Yakuwa—‘Yawanga Obuddukiro’ mu Biseera bya Baibuli
“Yanguwa okunnyamba, ai Katonda. Ggwe oli mubeezi wange era ggwe ompa obuddukiro.”—ZAB. 70:5, NW.
1, 2. (a) Ddi abaweereza ba Katonda lwe bamusaba okubayamba? (b) Kiki kye tulina okwebuuza, era eky’okuddamu kisangibwa wa?
NGA bali mu kulambulako, bazadde b’omuwala omu omufumbo ow’emyaka 23 bategeezebwa nti muwala waabwe talabikako era nti tamanyiddwako mayitire. Kiteeberezebwa nti waliwo ekimutuuseeko. Amangu ago bazingako ebyabwe ne baddayo eka, nga bwe basaba Yakuwa abayambe. Omujulirwa omu ow’emyaka 20 asangibwamu obulwadde obugenda okumusanyalaza omubiri gwonna. Amangu ago atuukirira Yakuwa mu kusaba. Omukyala omu ali obwannamunigina anoonya mulimu era talina ssente zimala kugula mmere, ye ne muwala we ow’emyaka 12 gye beetaaga. N’omutima gwe gwonna, asaba Yakuwa amuyambe. Yee, bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi, abaweereza ba Katonda kye basooka okukola kwe kumusaba abayambe. Wali olaajaniddeko Yakuwa okukuyamba ng’oli mu bwetaavu obw’amaanyi?
2 Ekikulu kye tulina okwebuuza kiri nti: Ddala tusuubira nti Yakuwa ajja kutwanukula nga tumusabye okutuyamba? Eky’okuddamu kisangibwa mu Zabbuli 70, era kinyweza okukkiriza kwaffe. Zabbuli eno ennungi ennyo yawandiikibwa Dawudi, omuweereza wa Yakuwa omwesigwa eyayolekagana n’ebizibu ebingi mu bulamu. Omuwandiisi wa zabbuli ono eyaluŋŋamizibwa yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ai Katonda. Ggwe oli mubeezi wange era ggwe ompa obuddukiro.” (Zab. 70:5, NW) Okwekenneenya Zabbuli 70 kijja kutuyamba okulaba lwaki naffe bwe tuba mu bizibu tusobola okusaba Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja ‘kutuwa obuddukiro.’
‘Ggwe Owa Obuddukiro’
3. (a) Mu Zabbuli 70, Dawudi asaba buyambi ki obwa mangu? (b) Alaga atya mu zabbuli eyo nti Katonda ajja kumuyamba?
3 Zabbuli 70 etandika era n’ekomekkereza ng’omuwandiisi waayo akaabirira Katonda ayanguwe okumuyamba. (Soma Zabbuli 70:1-5.) Dawudi alaajanira Yakuwa ‘ayanguwe’ okumununula. Mu lunyiriri 2-4, asaba ebintu bitaano, ng’ebisatu ebisooka bikwata ku abo abaali baagala okumutta. Dawudi yeegayirira Yakuwa awangule abalabe abo era abaswaze olw’ebikolwa byabwe ebibi. Ebintu ebibiri by’addako okusaba mu lunyiriri 4, bikwata ku bantu ba Katonda. Dawudi asaba nti abo abanoonya Yakuwa bafune essanyu era bamugulumize. Dawudi amaliriza zabbuli ye ng’agamba Yakuwa nti: “Gwe oli mubeezi wange era ggwe ompa obuddukiro.” Weetegereze nti Dawudi tagamba nti “Beera” mubeezi wange, wabula agamba nti “Ggwe oli,” ng’alaga nti amwesiga. Dawudi mukakafu nti Katonda ajja kumuyamba.
4, 5. Tuyiga ki ku Dawudi mu Zabbuli 70, era tuyinza kuba bakakafu ki?
4 Zabbuli 70 eraga ki ku Dawudi? Abalabe bwe baali baagala okumutta, Dawudi yasalawo obuteemalirira. Yali mukakafu nti Yakuwa amanyi ekiseera ekituufu eky’okumuwonyezaamu abalabe abo. (1 Sam. 26:10) Era Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa ayamba era alokola abo abamunoonya. (Beb. 11:6) Yali akimanyi nti waliwo ebintu bingi ebireetera abasinza ab’amazima okuba abasanyufu n’okugulumiza Yakuwa nga babuulira abalala ebimukwatako.—Zab. 5:11; 35:27.
