LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 8/15 lup. 17-19
  • Bonna Baanirizibwa!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bonna Baanirizibwa!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Beseri Kye Ki?
  • Abamu ku Abo Abaweereza ku Beseri
  • Okukyalayo Kiyinza Okuba eky’Omuganyulo
  • Jjangu Okyaleko ku Beseri!
  • Oli Mwetegefu Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Beseri Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Branch Letter
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 8/15 lup. 17-19

Bonna Baanirizibwa!

BONNA baanirizibwa wa? Baanirizibwa okukyalira ofiisi z’amatabi g’Abajulirwa ba Yakuwa, ezimanyiddwa nga Beseri. Amatabi gano gali 118 era gasangibwa mu nsi ezitali zimu. Abagenyi bangi abakyala ku Beseri bakiraze nti basiima nnyo emirimu egikolebwayo.

Oluvannyuma lw’okulaba engeri ab’oluganda abali ku ofiisi y’ettabi ery’omu Mexico gye baweerezaamu Yakuwa n’obunyiikivu era nga basanyufu, omuvubuka omu eyali ayiga Baibuli yakwatibwako nnyo era n’abuuza nti: “Kiki kye nneetaaga okukola okusobola okubeera wano?” Baamugamba nti: “Ekisooka, oteekwa okubatizibwa. Bw’omala ekyo, kiba kirungi osooke oweerezeeko nga payoniya​—omubuulizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna.” Omuvubuka oyo yakolera ku magezi ago, era oluvannyuma lw’emyaka ebiri yayitibwa okuweereza ku Beseri mu Mexico. Kati amaze emyaka 20 ng’aweereza ku Beseri.

Beseri Kye Ki?

Mu Lwebbulaniya, ekigambo “Beseri” kitegeeza “Ennyumba ya Katonda.” (Lub. 28:19) Emirimu egitali gimu egikolebwa ku ofiisi z’amatabi mwe muli okukuba n’okubunyisa Baibuli awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola era n’okulabirira ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 100,000 mu nsi yonna mu by’omwoyo. Ab’oluganda nga 20,000 abali ku Beseri​—abasajja n’abakazi okuva mu bitundu eby’enjawulo​—baweereza Yakuwa ne baganda baabwe ekiseera kyonna. Abo abamaze ekiseera nga bali mu buweereza obwo bakolera wamu n’abavubuka abakyalina amaanyi. Abo abaweereza ku Beseri bafuna essanyu okubeerako n’ab’oluganda abali mu bibiina ebiri okumpi n’amaka ga Beseri mu nkuŋŋaana ne mu buweereza bw’ennimiro akawungeezi ne ku wiikendi. Era bakozesa ebiseera byabwe eby’eddembe okwesomesa Baibuli, okwesanyusaamu, era n’okukola ku byetaago byabwe.

Abo abaweereza mu maka ga Beseri baweebwayo akasente akatonotono okukola ku byetaago byabwe. Ab’oluganda abo balya emmere erimu ekiriisa era basula mu kifo ekiyonjo. Amaka ga Beseri si kifo kya kwejalabizaamu, naye kifo kya kukoleramu mirimu. Abantu abakyala ku Beseri bakwatibwako nnyo olw’ekifo ekirabirirwa obulungi, emirimu egikolebwa mu ngeri entegeke obulungi, era n’abantu abakolagana obulungi be basangayo. Wadde nga buli omu akola n’obunyiikivu, ekyo tekibalemesa kufaayo ku balala. Mu Beseri temuliimu kusosolagana era teri n’omu awulira nti wa waggulu ku balala olw’omulimu gw’akola. Buli mulimu gwa mugaso, ka gube gwa kulongoosa, kukola mu nnimiro, kufumba, kukola gye bakubira ebitabo, oba mu ofiisi. Ababeseri, ng’abo abaweereza ku Beseri bwe bayitibwa, bakolera wamu okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa.​—Bak. 3:23.

