Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?
1. Kiki ekyaleetera Pawulo ne banne okugenda e Makedoni?
1 Awo nga mu mwaka gwa 49 E.E., omutume Pawulo yava mu Busuuli eky’omu Antiyokiya n’agenda ku lugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani. Ekigendererwa kye kyali kya kukyalira Efeso n’ebibuga ebirala eby’omu Asiya Omutono. Kyokka, aba agenda, n’afuna obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ‘okugenda e Makedoni.’ Ye ne banne bakkiriza, era baafuna enkizo ey’okutandikawo ekibiina ekyasooka mu kitundu ekyo. (Bik. 16:9, 10; 17:1, 2, 4) Leero, ebitundu ebimu eby’ensi birina obwetaavu bwa maanyi obw’abakunguzi. (Mat. 9:37, 38) Osobola okuyamba?
2. Lwaki abamu tebalowooza ku kya kugenda mu nsi ndala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu?
2 Oboolyawo olina omwoyo ogw’obuminsani ng’ogwa Pawulo, naye nga tonnalowooza nnyo ku kya kugenda mu nsi ndala. Okugeza, oyinza okuba nga tosobola kugenda kutendekebwa mu Ssomero lya Giriyadi olw’emyaka gyo oba olw’okuba oli mwannyinaffe ali obwannamunigina oba ng’olina abaana abakyali abato. Oboolyawo tonnalowooza ku kya kugenda mu nsi ndala olw’okuba teweekakasa nti osobola okuyiga olulimi olulala. Oba oyinza okuba nga wasengukira mu nsi mw’oli olw’embeera y’eby’enfuna naye nga tonnasalawo kuddayo mu nsi yo. Kyokka, oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa, oyinza okulaba nti embeera ng’ezo tezandikugaanye kugenda mu nsi ndala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu awali obwetaavu.
3. Lwaki tekikwetaagisa kusooka kutendekebwa ng’omuminsani okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwo mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu?
3 Kikwetaagisa Kusooka Kutendekebwa ng’Omuminsani? Kiki ekyasobozesa Pawulo ne banne okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe? Beesiga Yakuwa n’omwoyo gwe omutukuvu. (2 Kol. 3:1-5) N’olwekyo, ne bwe kiba nti embeera zo tezikusobozesa kufuna kutendekebwa okw’enjawulo, osobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwo ng’oli mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu. Ate era, kijjukire nti, waliwo okutendekebwa kw’ofuna okuyitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Bw’oba olina ekiruubirirwa eky’okugenda mu Ssomero lya Giriyadi oba mu ssomero eddala eriringa eryo, okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde okuloza ku buweereza obw’obuminsani kijja kukusobozesa okufuna obumanyirivu bw’oyinza okukozesa mu biseera eby’omu maaso singa oba oyitiddwa okwongera okutendekebwa.
4. Lwaki abakuze mu myaka tebanditidde kugenda kubuulira mu nsi endala oba mu bitundu awali obwetaavu?
4 Abakuze mu Myaka: Abakuze mu myaka, nga bakulu mu by’omwoyo era nga tebalina bulwadde bubatawaanya nnyo basobola okuba ab’omugaso ennyo mu nsi oba mu kitundu awali obwetaavu. Wawummula ku mulimu? Abamu ku abo abafuna pensoni basobola bulungi okuweereza mu nsi ezikyakula oba mu byalo, olw’okuba bwe bagenda mu bitundu ebyo ensaasaanya yaabwe nga mw’otwalidde n’ebisale by’eddwaliro, eba ya wansi nnyo bw’ogeraageranya n’ebitundu gye bava.
5. Yogera ku kyokulabirako ekikwata ku w’oluganda eyawummula ku mulimu eyagenda mu nsi endala.
5 Ow’oluganda aweereza nga payoniya era omukadde mu kibiina, eyawummula ku mulimu ng’abeera mu nsi ekozesa Olungereza, yagenda mu kitundu eky’obulambuzi ekimanyiddwa ennyo mu bukiika ddyo bwa Asiya okuyamba ekibinja ky’ababuulizi mwenda aboogera Olungereza. Ekibinja ekyo kyabuulira abagwira 30,000 ababeera mu kitundu ekyo. Mu bbanga lya myaka ebiri abantu 50 baali bajja mu nkuŋŋaana. Ow’oluganda oyo yawandiika ng’agamba nti: “Okujja wano kunsobozesezza okufuna emikisa mingi nnyo!”
