LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 7/15 lup. 12-16
  • Weereza Katonda ow’Eddembe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weereza Katonda ow’Eddembe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YABBA EMITIMA GYABWE
  • SABA KATONDA AKUWE OMUTIMA OGW’AMAGEZI ERA OMUWULIZE
  • LWANIRIRA EDDEMBE LY’OLINA NG’OMUKRISTAAYO!
  • Kkiriza Yakuwa Akuwe Eddembe Erya Nnamaddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Eddembe Abasinza Yakuwa Lye Balina
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Abavubuka, Omutonzi Wammwe Ayagala Mube Basanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Weereza Yakuwa, Katonda ow’Eddembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 7/15 lup. 12-16

Weereza Katonda ow’Eddembe

“Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 YOK. 5:3.

OSOBOLA OKUDDAMU?

Sitaani agezaako atya okutuleetera okulowooza nti ebyo Yakuwa by’atwetaagisa bitumalako eddembe?

Lwaki tusaanidde okwegendereza ennyo nga tulonda emikwano?

Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda ow’eddembe?

1. Yakuwa akozesa atya eddembe lye, era ddembe ki lye yawa Adamu ne Kaawa?

YAKUWA yekka y’alina eddembe ery’enkomeredde. Wadde kiri kityo, eddembe lye alikozesa bulungi era talagira baweereza be buli kimu kye balina kukola. Mu kifo ky’ekyo, abawa eddembe ery’okwesalirawo n’okukola ebintu ebirungi bye baba baagala. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagaana Adamu ne Kaawa okukola ekintu kimu kyokka. Yabagaana okulya ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi.’ (Lub. 2:17) Bwe kityo, Adamu ne Kaawa baali basobola okukola Katonda by’ayagala ate nga mu kiseera kye kimu balina eddembe lingi nnyo ddala!

2. Lwaki Adamu ne Kaawa baafiirwa eddembe Katonda lye yali abawadde?

2 Lwaki Katonda yawa Adamu ne Kaawa eddembe lingi? Okuva bwe kiri nti yabatonda mu kifaananyi kye era n’abawa omuntu ow’omunda, yali asuubira nti okwagala kwe baalina gy’ali ng’Omutonzi waabwe kwandibakubirizza okusalawo mu ngeri entuufu. (Lub. 1:27; Bar. 2:15) Naye eky’ennaku kiri nti Adamu ne Kaawa baalemererwa okusiima Omutonzi waabwe olw’eddembe lye yali abawadde. Mu kifo ky’ekyo, baasalawo okukkiriza eddembe eritali lya nnamaddala Sitaani lye yali abasuubizza, eddembe ly’okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Kyokka mu kifo ky’okufuna eddembe erisingawo, bazadde baffe abaasooka beetunda awamu n’abaana baabwe be bandizadde mu buddu bw’ekibi. Ekyo kivuddemu okubonaabona n’okufa.​—Bar. 5:12.

3, 4. Ndowooza ki enkyamu Sitaani gy’ayagala tube nayo ku bintu Yakuwa by’atwetaagisa?

3 Bwe kiba nti Sitaani yasobola okuleetera abantu ababiri abatuukiridde awamu ne bamalayika bangi okujeemera Katonda, naffe asobola okutuleetera okujeemera Katonda. Obukoddyo bwa Sitaani tebukyukanga. Ayagala tulowooze nti ebintu Katonda by’atwetaagisa bizibu nnyo era nti bitumalako essanyu n’eddembe. (1 Yok. 5:3) Abantu b’ensi bwe batyo bwe balowooza, era singa tumala ebiseera bingi nga tuli nabo tuyinza okutandika okulowooza nga bo. Mwannyinaffe ow’emyaka 24 eyeenyigirako mu bikolwa eby’obugwenyufu agamba nti: “Emikwano emibi gyannyonoona kubanga nnali saagala kuba wa njawulo ku mikwano gyange.” Oboolyawo naawe wali opikiriziddwako emikwano emibi.

