LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 12/15 lup. 19-23
  • Weeyise ‘ng’Omutuuze ow’Akaseera Obuseera’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyise ‘ng’Omutuuze ow’Akaseera Obuseera’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “EBITONDE BISINDIRA WAMU”
  • KIKI EKISUUBIRWA MU BAKRISTAAYO AB’AMAZIMA?
  • EMPISA ENNUNGI
  • OKUGONDERA AB’OBUYINZA
  • BAAGALANA
  • “Batuuze ab’Akaseera Obuseera” mu Nsi Embi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • ‘Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • “Abatuuze ab’Akaseera Obuseera” Bali Bumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Abakristaayo Abatalina Ludda Lwe Bawagira mu by’Obufuzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 12/15 lup. 19-23

Weeyise ‘ng’Omutuuze ow’Akaseera Obuseera’

“Mbabuulirira ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera mwewale ebyo omubiri bye gwegomba.”​—1 PEET. 2:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki abaafukibwako amafuta bayitibwa abatuuze ab’akaseera obuseera?

  • Mu ngeri ki ‘ab’endiga endala’ gye bali abatuuze ab’akaseera obuseera?

  • Kiki kye weesunga mu biseera eby’omu maaso?

1, 2. Baani Peetero be yayita “abaalondebwa,” era lwaki yabayita “abatuuze ab’akaseera obuseera”?

NGA wayise emyaka nga 30 bukya Yesu addayo mu ggulu, omutume Peetero yawandiika ebbaluwa eri “abatuuze ab’akaseera obuseera abaasaasaanira mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, abaalondebwa.” (1 Peet. 1:1) “Abaalondebwa” Peetero be yali ayogerako be baafukibwako amafuta, ‘abaazaalibwa obuggya ne baba n’essuubi eddamu’ ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Soma 1 Peetero 1:3, 4.) Naye lwaki oluvannyuma yabayita “abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera”? (1 Peet. 2:11) Era lwaki ffenna twandifuddeyo okwekenneenya ebigambo bya Peetero ebyo wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa batono nnyo okwetooloola ensi abagamba nti baafukibwako amafuta?

2 Peetero teyali mukyamu okugamba nti abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali ‘batuuze ab’akaseera obuseera.’ Okufaananako ensigalira y’abaafukibwako amafuta abaliwo leero, Abakristaayo abo tebaali ba kubeera ku nsi emirembe gyonna. Omutume Pawulo, omu ku abo abaafukibwako amafuta oba ‘ab’ekisibo ekitono,’ yagamba nti: “Naye ffe obutuuze bwaffe buli mu ggulu. Tulindirira omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo ali mu ggulu.” (Luk. 12:32; Baf. 3:20) Olw’okuba ‘obutuuze bwabwe buli mu ggulu,’ abaafukibwako amafuta bwe bafa bagenda mu ggulu ne bafuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa. (Soma Abafiripi 1:21-23.) Bwe kityo, ‘batuuze ab’akaseera obuseera’ mu nsi eno efugibwa Sitaani.

3. Kibuuzo ki ekikwata ku ‘b’endiga endala’ kye tuyinza okwebuuza?

3 Ate kiri kitya ku ‘b’endiga endala’? (Yok. 10:16) Ebyawandiikibwa biraga nti bajja kuba batuuze ab’enkalakkalira ku nsi. Mu butuufu, bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. Naye lwaki tuyinza okugamba nti nabo batuuze ab’akaseera obuseera?

“EBITONDE BISINDIRA WAMU”

4. Kiki abantu kye batasobola kumalawo?

4 Yakuwa bw’anaaba akyalese ensi ya Sitaani okugenda mu maaso, abantu bonna, nga mw’otwalidde n’Abakristaayo ab’amazima, bajja kweyongera okufuna ebizibu ebyava mu bujeemu Sitaani bwe yatandikawo. Abaruumi 8:22 wagamba nti: “Tukimanyi nti n’okutuusa kati ebitonde bisindira wamu era birumirwa wamu.” Abakulembeze b’amawanga, bannasayansi, n’abantu abagaba obuyambi, ne bwe bafuba kwenkana wa tebasobola kumalawo bizibu abantu bye balina.

5. Okuva mu 1914, kiki abantu bangi kye bakoze era lwaki?

5 Okuva mu 1914, waliwo abantu bangi abakkirizza okufugibwa Kristo Yesu, Kabaka Katonda gwe yalonda. Tebaagala kuba bantu ba nsi ya Sitaani era tebagiwagira. Mu kifo ky’ekyo, obulamu bwabwe n’ebintu byabwe babikozesa okuwagira Obwakabaka bwa Katonda.​—Bar. 14:7, 8.

6. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bonna basobola okuyitibwa abagwira?

6 Abajulirwa ba Yakuwa bonna abali mu nsi ezisukka mu 200 bafuba okukwata amateeka g’ensi mwe babeera. Naye ka babe nga bali mu nsi ki, beeyisa ng’abagwira. Tebeenyigira mu bya bufuzi oba mu bukuubagano bw’ensi. Ne mu kiseera kino, beetwala ng’abatuuze ab’ensi ya Katonda empya. Basanyufu nnyo okukimanya nti ekiseera kye basigazza ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nteekateeka y’ebintu eno kitono ddala.

