LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 9/15 lup. 3-7
  • Mpeererezza mu Kiseera Omubadde Okukulaakulana okw’Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mpeererezza mu Kiseera Omubadde Okukulaakulana okw’Amaanyi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okugumira Okuyigganyizibwa
  • Enkuŋŋaana za Disitulikiti Zaatuzzaamu Nnyo Amaanyi
  • Okwenyigira mu Bujjuvu mu Buweereza
  • Okuweereza ng’Omulabirizi w’Ekitundu
  • Okuweereza ng’Abaminsani
  • Okuweereza ku Ttabi
  • Abalala Bangi Beenyigira mu Buweereza
  • Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna—We Buntuusizza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Nnyumiddwa Okuyiga n’Okuyigiriza Abalala Ebikwata ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yakuwa Yampa Emikisa olw’Ebyo Bye Nnasalawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 9/15 lup. 3-7

Mpeererezza mu Kiseera Omubadde Okukulaakulana okw’Amaanyi

Byayogerwa Harley Harris

Nga Ssebutemba 2, 1950, bwe twali ku lukuŋŋaana lw’ekitundu mu kibuga Kennett eky’omu ssaza ly’e Missouri mu Amerika, twalumbibwa ekibinja ky’abantu. Meeya w’ekibuga yaleeta abaserikale abakuumi okutangira abantu abaali baagala okutukolako akabi. Abaserikale abo abaali bakutte emmundu baayimirira ku mabbali g’oluguudo. Ng’eno abantu bwe batuweereza ebigambo ebisongovu, twatambula ne tuyingira emmotoka zaffe ne tuvuga ne tugenda mu kibuga Cape Girardeau, Missouri, gye twafunira ekitundu ekisembayo eky’olukuŋŋaana. Eyo gye nnabatirizibwa ku myaka 14 egy’obukulu. Kati ka mbabuulire engeri gye nnasobola okuweerezaamu Yakuwa mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo.

NG’EMYAKA gya 1930 gyakatandika, bajjajja bange awamu n’abaana baabwe omunaana baawuliriza obutambi okwali emboozi z’Ow’oluganda Rutherford era ne bakiraba nti baali bazudde amazima. Bazadde bange, Bay ne Mildred Harris, baabatizibwa mu 1935 ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali e Washington, D.C. Nga baasanyuka nnyo okukimanya nti be bamu ku ‘b’ekibiina ekinene,’ ekyategeerwa ku lukuŋŋaana olwo!​—Kub. 7:9, 14.

Nnazaalibwa mu mwaka gwa 1936. Omwaka ogwaddirira, bazadde bange baasengukira e Mississippi, ekitundu ekyali kyesudde. Nga tuli eyo, tetwalina wadde mulabirizi wa kitundu atukyalira. Bazadde bange baawuliziganyanga ne Beseri era twasobolanga okugenda mu nkuŋŋaana ennene, era okumala ekiseera, ako ke kakisa kokka ke twafunanga okwogerako n’ab’oluganda n’okubeerako awamu nabo.

Okugumira Okuyigganyizibwa

Mu kiseera kya Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Mu kiseera ekyo, twali tusengukidde mu kitundu ekiyitibwa Mountain Home, Arkansas. Lumu, nga nnina emyaka etaano, nnali ne taata nga tubuulira ku luguudo. Omusajja yasikako taata magazini n’azookya omuliro. Yatuyita batiitiizi olw’okuba twali tugaanye okwenyigira mu lutalo. Saalina kya kukola okuggyako okukaaba obukaabi. Taata yasigala mukkakkamu era teyanyega kigambo kyonna okutuusa omusajja oyo bwe yatambula n’agenda.

Kyokka waliwo n’abantu abaatuyisanga obulungi. Lumu ekibinja ky’abantu bwe kyatuzingiriza mu mmotoka yaffe, omukungu atwala ekitundu ekyo yasembera alabe ekyali kigenda mu maaso. Yabuuza nti: “Mutawaana ki?” Omusajja omu yaddamu nti, “Baabano Abajulirwa ba Yakuwa abatayagala kulwanirira nsi yaabwe!” Omukungu oyo yayimirira ku mmotoka yaffe n’ayogerera waggulu nti: “Nnalwana Ssematalo I, era n’ono nja kumulwana! Muleke abantu bano bagende. Tebalina mutawaana gwonna!” Mpolampola abantu abo abaali batuzingizza baavaawo ne bagenda. Nga twasiima nnyo abantu ng’abo abalungi abaatulaga ekisa!​—Bik. 27:3.