5 Okufaananako Dawudi, tuli bakakafu nti Yakuwa Mubeezi waffe era ‘atuwa obuddukiro.’ N’olwekyo, bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi oba bwe tuba twetaaga obuyambi, tusobola okusaba Yakuwa okutudduukirira mu bwangu. (Zab. 71:12) Naye, Yakuwa addamu atya okusaba kwaffe? Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe embeera ssatu Yakuwa mwe yaweera Dawudi obuddukiro mu kiseera we yali abwetaagira ennyo.
Yamununula Okuva mu Balabe Be
6. Kiki ekyayamba Dawudi okumanya nti Yakuwa awa abatuukirivu obuddukiro?
6 Dawudi yali akimanyi okuva mu Byawandiikibwa ebyaliwo mu kiseera kye nti abantu abatuukirivu basobola okwesiga Yakuwa okubayamba. Yakuwa bwe yaleeta Amataba okuzikiriza ababi, yawonyawo Nuuwa n’ab’omu maka ge. (Lub. 7:23) Yakuwa bwe yaleeta omuliro okuzikiriza abantu b’omu Sodomu ne Ggomola ababi, yawonyawo Lutti ne bawala be ababiri. (Lub. 19:12-26) Yakuwa bwe yazikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu, abantu be yabakuuma ne batatuukibwako kabi, era yabawonya okusaanawo. (Kuv. 14:19-28) Tekyewuunyisa nti Dawudi bwe yali atendereza Yakuwa mu zabbuli endala yamwogerako nga “Katonda ow’okuwonya”?—Zab. 68:20.
7-9. (a) Kiki ekyaleetera Dawudi okuba omukakafu nti Katonda asobola okumununula? (b) Dawudi yagamba nti ani yamununula?
7 Dawudi yennyini yalina ensonga emuleetera okuba omukakafu nti Yakuwa asobola okumununula. Yali yeerabiddeko n’agage nti “emikono egitaggwaawo” egya Yakuwa gisobola okununula abaweereza Be. (Ma. 33:27) Emirundi egisukka mu gumu, Yakuwa yawonya Dawudi “abalabe” be. (Zab. 18:17-19, 48) Lowooza ku kyokulabirako kino.
8 Abakazi b’omu Isiraeri bwe baatendereza Dawudi olw’okuba omulwanyi omuzira, Kabaka Sawulo yakwatibwa obuggya era yagezaako emirundi ebiri okufumita Dawudi effumu. (1 Sam. 18:6-9) Emirundi egyo gyombi Dawudi yasimattuka okuttibwa. Kino kyava ku kuba nti Dawudi yali mulwanyi mukugu nnyo oba nti yalina obumanyirivu? Nedda. Baibuli egamba nti “Mukama yali naye.” (Soma 1 Samwiri 18:11-14.) Oluvannyuma, olukwe Sawulo lwe yali akoledde Dawudi attibwe Abafirisuuti bwe lwagwa obutaka, ‘Sawulo yakiraba n’ategeera nti Yakuwa yali ne Dawudi.’—1 Sam. 18:17-28.
9 Dawudi yagamba nti ani yali amununudde? Obugambo obusooka waggulu wa Zabbuli 18 bulaga nti Dawudi ‘yagamba Yakuwa ebigambo by’oluyimba luno ku lunaku Yakuwa lwe yamuwonya mu mukono gwa Sawulo.’ Dawudi yayimba nti: “Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye [ampa obuddukiro]; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga.” (Zab. 18:2) Nga kinyweza okukkiriza kwaffe okukimanya nti Yakuwa asobola okununula abantu be!—Zab. 35:10.
Yamulabirira ng’Ali ku Ndiri
10, 11. Tumanya tutya ekiseera Dawudi ky’ayinza okuba nga kye yalwaliramu, nga Zabbuli 41 bw’eraga?
10 Zabbuli 41 eraga nti waliwo ekiseera Kabaka Dawudi we yalwalira ennyo. Olw’okuba yali amaze ebbanga nga tava wansi, abalabe be baalowooza nti yali “tagenda kugolokoka nate.” Olunyiriri 7, 8 Ddi Dawudi lwe yalwala ennyo bw’atyo? Ebintu ebyogerwako mu zabbuli eno biraga nti kino kyandiba nga kyaliwo mu kiseera Dawudi we yabeerera mu bizibu eby’amaanyi nga mutabani we Abusaalomu agezaako okweddiza obwakabaka bwe.—2 Sam. 15:6, 13, 14.
