‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
“Onjigirize okukolanga by’oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange.”—ZAB. 143:10.
1, 2. Okumanya endowooza ya Katonda nga tuliko kye twagala okusalawo kituganyula kitya, era kiki kye tuyinza okuyigira ku Kabaka Dawudi ku nsonga eno?
KUBA akafaananyi ng’oliko gy’olaga naye ng’oyita mu kitundu ky’otomanyi bulungi. Otuuka awantu nga waliwo amakubo abiri naye nga tomanyi kkubo ttuufu lya kukwata. Oyinza kukola ki? Oyinza okubuuza omuntu amanyi obulungi ekitundu ekyo akulagirire. Mu ngeri y’emu, bwe tuba n’ekintu ekikulu kye twagala okusalawo, tusaanidde okusaba Yakuwa, Oyo amanyi ebintu byonna, atuwe obulagirizi. Ekyo kijja kutuyamba ‘okutambulira mu kkubo’ ly’ayagala tutambuliremu.—Is. 30:21.
2 Kabaka Dawudi yafubanga nnyo okumanya endowooza ya Yakuwa ng’aliko by’ayagala okusalawo, era ekyo kyamuyambanga okukola Katonda by’ayagala. Dawudi yalina omutima ogwemalidde ku Yakuwa Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Dawudi gye yeeyisaamu ng’ali mu mbeera enzibu era tulabe n’ekyo kye tuyinza okumuyigirako.—1 Bassek. 11:4.
DAWUDI YASSANGA EKITIIBWA MU LINNYA LYA YAKUWA
3, 4. (a) Kiki ekyaleetera Dawudi okulwana ne Goliyaasi? (b) Dawudi yatwalanga atya erinnya lya Katonda?
3 Dawudi we yalwanira ne Goliyaasi yali akyali mulenzi muto. Goliyaasi yali musajja muwagguufu nnyo. Yali wa ffuuti nga mwenda n’ekitundu era yalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi ennyo. Kiki ekyayamba Dawudi obutatya kulwana na Mufirisuuti oyo? (1 Sam. 17:4) Kituufu nti Dawudi yali muvumu era yali yeesiga nnyo Katonda. Naye ensonga enkulu eyamuleetera okulwana ne Goliyaasi kwe kuba nti yali assa ekitiibwa mu Yakuwa awamu n’erinnya lye ettukuvu. Dawudi yagamba nti: “Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomooze eggye lya Katonda omulamu?”—1 Sam. 17:26.
4 Dawudi yagamba Goliyaasi nti: “Ojja gye ndi n’ekitala n’olunyago n’effumu: naye nze njija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isiraeri, ly’osoomoozezza.” (1 Sam. 17:45) Dawudi yeesiga Yakuwa era yasobola okutta Goliyaasi ng’akozesa ejjinja limu lyokka. Obulamu bwe bwonna, Dawudi yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa era nti yali assa ekitiibwa mu linnya lye ettukuvu. Mu butuufu, Dawudi yakubiriza Baisiraeri banne ‘okwenyumiriza mu linnya lya Yakuwa ettukuvu.’—Soma 1 Ebyomumirembe 16:8-10.
5. Okufaananako Goliyaasi, leero abantu balaga batya nti tebassa kitiibwa mu Yakuwa?
5 Weenyumiririza mu kuba nti Yakuwa ye Katonda wo? (Yer. 9:24) Kiki ky’okola singa baliraanwa bo, bakozi banno, bayizi banno, oba ab’eŋŋanda zo boogera bubi ku Yakuwa oba ku baweereza be? Ofuba okulwanirira erinnya lya Yakuwa ng’oli mukakafu nti ajja kukuyamba? Kyo kituufu nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu,” naye tetusaanidde kutya kuwa bujulirwa ku Yakuwa ne ku Yesu. (Mub. 3:1, 7; Mak. 8:38) Wadde nga tulina okuba abeegendereza nga twogera n’abantu abatassa kitiibwa mu Yakuwa, tetusaanidde kuba ng’Abaisiraeri ‘abaatya ennyo’ bwe baawulira nga Goliyaasi asoomooza eggye lya Isiraeri. (1 Sam. 17:11) Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okubaako kye twogera okulwanirira erinnya lya Yakuwa ettukuvu. Twagala okuyamba abantu okutegeera obulungi Yakuwa. Bwe kityo, tukozesa Bayibuli okubayamba okulaba ensonga lwaki kikulu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Yak. 4:8.