4 Kya nnaku nti n’abamu ku abo abali mu kibiina Ekikristaayo basobola okuba emikwano emibi. Omuvubuka omu Omukristaayo yagamba nti: “Waaliwo abavubuka mu kibiina abaali boogerezeganya n’abantu abataali Bajulirwa. Olw’okuba nnali nkolagana nnyo nabo, nnatandika okweyisa nga bo. Nnaddirira mu by’omwoyo, ne mba nga sikyanyumirwa nkuŋŋaana, era ebiseera ebisinga obungi nnali sibuulira. Ekyo kyandaga nti nnalina okwekutula ku mikwano egyo emibi, era nnagyekutulako!” Naawe okimanyi nti emikwano emibi gisobola okukuleetera okukola ebintu ebikyamu? Lowooza ku kyokulabirako kino.​—Bar. 15:4.

YABBA EMITIMA GYABWE

5, 6. Abusaalomu yabuzaabuza atya Abaisiraeri abamu, era olukwe lwe lwayitamu?

5 Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu bangi abaaleetera abalala okukola ebintu ebikyamu. Lowooza ku Abusaalomu, mutabani wa Kabaka Dawudi. Abusaalomu yali alabika bulungi nnyo. Okufaananako Sitaani, Abusaalomu yakkiriza okwegomba okubi okuyingira mu mutima gwe. Yatandika okwegomba entebe ya kitaawe ey’obwakabaka era n’ayagala okugyeddiza.a Okusobola okutuuka ku ekyo kye yali ayagala, Abusaalomu yeefuula eyali alumirirwa ennyo Baisiraeri banne era n’abaleetera okulowooza nti Kabaka Dawudi yali tabafaako. Ng’Omulyolyomi bwe yakola mu lusuku Adeni, Abusaalomu yeefuula eyali ayagala okuyamba abantu era yayogera eby’obulimba ku kitaawe.​—2 Sam. 15:1-5.

6 Olukwe lwa Abusaalomu lwayitamu? Mu ngeri emu, tuyinza okugamba nti olukwe olwo lwayitamu, kubanga Bayibuli egamba nti ‘Abusaalomu yabba emitima gy’abasajja ba Isiraeri.’ (2 Sam. 15:6) Wadde nga Abusaalomu yasobola okubuzaabuza abantu bangi, ebyamuviiramu tebyali birungi. Amalala gaamuviiramu okufa era yattisa n’abantu abalala bangi abaasalawo okumugoberera.​—2 Sam. 18:7, 14-17.

7. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Abusaalomu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 14.)

7 Lwaki Abaisiraeri abo baalimbibwalimbibwa? Oboolyawo baasikirizibwa ebintu Abusaalomu bye yali abasuubizza oba endabika ye ennungi. Ka kibe ki ekyabaleetera okulimbibwalimbibwa, ekituufu kiri nti: Tebaali beesigwa eri Yakuwa n’eri kabaka gwe yali alonze. Ne leero, Sitaani akozesa abantu abalinga Abusaalomu okugezaako okubba emitima gy’abaweereza ba Yakuwa. Abantu ng’abo bayinza okugamba nti ebintu Yakuwa by’atwetaagisa bitumalako eddembe era nti abantu abataweereza Yakuwa basanyufu olw’okuba basobola okukola buli kye baagala. Bw’owulira ebintu ng’ebyo, okiraba nti obwo buba bulimba bwa nkukunala era n’otobukkiriza kukulemesa kusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda? Okiraba nti ‘amateeka ga Yakuwa agaatuukirira’ ge gokka agasobola okutuyamba okufuna eddembe erya nnamaddala? (Yak. 1:25) Bwe kiba kityo, kirage nti amateeka ago ogatwala nga ga muwendo nnyo era kozesa eddembe lyo mu ngeri esanyusa Yakuwa.​—Soma 1 Peetero 2:16.

8. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti okusambajja emitindo gya Yakuwa tekivaamu ssanyu lyonna?