Enkuŋŋaana za Disitulikiti Zaatuzzaamu Nnyo Amaanyi

Olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwaliwo mu 1941 e St. Louis, Missouri, lwatuukira mu kiseera ekituufu. Kiteeberezebwa nti abantu abaali ku lukuŋŋaana olwo baasukka mu 115,000. Abo abaabatizibwa baawerera ddala 3,903! Nkyajjukira bulungi emboozi eyaweebwa Ow’oluganda Rutherford eyalina omutwe ogugamba nti, “Abaana ba Kabaka.” Bye yayogera yabyolekeza ffe abaana abato, era oluvannyuma buli omu ku ffe yafuna akatabo aka bbulu akaali kayitibwa Children. Olukuŋŋaana luno lwanzizzaamu nnyo amaanyi ne nsobola okwaŋŋanga ebyo ebyaliwo omwaka ogwaddirira, mwe nnalina okutandikira okusoma pulayimale. Nze ne bannyinaze twagobebwa ku ssomero olw’okugaana okukubira bendera saluti. Twaddangayo ku ssomero buli lunaku okulaba obanga abakulu b’essomero bakyusizza endowooza yaabwe. Okumala ekiseera, twakeranga nnyo ne tuyita mu kibira okugenda ku ssomero, naye olwatuukangayo nga batugoba bugobi. Kyokka, nnakitwalanga nti eyo ye ngeri gye twali tuyinza okukiraga nti tuwagira Obwakabaka bwa Katonda.

Oluvannyuma lw’ekiseera, kkooti enkulu mu Amerika yasalawo nti abantu tebalina kukakibwa kukubira bendera saluti. Kati olwo twali tusobola okukkirizibwa okuddamu okusoma. Omusomesa waffe yali wa kisa n’atuddiramu ebyo bye yali asomesezza nga tetuliiwo. Bayizi bannaffe nabo baatuwanga ekitiibwa.

Nzijjukira n’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwaliwo mu 1942 e Cleveland, Ohio, Ow’oluganda Nathan H. Knorr mwe yaweera emboozi eyalina omutwe ogugamba nti, “Emirembe​—Ginaabaawo Ebbanga Lyonna?” Mu mboozi eno, ow’oluganda yannyonnyola Okubikkulirwa essuula 17 era n’alaga nti wandibaddewo ekiseera eky’emirembe emisaamusaamu oluvannyuma lwa Ssematalo II. Bwe kityo, kyali kisuubirwa nti wandibaddewo okweyongerayongera mu mulimu gw’okubuulira. Okusobola okwetegekera ekiseera kyo, Essomero lya Gireyaadi lyatandikibwawo mu 1943. Mu kiseera ekyo, saakirowooza nako nti essomero eryo lyandikutte ku bulamu bwange mu biseera eby’omu maaso. Kituufu nti oluvannyuma lw’olutalo, emirembe egyayogerwako gyaliwo era okuyigganyizibwa kwakendeera. Kyokka olutalo bwe lwabalukawo mu Korea mu 1950, omulimu gwaffe ogw’okubuulira gwaddamu okuziyizibwa, nga bwe kiragiddwa ku ntandikwa.

Okwenyigira mu Bujjuvu mu Buweereza

Bwe nnamaliriza emisomo gyange egya siniya mu 1954, nnatandika okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma lw’okuweerezaako e Kennett, Missouri, ekibinja ky’abantu gye kyatulumbira mu 1950, nnayitibwa okuweereza ku Beseri mu Maaki 1955. Times Square, ekiri mu massekati g’ekibuga New York, kye kimu ku bitundu ekibiina mwe nnasindikibwa okuweereza mwe kyali kibuulira. Ng’ekitundu ekyo kyali kya njawulo nnyo ku ekyo kye nnali mbuuliramu mu kyalo! Wadde kyali kityo, nnasobola okusikiriza abantu b’omu kibuga New York nga mbikkula emitwe egy’enjawulo mu magazini ne mbabuuza nti, “Waali weebuuzizzaako ekibuuzo kino?” Bangi bakkirizanga okutwala magazini zaffe.

