Yakuwa Anzibudde Amaaso
Byayogerwa Patrice Oyeka
Nnali mmaze ennaku bbiri nga ndi mu kizikiza eky’amaanyi olw’okuba nnali sikyalaba. Nnawuliriza rediyo okumala ekiseera kiwanvu nga ndowooza nti ejja kummalako ekiwuubaalo. Olw’okuba obulamu bwali buntamye, akawungeezi k’olunaku olwokubiri nnasalawo nnette. Nnateeka obutwa mu kikopo ekyalimu amazzi ne nkiteeka ku mmeeza. Nnali njagala nsooke kunaaba, nnyambale bulungi, oluvannyuma nnywe obutwa obwo nfe. Lwaki nnali njagala kwetta? Era lwaki nkyali mulamu okubanyumiza ebyantuukako?
NNAZAALIBWA nga Febwali 2, 1958, mu ssaza lya Kasaï Oriental, mu Democratic Republic of Congo. Kitange yafa nga ndi wa myaka mwenda, era muganda wange omukulu ye yasigala andabirira.
Bwe nnamaliriza emisomo gyange, nnafuna omulimu mu ssamba ly’emiti egy’amasanda agakolebwamu ebintu nga engatto. Lwali lumu ku makya, mu 1989 nga ndiko bye mpandiika mu ofiisi yange, ne nneesanga nga ndi mu kizikiza eky’amaanyi. Nnasooka kulowooza nti amasannyalaze gavuddeko, naye nnali mpulira jenereeta ng’etokota ate ng’obudde bwali bwa ku makya! Nnatya nnyo kubanga nnali sikyasobola kulaba kintu kyonna, wadde ebyo bye nnali mpandiise!
Amangu ddala, nnayita omu ku bakozi be nnali nkulira antwale eri omusawo eyali mu kalwaliro akaali we twali tukolera. Omusawo oyo bwe yalaba ng’amaaso gange gali mu mbeera mbi nnyo, yansindika eri abasawo abakugu mu kibuga ekikulu Kinshasa.
Ebyantuukako nga Ndi e Kinshasa
Bwe nnatuuka e Kinshasa nnatwalibwa eri abasawo b’amaaso ab’enjawulo, naye bonna tebannyamba. Oluvannyuma lw’ennaku 43 nga ndi mu ddwaliro, abasawo baŋŋamba nti nja kubeera muzibe obulamu bwange bwonna! Ab’omu maka gange bantwala mu makanisa aga buli kika mponyezebwe mu ngeri ey’ekyamagero, naye gaalemererwa.
Oluvannyuma lw’ebyo byonna, nnaggweramu ddala essuubi ery’okuddamu okulaba. Obulamu bwanzibuwalira nnyo. Amaaso gaali gazibye, era nnali nfiiriddwa n’omulimu gwange. Mukyala wange yanoba n’agenda n’ebintu byonna bye twalina mu nju. Nnawuliranga ensonyi okufuluma ebweru oba okubeera mu bantu. Nnali mwennyamivu nnyo era ebiseera ebisinga obungi nnabeeranga mu nju. Nnali saagala kubeera mu bantu era nga mpulira siri wa mugaso n’akamu.
Emirundi ebiri nnagezaako okwetta. Omulundi ogw’okubiri gwegwo gwe nnayogeddeko ku ntandikwa. Akaana akato akaali awaka ke kaamponya. Bwe nnali nkyanaaba, kaggyawo ekikopo ekyo mu butali bugenderevu ne kayuwa obutwa obwalimu. Ekirungi tekaabunywa. Bwe nnanoonya ekikopo nga sikiraba, nnawulira bubi nnyo! Oluvannyuma ab’omu maka gange nnababuulira ensonga lwaki nnali nnoonya ekikopo ekyo, era ne mbannyonnyola kye nnali ŋŋenda okukola.
Nneebaza Katonda n’ab’omu maka gange olw’okunfaako. Byonna bye nnakola nga ngezaako okwetta, byagwa butaka.