6. Yogera ku kyokulabirako ekikwata ku mwannyinaffe ali obwannamunigina eyagenda mu nsi awali obwetaavu obusingako.
6 Bannyinaffe Abali Obwannamunigina: Yakuwa akozesezza bannyinaffe mu ngeri eyeewuunyisa okusaasaanya amawulire amalungi mu nsi ezitali zimu oba mu bitundu awali obwetaavu obusingako. (Zab. 68:11) Mwannyinaffe omu omuvubuka ali obwannamunigina yalina ekiruubirirwa eky’okugenda mu nsi endala asobole okugaziya ku buweereza bwe, naye bazadde be baali beeraliikirivu nti ayinza okufunirayo ebizibu. N’olwekyo yasalawo okugenda mu nsi etaliimu butabanguko era eyali obulungi mu by’enfuna, yawandiikira ofiisi y’ettabi, n’emuyamba okutegeera ebikwata ku nsi eyo. Emyaka omukaaga gye yamala mu nsi eyo, yafuna emikisa mingi. Agamba: “Nandibadde n’emikisa mitono nnyo egy’okufuna abayizi ba Bayibuli nga ndi mu nsi yange. Naye okuweereza mu nsi awali obwetaavu obusingako kinsobozesezza okufuna abayizi ba Bayibuli bangi n’okukulaakulanya obusobozi bwange obw’okuyigiriza.”
7. Yogera ku kyokulabirako ekikwata ku maka agaagenda mu nsi endala okubuulira.
7 Amaka: Bw’oba olina abaana, ekyo kyandikulemesezza okugenda okubuulira amawulire amalungi mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu? Amaka agamu omuli abaana ababiri, ng’omu wa myaka munaana ate ng’omulala wa myaka kkumi, gaasalawo okukola ekyo. Maama yawandiika ng’agamba nti: “Tuli basanyufu nnyo olw’okuba tusobodde okukuza abaana baffe nga tuli wano, kubanga basobodde okubeerako wamu ne bapayoniya ab’enjawulo n’abaminsani. Tufunye emiganyulo mingi olw’okuweereza awali obwetaavu obusingako.”
8. Kisoboka okuweereza mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde nga tosoose kuyiga lulimi lulala? Nnyonnyola.
8 Okuyiga Olulimi Olulala: Bw’olowooza ku ky’okuyiga olulimi olulala owulira nti kikuzibuwalira okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde? Olulimi lwo luyinza okuba nga lwogerwa mu nsi endala oba mu kitundu awali obwetaavu obusingako obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Omugogo ogumu ogw’abafumbo aboogera Olungereza, baagenda mu nsi eyogera Olusipanisi omuli abantu abaasengukirayo aboogera Olungereza. Oluvannyuma lwa ofiisi y’ettabi okubategeeza ebikwata ku bibiina ebiwerako ebyogera Olungereza ebirina obwetaavu, baalondako kimu era ne bakikyalira emirundi ebiri. Baddayo eka, ne batandika okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe eya buli mwezi, ne kibasobozesa okufissaawo ssente buli mwezi okumala omwaka mulamba. Ekiseera bwe kyatuuka eky’okugenda, ab’oluganda mu nsi eyo baabayamba okufuna ennyumba ey’essente ensaamusaamu.
9, 10. Abo abaasengukira mu nsi endala kiki kye bayinza okulowoozaako, era lwaki?
9 Abaasengukira mu Nsi Endala: Wasengukira mu nsi endala, oboolyawo nga tonnayiga mazima? Wayinza okuba nga waliwo obwetaavu obusingako obw’ababuulizi mu nsi yo. Oyinza okulowooza ku ky’okuddayo mu nsi yo osobole okuyamba? Kiyinza okukubeerera ekyangu okufuna omulimu n’aw’okusula okusinga omuntu avudde mu nsi endala. Kyandiba nti n’olulimi olumanyi. Okugatta ku ekyo, abantu kiyinza okubanguyira okukuwuliriza ng’obatwalidde obubaka bw’Obwakabaka okusinga okuwuliriza omuntu gwe batwala nti mugwira.