11 Ng’ekyokulabirako, Dawudi ayogera ku muntu eyamulyamu olukwe, ate nga yali munne nnyo gwe yeesiga era nga balya bonna. Olunyiriri 9 Kino kirina ekintu kye kitujjukiza ekyaliwo mu bulamu bwa Dawudi. Abusaalomu bwe yeewaggula, Akisoferi omuwi wa Dawudi ow’amagezi gwe yali yeesiga yeegatta ku Abusaalomu. (2 Sam. 15:31; 16:15) Kubamu akafaananyi nga kabaka ali ku ndiri amaanyi gamuwedde, ate ng’amanyi nti abalabe bamwetoloodde era baagala afe basobole okutuukiriza ebigendererwa byabwe ebibi.—Olunyiriri 5.
12, 13. (a) Dawudi yalaga atya obwesige mu Katonda? (b) Katonda ayinza kuba nga yazzaamu atya Dawudi amaanyi?
12 Dawudi yasigala nga yeesiga Oyo ‘awa obuddukiro.’ Ng’ayogera ku muweereza wa Yakuwa omwesigwa omulwadde, Dawudi yagamba nti: “Mukama alimulokola ku lunaku olw’akabi. Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda: gwe olongooseza ddala ekiriri kye bw’alwala.” (Zab. 41:1, 3) Weetegereze nti na wano Dawudi yagamba nti ‘Yakuwa ajja kumujjanjabanga.’ Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa ye yali ensibuko ye ey’obuddukiro. Mu ngeri ki?
13 Dawudi yali tasuubira Yakuwa kumuwonya bulwadde mu ngeri ya kyamagero. Naye yali mukakafu nti Yakuwa ‘yandimujjanjabye,’ oba yandimulabiridde era n’amuwa amaanyi nga mulwadde. Tewali kubuusabuusa nti Dawudi yali yeetaaga obuyambi ng’obwo. Ng’oggyeko obulwadde okumunafuya, yali yeetooloddwa abalabe abamwogerako obubi. Olunyiriri 5, 6 Kyandiba nti Yakuwa yagumya Dawudi ng’amuyamba okujjukira ebintu ebimuzzaamu amaanyi, kubanga Dawudi yagamba nti: ‘Olw’obutuukirivu bwange, onnywezezza.’ Olunyiriri 12 Dawudi yandiba ng’era yaddamu amaanyi bwe yalowooza ku ky’okuba nti Yakuwa yali amutwala ng’omusajja omwesigwa, wadde nga yali mulwadde nnyo era nga n’abalabe be bamwogerako bubi. Oluvannyuma lwa byonna Dawudi yassuuka. Tekikuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asobola okulabirira abalwadde?—2 Kol. 1:3.
Yamuwa Bye Yeetaaga
14, 15. Dawudi ne basajja be beesanga ddi nga bali mu bwetaavu, era baafuna buyambi ki?
14 Dawudi bwe yafuuka kabaka wa Isiraeri, yalina eby’okulya n’eby’okunya ebirungi era yayitanga abalala okuliira ku mmeeza ye. (2 Sam. 9:10) Kyokka, Dawudi yali abaddeko mu mbeera ng’eby’okulya n’eby’okunywa tebimumala. Mutabani we Abusaalomu bwe yagezaako okweddiza entebe ye, Dawudi wamu ne basajja be abeesigwa badduka mu Yerusaalemi. Badduka ne bagenda e Gireyaadi, ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani. (2 Sam. 17:22, 24) Olw’okuba Dawudi ne basajja be baali bafuuse mmomboze, beesanga nga tebalina bya kulya na bya kunywa bimala, wadde akadde ak’okuwummulako. Kati olwo bandisobodde batya okufuna bye beetaaga mu ddungu eyo gye baali?
15 Oluvannyuma Dawudi ne basajja be batuuka mu kibuga Makanayimu. Nga bali eyo, baasisinkana Sobi, Makiri, ne Baluzirayi, abasajja abaali abavumu. Abasajja abo abasatu baateeka obulamu bwabwe mu kabi nga bayamba kabaka eyalondebwa Yakuwa kubanga Abusaalomu aba kweddiza bwakabaka, yandibonerezza abawagizi ba Dawudi bonna. Baalaba obuzibu Dawudi ne basajja be bwe baalimu, ne babaleetera ebintu bye beetaaga, omwali ebitanda, eŋŋaano, sayiri, eŋŋaano ensiike, ebijanjaalo, empindi, omubisi gwe njuki, omuzigo, n’endiga. (Soma 2 Samwiri 17:27-29.) Dawudi ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo olw’obwesige n’omwoyo omugabi abasajja abo bye baamulaga. Yali tayinza kwerabira basajja abo kye baali bamukoledde?