Abamu ku Abo Abaweereza ku Beseri

Ka twetegereze ebimu ku ebyo ebikwata ku abo abaweereza mu maka ga Beseri okwetooloola ensi. Kiki ekyabakubiriza okwagala okuweereza ku Beseri? Lowooza ku w’oluganda Mario. We yafuukira Omujulirwa wa Yakuwa, Mario yalina omulimu omulungi mu kampuni ya Bugirimaani ekola emmotoka era yali asobola okwongera okukuzibwa ku mulimu. Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okubatizibwa, yakolako nga nnakyewa okumala wiiki emu ku Beseri eri mu nsi ye. Yasabibwa okukola mu kyuma ekikuba ebitabo. Mario yalaba enjawulo ya maanyi wakati w’ab’oluganda be yakola nabo ku Beseri n’abantu be yali akola nabo ku mulimu. Bw’atyo yasaba okuweereza ku Beseri ekiseera kyonna. Wadde nga bangi ku b’eŋŋanda ze ne mikwano gye kyabazibuwalira okutegeera ekyo kye yali asazeewo, Mario kati aweereza ku Beseri mu Bugirimaani era musanyufu nnyo.

Bangi ku abo baweereza ku Beseri bajja tebalina bumanyirivu. Bw’atyo ne Abel amaze emyaka 15 ng’aweereza ku Beseri mu Mexico bwe yali. Agamba nti, “Beseri enjigirizza ebintu bingi. Njize okukozesa ebyuma ebitali bimu ebikozesebwa mu kukuba ebitabo. Nkimanyi nti amagezi gano ge nfunye nsobola okugakozesa okukola ssente nnyingi ebweru wa Beseri, naye sisobola kufuna ekyo kye nfuna wano​—emirembe mu mutima, obulamu obumatiza era obutaliimu kweraliikirira na kuvuganya nga bwe kiri ku mirimu emirala. Mpulira nti nfunye obuyigirize obusingirayo ddala obulungi, obunnyambye okukulaakulana mu by’omwoyo n’okutendeka obusobozi bwange obw’okutegeera. Sandisobodde kufuna miganyulo nga gino ne bwe nnandisomedde mu yunivasite esingayo obulungi.”

Okukyalayo Kiyinza Okuba eky’Omuganyulo

Okukyalako obukyazi ku Beseri kisobola okuyamba omuntu mu by’omwoyo. Bwe kityo bwe kyali ku Omar abeera mu Mexico. Maama we yamuyigiriza amazima ga Baibuli. Kyokka ku myaka 17, Omar yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira. Yatandika okwenyigira mu bikolwa ebibi n’okululunkanira eby’obugagga. Oluvannyuma bwe yali akola mu kampuni ey’eby’empuliziganya, Omar yali omu ku bakozi abaasindikibwa ku Beseri e Mexico okubaako ebyuma bye bagezesa. Omar agamba nti: “Bwe twamala okugezesa ebyuma, baatulambuza Beseri. Ebyo bye nnalaba n’engeri gye baampisaamu byandeetera okulowooza ennyo ku bulamu bwe nnalimu nga nneeyawudde ku Yakuwa. Mangu ddala nnaddamu okugenda mu nkuŋŋaana n’okuyiga Baibuli. Nga wayise emyezi mukaaga oluvannyuma lw’okukyala ku Beseri, nnabatizibwa. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’engeri okukyala ku Beseri gye kyannyambamu.”

Masahiko, abeera mu Japan, naye yakulira mu maka Amakristaayo. Kyokka yatandika okulowooza nti obulamu bw’Ekikristaayo bukugira nnyo. Yatandika okwemalira ku misomo gye era n’alekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Masahiko agamba nti: “Lumu ab’omu maka gaffe n’abamu ku mikwano gyaffe Abakristaayo baasalawo okugenda okukyalako ku Beseri. Olw’okuba ab’eka baneegayirira okugenda nabo, nnakkiriza okugenda. Okulambula Beseri kyanzizzaamu nnyo amaanyi. Essanyu lye nnafuna mu kiseera kye nnamala n’Abakristaayo abalala ku olwo, nnali sirifunangako nga ndi ne mikwano gyange abatali Bajulirwa. Nnatandika okwegomba obulamu bw’Ekikristaayo, bwe ntyo ne nsaba okuyigirizibwa Baibuli.” Masahiko kati aweereza nga payoniya mu kibiina kye.

