“Nsenguke?”
1 Mu kwanukula ekiragiro kya Yesu nti “mugende mufuule amawanga gonna abayigirizwa,” abaweereza ba Yakuwa bangi basenguse okusobola okuweereza awali obwetaavu obusingawo. (Mat. 28:19) Bakoppa Pawulo, eyayanukula omulanga guno: ‘Jjangu e Makedoni otuyambe.’ (Bik. 16:9) Kino kiyinza kukolebwa kitya mu ngeri ey’omuganyulo?
2 Kwataganya Ekintu Kimu ku Kimu: Waliwo ekitundu ekitatera kubuulirwamu mu kibiina kyo? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okukola mu kitundu ekyo. Nga tonnasalawo kusengukira mu kifo ekirala, weebuuze ku bakadde obanga bakusemba okusenguka. Bwe baba bakusemba, oyinza n’okubuuza omulabirizi wa circuit oba ng’amanyi ekibiina ekiri okumpimpi gy’oyinza okugaziyizza obuweereza bwo. Ku ludda olulala, oluvannyuma lw’okubalirira byonna ebizingirwamu n’obwegendereza, oyinza okulowooza ku kuyamba mu kitundu ekirala eky’ensi yo oba mu nsi endala. Kuno bwe kuba nga kwe kwagala kwo, gwe awamu n’akakiiko k’abakadde mu kibiina kyo musaanidde okuwandiikira ofiisi y’ettabi okubategeeza gy’oyagala okuweerereza, era ng’olaga ebikukwatako mu nteekateeka ya teyokulase. Kyandibadde kya magezi okusooka okukyalako mu kitundu ekyo nga tonnasalawo kusenguka.
3 Weegendereze Ebikwata ku Kusenguka: Baganda baffe bangi basengukira mu nsi endala kubanga banoonya omutindo gw’obulamu ogusingawo obulungi oba okuwona okunyigirizibwa. Mu kuluubirira ekyo, abamu bagudde mu mikono gy’abantu ababi ababasuubiza okubayamba okugenda mu nsi endala kyokka ne babaabulira oluvannyuma lw’okubaggyako sente zaabwe. Mu mbeera ezimu abantu bano bagezaako okuwaliriza abasenguse okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. Bwe bagaana, balekebwa awo nga tebalina bukuumi bwonna mu nsi gye basengukidde. Bwe kityo, embeera y’abo abasenguse efuuka mbi nnyo n’okusinga bwe yali mu nsi yaabwe. Bayinza n’okusaba ab’oluganda okubasuzza oba n’okubayamba, mu ngeri eyo ne batikka omugugu amaka amalala ag’Abakristaayo nago agaba goolekagana n’ebizibu byago. Ab’omu maka abamu bawuliddwa okuva ku bannaabwe, era amaka ganafuye mu by’omwoyo olw’okusenguka ng’okwo okukolebwa awatali kubalirira.—1 Tim. 6:8-11.
4 Bw’oba ng’oyagala okusenguka okubaako bye weefunira, kijjukire nti wonna gy’obeera, ebaayo ebizibu eby’okwolekagana nabyo. Kiba kyangu okuvvuunuka ebizibu ng’oli mu kifo gy’omanyi olulimi n’obuwangwa, okusinga okutandika obulamu obuppya mu mbeera z’otomanyiiridde.