7. Abaweereza ba Katonda banaafuuka batya abatuuze ab’enkalakkalira ku nsi?

7 Mu kiseera ekitali kya wala Kristo ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani eno embi. Obufuzi bwa Kristo bujja kuggyawo ekibi n’okubonaabona ku nsi. Era bujja kuggyawo abo bonna abawakanya obufuzi bwa Yakuwa. Abaweereza ba Katonda abeesigwa bajja kusobola okufuuka abatuuze ab’enkalakkalira mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (Soma Okubikkulirwa 21:1-5.) Bwe kityo, ebitonde ‘bijja kuba bisumuluddwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.’​—Bar. 8:21.

KIKI EKISUUBIRWA MU BAKRISTAAYO AB’AMAZIMA?

8, 9. Kiki Peetero kye yali ategeeza bwe yagamba nti “mwewale ebyo omubiri bye gwegomba”?

8 Peetero yalaga ekyo ekisuubirwa mu Bakristaayo. Yagamba nti: “Abaagalwa, mbabuulirira ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera mwewale ebyo omubiri bye gwegomba ebirwanyisa obulamu bwammwe.” (1 Peet. 2:11) Wadde ng’ebigambo ebyo yabigamba Bakristaayo abaafukibwako amafuta, bikwata ne ku bagoberezi ba Kristo ab’endiga endala.

9 Ebintu ebimu bye twegomba tebiba bibi singa biba bikoleddwako mu ngeri Katonda gy’ayagala era bisobola okutuleetera essanyu. Ng’ekyokulabirako, ffenna twagala okulya emmere ennungi, okwesanyusaamu, n’okubeerako awamu ne mikwano gyaffe. Era si kikyamu omuntu okwagala okwegatta ne munne mu bufumbo. (1 Kol. 7:3-5) Kyokka ebintu “omubiri bye gwegomba” Peetero bye yali ayogerako by’ebyo “ebirwanyisa obulamu.” Ebintu ebyo enkyusa ya Bayibuli emu ebiyita “okwegomba okubi” (New International Version). N’olwekyo, okwegomba kwonna okukontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala era okusobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda tusaanidde okukwewala. Bwe tutakola bwe tutyo, ekyo kiyinza okutuviiramu okufiirwa obulamu bwaffe.

10. Ebimu ku bintu Sitaani by’akozesa okuleetera Abakristaayo okweyisa ng’abantu b’ensi bye biruwa?

10 Sitaani ayagala okuleetera Abakristaayo ab’amazima okulekera awo okweyisa ‘ng’abatuuze ab’akaseera obuseera’ mu nteekateeka eno ey’ebintu. Ayagala okutuleetera okwagala ennyo ebintu, okwegomba ebikolwa eby’obugwenyufu, okwagala okuba abatutumufu, okwerowoozaako ffekka, n’okuba n’omwoyo gwa ggwanga. Bwe tufuba okwewala okwegomba okwo okubi, tuba tukiraga nti tetwagala kuba ba nsi ya Sitaani eno embi. Tuba tukiraga nti tuli batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno. Ffenna twagala okuba abatuuze ab’enkalakkalira mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu era tusaanidde okufuba ennyo okufuna obutuuze obwo.

EMPISA ENNUNGI

11, 12. Ebiseera ebimu abantu batwala batya abagwira, era abantu abamu batwala batya Abajulirwa ba Yakuwa?

11 Peetero yalaga ekintu ekirala ekisuubirwa mu Bakristaayo “abatuuze ab’akaseera obuseera.” Mu lunyiriri olwa 12 yagamba nti: “Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga, kibe nti, mu kintu kyonna kye baboogerako ng’abakozi b’obubi, bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi bagulumize Katonda ku lunaku olw’okukeberebwako.” Ebiseera ebimu abantu boogera bubi ku bagwira oba abatuuze ab’akaseera obuseera. Olw’okuba abagwira batera okuba ab’enjawulo ku bantu abalala, ebiseera ebimu bayinza okubatwala ng’abakozi b’ebibi. Enjogera yaabwe, engeri gye beeyisaamu, ennyambala yaabwe, oboolyawo n’endabika yaabwe biyinza okuba nga bya njawulo ku by’abantu abalala. Naye bwe beeyisa obulungi, kiyinza okuleetera abalala okukiraba nti si bantu babi.

12 Mu ngeri y’emu, waliwo ebintu bingi ebireetera Abakristaayo ab’amazima okuba ab’enjawulo ku bantu abalala. Ng’ekyokulabirako, ebintu bye boogerako, eby’okwesanyusaamu bye balonda, engeri gye bambalamu, n’engeri gye beekolako, byawukana ku by’abantu abalala. Ekyo ebiseera ebimu kireetera abantu abatabategeera bulungi okuboogerako ng’abakozi b’ebibi. Kyokka abantu abalala bayinza okuboogerako obulungi olw’enneeyisa yaabwe ennungi.

