Beewaayo Kyeyagalire mu Ecuador
OW’OLUGANDA omu ayitibwa Bruno enzaalwa ya Yitale yayolekagana n’okupikirizibwa. Yali yaakamaliriza emisomo gye egya siniya ng’ayise bulungi nnyo, era ab’eŋŋanda ze n’abasomesa be baali bamukubiriza okugenda ku yunivasite. Emyaka mitono emabega, Bruno yali yeewaayo eri Yakuwa era ng’amusuubizza okukulembeza by’ayagala mu bulamu bwe. Bwe yayolekagana n’okupikirizibwa, kiki Bruno kye yasalawo okukola? Agamba nti: “Nnasaba Yakuwa ne mugamba nti nja kutuukiriza obweyamo bwange gy’ali era nkulembeze by’ayagala. Naye era nnamugamba nti njagala mbeere n’eby’okukola bingi mu buweereza bwe.”
Nga wayise emyaka mitono, Bruno yagenda mu nsi ya Ecuador eri mu bukiikaddyo bwa Amerika. Agamba nti: “Yakuwa yaddamu okusaba kwange okusinga ne bwe nnali nsuubira.” Ekyasinga okumwewuunyisa kwe kuba nti bwe yatuuka mu Ecuador, yasangayo abavubuka abalala bangi abaali bagenze mu nsi eyo okusobola okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.
ABAVUBUKA ABEESIGA YAKUWA
Okufaananako abavubuka nkumi na nkumi okwetooloola ensi, Bruno yeesiga Yakuwa n’akolera ku bigambo bino: “Munkeme . . . [mulabe] oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa.” (Mal. 3:10) Olw’okuba baagala Yakuwa, Bruno awamu n’abavubuka abalala bangi baasalawo okukozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’ebintu byabwe okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu nsi omuli obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.
Bwe baali baakatuuka mu Ecuador, abavubuka abo baakiraba nti mu nsi eyo mwalimu ‘eby’okukungula bingi naye ng’abakozi batono.’ (Mat. 9:37) Ng’ekyokulabirako, Jaqueline, eyava mu Bugirimaani, yawandiikira ofiisi y’ettabi ly’omu Ecuador ng’agamba nti: “Nnaakamala emyaka ebiri gyokka mu Ecuador, naye kati nnina abayizi ba Bayibuli 13, nga 4 ku bo bajja mu nkuŋŋaana obutayosa.” Chantal, eyava mu Canada, agamba nti: “Mu 2008, nnagenda mu kitundu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu Ecuador. We nnatuukirayo, ekitundu ekyo kyalimu ekibiina kimu kyokka, naye kati kirimu ebibiina bisatu ne bapayoniya abasukka mu 30. Kindeetedde essanyu lingi okulaba ng’abapya bangi bakulaakulana mu by’omwoyo!” Agattako nti: “Gye buvuddeko awo nnagenda mu kibuga ekisangibwa mu nsozi za Andes. Ekibuga ekyo kirimu abantu abasukka mu 75,000 naye mulimu ekibiina kimu kyokka. Abantu bangi baagala amazima era nnyumirwa nnyo okubuulira mu kibuga ekyo.”
OBUZIBU BWE BASANZE
Ebiseera ebisinga tekiba kyangu kugenda kuweereza mu nsi ndala. Mu butuufu, abamu ku bavubuka abaagenda okuweereza mu Ecuador baayolekagana n’obuzibu obutali bumu nga bakyali na waabwe. Kayla, eyava mu Amerika, agamba nti: “Ebigambo ab’oluganda abamu gye nnava bye baayogera byali bimalamu amaanyi. Baali tebategeera nsonga lwaki nnali njagala okugenda okuweereza nga payoniya mu nsi endala. Ebiseera ebimu nneebuuzanga, ‘Naye ddala kino kye njagala okukola kya magezi?’” Wadde kyali kityo, Kayla yasalawo okugenda okuweereza mu Ecuador. Agamba nti: “Okusaba ennyo Yakuwa n’okwogerako n’ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo kyannyamba okukiraba nti Yakuwa awa omukisa abo abeewaayo kyeyagalire okumuweereza.”
Obuzibu abasinga obungi bwe boolekagana nabwo kwe kuyiga olulimi olulala. Siobhan, eyava mu Ireland, agamba nti: “Tekyannyanguyiranga kwogera ekyo kye nnabanga njagala okwogera. Nnalina okuba omugumiikiriza, okufuba okuyiga obulungi olulimi olupya, n’okwesekerera bwe nnabanga nkoze ensobi.” Anna, eyava mu Estonia, agamba nti: “Ebizibu, gamba ng’ebbugumu eringi, enfuufu, n’obutaba na mazzi gookya mu binaabiro byali bitono nnyo bw’obigeraageranya ku kuyiga olulimi Olusipeyini. Ebiseera ebimu nnawuliranga nga njagala kubivaako. Nnalina okuyiga okumalira ebirowoozo byange ku birungi bye nnali ntuuseeko mu kifo ky’okubimalira ku nsobi ze nnali nkola.”
Obuzibu abamu bwe bafuna bwe bw’okuwulira ekiwuubaalo olw’obutaba kumpi na beewaabwe. Jonathan, eyava mu Amerika agamba nti: “Bwe nnali nnaakatuuka mu Ecuador, nnatandika okuwulira ekiwuubaalo olw’obutaba kumpi na ba ŋŋanda zange na mikwano gyange. Naye okwemalira ku kusoma Bayibuli ne ku mulimu gw’okubuulira kyannyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo. Mu kiseera kitono, nnatandika okufuna ebibala mu mulimu gw’okubuulira era ne nfuna n’emikwano mingi, ekintu ekyannyamba okuddamu okufuna essanyu.”