Mwannyinaffe omu yava e Bufalansa n’agenda e Moscow okukola. Ng’ali eyo yamala ekiseera nga talaba ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’anafuwa mu by’omwoyo. Yatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era n’afumbirwa omusajja ataali Mujulirwa. Oluvannyuma waliwo mwannyinaffe eyava e Bufalansa n’amukyalira, era ne bagenda bombi okulambula amaka ga Beseri e St. Petersburg, Russia. Agamba nti: “Bwe twatuuka ku Beseri baatwaniriza n’essanyu era ekyo kyankwatako nnyo. Kyali kifo kya mirembe. Nnawulira ng’omwoyo gwa Yakuwa weeguli. Muli nneebuuza lwaki nnakola ensobi ey’amaanyi ne nnesala ku kibiina kya Yakuwa? Oluvannyuma lw’okukyala ku Beseri, nnasaba Yakuwa annyambe era nnamalirira okutandika okuyigiriza abaana bange Baibuli.” Ng’oggyeko obuyambi obulala obw’eby’omwoyo Omujulirwa oyo eyali aweddemu amaanyi bwe yaweebwa, okukyala ku Beseri kyamuzzaamu nnyo amaanyi bw’atyo n’addamu okukulaakulana mu by’omwoyo.

Ate abo abakyala ku Beseri naye nga tebamanyi bulungi Bajulirwa ba Yakuwa bakwatibwako batya? Mu 1988, Alberto, eyali yeenyigira ennyo mu by’obufuzi, yakyalako ku Beseri mu Brazil. Yakwatibwako nnyo olw’obuyonjo, engeri entegeke obulungi ebintu gye bikolebwamu, n’okusingira ddala okuba nti bikolebwa mu ngeri ennambulukufu obulungi. Bwe yali tannakyala ku Beseri, Alberto yakyalako mu seminaaliyo, mukoddomi we gye yali aweereza ng’omusaseredooti. Alberto yalabawo enjawulo ya maanyi. Agamba nti, “Buli kimu mu seminaaliyo kyakolebwanga mu nkukutu.” Oluvannyuma lw’okukyala ku Beseri, waayita akaseera katono n’asaba okutandika okuyiga Baibuli, yalekera awo okwenyigira mu by’obufuzi, era kati aweereza ng’omukadde mu kibiina.

Jjangu Okyaleko ku Beseri!

Bangi bakoze kyonna kye basobola okulaba nti bakyalako ku ofiisi y’ettabi eriri mu nsi yaabwe. Ng’ekyokulabirako, Paulo ne Eugenia ababeera mu Brazil baasonda ssente okumala emyaka ena basobole okutindigga olugendo olwa mayiro 2,000, olwandibatwalidde ennaku bbiri mu bbaasi okukyalako ku Beseri eri mu nsi yaabwe. Bagamba nti: “Tetwejjusa olw’okufuba okwo. Kati tutegeera bulungi ekibiina kya Yakuwa. Bwe tuba tunnyonnyola abayizi baffe aba Baibuli emirimu egikolebwa ku Beseri, abamu batubuuza, ‘Mwali mutuuseeyo?’ Kati tubaddamu nti yee.”

Mu nsi gy’obeera oba eyo ekuliraanye mulimu ofiisi y’ettabi oba amaka ga Beseri? Tukwaniriza okukyalayo. Ojja kwanirizibwa era oganyulwe nnyo mu by’omwoyo bw’onookyalako ku Beseri.

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Mario

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Abel

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Bugirimaani

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Japan

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Brazil

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share