16. Ani eyali emabega w’okuwa Dawudi ne basajja be bye baali beetaaga?
16 Naye ani eyali emabega w’okuyamba Dawudi ne basajja be? Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa afaayo ku bantu be. Yakuwa asobola okuyitira mu baweereza be okuyamba basinza bannaabwe ababa bali mu bwetaavu. Dawudi bwe yalowooza ku ngeri gye yalabirirwamu ng’ali e Gireyaadi, awatali kubuusabuusa yakiraba nti Yakuwa ye yali emabega w’ekisa ekyamulagibwa abasajja abo abasatu. Ng’anaatera okufa, Dawudi yawandiika nti: “N[n]ali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu [nga naye mw’ali] ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.” (Zab. 37:25) Tekikuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa awa abaweereza be bye beetaaga?—Nge. 10:3.
‘Yakuwa Amanyi Okununula Abantu’
17. Kiki Yakuwa ky’alaze emirundi emingi?
17 Dawudi y’omu ku baweereza ba Katonda abangi Yakuwa be yawa obuddukiro mu biseera bya Baibuli. Okuva mu biseera bya Dawudi, Katonda alaze emirundi mingi obutuufu bw’ebigambo by’omutume Peetero bino: “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.” (2 Peet. 2:9, NW) Lowooza ku byokulabirako ebirala bibiri.
18. Yakuwa yalokola atya abantu be mu kiseera kya Keezeekiya?
18 Eggye lya Bwasuli ery’amaanyi bwe lyalumba Yuda era nga lyolekedde okuwamba Yerusaalemi mu kyasa eky’omunaana E.E.T., Kabaka Keezeekiya yasaba nti: “Ai Mukama Katonda waffe, tulokole . . . obwakabaka bwonna obw’omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.” (Is. 37:20) Keezeekiya kye yali asinga okufaako lye linnya lya Yakuwa. Yakuwa yaddamu okusaba okwo okwali kuviira ddala ku mutima. Mu kiro kimu kyokka, malayika omu bw’ati yatta Abasuuli 185,000, bw’atyo n’alokola abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.—Is. 37:32, 36.
19. Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka baawuliriza kulabula ki okusobola okuwonawo?
19 Ng’ebula ennaku ntono attibwe, Yesu yabuulira abayigirizwa be ab’omu Yuda ebyali bijja okubaawo. (Soma Lukka 21:20-22.) Waayitawo emyaka egiwera, naye mu 66 E.E., Abayudaaya beegugunga ne kiviirako amagye g’Abaruumi okulumba Yerusaalemi. Amagye ago agaali gaduumirwa Cestius Gallus gaali ganaatera okumenya ekisenge kya yeekaalu ne gabivaako ne gaddayo. Bwe baakitegeera nti kano ke kaali akakisa k’okudduka okuzikirizibwa Yesu kwe yali ayogeddeko, Abakristaayo abeesigwa baddukira mu nsozi. Amagye g’Abaruumi gaakomawo mu 70 E.E. Ku mulundi guno tegadda mabega era gaazikiririza ddala ekibuga Yerusaalemi. Abakristaayo abaakolera ku kulabula kwa Yesu baawona okuzikirizibwa okwo okwali okw’entiisa.—Luk. 19:41-44.
20. Lwaki tuyinza okwesiga Yakuwa, Oyo ‘awa obuddukiro’?
20 Okufumiitiriza ku bukakafu obulaga nti Yakuwa ayamba abantu be kinyweza okukkiriza kwaffe. Bye yakola mu biseera by’edda bituleetera okumwesiga. Ka tufune bizibu bya ngeri ki mu kiseera kino oba ekijja, naffe tusobola okwesigira ddala Yakuwa, Oyo ‘awa obuddukiro.’ Naye, Yakuwa atuwa atya obuddukiro? Era kyali kitya ku bantu abayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino? Ebintu byabagendera bitya? Ebyo tujja kubiraba mu kitundu ekiddako.
Ojjukira?
• Okusinziira ku Zabbuli 70, lwaki twandyesize Yakuwa?
• Yakuwa yalabirira atya Dawudi nga mulwadde?
• Byakulabirako ki ebiraga nti Yakuwa asobola okununula abantu be okuva mu balabe baabwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Yakuwa yaddamu essaala ya Keezeekiya