Obuzibu obulala abamu bwe bafuna buba bukwata ku mbeera ya bulamu. Ebiseera ebisinga obungi embeera tebeera y’emu ng’eyo gy’obaddemu mu nsi yo. Beau, eyava mu Canada, agamba nti: “Bw’obeera mu nsi yo, ebintu, gamba ng’amasannyalaze n’amazzi oyinza obutabitwala ng’ekikulu. Naye wano amazzi gabula buli kiseera era n’amasannyalaze gavaavaako nnyo.” Mu nsi nnyingi ezikyakula abantu baavu nnyo, eby’entambula bizibu nnyo era bangi tebamanyi kusoma. Ines, eyava mu Austria, asobodde okwolekagana n’ebizibu ng’ebyo ng’afuba okulowooza ku ngeri ennungi abantu b’omu kitundu ze balina. Agamba nti: “Basembeza abagenyi, bakkakkamu, beetegefu okuyamba, bawombeefu, n’okusinga byonna baagala nnyo okuyiga ebikwata ku Katonda.”
“OMUKISA, NE WATABA NA BBANGA WE GULIGYA”
Wadde ng’abavubuka abo abaweereza mu Ecuador beefiirizza ebintu bingi, bakirabye nti Yakuwa abakoledde ebintu “ebisingira ddala ebyo bye” baali basuubira. (Bef. 3:20) Mu butuufu, bawulira nti bafunye ‘omukisa ne wataba na bbanga we gugya.’ (Mal. 3:10) Bino bye bimu ku bigambo abamu ku bo bye boogedde:
Bruno: “Ekitundu gye nnasooka okuweerereza mu Ecuador kisangibwa mu bitundu bya Amazon. Oluvannyuma, ofiisi y’ettabi mu Ecuador bwe yali egaziyizibwa, nnayambako mu mulimu gw’okuzimba. Kati mpeereza ku Beseri. Bwe nnali nkyali mu Yitale, nnasalawo okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, era mu butuufu annyambye okubeera n’eby’okukola bingi mu buweereza bwe.”
Beau: “Okuweereza mu Ecuador kinnyambye okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa, kubanga ebiseera byange byonna mbimalira ku bintu eby’omwoyo. Ate era nsobodde n’okulambula ebifo ebirabika obulungi bingi, ekintu kye nnali njagala ennyo.”
Anna: “Nnali sikirowoozangako nti nze, Omukristaayo ali obwannamunigina, nnali nsobola okuba n’obulamu ng’obw’abaminsani. Naye kati mmanyi nti ekyo kisoboka. Yakuwa ampadde emikisa mingi. Nsobodde okuyamba abantu okufuuka abayigirizwa, okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, era nfunye n’emikwano mingi.”
Elke: “Bwe nnali ewaffe mu Austria, nnateranga okusaba Yakuwa annyambe okufunayo omuyizi wa Bayibuli waakiri omu. Naye wano Ecuador, nnina abayizi ba Bayibuli 15 balamba! Okulaba abayizi bange aba Bayibuli nga bakulaakulana, kindeetedde essanyu lingi.”
Joel: “Okuweereza Yakuwa mu nsi endala kireeta essanyu lingi. Oyiga okumwesiga ennyo, era ofuna emikisa mingi! Mu mwaka gwange ogwasooka nga nnaakava mu Amerika, ababuulizi abaali mu kibinja mwe ndi beeyongera okuva ku babuulizi 6 okutuuka ku babuulizi 21. Abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo baali abantu 110.”
ATE KIRI KITYA ERI GGWE?
Ggwe muganda waffe oba mwannyinaffe omuvubuka, naawe embeera yo ekusobozesa okugenda okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Kya lwatu nti okusalawo ku nsonga ng’eyo enkulu kikwetaagisa okweteekateeka obulungi. N’ekisinga obukulu olina okuba ng’oyagala nnyo Yakuwa awamu n’abantu. Bw’oba ng’oyagala nnyo Yakuwa awamu n’abantu era ng’otuukiriza ebisaanyizo, saba Yakuwa omutegeeze nti oyagala okuweereza mu nsi endala. Ate era buulirako bazadde bo Abakristaayo n’abakadde mu kibiina ku nsonga eyo. Oyinza okukiraba nti naawe osobola okuweereza Yakuwa mu buweereza obwo obutukuvu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
“Okusaba ennyo Yakuwa n’okwogerako n’ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo kyannyamba okukiraba nti Yakuwa awa omukisa abo abeewaayo kyeyagalire okumuweereza.”—Kayla eyava mu Amerika
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Okweteekateeka okuweereza mu nsi endala
• Ba n’enteekateeka y’okwesomesa Bayibuli
• Soma Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2011 olupapula 4-6
• Yogerako n’abo abaaweerezaako mu nsi endala
• Noonyereza ku byafaayo by’ensi gy’oyagala okugenda okuweerereza ne ku mpisa y’abantu baayo
• Gezaako okuyiga olulimi olwogerwa mu nsi eyo
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Engeri abamu gye basobodde okweyimirizaawo nga baweereza mu nsi endala
• Baddayoko mu nsi zaabwe ne bakolayo emyezi mitonotono
• Bateeka abapangisa mu nnyumba zaabwe oba bafuna abantu okuddukanya bizineesi ze baaleka ewaabwe
• Bakola emirimu okuyitira ku Intaneeti
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4, 5]
1 Jaqueline eyava mu Bugirimaani
2 Bruno eyava mu Yitale
3 Beau eyava mu Canada
4 Siobhan eyava mu Ireland
5 Joel eyava mu Amerika
6 Jonathan eyava mu Amerika
7 Anna eyava mu Estonia
8 Elke eyava mu Austria
9 Chantal eyava mu Canada
10 Ines eyava mu Austria