Ekimu ku bintu bye nnanyumirwanga ennyo ku Beseri kwe kusinza kw’oku makya okwakubirizibwanga Ow’oluganda Knorr. Yakwataganyanga ebyawandiikibwa n’obulamu bwaffe obwa bulijjo era n’atulaga n’engeri gye tuyinza okubikolerako. Ffe abavubuka abaali bakyali obwannamunigina yayogeranga naffe nga taata bw’ayogera ne mutabani we, ng’emirundi mingi atulaga engeri gye tusaanidde okuyisaamu abo be tutafanaganya nabo kikula. Omwaka gwa 1960 we gwatuukira, nnali nsazeewo okuwasa.

Nnawaayo ebbaluwa esaba okuva ku Beseri mu nnaku 30, naye saaddibwamu. Wadde nga muli nnali mpulira ensonyi, ennaku ezo 30 bwe zaggwaako, nnasalawo okukuba essimu mbuuze ebikwata ku bbaluwa yange. Ow’oluganda Robert Wallen ye yakwata essimu eyo era oluvannyuma yajja we nnali nkolera. Yambuuza obanga nnandyagadde okuweereza nga payoniya ow’enjawulo oba omulabirizi w’ekitundu. Nnamuddamu nti, “Nnina emyaka 24 gyokka, ate sirina na bumanyirivu.”

Okuweereza ng’Omulabirizi w’Ekitundu

Ku olwo akawungeezi, nnasanga ebbaasa ennene mu kisenge kyange. Mwalimu foomu bbiri, emu nga ya kuweereza nga payoniya ow’enjawulo, endala nga ya kuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Kino nnali sikisuubira! Nnafuna enkizo ey’ekitalo okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu bukiika ddyo bwa Missouri ne mu buvanjuba bwa Kansas. Kyokka bwe nnali sinnava ku Beseri, nnagenda mu lukuŋŋaana lw’abalabirizi abatambula. Bwe yali afundikira olukuŋŋaana olwo, Ow’oluganda Knorr yagamba nti: “Eky’okuba abalabirizi b’ebitundu n’abalabirizi ba disitulikiti tekitegeeza nti mumanyi bingi okusinga ab’oluganda abalala. Abamu ku b’oluganda abo balina obumanyirivu bungi n’okubasinga; lwa kuba embeera zaabwe tezibasobozesa kufuna nkizo ze mulina. Waliwo bingi bye musobola okubayigirako.”

Ng’ebigambo ebyo byali bituufu nnyo! Ow’oluganda Fred Molohan, mukyala we, ne muganda we Charley ab’e Parsons, Kansas, nnabayigirako ebintu bingi. Ab’oluganda bano baali baayiga dda amazima ng’emyaka gya 1900 gyakatandika. Nga kyanzizaamu nnyo amaanyi bwe baambuulira ku bintu bye baayitamu nga sinnaba na kuzaalibwa! Ow’oluganda omulala eyali akuze mu myaka era ng’alina obumanyirivu yali John Wristen ow’e Joplin, Missouri. Yali wa kisa era yali amaze emyaka mingi ng’aweereza nga payoniya. Ab’oluganda bano baali bagoberera obulagirizi bwonna obuweebwa mu kibiina kya Yakuwa. Baakiraganga nti basiima emirimu gye nnali nkola ng’omulabirizi waabwe ow’ekitundu wadde nga nnali nkyali muvubuka.

Mu 1962, nnawasa Cloris Knoche, eyali aweereza nga payoniya. Nneeyongera okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu nga ndi wamu ne Cloris. Okusulanga mu maka g’ab’oluganda, kyatuyamba okwongera okubategeera. Twakubirizanga abavubuka okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Waaliwo abatiini babiri​—Jay Kosinski ne JoAnn Kresyman​—mu kitundu mwe twali tuweereza, abaali abeetegefu okukolera ku magezi ge twabawa. Okukolerako awamu nabo mu buweereza bw’ennimiro era n’okubabuulira ku ssanyu lye twafunanga olw’okuba mu bulamu obw’okwefiiriza, kyabakubiriza okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. JoAnn yafuuka payoniya ow’enjawulo, ate Jay n’afuuka Omubeseri. Oluvannyuma baafumbiriganwa, era kati bamaze emyaka nga 30 nga bakola omulimu ogw’okukyalira ebibiina.

Okuweereza ng’Abaminsani

Mu 1966, Ow’oluganda Knorr yatubuuza obanga twandyagadde okugenda okuweereza mu nsi endala. Twamuddamu nti, “Tuli basanyufu okuweerereza wano, naye bwe wabaawo obwetaavu awalala, tuli beetegefu okugenda.” Waayitawo wiiki emu yokka, ne tuyitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Mu kiseera we twabeerera mu ssomero ku Beseri, kyansanyusa nnyo okuddamu okubeerako n’ab’oluganda be nnali njagala ennyo era nga mbawa ekitiibwa. Twakola emikwano emirala ku b’oluganda be twali nabo mu ssomero, n’okutuusa kati abakyaweereza n’obwesigwa.

Nze ne Cloris, Dennis ne Edwina Crist, Ana Rodríguez, era ne Delia Sánchez, twasindikibwa okuweereza mu Ecuador, ensi eri mu Amerika ow’ebukiika ddyo. Crist ne mukyala we baasindikibwa mu kibuga kya Ecuador ekikulu Quito. Ate ffe, awamu ne Ana ne Delia, twasindikibwa okuweereza mu kibuga Cuenca. Ekitundu kye twalina okubuuliramu kyalimu amasaza abiri. Ekibiina ekyasooka mu Cuenca kyakuŋŋaaniranga mu nnyumba yaffe. Kyalimu ffe abana, n’abantu abalala babiri. Twali twebuuza engeri gye twandisobodde okubuulira amawulire amalungi mu kitundu ekyo kyonna.

Ekibuga Cuenca kyalimu amasinzizo mangi, era nga ku nnaku ezitwalibwa okuba enkulu abantu baabanga mu keetalo. Kyokka abantu b’omu kibuga Cuenca baalinanga ebintu bingi bye beebuuza. Ng’ekyokulabirako, omulundi gwe nnasooka okusisinkana Mario Polo, eyali omuvuzi w’eggaali z’empaka omwatiikirivu mu Cuenca, kyaneewuunyisa bwe yambuuza nti, “Malaaya ayogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa y’ani?”

Ku mulundi omulala, Mario yajja awaka ekiro nga munakuwavu. Waaliwo pasita eyali amuwadde ebitabo ebyogera eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nnamugamba nti abantu bwe baba boogeddwako ebintu ebitali birungi basaanidde okuweebwa akakisa okwennyonnyolako. Olunaku olwaddako, Mario yakola enteekateeka nze ne pasita tusisinkane ewuwe twogere ku ebyo ebyali mu bitabo ebyo. Bwe twasisinkana, nnasaba tutandikire ku njigiriza ya Tiriniti. Pasita yasoma Yokaana 1:1, kyokka Mario kennyini ye yamunnyonnyola amakulu agali mu kyawandiikibwa ekyo. Mario yannyonnyola n’ennyiriri endala zonna pasita ze yasoma. Pasita yavaawo ng’alemeddwa okulaga nti enjigiriza ya Tiriniti ntuufu. Kino kyakakasa Mario ne mukyala we nti ffe tuyigiriza amazima, era bwe batyo nabo baatandika okuyigiriza abantu abalala amazima ga Baibuli. Nga kitusanyusa nnyo okulaba nga kati ebibiina mu kibuga Cuenca biwerera ddala 33 era ng’ebibiina byonna awamu ebiri mu kitundu kye twaweebwa okubuuliramu mu kusooka biri 63. Ng’okwo kukulaakulana kwa maanyi!

Okuweereza ku Ttabi

Mu 1970, nze ne Al Schullo twayitibwa okugenda okuweereza ku ttabi mu Guayaquil. Ffembi twaweebwa obuvunaanyizibwa okulabirira emirimu egikolebwa ku ttabi. Joe Sekerak yajjanga olw’olumu okuteekateeka ebitabo eby’ebibiina 46 ebyali mu Ecuador mu kiseera ekyo. Okumala ekiseera, Cloris yeeyongera okuweereza ng’omuminsani, nga nze bwe mpeereza ku Beseri. Cloris asobodde okuyamba abantu 55 okwewaayo ne babatizibwa, ng’emirundi mingi aba n’abayizi abali wakati w’abasatu n’abataano ababatizibwa ku lukuŋŋaana olumu.

Ng’ekyokulabirako, Cloris yasoma Baibuli n’omukyala ayitibwa Lucresia, bba gwe yali aziyiza. Wadde kyali kityo, oluvannyuma Lucresia yabatizibwa era n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Omukyala oyo yayigiriza abaana be amakubo ga Yakuwa. Batabani be babiri kati baweereza ng’abakadde, omulala aweereza nga payoniya ow’enjawulo, ate ne muwala we aweereza nga payoniya. Muzzukulu we yafumbirwa ow’oluganda omulungi, era kati baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Lucresia, abaana be, ne bazzukulu be, bayambye abantu bangi okuyiga amazima.