10 Omusajja omu yava mu Albania n’agenda mu Italy ng’omunoonyi w’obubudamu, yafuna omulimu omulungi, era n’aba ng’aweereza ab’omu maka ge ssente mu Albania. Oluvannyuma lw’okuyiga amazima, yatandika okuyigiriza ekibinja kya bapayoniya ab’enjawulo Abayitale olulimi Olulubaniya abaali bagenda mu Albania awaali obwetaavu obusingako. Ow’oluganda yawandiika ng’agamba nti: “Baali bagenda mu nsi gye nnava. Wadde nga baali tebamanyi lulimi, baali baagala nnyo okugenda. Nze olulimi lwange Lulubaniya. Kati olwo nnali nkola ki mu Italy?” Ow’oluganda yasalawo okuddayo mu Albania okuyamba mu kubunyisa amawulire amalungi. Agamba: “Ssejjusa kuleka mulimu gwange ne ssente ze nnali nfuna mu Italy. Nnafuna omulimu ogusingayo obulungi mu Albania. Omulimu omukulu era oguleeta essanyu erya nnamaddala gwe gw’okuweereza Yakuwa n’ebyo byonna by’olina!”
11, 12. Abo abaagala okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu basaanidde kukola ki?
11 Engeri gy’Oyinza Okukikolamu: Nga tebannagenda e Makedoni, ekigendererwa kya Pawulo ne banne, kyali kya kugenda e bugwanjuba, naye “omwoyo omutukuvu gwabagaana,” n’olwekyo baakyuka ne bagenda e bukiika kkono. (Bik. 16:6) Bwe baali banaatera okutuuka mu Bisuniya, Yesu teyabakkiriza kugendayo. (Bik. 16:7) Ng’ayitira mu Yesu, Yakuwa akyagenda mu maaso n’okulabirira omulimu gw’okubuulira. (Mat. 28:20) N’olwekyo, bw’oba olowooza ku ky’okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu, saba Yakuwa akuwe obulagirizi.—Luk. 14:28-30; Yak. 1:5; Laba akasanduuko akalina omutwe ogugamba nti: “Omanya Otya nti Ensi oba Ekitundu gy’Oyagala Okugenda Eriyo Obwetaavu?”
12 Saba abakadde n’Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo bakuwe ku magezi. (Nge. 11:14; 15:22) Soma ebitabo ebikubiddwa omuddu omwesigwa ebyogera ku kuweereza mu nsi endala era noonyereza ebikwata ku nsi oba ekitundu gy’oyagala okugenda. Osobola okukyalako mu nsi gy’oyagala okugendamu, oboolyawo n’omalayo ennaku eziwerako? Bwe kiba nti ddala oli mwetegefu okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekirala, oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi eyo ekutegeeze ebisingawo, ng’okozesa endagiriro eri mu Yearbook eyaakafulumizibwa. Kyokka, mu kifo ky’okuweereza ebbaluwa yo butereevu ku ofiisi y’ettabi, giwe abakadde b’omu kibiina kyo, abajja okubaako n’ebirala bye boongerezaako nga tebannaba kugiweereza.—Laba akatabo, Organized To Do Jehovah’s Will, olupapula 111-112.
13. Ofiisi y’ettabi eneekuyamba etya, naye ate ggwe obuvunaanyizibwa bwo bwe buluwa?
13 Ofiisi y’ettabi ejja kukutegeeza ebikwata ku nsi oba ekitundu gy’oyagala okugenda ekinaakuyamba okusalawo obulungi, naye tejja kukufunira biwandiiko byetaagibwa mu mateeka, gamba nga, eby’obutuuze, viza, n’ebiwandiiko ebirala oba okukufunira aw’okusula. Zino nsonga ezikukwatako gwe kennyini, era ze weetaaga okunoonyerezaako nga tonnaba kugenda. Okugatta ku ekyo, ggwe ovunaanyizibwa okutuukirira ababaka abaweereza ku kitebe ky’ensi gy’oyagala okugendamu oba gy’ovaamu okumanya ebisingawo ku ngeri y’okufunamu viza oba ebiwaandiiko ebikukkiriza okukolerayo. Abo abaagala okugenda mu nsi endala oba mu kitundu ekirala balina okuba nga basobola bulungi okukola ku byetaago byabwe n’ebyo ebibeetaagisa mu mateeka.—Bag. 6:5.
