Branch Letter
Ababuulizi b’Obwakabaka Abaagalwa:
Twagala okubeebaza olw’obuyambi bwe mwawaayo okudduukirira ab’oluganda abaakosebwa ekyeya n’amataba ebyaviirako enjala okugwa mu disitulikiti ezimu ez’omu kitundu kyaffe.—Yok. 13:35.
Ow’oluganda omu eyafuna obuyambi yagamba nti: “Obuyambi bw’ajjira mu kiseera kyennyini mwe twali tubwetaagira. Twebaza nnyo Yakuwa n’ekibiina kye olw’okutudduukirira. Ab’oluganda baatulagira ddala okwagala okw’Ekikristaayo.” Tusiima nnyo byonna bye muwaayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna.
Ng’ekyokulabirako, mu Amerika, obuyambi bwaweebwa ab’oluganda nkumi na nkumi abaakosebwa omuyaga ogwayita emirundi ebiri mu bitundu by’omu Gulf Coast mu 2005. Ab’oluganda abasukka 8,000 abakolera awamu n’Obukiiko Obukola ku by’Okuzimba obuwerera ddala 60, bawaayo ebiseera byabwe, obusobozi, ensimbi n’ebirala. Baddaabirizza oba bazzeemu okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka 86 n’amayumba 4,178. Abamu baavuga eŋŋendo mpanvu nnyo gamba ng’okuva mu saza lye Maine n’erya Washington okugenda okudduukirira. Nga tuli basanyufu nnyo olw’okwagala kwe baalaga!—1 Bas. 5:18.
Nnakyewa omu okuva e Michigan yagamba nti: “Kyansanyusa nnyo okulaba ab’oluganda nga basanyufu amayumba gaabwe bwe gazzibwawo. Sirina bwe nnyinza kunnyonnyola ngeri gye mpuliramu olw’okuba n’oluganda olulungi bwe lutyo.” Kino kyakulabirako kirungi ekiraga engeri ey’okudduukiriramu abo ababa bakoseddwa obutyabaga ng’obwo.
Tubasaba mwongere okusabira baganda baffe bonna—abo abakosebwa obutyabaga obugwawo mu nnaku zino ez’oluvannyuma, n’abo ababadduukirira.—2 Kol. 1:11.
Ffe baganda bammwe,
Okuva ku Ofiisi y’Ettabi ly’omu Burundi, Kenya, Sudan, Tanzania, ne Uganda