EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 22-24
Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
Yakuwa yageraageranya abantu ku mitiini
Abayudaaya abeesigwa abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni baali ng’emitiini emirungi
Kabaka Zeddeekiya n’abantu abalala abaakola ebintu ebibi baali ng’emitiini emibi
Tuyinza tutya okufuna ‘omutima ogumanyi’ Yakuwa?
Yakuwa ajja kutuwa ‘omutima ogumumanyi’ singa tusoma Ekigambo kye era ne tukikolerako
Tusaanidde okwekebera tuggye mu mitima gyaffe ekintu kyonna ekisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa