EBYAFAAYO
Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna—We Buntuusizza
Bwe ndowooza ku myaka 65 gye mmaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, mpulira essanyu lingi nnyo. Kyokka ekyo tekitegeeza nti sifunye kizibu kyonna mu bulamu. (Zab. 34:12; 94:19) Wadde kiri kityo, nfunye emikisa mingi era obulamu bwange bubadde bwa makulu!
NGA Ssebutemba 7, 1950, nnatandika okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn. Mu kiseera ekyo, ab’oluganda 355 be baali baweereza ku Beseri eyo. Ab’oluganda abo baali ba mawanga ga njawulo era nga bali wakati w’emyaka 19 ne 80. Bangi ku bo baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta.
ENGERI GYE NNATANDIKAMU OKUWEEREZA YAKUWA
Ku lunaku lwe nnabatizibwa nga ndi wa myaka 10
Maama ye yannyamba okutandika okuweereza Yakuwa, “Katonda omusanyufu.” (1 Tim. 1:11) Yatandika okuweereza Yakuwa nga nkyali muto nnyo. Nga Jjulaayi 1, 1939, nga ndi wa myaka kkumi, nnabatizibwa ku lukuŋŋaana lwa zooni (kati lwe lukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri) olwali mu Columbus, Nebraska, Amerika. Abantu nga kikumi be baali bakuŋŋaanidde mu kizimbe ekyali kipangisiddwa basobole okuwuliriza emboozi y’Ow’oluganda Joseph Rutherford eyali ekwatiddwa ku katambi. Olukuŋŋaana bwe lwali lukyagenda mu maaso, waaliwo abantu abaayingira mu kizimbe mwe twali tukuŋŋaanidde ne bayimiriza olukuŋŋaana era ne batugoba mu kibuga. Twagenda ku ffaamu y’ow’oluganda omu eyali okumpi n’ekibuga ne tuwuliriza ekitundu kya programu ekyali kisigaddeyo. Mu butuufu, sisobola kwerabira lunaku kwe nnabatirizibwa!
Maama yafuba nnyo okunnyamba okwagala Yakuwa. Wadde nga taata yali musajja mulungi, yali tafaayo nnyo ku bya ddiini. Maama awamu n’Abajulirwa abalala mu kibiina ky’e Omaha bannyamba nnyo mu by’omwoyo.
KYE NNASALAWO OKUKOLA
Bwe nnali nnaatera okumaliriza emisomo gyange egya siniya, nnalina okusalawo ku ngeri gye nnandikozesezzaamu obulamu bwange. Buli lwe nnabanga mu luwummula, nnaweerezangako nga payoniya omuwagizi n’abavubuka abalala ab’emyaka gyange.
Waliwo ab’oluganda babiri, John Chimiklis ne Theodore Jaracz, abaali baakava mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’omusanvu abaasindikibwa okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina mu kitundu kyaffe. Kyanneewuunyisa nnyo okukimanya nti baali tebaweza na myaka 25. Mu kiseera ekyo nnali wa myaka 18, era nnali nnaatera okumaliriza emisomo gyange egya siniya. Ow’oluganda Chimiklis yambuuza engeri gye nnali njagala okukozesaamu obulamu bwange. Bwe nnamubuulira ekyo kye nnali ndowooza okukola, yaŋŋamba nti: “Ekyo kirungi nnyo. Yingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, kubanga tomanyi wa gye bunaakutuusa.” Ebigambo bye ebyo awamu n’ekyokulabirako ekirungi ab’oluganda abo kye bateekawo, byankwatako nnyo. Mu 1948 bwe nnamala emisomo gyange, nnatandika okuweereza nga payoniya.
ENGERI GYE NNAGENDAMU KU BESERI
Nga ndi ne Alfred Nussrallah gwe nnaweerezanga naye nga payoniya
Mu Jjulaayi 1950, nnagenda ne bazadde bange ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu kisaawe ky’e Yankee mu kibuga New York. Ku lukuŋŋaana olwo, nnagenda mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okuweereza ku Beseri era ne mpaayo okusaba kwange.
Wadde nga taata teyaŋŋaana kubeera waka nga mpeereza nga payoniya, yaŋŋamba nti ntadike okubaako ssente entonotono ze nsasula ku nnyumba n’emmere. Lumu, mu mwezi gwa Agusito, bwe nnali ŋŋenda okunoonya omulimu, nnayitirako ku posita. Nnasangayo ebbaluwa yange eyali evudde e Brooklyn. Yaliko omukono gw’Ow’oluganda Nathan H. Knorr, era yali egamba bw’eti: “Ebbaluwa gye wawandiika ng’osaba okuweereza ku Beseri nnagifuna. Nkitegeddeko nti oli mwetegefu okusigala ng’oweereza ku Beseri okutuusa Mukama waffe lw’alikutwala. Nkuyise okujja okuweereza ku Beseri y’e Brooklyn, New York, era nkusaba ojje nga Ssebutemba 7, 1950.”
Taata bwe yakomawo okuva ku mulimu, nnamugamba nti nnali nfunye omulimu. Yaŋŋamba nti, “Ekyo kirungi, naye ogenda kukolera wa?” Nnamuddamu nti, “Ŋŋenda kukolera ku Beseri y’e Brooklyn, era nja kufunanga ddoola 10 buli mwezi.” Ekyo kyamwewuunyisa nnyo. Wadde kyali kityo, yankubiriza okukola n’obunyiikivu omulimu gwe nnali nfunye. Nga wayise ekiseera kitono, taata naye yabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kisaawe ky’e Yankee mu 1953!
Nnasanyuka nnyo okukimanya nti Ow’oluganda Alfred Nussrallah gwe nnali mpeereza naye nga payoniya naye yali ayitiddwa ku Beseri, era twagendera wamu. Nga wayise ekiseera, Alfred yawasa era ye ne mukyala we Joan baagenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Bwe baavaayo, baasindikibwa okuweereza ng’abaminsani mu Lebanon era oluvannyuma ne baddayo mu Amerika ne batandika okukyalira ebibiina.
OKUWEEREZA KU BESERI
Omulimu gwe nnasooka okukola ku Beseri gwali gwa kusiba bitabo, ng’empapula tuzisibisa wuzi. Ekitabo kye nnasooka okukolako ky’ekyo ekyali kiyitibwa What Has Religion Done for Mankind? Oluvannyuma lw’emyezi munaana, nnatandika okuweereza mu Kitongole ky’Obuweereza era Ow’oluganda Thomas J. Sullivan ye yali omulabirizi waakyo. Nnaganyulwa nnyo mu kuweerereza awamu n’ow’oluganda oyo eyali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa.
Bwe nnali nnaakamala emyaka ng’esatu mu Kitongole ky’Obuweereza, Max Larson, eyali akulira ekitongole ekikuba ebitabo yaŋŋamba nti Ow’oluganda Knorr yali ayagala kwogerako nange. Nnatyamu nga ndowooza nti oboolyawo nnalina ekikyamu kye nnali nkoze. Bwe nnagenda eri Ow’oluganda Knorr yambuuza obanga nnalina ekirowoozo eky’okuva ku Beseri mu kiseera ekitali kya wala. Yali ayagala nkoleko mu ofiisi ye okumala ekiseera alabe obanga nnali nsobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwo. Nnamugamba nti saalina kirowoozo kyonna kya kuva ku Beseri. Nnafuna enkizo okukola mu ofiisi y’Ow’oluganda Knorr okumala emyaka 20.
Mu butuufu, ebintu bye nnayiga nga nkolera wamu n’ow’oluganda Sullivan ne Knorr, awamu n’ab’oluganda abalala ku Beseri, gamba nga Milton Henschel, Klaus Jensen, Max Larson, Hugo Riemer, ne Grant Suiter nnali sirina walala wonna we nnali nnyinza kubiyigira.a
Ab’oluganda be nzize nkola nabo babadde bakola emirimu gyabwe mu ngeri entegeke obulungi. Ow’oluganda Knorr yali munyiikivu nnyo era ng’akola kyonna ekisoboka okulaba nti omulimu gw’Obwakabaka gugenda mu maaso. Ate era yali atuukirikika. Ne bwe twabanga tulina endowooza ya njawulo ku yiye, yatuwulirizanga.
Lumu Ow’oluganda Knorr yannyamba okulaba obukulu bw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bumpeereddwa ne bwe buba bulabika ng’obutono ennyo. Yaŋŋamba nti bwe yali akyakulira ekitongole ekikuba ebitabo, Ow’oluganda Rutherford yateranga okumukubira essimu n’amugamba nti: “Ow’oluganda Knorr, bw’onooba ojja okulya eky’eggulo, ondeeterayo labba ozinteere ku mmeeza mu ofiisi yange.” Ow’oluganda Knorr yagamba nti bwe yavanga ku ssimu, yagendanga gye batereka ebintu n’afuna labba n’aziteeka mu nsawo ye. Ekiseera ky’eky’eggulo kyabanga tekinnaba na kutuuka n’azitwalayo. Wadde ng’ekintu ekyo kyali kirabika ng’ekitono, Ow’oluganda Rutherford yakisiimanga nnyo. Oluvannyuma Ow’oluganda Knorr yaŋŋamba nti: “Nsaba buli ku makya okakase nti ekkalaamu zange nsongole bulungi.” Ekiseera kyonna kye nnamala nga nkola mu ofiisi y’Ow’oluganda Knorr, nnakakasanga nti ekkalaamu ze buli kiseera ziba nsongole.
Ow’oluganda Knorr yatukubirizanga okuwuliriza n’obwegendereza nga waliwo obulagirizi obutuweebwa. Lumu, alina ekintu kye yaŋŋamba okukola naye ne sissaayo mwoyo, bwe ntyo ne nnemererwa okukikola obulungi. Ekyo kye nnakola, kyamuleetera okuswala. Nnawulira bubi nnyo era ne muwandiikira akabaluwa nga mmwetondera olw’ensobi eyo era nga mmugamba nti bwe kiba kisoboka nkyusibwe mpeebwe omulimu omulala. Ow’oluganda Knorr yajja we nnali nkolera n’aŋŋamba nti: ‘Robert, akabaluwa ko nkalabye. Kituufu nti wakoze ensobi, naye ndi mukakafu nti omulundi ogunaddako, ojja kuba mwegendereza. Sigenda kukukyusa, tugende mu maaso n’okukola emirimu gyaffe.’ Kyansanyusa nnyo okuba nti Ow’oluganda Knorr yansonyiwa.
NNAYAGALA OKUWASA
Bwe nnali nnaakaweza emyaka munaana ku Beseri, nnali sirina kirowoozo kya kuva ku Beseri. Naye bwe waali waakayita ekiseera kitono, ebirowoozo byange byakyuka. Bwe twali ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu kisaawe ky’e Yankee n’eky’e Polo mu 1958, nnalaba Lorraine Brookes, gwe nnali nnasisinkanako mu 1955 ng’aweerereza mu Montreal, Canada. Mu kiseera ekyo, nnakitegeerako nti Lorraine yali ayagala nnyo obuweereza obw’ekiseera kyonna era nti yali mwetegefu okugenda yonna ekibiina kya Yakuwa gye kyandimusindise. Lorraine yali alina ekiruubirirwa eky’okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi era mu 1956, nga wa myaka 22, yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 27. Bwe yava mu Gireyaadi, yasindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu Brazil. Bwe kityo, bwe twaddamu okusisinka 1958, nze ne Lorraine tweyongera okumanyagana. Twasalawo tufumbiriganwe mu 1959 era ffembi tube baminsani.
Bwe nnabuulira Ow’oluganda Knorr nti nnali njagala kuwasa, yaŋŋamba nti bwe kiba kisoboka nnindeko emyaka esatu, oluvannyuma nze ne Lorraine tuweereze ku Beseri y’omu Brooklyn. Mu kiseera ekyo, abo abaabanga baagala okuwasa oba okufumbirwa ate nga baagala okusigala ku Beseri, omu ku bo yali alina okuba nga yaakamala waakiri emyaka kkumi ng’aweereza ku Beseri ate nga munne amaze waakiri emyaka esatu. Lorraine yakkiriza okuweereza ku Beseri y’omu Brazil okumala emyaka ebiri n’okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn okumala omwaka gumu nga tetunnafumbiriganwa.
Mu myaka ebiri egyasooka nga twogerezeganya, tetwalina ngeri ndala yonna ya kuwuliziganyamu okuggyako okwewandiikira amabaluwa. Mu kiseera ekyo, okukuba essimu kyali kyetaagisa ssente nnyingi nnyo. Twafumbiriganwa nga Ssebutemba 16, 1961, era Ow’oluganda Knorr ye yatuwa emboozi. Kyo kituufu nti emyaka egyo esatu gyalabika ng’emingi ennyo, naye tukiraba nti kyali kyetaagisa okugira nga tulindako. Kati tumaze emyaka egissuka mu 50 mu bufumbo!
Ku lunaku lwe twagattibwa. Okuva ku kkono: Nathan H. Knorr, Patricia Brookes (muganda wa Lorraine), Lorraine nange, Curtis Johnson, Faye ne Roy Wallen (bazadde bange)
ENKIZO ZE NFUNYE
Mu 1964, nnafuna enkizo okukyalira ensi ezitali zimu nga mpeereza ng’omulabirizi wa zooni. Mu kiseera ekyo, abalabirizi ba zooni bwe baabanga bagenda okukyalira ensi ez’enjawulo, tebaagendanga na bakyala baabwe. Naye mu 1977, ekyo kyakyuka. Mu mwaka ogwo, nze ne Lorraine twawerekerako Ow’oluganda Grant Suiter ne mukyala we Edith nga bagenda okukyalira ofiisi y’ettabi ey’omu Bugirimaani, Austria, Buyonaani, Kupulo, Butuluuki, ne Isiraeri. Okutwalira awamu, nkyalidde ensi nga 70.
Lumu, mu 1980, bwe twali tukyalidde Brazil, twatuukako mu kibuga Belém, Lorraine gye yali yaweerezaako ng’omuminsani. Era twakyalirako n’ab’oluganda ab’e Manaus. Mu Brazil, bannyinaffe bwe baba babuuzaganya, beenywegera ku matama ate bo ab’oluganda beekwata mu ngalo. Kyokka bwe twali mu kisaawe gye nnaweera emboozi, twalaba abantu abaali batudde awamu naye nga tebakola bwe batyo. Abantu abo baali baani?
Abantu abo baali bakkiriza bannaffe abaali abalwadde b’ebigenge abaali babeera mu bifo abalwadde b’ebigenge gye bakuumirwa mu bibira by’Amazon. Okusobola okwewala okusiiga bakkiriza bannaabwe ebigenge, beewalanga okusemberera bakkiriza bannaabwe abalala. Twakwatibwako nnyo bwe twalaba bakkiriza bannaffe abo abaali abasanyufu ennyo. Ekyo kitujjukiza ebigambo bya nnabbi Isaaya bino: “Abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse.”—Is. 65:14.
OBULAMU BWAFFE BUBADDE N’EKIGENDERERWA
Nze ne Lorraine tutera okwejjukanya ebirungi bye tufunye mu myaka egisukka mu 60 gye tumaze nga tuweereza Yakuwa. Tufunye emikisa mingi olw’okuba tubadde tufuba okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Wadde nga sikyasobola kutambula mu nsi ez’enjawulo nga bwe nnakolanga edda, nfuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange ng’omuyambi ku bukiiko bubiri obukolera wansi w’Akakiiko Akafuzi. Nsiima nnyo enkizo ey’okubaako kye nkolawo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Tuli basanyufu nnyo okulaba nti waliwo abavubuka bangi abasazeewo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Abavubuka abo balina omwoyo ng’ogwa nnabbi Isaaya eyagamba nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.” (Is. 6:8) Abavubuka abo banzijukiza ebigambo bino omulabirizi w’ekitundu bye yayogera emyaka mingi emabega: “Yingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, kubanga tomanyi wa gye bunaakutuusa.”
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku bamu ku b’oluganda bano, laba Watchtower zino wammanga: Thomas J. Sullivan (Agusito 15, 1965); Klaus Jensen (Okitobba 15, 1969); Max Larson (Ssebutemba 1, 1989); Hugo Riemer (Ssebutemba 15, 1964); ne Grant Suiter (Ssebutemba 1, 1983).