8 Sitaani okusingira ddala ayagala okulimbalimba abavubuka. Ow’oluganda omu kati ali mu myaka 30 egy’obukulu ayogera bw’ati ku myaka gye egy’obuvubuka: “Emitindo gya Yakuwa egy’empisa nnali ngitwala ng’ekintu ekimmalako eddembe so si ng’ekintu eky’obukuumi.” N’ekyavaamu, ow’oluganda oyo yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye ekyo tekyamuleetera ssanyu n’akamu. Ow’oluganda oyo yagamba nti: “Nnamala emyaka mingi ng’omuntu wange ow’omunda annumiriza era nga nnejjusa olw’ebyo bye nnakola.” Mwannyinaffe omu bwe yali ayogera ku myaka gye egy’obuvubuka yagamba nti: “Bw’omala okugwa mu bukaba, owulira nga tokyalina ssanyu era nga tolina mugaso. Kati wayise emyaka 19 bukya ngwa mu bukaba, naye nkyalumizibwa olw’ebyo bye nnakola.” Mwannyinaffe omulala yagamba nti: “Okukimanya nti enneeyisa yange embi yalumya nnyo abantu be njagala ennyo kyampisa bubi nnyo. Teri kintu kibi ng’okubeera awo ng’okimanyi nti tosiimibwa mu maaso ga Yakuwa.” Sitaani tayagala olowooze ku ebyo ebiva mu kwenyigira mu bikolwa ebibi.

9. (a) Bibuuzo ki ebiyinza okutuyamba okwekennenya endowooza gye tulina ku Yakuwa, ku mateeka ge, ne ku misingi gye? (b) Lwaki twetaaga okumanya obulungi Katonda?

9 Kya nnaku nti abavubuka bangi, awamu n’abantu abakulu, bamaze kufuna bizibu ne balyoka bakitegeera nti okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu tekivaamu kalungi konna! (Bag. 6:7, 8) Kati weebuuze: ‘Mmanyi bulungi obukoddyo Sitaani bw’ayinza okukozesa okunnimbalimba? Yakuwa mutwala nga mukwano gwange owa nnamaddala, atayinza kunnimba era anjagaliza ekyo ekisingayo obulungi? Ddala ndi mukakafu nti Yakuwa tayinza kuŋŋaana kukola kintu ky’amanyi nti kirungi era nti kireeta essanyu?’ (Soma Isaaya 48:17, 18.) Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo mu bwesimbu nti yee, olina okuba ng’omanyi bulungi Yakuwa. Olina okukitegeera nti amateeka n’emisingi ebiri mu Bayibuli Yakuwa yabituwa olw’okuba atwagala, so si lwa kwagala kutumalako ddembe.​—Zab. 25:14.

SABA KATONDA AKUWE OMUTIMA OGW’AMAGEZI ERA OMUWULIZE

10. Lwaki tusaanidde okukoppa ekyokulabirako Sulemaani kye yateekawo bwe yali akyali muvubuka?

10 Bwe yali akyali muvubuka, Sulemaani yayoleka obwetoowaze n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira.” Bwe kityo, yasaba Yakuwa amuwe omutima omuwulize era ogw’amagezi. (1 Bassek. 3:7-9, 12) Yakuwa yaddamu okusaba kwe, era naawe ajja kuddamu okusaba kwo, k’obe muto oba mukulu. Kya lwatu nti Yakuwa tajja kukuwa magezi mu ngeri ya kyamagero. Naye ajja kukuwa amagezi singa onyiikira okusoma Ekigambo kye, singa omusaba akuwe omwoyo gwe omutukuvu, era singa okozesa bulungi ebintu by’atuwa okuyitira mu kibiina kye. (Yak. 1:5) Mu butuufu, Yakuwa asobozesa n’abaweereza be abato okuba ab’amagezi okusinga abantu bonna abagaana okumugondera, ka babe abo ensi beetwala okuba “abagezi” oba “abayivu.”​—Luk. 10:21; soma Zabbuli 119:98-100.

11-13. (a) Biki bye tuyiga mu Zabbuli 26:4, Engero 13:20, ne 1 Abakkolinso 15:33? (b) Oyinza otya okukolera ku misingi egiri mu byawandiikibwa ebyo?

11 Okusobola okulaba emiganyulo egiri mu kusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma nga twagala okwongera okutegeera obulungi Yakuwa, lowooza ku byawandiikibwa bino wammanga. Mu buli kimu ku byawandiikibwa bino mulimu omusingi ogusobola okutuyamba okusalawo bantu ba ngeri ki be tusaanidde okufuula mikwano gyaffe: “Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; so siiyingirenga wamu na bakuusakuusa.” (Zab. 26:4) “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Nge. 13:20) “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”​—1 Kol. 15:33.