6. Nsonga ki eyaleetera Dawudi okulwana ne Goliyaasi, era kiki kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe?
6 Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo nga Dawudi agenda kulwana ne Goliyaasi. Dawudi bwe yagenda eri abantu ba Katonda abaali mu ddwaniro, yababuuza nti: “Omuntu anaakolwa atya anatta Omufirisuuti ono, n’aggya ekivume ku Isiraeri?” Baddamu okumugamba ebigambo bye baali bamugambye mu kusooka: “Omuntu [anatta Goliyaasi] kabaka anaamugaggawaza n’obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we.” (1 Sam. 17:25-27) Naye ekigendererwa kya Dawudi ekikulu tekyali kwefunira bintu. Dawudi yali ayagala kugulumiza Katonda ow’amazima. (Soma 1 Samwiri 17:46, 47.) Ate kiri kitya eri ffe? Okwekolera erinnya n’okwefunira eby’obugagga kye tukulembeza mu bulamu bwaffe? Tusaanidde okuba nga Dawudi eyagamba nti: “Mugulumize Yakuwa wamu nange, ka tutenderereze wamu erinnya lye.” (Zab. 34:3, NW) N’olwekyo, ka tweyongere okwesiga Katonda n’okugulumiza erinnya lye.—Mat. 6:9.
7. Kiki ekinaatuyamba okwongera okwesiga Yakuwa wadde ng’abantu be tubuulira tebaagala kutuwuliriza?
7 Okusobola okulwana ne Goliyaasi, Dawudi yalina okuba nga yeesiga Yakuwa. Dawudi yalina okukkiriza okw’amaanyi. Ekimu ku bintu ebyayamba Dawudi okuba n’okukkiriza okw’amaanyi kwe kuba nti yeesiganga Yakuwa bwe yali akola omulimu gwe ogw’okulunda endiga. (1 Sam. 17:34-37) Naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi bwe tuba ab’okweyongera okubuulira n’obunyiikivu, naddala singa abantu be tubuulira baba tebaagala kutuwuliriza. Okusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, twetaaga okwesiganga Yakuwa mu buli kimu kye tukola. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tuliko gye tulaga, tusobola okwogerako n’abantu be tutambula nabo mu takisi oba mu bbaasi ku bintu ebiri mu Bayibuli. Era bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tusobola okubuulirako n’abo ababa batambula mu kkubo.—Bik. 20:20, 21.
DAWUDI YALINDIRIRANGA YAKUWA
8, 9. Kabaka Sawulo bwe yali ayagala okutta Dawudi, Dawudi yakiraga atya nti yali ayagala nnyo okukola Katonda by’ayagala?
8 Ebyo ebyaliwo wakati wa Dawudi ne Sawulo, kabaka wa Isiraeri eyasooka, nabyo biraga nti Dawudi yali yeesiga Yakuwa. Emirundi esatu Sawulo yakasukira Dawudi effumu ng’ayagala kumutta, naye Dawudi n’alyewoma. Kyokka Dawudi teyeesasuza. Oluvannyuma Dawudi yasalawo okudduka Sawulo. (1 Sam. 18:7-11; 19:10) Sawulo awamu n’abasajja be 3,000 baasalawo okugenda okunoonya Dawudi mu ddungu. (1 Sam. 24:2) Lumu Sawulo yayingira mu mpuku Dawudi n’abasajja be mwe baali beekwese. Olw’okuba Yakuwa yali amaze okukiraga nti Dawudi ye yali agenda okudda mu bigere bya Sawulo nga kabaka wa Isiraeri, Dawudi yali asobola okukozesa akakisa ako okutta Sawulo. (1 Sam. 16:1, 13) Mu butuufu, singa Dawudi yawuliriza ebyo abasajja be bye baamugamba, yandibadde atta Sawulo. Naye Dawudi yagamba nti: “Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino.” (Soma 1 Samwiri 24:4-7.) Okuva bwe kiri nti Katonda yali akyalese Sawulo okufuga nga kabaka, Dawudi yagaana okumutta asobole okweddiza obwakabaka. Okuba nti Dawudi yasala busazi ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo, kiraga nti yali tayagala kumukolako kabi konna.—1 Sam. 24:11.