14. Magezi ki agatuweereddwa bwe tuba tukyala oba nga tugenda mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa?
14 Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukugirwa: Mu nsi ezimu baganda baffe ne bannyinaffe, balina okuba abeegendereza nga babuulira. (Mat. 10:16) Ababuulizi ababa bagenzeeyo oba abakyaddeyo bayinza okwesanga nga batadde omulimu gwaffe n’aboluganda ababeera mu kitundu ekyo mu kabi. Bw’oba olowooza ku ky’okugenda mu kitundu ng’ekyo, nga tonnaba kugenda, osabibwa okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi yo okuyitira mu kakiiko k’abakadde ab’omu kibiina kyo.
15. Abo abatasobola kugenda mu bitundu birala bayinza batya okugaziya ku buweereza bwabwe?
15 Bw’Oba Tosobola Kugenda: Bw’oba tosobola kugenda mu nsi ndala oba mu kitundu kirala, toggwamu maanyi. Oboolyawo waliwo ‘oluggi olulala olunene olw’okukola emirimu’ olukuguliddwawo. (1 Kol. 16:8, 9) Omulabirizi w’ekitundu ayinza okuba ng’amanyi okumpimpi awali obwetaavu. Oboolyawo oyinza okuyamba ekibiina oba ekibinja ekiri okumpi ekyogera olulimi olugwira. Oba oyinza okuba ng’osobola okugaziya ku buweereza bwo mu kibiina ky’olimu. K’obe ng’oli mu mbeera ki, ekikulu kwe kuba nti osinza Yakuwa n’omutima gwo gwonna.—Bak. 3:23.
16. Twandyeyisizza tutya singa wabaawo ow’oluganda ayagala okugenda mu nsi endala?
16 Waliwo Omukristaayo akuze mu by’omwoyo gw’omanyi alina ekiruubirirwa eky’okuweereza mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu? Bwe kiba kityo, muwagire era muzzeemu amaanyi! Pawulo we yaviira mu Antiyokiya eky’omu Busuuli, kye kyali ekibuga eky’okusatu mu bunene mu Bwakabaka bwa Rooma (kyali kiddirira Rooma ne Alexandria mu bunene). Olw’okuba kyali kitundu kinene, kirabika ekibiina ky’omu Antiyokiya kyali kikyetaaga obuyambi bwa Pawulo era bwe yandigenze bandisaaliddwa. Kyokka, Bayibuli teraga nti ab’oluganda mu kibiina ekyo baagezaako okumumalamu amaanyi nga tebaagala agende. Kirabika mu kifo ky’okuba n’endowooza egudde olubege, baakijjukira nti “ennimiro ye nsi.”—Mat. 13:38.
17. Nsonga ki ezandituleetedde okulowooza ku ky’okugenda e Makedoni?
17 Pawulo ne banne baafuna emikisa mingi olw’okukkiriza okugenda e Makedoni. Nga bali e Makedoni ekibuga eky’omu Firipi, baasanga Liidiya, era “Yakuwa yaggula omutima gwe n’assaayo omwoyo ku bintu Pawulo bye yali ayogera.” (Bik. 16:14) Lowooza ku ssanyu Pawulo ne baminsani banne lye baafuna Liidiya n’ab’ennyumba ye bwe baabatizibwa! Mu bitundu bingi eby’ensi, waliyo abantu ab’emitima emirungi abalinga Liidiya abatannaba kutuusibwako bubaka bw’Obwakabaka. Singa ‘ogenda e Makedoni,’ ojja kufuna essanyu eriva mu kuzuula n’okuyamba abantu ng’abo.
[Akasanduko akali ku lupapula 5]
Omanya Otya nti Ensi oba Ekitundu gy’Oyagala Okugenda Eriyo Obwetaavu?
• Kebera mu Yearbook eyaakafulumizibwa. Weetegereze omuwendo gw’abantu buli mubuulizi b’alina okubuulira oba wandiikira ofiisi y’ettabi ekuyambe okumanya ebikwata ku kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu.
• Kozesa Watch Tower Publications Index okuzuula ebitundu ebiri mu bitabo ebirala ebyogera ku nsi eyo.
• Yogerako n’ababuulizi abaakyalako oba abaali babeera mu nsi eyo oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu.
• Bw’oba olowooza ku ky’okugenda mu nsi oba mu kitundu ekirala gy’osobola okubuulira mu lulimi lwo, wandiikira ofiisi y’ettabi oba ekibiina ekiri okumpi, kikuyambe okumanya omuwendo gw’abantu abali mu kitundu ekyo aboogera olulimi lwo.