12 Ebyawandiikibwa ebyo bituyigiriza ki? (1) Yakuwa ayagala tube beegendereza nga tulonda emikwano. Tayagala mpisa zaffe kwonoonebwa era tayagala twonoonebwe mu by’omwoyo. (2) Abantu be tukolagana nabo basobola okutuleetera okukola ebintu ebirungi oba ebibi. Ekyo tekiriimu kubuusabuusa kwonna. Engeri ebigambo ebiri mu nnyiriri ezo ze tulabye waggulu gye byawandiikibwamu eraga nti Yakuwa ayagala bitutuuke ku mutima. Lwaki tugamba bwe tutyo? Weetegereze nti ennyiriri ezo tezaawandiikibwa nga biragiro, gamba nga “tolina kukola kino” oba “tolina kukola kiri.” Mu kifo ky’ekyo, ennyiriri ezo ziragira ddala ekyo ekibaawo mu bulamu obwa bulijjo. Mu nnyiriri ezo, Yakuwa alinga atugamba nti: ‘Gano ge mazima. Onoosalawo otya? Kiki ekiri mu mutima gwo?’

13 Okuva bwe kiri nti ebyawandiikibwa ebyo byonna ebisatu byogera ku bintu ebibeererawo ddala mu bulamu, bisobola okuyamba abantu ekiseera kyonna, mu mbeera zonna. Kati weebuuze: Nnyinza ntya okwewala okukolagana n’abantu ‘abakuusakuusa’? Ddi lwe nnyinza okwesanga nga nkolagana n’abantu ng’abo? (Nge. 3:32; 6:12) “Abantu ab’amagezi” Yakuwa baayagala nkolagane nabo be baluwa? Abantu “abasirusiru” be nnina okwewala be baluwa? (Zab. 111:10; 112:1; Nge. 1:7) ‘Mpisa ki ennungi’ emikwano emibi gye zisobola okwonoona? Emikwano emibi giri wabweru wa kibiina yokka? (2 Peet. 2:1-3) Ebibuuzo ebyo oyinza kubiddamu otya?

14. Kiki kye muyinza okukola okusobola okwongera okuganyulwa mu kusinza kwammwe okw’amaka?

14 Nga bwe twekenneenyezza ebyawandiikibwa ebyo ebisatu waggulu, naawe osobola okusoma ebyawandiikibwa ebirala ebikwata ku nsonga ezitali zimu ezikukwatako oba ezikwata ku b’omu maka go, osobole okutegeera endowooza ya Katonda ku nsonga ezo.b Abazadde, lwaki temukubaganya birowoozo ku nsonga ng’ezo mu kusinza kwammwe okw’amaka? Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezo, mukijjukire nti musaanidde okuyamba buli omu mu maka okukiraba nti amateeka ga Yakuwa awamu n’emisingi gye biraga nti atwagala nnyo. (Zab. 119:72) Bwe munaakola bwe mutyo, enkolagana yammwe ne Yakuwa awamu n’enkolagana yammwe mu maka ejja kweyongera okunywera.

15. Oyinza otya okumanya obanga ofunye omutima ogw’amagezi era omuwulize?

15 Oyinza otya okumanya obanga ofunye omutima ogw’amagezi era omuwulize? Ekimu ku bintu ebiyinza okukuyamba kwe kulaba obanga endowooza yo efaanagana n’ey’abaweereza ba Katonda ab’edda, gamba nga Kabaka Dawudi, eyawandiika nti: ‘Nsanyuka okukola by’oyagala, Ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.’ (Zab. 40:8) N’omuwandiisi wa Zabbuli 119 yagamba nti: ‘Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitirizaako okuzibya obudde.’ (Zab. 119:97) Kikwetaagisa okufuba ennyo okufuna okwagala ng’okwo. Weetaaga okunyiikirira okusoma Bayibuli, okusaba, n’okufumiitiriza ku ebyo by’osoma. Ate era osobola okufuna okwagala okwo singa olaba engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kikuganyuddemu mu bulamu bwo.​—Zab. 34:8.

LWANIRIRA EDDEMBE LY’OLINA NG’OMUKRISTAAYO!