9 Ku mulundi gwe yasembayo okulaba ku Sawulo, Dawudi era yakiraga nti yali assa ekitiibwa mu kabaka, Katonda gwe yali alonze. Ku mulundi ogwo, Dawudi ne Abisaayi baagenda mu kifo Sawulo gye yali ne bamusanga nga yeebase. Wadde nga Abisaayi yagamba nti Katonda yali agabudde Sawulo mu mukono gwa Dawudi, era nti ye yali mwetegefu okufumita Sawulo effumu amutte, Dawudi yamugaana okukikola. (1 Sam. 26:8-11) Olw’okuba Dawudi yagobereranga obulagirizi bwa Yakuwa, yagaana okutta Sawulo nga Abisaayi bwe yali amugamba okukola.
10. Mbeera ki gye tuyinza okwolekagana nayo, era kiki ekinaatuyamba okunywerera ku kituufu?
10 Naffe mikwano gyaffe bayinza okwagala tukole ekintu mu ngeri bo gye balowooza nti y’esinga obulungi mu kifo ky’okukikola nga Yakuwa bw’ayagala. Okufaananako Abisaayi, abamu bayinza n’okutukubiriza okukola ekintu nga tetusoose kulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ekintu ekyo. Okusobola okukola ekituufu, tuba tulina okutegeera obulungi endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekyo era ne tuba bamalirivu okunywerera ku ebyo Yakuwa by’ayagala.
11. Dawudi yalaga atya nti okukola Katonda by’ayagala kye kintu kye yali akulembeza mu bulamu bwe, era oyinza otya okumukoppa?
11 Dawudi yasaba Yakuwa Katonda nti: “Onjigirize okukolanga by’oyagala.” (Soma Zabbuli 143:5, 8, 10.) Dawudi teyeesigamanga ku magezi ge era teyamalanga gakola ebyo abalala bye baabanga baagala akole. Mu kifo ky’ekyo, yayagalanga nnyo Yakuwa amuyigirize. ‘Yalowoozanga ku bikolwa bya Yakuwa era yafumiitirizanga ku mulimu gw’engalo ze.’ Naffe tusobola okutegeera ebyo Katonda by’ayagala nga twekenneenya Ebyawandiikibwa era nga tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawangamu abantu be obulagirizi mu biseera by’edda.
DAWUDI YALI ATEGEERA BULUNGI EMISINGI EGIRI MU MATEEKA
12, 13. Lwaki Dawudi yasalawo okuyiwa amazzi abasajja be abasatu ge baamuleetera?
12 Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Dawudi. Yali ategeera bulungi emisingi egiri mu Mateeka era yafubanga okugikolerako. Ng’ekyokulabirako, lumu Dawudi yali ayagala okunywa ku ‘mazzi ag’omu luzzi olw’e Besirekemu.’ Mu kiseera ekyo, ekibuga Besirekemu kyali mu mikono gy’Abafirisuuti. Kyokka abasajja be basatu baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bagenda mu kibuga ekyo ne baleetera Dawudi amazzi. Naye ‘Dawudi teyakkiriza kunywa mazzi ago, wabula yagayiwa eri Mukama.’ Lwaki? Dawudi yagamba nti: “Katonda wange akiddize eri gye ndi nze okukola bwe ntyo: nnywe omusaayi gw’abasajja bano abavudde mu bulamu bwabwe? Kubanga bagaleese nga bavudde mu bulamu bwabwe.”—1 Byom. 11:15-19.
13 Dawudi yali akimanyi nti Amateeka gaali gagamba nti omusaayi tegwalina kuliibwa, wabula gwalina kuyiibwa eri Yakuwa. Era yali amanyi n’ensonga lwaki Amateeka gaali gagamba bwe gatyo. Dawudi yali akimanyi nti “obulamu bw’ennyama buba mu musaayi.” Naye ago gaali mazzi, so si musaayi. Kati olwo lwaki Dawudi yagaana okuganywa? Yagaana okuganywa olw’okuba yali ategeera bulungi omusingi oguli mu tteeka erikwata ku musaayi. Dawudi yakitwala nti amazzi ago gaali ga muwendo nnyo ng’omusaayi gw’abasajja abo abasatu. N’olwekyo, yali tasobola kunywa mazzi ago. Mu kifo ky’okuganywa, yasalawo okugayiwa ku ttaka.—Leev. 17:11; Ma. 12:23, 24.
