Beewaayo Kyeyagalire mu Brazil
EMYAKA mitono emabega, mwannyinaffe Rúbia (1), kati alina emyaka 30, yakyalira mwannyinaffe Sandra (2), eyali aweereza nga payoniya mu kibiina ekimu ekiri mu bukiikaddyo bwa Brazil. Ku olwo lwe yamukyalira, waliwo ekintu ekyamukwatako ennyo ne kimuleetera okubaako enkyukakyuka z’akola mu bulamu bwe. Kiki ekyaliwo? Ka Rúbia atubuulire.
“KYANEEWUUNYISA NNYO”
“Lumu Sandra yantwala ew’omukyala gwe yali ayigiriza Bayibuli. Bwe twali tusoma, omukyala oyo yagamba nti: ‘Sandra, waliwo abawala basatu ku mulimu gye nkolera abaagala okuyiga Bayibuli, naye nnabagambye nti balina okugira nga balindako. Nkimanyi nti olina abantu bangi ab’okuyigiriza Bayibuli omwaka guno.’ Kyaneewuunyisa nnyo okulaba nti abantu abamu mu kitundu ekyo baali balina okulinda okutuusa ng’omubuulizi afunye ekiseera okubayigiriza! Mu kibiina gye nnali, kyali kizibu nnyo okufuna omuyizi wa Bayibuli wadde omu bw’ati. Mu kiseera ekyo kyennyini, nga tukyali ew’omukyala oyo, nnawulira nga njagala okuyamba abantu abaali mu kitundu ekyo okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnasalawo okusengukira mu kitundu Sandra gye yali aweerereza nga payoniya.”
Biki ebyavaamu? Rúbia agamba nti: “Mu myezi ebiri gyokka oluvannyuma lw’okusengukira mu kitundu ekyo, nnalina abayizi ba Bayibuli 15, era mu kiseera kitono, okufaananako Sandra, nange nnalina abantu abaali balinda okutuusa nga nfunye ekiseera okubayigiriza Bayibuli!”
KYAMULEETERA OKULOWOOZA KU BUWEEREZA BWE
Ow’oluganda Diego (3), kati ali mu myaka 20, yakyalirako bapayoniya abaali mu Prudentópolis, akabuga akali mu bukiikaddyo bwa Brazil. Bwe yabakyalira, yakwatibwako nnyo era ekyo ne kimuleetera okulowooza ennyo ku buweereza bwe. Agamba nti: “Nnali siri munyiikivu mu buweereza bwange era nnali mmala essaawa ntono nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Naye bwe nnakyalira bapayoniya abo era ne bambuulira ku birungi bye baali bafunye mu buweereza bwabwe, nnakwatibwako nnyo. Bwe nnalaba essanyu lye baalina, nnawulira nga nange nnandyagadde okuba nga bo.” Oluvannyuma lw’okukyalira bapayoniya abo, Diego yatandika okuweereza nga payoniya.
Bw’oba ng’oli muvubuka, nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira era ng’obaawo mu nkuŋŋaana, okufaananako Diego, naawe owulira ng’omulimu gw’okubuulira tegukuleetera ssanyu? Bwe kiba kityo, waliwo enkyukakyuka ze weetaaga okukola osobole okufuna ku ssanyu eriva mu kuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Kyo kituufu nti si kyangu kwerekereza ebintu ebimu okusobola okugenda okuweereza mu bitundu ng’ebyo. Wadde kiri kityo, waliwo abavubuka bangi abasazeewo okukola bwe batyo. Basazeewo okukyusa mu biruubirirwa byabwe n’okubaako ebintu bye beefiiriza okusobola okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe. Lowooza ku Bruno.
NNEEMALIRE KU KUBUULIRA?
Ow’oluganda, Bruno (4), kati alina emyaka 28, yali asomera mu ssomero eddungi ennyo eritendeka abayimbi, era yalina ekiruubirirwa eky’okufuuka omutendesi w’abakubi w’ebivuga. Mu butuufu, yakuguka nnyo ne kiba nti emirundi mingi baamuyitanga ku mikolo okukulembera abakubi b’ebivuga. Ebiseera bye eby’omu maaso byali birabika nga bijja kuba birungi. Wadde kyali kityo Bruno agamba nti: “Muli nnali mpulira nga waliwo ekimbulako. Nnali mmaze okwewaayo eri Yakuwa, naye nga mpulira nti si muweereza nga bwe ŋŋwanidde kumuweereza, era ekyo kyampisanga bubi nnyo. Nnasaba Yakuwa ne mubuulira engeri gye nnali mpuliramu, era ne njogerako n’ab’oluganda mu kibiina abakulu mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’okukirowoozaako ennyo, nnasalawo okukulembeza obuweereza bwange mu kifo ky’okukulembeza eby’okuyimba. Nnasalawo okuva mu ssomero eritendeka abayimbi ne ŋŋenda okuweereza mu kitundu awaali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako.” Biki ebyavaamu?