16. Bwe tuba ab’okukuuma eddembe erya nnamaddala lye tulina, kiki kye tulina okujjukira?

16 Okumala ebyasa bingi, amawanga agatali gamu galwanye entalo nnyingi nga gagamba nti galwanirira ddembe. Kati olwo ggwe ng’omuweereza wa Yakuwa, tewandifubye nnyo okulwana olutalo olw’eby’omwoyo osobole okukuuma eddembe ly’olina ng’Omukristaayo! Kijjukire nti Sitaani, ensi, awamu n’omwoyo gwayo omubi si be balabe bokka b’olina. Olina n’okulwanyisa obutali butuukirivu bwo awamu n’omutima gwo omulimba. (Yer. 17:9; Bef. 2:3) Kyokka Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku buwanguzi. Buli lw’okola ekituufu, waliwo ebintu nga bibiri ebirungi ebivaamu. Ekisooka, osanyusa omutima gwa Yakuwa. (Nge. 27:11) Eky’okubiri, bwe weeyongera okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku ‘mateeka agaatuukirira, ag’eddembe,’ kikuyamba okuba omumalirivu okusigala mu ‘kkubo efunda’ erituusa mu bulamu. Mu kiseera eky’omu maaso, ojja kufuna eddembe ery’ekitalo Yakuwa ly’asuubizza abo bonna abasigala nga beesigwa gy’ali.​—Yak. 1:25; Mat. 7:13, 14.

17. Lwaki tetusaanidde kuggwamu maanyi nga tukoze ensobi, era Yakuwa ayinza atya okutuyamba?

17 Kyo kituufu nti ebiseera ebimu ffenna tusobya. (Mub. 7:20) Ekyo bwe kikutuukako, tosaanidde kuggwamu maanyi oba kuwulira ng’atakyalina mugaso. Bw’okola ensobi, baako ky’okolawo mu bwangu okutereeza ebiba bisobye. Oluusi kiyinza n’okukwetaagisa okutuukirira abakadde bakuyambe. Yakobo yagamba nti: “Okusaba [kwabwe] okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.” (Yak. 5:15) Bulijjo kijjukire nti Katonda alina okusaasira kungi era yakuleeta mu kibiina kye olw’okuba yalaba ebirungi mu mutima gwo. (Soma Zabbuli 103:8, 9.) Yakuwa tasobola kukwabulira singa ofuba okumuweereza n’omutima gwo gwonna.​—1 Byom. 28:9.

18. Yakuwa bw’aba ow’okutukuuma, kiki kye tulina okukola?

18 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yasabira abatume be abeesigwa 11 ng’agamba Kitaawe nti: “Obakuume olw’omubi.” (Yok. 17:15) Yesu yakiraga nti yali afaayo nnyo ku batume be, era ne leero afaayo nnyo ku bagoberezi be. N’olwekyo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuddamu essaala ya Yesu ng’atukuuma mu biseera bino ebizibu. “[Yakuwa] ngabo eri abo abatambulira mu bugolokofu . . . Ajja kukuuma abo abeesigwa gy’ali.” (Nge. 2:7, 8, NW) Si kyangu kunywerera ku kkubo ery’obulamu, naye kijjukire nti abo bokka abalinywererako be bajja okufuna obulamu obutaggwaawo n’eddembe erya nnamaddala. (Bar. 8:21) N’olwekyo, tokkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kukuggya ku kkubo eryo!

[Obugambo obuli wansi]

a Katonda we yasuubiriza Dawudi “ezzadde” oba omwana eyandisikidde entebe ya Dawudi ey’obwakabaka, Abusaalomu yali yamala dda okuzaalibwa. N’olwekyo, Abusaalomu ateekwa okuba nga yali akimanyi nti Yakuwa yali tamulonze kuba musika wa Dawudi.​—2 Sam. 3:3; 7:12.

b Muyinza okukubaganya ebirowoozo ku 1 Abakkolinso 13:4-8, Pawulo w’ayogerera ku kwagala, ne Zabbuli 19:7-11, awoogera ku miganyulo egiva mu kukwata amateeka ga Yakuwa.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

Leero tuyinza tutya okutegeera abantu abalinga Abusaalomu n’okubeewala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share