OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO | WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWAKA GW’OBUWEEREZA OMUPYA
Okugenda Awali Obwetaavu Obusingako
Kyetaagisa okukkiriza okusobola okuva mu kitundu ky’omanyidde n’ogenda mu kitundu ekipya osobole okugaziya ku buweereza bwo. (Beb 11:8-10) Bw’oba ng’olowooza ku ky’okugenda mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, yogerako n’abakadde ab’omu kibiina kyo. Biki ebisobola okukuyamba okumanya obanga onoosobola okugenda okuweerereza mu kitundu ekirala era n’ekitundu eky’okugendamu? Soma ebitundu ebikwata ku kuweerereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Yogerako n’abo abaagenda okuweerereza mu kibiina awali obwetaavu obusingako. (Nge 15:22) Saba Yakuwa akuwe obulagirizi. (Yak 1:5) Ate era noonyereza ku kitundu ky’oyagala okugendamu, era bwe kiba kisobola, genda obeereko mu kitundu ekyo okumala ennaku eziwera nga tonnasalawo kugenda kuweererezaayo.
MULABE VIDIYO, YOLEKA OKUKKIRIZA OYINGIRE MU LUGGI OLUNENE OLW’EMIRIMU—GENDA AWALI OBWETAAVU OBUSINGAKO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
Nkyukakyuka ki Gabriel ze yalina okukola, era kiki ekyamuyamba?