Bruno yasengukira mu kabuga akayitibwa Guapiara (omuli abantu nga 7,000), akasangibwa mayiro 160 okuva mu kibuga São Paulo. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi. Agamba nti: “Nnapangisa akayumba akatono omutaali firiiji, ttivi, wadde Intaneeti. Wadde kyali kityo, waliwo ebintu ebirala ebirungi bye nnafuna bye nnali sirina. Nnannyini nnyumba eyo yampeerako ennimiro omwali enva endiirwa n’ebibala!” Ng’ali eyo, Bruno yafunangayo olunaku lumu buli wiiki n’akwata ensawo ye n’ateekamu eby’okulya, amazzi, n’ebitabo n’avuga ppikipiki ye n’agenda okubuulira mu bitundu eby’omu byalo. Abantu abasinga obungi be yasanganga mu bitundu ebyo baali tebawulirangako ku mawulire malungi. Bruno agamba nti: “Nnalina abayizi ba Bayibuli nga 18. Okulaba abayizi ba Bayibuli abo nga bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe kyandeetera essanyu eritagambika!” Agattako nti: “Nnawulira nga nzudde ekyo ekyali kimbulako. Nnafuna essanyu eriva mu kukulembeza Obwakabaka. Essanyu eryo sandisobodde kulifuna singa nnasalawo okwenoonyeza ebintu.” Bruno yasobola atya okweyimirizaawo ng’ali e Guapiara? Agamba nti: “Nnayigirizanga abantu okukuba gita.” Mu ngeri emu, omulimu gw’okutendeka abakubi b’ebivuga nagwo yali akyagukola.
“NNALINA OKUSIGALAYO”
Mwannyinaffe Mariana (5), anaatera okuweza emyaka 30, naye yeesanga mu mbeera efaananako ng’eyo Bruno gye yalimu. Yali looya era ng’afuna ssente nnyingi. Wadde kyali kityo, teyali musanyufu. Agamba nti: “Nnali mpulira ng’eyali ‘agoberera empewo.’” (Mub. 1:17) Baganda baffe ne bannyinaffe bangi baamukubiriza okulowooza ku ky’okutandika okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma lw’okukifumiitirizaako, Mariana, awamu ne mikwano gye abalala Bianca (6), Caroline (7), ne Juliana (8), baasalawo okugenda mu Barra do Bugres, akabuga akali ewala ennyo okuva ewaabwe, basobole okuyambako ekibiina ekiri mu kitundu ekyo mu mulimu gw’okubuulira. Akabuga ako kali kumpi n’ensalo ya Bolivia. Biki ebyavaamu?
Mariana agamba nti: “Nnali njagala kumalayo myezi esatu gyokka. Naye emyezi egyo we gyaggwerako, nnalina abayizi ba Bayibuli 15! Abayizi abo baali bakyetaaga okuyambibwa okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. Bwe kityo, nnali sirina bwe mbagamba nti ŋŋenda kuddayo ewaffe. Nnalina okusigalayo.” Mariana ne banne abasatu baasalawo okusigala. Mariana alina emikisa gyonna gye yafuna olw’okusalawo okusigala ng’abuulira mu kitundu ekyo? Agamba nti: “Okuba nti Yakuwa ankozesa okuyamba abantu okutereeza obulamu bwabwe, kindeetera essanyu. Ndi musanyufu nnyo okuba nti kati nkozesa ebiseera byange n’amaanyi gange okukola ebintu ebiganyula abalala.” Ebyo Caroline bye yayogera biraga engeri ye ne banne gye bawuliramu. Caroline yagamba nti: “Buli kiro bwe ngalamira ku kitanda kyange, mpulira nga ndi mumativu olw’okuba olunaku mba ndumaze nkola omulimu gw’Obwakabaka. Buli kiseera mba ndowooza ku ngeri gye nnyinza okuyambamu abayizi bange aba Bayibuli. Kinsanyusa nnyo okulaba nga bakulaakulana. Mazima ddala Bayibuli ntuufu nnyo bw’egamba nti: ‘Mulege mutegeere Mukama nga mulungi.’”—Zab. 34:8.
Nga Yakuwa ateekwa okuba nga musanyufu nnyo okulaba nga waliwo abavubuka bangi okwetooloola ensi ‘abeewaddeyo n’omwoyo ogutawalirizibwa’ okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu bitundu ebyesudde! (Zab. 110:3; Nge. 27:11) Abo bonna abeewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa bafuna emikisa gya Yakuwa.—Nge. 10:22.