yer. 9:25, 26) Yakuwa akubiriza abantu ng’abo ‘okuggyako ebikuta by’emitima gyabwe.’—Yer. 4:4.
OKUBA ‘N’OMUTIMA OGUMANYI’ KATONDA
17. Okutya Yakuwa kituganyula kitya?
17 Watya singa oluvannyuma lw’okukebera omutima gwo ogw’akabonero okizuula nti mu ngeri emu oba endala tegukolera bulungi ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa era nti ‘si mukomole’ bulungi? Oyinza okukiraba nti otya abantu, oyagala nnyo ettutumu n’essente, oba oyinza okukiraba nti olinamu emputtu oba nti otandise okutwalirizibwa omwoyo gwa kyetwala. Bw’oba ng’olina obumu ku bunafu obwo, kijjukire nti si ggwe asoose okuba nabwo. (Yer. 7:24; 11:8) Yeremiya yagamba nti Abayudaaya abataali beesigwa abaaliwo mu kiseera kye baalina “omutima omuwaganyavu era omujeemu.” Yagattako nti: ‘Teboogera mu mutima gwabwe nti tutye Yakuwa Katonda waffe awa enkuba mu ntuuko zaayo.’ (Yer. 5:23, 24) Ekyo tekiraga nti okutya Yakuwa kusobola okutuyamba ‘okuggya ekikuta ku mutima’ gwaffe? Okutya Yakuwa kutuyamba okuba n’omutima ogwagala okukola ebyo Katonda by’ayagala.
18. Kiki Yakuwa kye yasuubiza abo abali mu ndagaano empya?
18 Bwe tufuba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwaffe, Yakuwa ajja kutuwa ‘omutima okumumanya.’ Ekyo kyennyini kye yasuubiza abaafukibwako amafuta abali mu ndagaano empya. Yagamba nti: ‘Nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby’omunda, era mu mutima gwabwe mwendigawandiika; nange nnaabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.’ Yaggatako nti: “Nga olwo omuntu [takyayigiriza] munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, . . . kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.”—Yer. 31:31-34.a
19. Ssuubi ki ery’ekitalo Abakristaayo ab’amazima lye balina?
19 K’obe ng’olina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi emirembe gyonna, weetaaga okumanya Yakuwa n’okuba omu ku bantu be. Okusobola okuba n’essuubi eryo, weetaaga Katonda okukusonyiwa ebibi byo ng’asinziira ku ssaddaaka ya Kristo. Okuba nti Yakuwa mwetegefu okukusonyiwa ebibi byo, naawe kyandikukubirizza okusonyiwa abalala ne bwe baba nga baakuyisa bubi nnyo. Osaanidde okufuba okweggyamu obukyayi bwonna obuyinza okuba mu mutima gwo. Ekyo kijja kulaga nti oyagala okuweereza Yakuwa era nti weeyongedde okumumanya. Ojja kuba ng’abo Yakuwa be yagamba nti: ‘Mulinnoonya ne mundaba, kubanga mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna, era mulindaba.’—Yer. 29:13, 14.
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku ndagaano empya, laba akatabo God’s Word for Us Through Jeremiah, essuula 14.