LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 21
  • Beseri Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beseri Kye Ki?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Oli Mwetegefu Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Bonna Baanirizibwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Branch Letter
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 21

ESSOMO 21

Beseri Kye Ki?

Abajulirwa ba Yakuwa babiri nga bakola mu kitongole ekikuba ebifaananyi ku Beseri

We bakubira ebifaananyi, Amerika

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’akola awakubirwa ebitabo ku Beseri ey’e Bugirimaani

Bugirimaani

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’akola we booleza engoye ku Beseri y’e Kenya

Kenya

Ab’oluganda ku Beseri y’e Colombia nga bategeka emmeeza

Colombia

“Beseri” linnya lya Lwebbulaniya era litegeeza “Ennyumba ya Katonda.” (Olubereberye 28:17, 19) Eyo ye nsonga lwaki n’ebizimbe Abajulirwa ba Yakuwa mwe basinziira okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ez’enjawulo babiyita Beseri. Abo abali ku Kakiiko Akafuzi basangibwa ku kitebe kyaffe ekikulu ekiri mu Ssaza lya New York, mu Amerika, era eyo gye basinziira okulabirira ebikolebwa ku ofiisi z’amatabi gaffe ag’enjawulo. Abo abaweerereza ku Beseri bayitibwa Ababeseri. Ng’abantu ab’omu nnyumba emu, Ababeseri babeera wamu, bakolera wamu, baliira wamu, era basomera wamu Bayibuli.​—Zabbuli 133:1.

Kifo ekirimu abantu abalina omwoyo ogw’okwerekereza. Mu buli Beseri eriyo abasajja n’abakazi Abakristaayo abeewaddeyo okukola Katonda by’ayagala n’omutima gwabwe gwonna, era nga baweereza ekiseera kyonna. (Matayo 6:33) Tewali n’omu ku bo asasulwa musaala, naye buli omu aweebwa aw’okusula, emmere, era n’essente entonotono ezimuyamba okukola ku byetaago bye. Buli omu ku Beseri alina omulimu gw’akola; guyinza okuba mu ofiisi, mu ffumbiro, oba awakubirwa ebitabo. Abalala bakola gwa kuyonja, kwoza, kuddaabiriza bintu, n’emirimu emirala.

Kifo awakolerwa emirimu egiwagira omulimu gw’okubuulira. Ekigendererwa ekikulu ekya buli Beseri kwe kulaba nti amazima agali mu Bayibuli gatuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Akatabo kano ke kamu ku ebyo ebiyamba mu kutuukiriza ekigendererwa ekyo. Akakiiko Akafuzi ke kaawa obulagirizi ku mulimu gw’okukawandiika, era oluvannyuma kaaweerezebwa ku matabi ag’enjawulo okuyitira ku Intaneeti ne kavvuunulwa mu nnimi endala. Kaakubirwa ku byuma ebikuba ebitabo ku sipiidi eya waggulu ennyo mu Beseri ez’enjawulo, era ne kaweerezebwa mu bibiina ebisukka mu 110,000. Ababeseri bayamba nnyo mu kufulumya ebitabo ebikozesebwa mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi.​—Makko 13:10.

  • Baani abaweereza ku Beseri era balabirirwa batya?

  • Ebikolebwa ku Beseri zonna biwagira mulimu ki omukulu ennyo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share