Nziramu Okufuna Essanyu
Mu 1992, bwe nnali awaka ku Ssande nga nnywa sigala, Abajulirwa ba Yakuwa babiri abaali babuulira nnyumba ku nnyumba, bankyalira. Bwe baalaba nti ndi muzibe, bansomera Isaaya 35:5, NW awagamba nti: “Mu kiseera ekyo amaaso g’omuzibe w’amaaso galizibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka.” Nnasanyuka nnyo bwe nnawulira ebigambo ebyo! Okwawukana ku ekyo kye nnali mpulidde mu makanisa ge nnagendamu, Abajulirwa ba Yakuwa tebansuubiza kumponya mu ngeri ey’ekyamagero. Mu kifo ky’ekyo, bannyinnyonnyola nti nja kuddamu okulaba mu nsi empya Katonda gy’asuubiza, era nti kye nnina okukola, kwe kumanya Katonda. (Yokaana 17:3) Nnatandikirawo okusoma Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa nga nkozesa akatabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana zonna ez’Ekikristaayo ezibeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa era n’enkola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nnalekera awo okunywa sigala.
Olw’okuba nnali muzibe, nnali sikulaakulana mangu mu by’omwoyo. N’olwekyo, nnagenda ku ssomero ly’abazibe b’amaaso ne njiga okusoma n’okuwandiika olulimi lwa bamuzibe. Kino kyansobozesa okubaako bye nziramu mu nkuŋŋaana ezibeera mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Waayitawo ekiseera kitono ne ntandika okubuulira baliraanwa bange. Nnaddamu okufuna essanyu mu bulamu. Nneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era ne nneewaayo eri Yakuwa. Nnabatizibwa nga Maayi 7, 1994.
Bwe nnagenda nneeyongera okwagala Yakuwa n’abantu, nnatandika okwagala okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna. Okuva nga Desemba 1, 1995, mpeereza nga payoniya owa bulijjo oba omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Era mu Febwali 2004 nnafuna enkizo ey’okuweereza ng’omukadde mu kibiina kye nkuŋŋaaniramu. Oluusi nkyalira ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebirala ebiri mu kitundu kyange n’enjigiriza abantu. Enkizo zino zonna zindeetera essanyu lingi nnyo era ndi mukakafu nti tewali bulemu bwonna buyinza kutulemesa kuweereza Yakuwa Katonda waffe.
Yakuwa Ampadde “Amaaso”
Nga bwe nnagambye, mukyala wange yanoba olw’okuba ndi muzibe. Naye Yakuwa yampa omukisa omulala. Nnyinza okugamba nti yampa amaaso era kati ndaba. Anny Mavambu, yakkiriza okunfumbirwa wadde ndi muzibe, era kati ye yafuuka amaaso gange. Olw’okuba naye abuulira ekiseera kyonna, ŋŋenda naye mu kubuulira. Ansomera ebyo bye mba ŋŋenda okuyigiriza abantu ne kinsobozesa okubiwandiika mu lulimi lwa bamuzibe. Mukyala wange ono kirabo kya muwendo nnyo gye ndi! Ansobozesezza okulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Engero 19:14 awagamba nti: “Ennyumba n’obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.”
Ate era, nze ne mukyala wange Anny, Yakuwa atuwadde ekirabo kya baana babiri, omulenzi n’omuwala. Nneesunga okutuuka mu nsi empya ndabe bwe bafaanana! Waliwo omukisa omulala gwe twafuna. Muganda wange omukulu eyatukkiriza tubeere ku kibanja kye, naye yakkiriza okusoma Bayibuli era yabatizibwa! Ffenna tuli mu kibiina kimu.
Wadde ndi muzibe, nkyayagala okweyongera okuweereza Katonda kubanga ampadde emikisa mingi nnyo. (Malaki 3:10) Buli lunaku nsaba Obwakabaka bwe bujje buggyewo okubonaabona kwonna okuli mu nsi. Okuva lwe nnamanya Yakuwa, ddala ndi mukakafu nti: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”—Engero 10:22.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Nga njigiriza abantu Bayibuli; nga ndi wamu ne mukyala wange, abaana bange, ne muganda wange