14. Kiki ekyayamba Dawudi okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda?
14 Dawudi yafubanga okukolera ku mateeka ga Katonda. Yagamba nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, Ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zab. 40:8) Dawudi yasomanga amateeka ga Katonda era yagafumiitirizangako nnyo. Yali akimanyi nti okukolera ku mateeka ga Yakuwa kyandimuganyudde nnyo. N’olwekyo, yafuba okukwata Amateeka ga Musa n’okukolera ku misingi egigalimu. Bwe tusoma Bayibuli era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, tujja kutegeera bulungi emisingi gya Bayibuli kituyambe okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda.
15. Kiki ekiraga nti Sulemaani teyassa kitiibwa mu Mateeka ga Katonda?
15 Yakuwa Katonda yawa mutabani wa Dawudi Sulemaani emikisa mingi. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Sulemaani yalekera awo okukwata amateeka ga Katonda. Teyagondera tteeka lya Yakuwa eryali ligaana bakabaka ba Isiraeri okuwasa abakazi abangi. (Ma. 17:17) Mu butuufu, Sulemaani yawasa abakazi bangi abagwira. Bwe yakaddiwa, ‘bakazi be baakyusa omutima gwe n’agoberera bakatonda abalala.’ Ka kibe ki kye yali yeekwasa okujeemera Katonda, ‘Sulemaani yakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi era teyagoberera ddala Mukama, nga Dawudi kitaawe bwe yakola.’ (1 Bassek. 11:1-6) Tulina okufuba okukolera ku mateeka ga Katonda n’emisingi egiri mu Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, kino kikulu nnyo bwe tuba twagala kuwasa oba kufumbirwa.
16. Abo abaagala okuyingira obufumbo bayinza batya okukolera ku tteeka erikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka”?
16 Singa omuntu atali mukkiriza akiraga nti akwegwanyiza, onookola ki? Oneeyisa nga Dawudi oba nga Sulemaani? Bayibuli egamba nti abaweereza ba Yakuwa balina kuwasa oba kufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Kol. 7:39) Omukristaayo bw’asalawo okuwasa oba okufumbirwa, omuntu gw’alonda alina kuba mukkiriza munne. Bwe tuba nga tutegeera bulungi omusingi oguli mu tteeka eryo, tetujja kufumbiriganwa na muntu atali mukkiriza, era singa omuntu ng’oyo akiraga nti atwegwanyiza tujja kukiraga nti tetwagala kuba na nkolagana ya kulusegere naye.
17. Kiki ekinaatuyamba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu?
17 Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Dawudi, omusajja eyatunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira, kijja kutuyamba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Soma ebyawandiikibwa bino, ofumiitirize ku misingi egibirimu, olabe endowooza Yakuwa gy’alina ku kulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. (Soma Zabbuli 119:37; Matayo 5:28, 29; Abakkolosaayi 3:5.) Okufumiitiriza ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda kijja kutuyamba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu.
BULIJJO FUBA OKUTUNUULIRA EBINTU NGA KATONDA BW’ABITUNUULIRA
18, 19. (a) Wadde nga Dawudi yali tatuukiridde, kiki ekyamuyamba okusigala ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
18 Wadde nga Dawudi yakola ebintu ebirungi bingi, yakola n’ebibi eby’amaanyi. (2 Sam. 11:2-4, 14, 15, 22-27; 1 Byom. 21:1, 7) Naye bwe yakolanga ekintu ekibi, yeenenyanga mu bwesimbu. Ebyawandiikibwa bigamba nti Dawudi yaweereza Katonda “n’omutima ogw’amazima.” (1 Bassek. 9:4) Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Dawudi yafubanga okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala.
19 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okusigala nga tusiimibwa mu maaso ga Katonda. Tusaanidde okweyongera okusoma Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, era n’okubikolerako. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyasaba Yakuwa nti: “Onjigirize okukolanga by’oyagala.”