Omwaka gwa 1980 we gwatuukira, Ecuador yalimu ababuulizi nga 5,000. Ofiisi yaffe yali tekyasobola kuweereza bantu abo bonna. Waliwo ow’oluganda eyawaayo yiika z’ettaka 80 ebweru w’ekibuga Guayaquil. Mu 1984 twatandika okuzimbako ettabi eppya awamu n’Ekizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene, ebyaweebwayo mu 1987.

Abalala Bangi Beenyigira mu Buweereza

Emyaka bwe gizze giyitawo, kitusanyusizza nnyo okulaba ng’ababuulizi bangi ne bapayoniya okuva mu nsi endala bajja mu Ecuador okuyambako awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingawo. Omu ku babuulizi abo gwe nzijukira obulungi ye Andy Kidd, omusomesa eyali yawummula okuva e Canada. Yajja mu Ecuador mu 1985 nga wa myaka 70 era yaweereza n’obwesigwa okutuusiza ddala lwe yafa mu 2008 nga wa myaka 93. We nnasookera okumulaba, yali aweereza mu kibiina ekitono era nga ye mulabirizi yekka eyali mu kibiina ekyo. Wadde nga yali akaluubirirwa okwogera Olusipanisi, yawanga emboozi ya bonna era yakubirizanga olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Yakubirizanga n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda era ng’atera n’okuba n’ebitundu bingi mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza! Mu kitundu ekyo, kati mulimu ebibiina bibiri ebikulaakulana obulungi, era nga birina ababuulizi nga 200 n’abakadde abawerako.

Ow’oluganda omulala ayitibwa Ernesto Diaz, eyasenguka n’ab’omu maka ge okuva mu Amerika, oluvannyuma lw’okumala emyezi munaana mu Ecuador yagamba nti: “Abaana baffe abasatu bayize mangu olulimi era kati basobola bulungi okuyigiriza abalala. Nga taata, nsobodde okutuuka ku kiruubirirwa kye nnali sisuubira kutuukako mu nteekateeka eno​—okuweereza nga payoniya owa bulijjo, ekinsobozesezza okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna awamu n’ab’omu maka gange. Ffenna awamu, tulina abayizi ba Baibuli 25. Kino kituyambye okusigala nga tuli bumu ng’amaka, n’ekisinga obukulu, kitusobozesezza okusemberera Yakuwa okusinga bwe kyali kibadde.” Nga tusiima nnyo baganda baffe ne bannyinnaffe bano!

Ettabi lyaffe lyeyongera okugaziyizibwa mu 1994 ne likubisaamu emirundi ebiri. Mu 2005 omuwendo gw’ababuulizi gwasukka mu 50,000 ne kiba nga kyetaagisa ettabi okwongera okugaziyizibwa. Ekizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene kyagaziyizibwa era ekizimbe ekirala ekisulwamu awamu ne ofiisi omuvvuunulirwa ebitabo ne bizimbibwa. Ebizimbe bino byonna byaweebwayo nga Okitobba 31, 2009.

Mu kiseera we nnagoberwa ku ssomero mu 1942, Amerika yonna yalimu Abajulirwa ba Yakuwa nga 60,000. Kati basukka mu kakadde. We twajjira mu Ecuador mu 1966, mwalimu ababuulizi b’Obwakabaka nga 1,400. Naye kati basukka mu 68,000. Tusuubira nti omuwendo gw’ababuulizi gujja kweyongera, okuva bwe kiri nti tulina abayizi ba Baibuli 120,000 era nga n’abo abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo mu 2009 baasukka mu 232,000. Mu butuufu, Yakuwa awadde abantu be omukisa mu ngeri eyali tesuubirwa. Nga kituleetera essanyu lingi okubaawo mu kiseera kino nga waliwo okukulaakulana okw’amaanyi bwe kutyo!a

[Obugambo obuli wansi]

a Ekitundu kino bwe kyali kiteekebwateekebwa okufulumizibwa, Ow’oluganda Harley Harris yafa nga mwesigwa eri Yakuwa.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Olukuŋŋaana olunene (1981) n’Ekizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene (2009) mu kifo kye kimu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share