13, 14. ‘Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bikakasa bitya nti wa magezi’? Waayo ekyokulabirako.

13 Bwe tweyisa obulungi kiyinza okuleetera abantu abatwogerako obubi okukiraba nti tetuli bantu babi. Ne Yesu, omusajja yekka eyagondera Katonda mu ngeri etuukiridde, baamwogerako ebintu ebitali bituufu. Abamu baamuyita “omusajja ow’omululu era omutamiivu, mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi.” Naye engeri Yesu gye yeeyisaamu yakiraga nti bye baali bamwogerako ng’omukozi w’ebibi tebyali bituufu. Yesu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye bikakasa nti wa magezi.” (Mat. 11:19) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu ababeera okumpi ne Beseri y’omu kibuga Selters ekya Bugirimaani, baali bagamba nti engeri baganda baffe ne bannyinaffe abaweereza ku Beseri eyo gye beeyisaamu tetegeerekeka. Kyokka meeya w’ekibuga ekyo yawolereza Ababeseri abo n’agamba nti: “Kituufu nti Abajulirwa ba Yakuwa abakola mu kifo ekyo beeyisa mu ngeri ya njawulo, naye tebalina muntu yenna gwe bakosa.”

14 N’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kibuga Moscow ekya Russia baaboogerako ebintu ebitali bituufu. Kyokka mu Jjuuni 2010, kkooti ya Bulaaya ekola ku ddembe ly’obuntu eyitibwa European Court of Human Rights yagamba nti: ‘Kkooti y’omu Moscow yakola kikyamu okuyingirira eddembe ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’okusinza n’okukuŋŋaana. Kkooti z’omu Russia tezaawa bukakafu bulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa baleetera amaka okusasika era nti bagaana okukkiriza obujjanjabi.’ Era kkooti eyo yagamba nti, ‘Kkooti z’omu Russia zaakozesa amateeka g’omu Moscow amakakali okunyigiriza Abajulirwa ba Yakuwa.’

OKUGONDERA AB’OBUYINZA

15. Musingi ki Abakristaayo ab’amazima bonna okwetooloola ensi gwe bakolerako?

15 Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Moscow awamu n’abalala bonna okwetooloola ensi bakola ekintu ekirala Peetero kye yayogerako ekisuubirwa mu Bakristaayo ab’amazima. Yawandiika nti: “Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga abo bonna abali mu buyinza: oba kabaka, mumugondere ng’oyo alina obuyinza obw’oku ntikko, oba bagavana, mubagondere.” (1 Peet. 2:13, 14) Wadde nga si ba nsi, Abakristaayo ab’amazima bakola ekyo Pawulo kye yabakubiriza okukola. Bagondera ab’obuyinza ‘abali mu bifo byabwe.’​—Soma Abaruumi 13:1, 5-7.

16, 17. (a) Kiki ekiraga nti tetuwakanya gavumenti? (b) Kiki bannabyabufuzi abamu kye boogedde ku Bajulirwa ba Yakuwa?

16 Abajulirwa ba Yakuwa okweyisa ‘ng’abatuuze ab’akaseera obuseera’ mu nteekateeka y’ebintu eno embi tekitegeeza nti bawakanya gavumenti oba nti bayingirira eddembe ly’abalala. Abantu bwe baba balina bye basalawo ku nsonga z’eby’obufuzi oba ku ngeri ebizibu ebiri mu nsi gye biyinza okugonjoolwamu, Abajulirwa ba Yakuwa tebabayingirira. Obutafaananako bantu abali mu madiini amalala, Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi. Tebagezaako kulagira bannabyabufuzi ngeri ya kufugamu bantu. Abajulirwa ba Yakuwa tebasobola kujeemera gavumenti oba kukunga balala kugijeemera!

17 Peetero yakubiriza Abakristaayo ‘okuwanga kabaka ekitiibwa.’ Bwe kityo Abakristaayo bawa ekitiibwa abakulembeze abafuga nga babagondera. (1 Peet. 2:17) Ebiseera ebimu abakungu ba gavumenti nabo bakirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa si bantu babi. Ng’ekyokulabirako, munnabyabufuzi ayitibwa Steffen Reiche, eyaliko omubaka wa paliyamenti mu Bugirimaani, yagamba nti: ‘Abajulirwa ba Yakuwa baayoleka empisa ennungi bwe baali mu makomera ne mu nkambi z’abasibe. Baanywerera ku nzikiriza yaabwe wadde nga baali bayigganyizibwa, era baayisanga bulungi basibe bannaabwe. Abantu bonna abali mu Bugirimaani beetaaga okuba n’engeri ng’ezo, okuva bwe kiri nti abantu bangi bayisa bubi abagwira oba abo abatali ba nzikiriza zaabwe oba abo abalina endowooza z’eby’obufuzi ezaawukana ku zaabwe.’

BAAGALANA

18. (a) Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bonna baagalana? (b) Kiki abantu abamu kye boogedde ku Bajulirwa ba Yakuwa?

18 Omutume Peetero yawandiika nti: “Mwagalenga baganda bammwe bonna, mutyenga Katonda.” (1 Peet. 2:17) Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa batya Katonda era tebaagala kumunyiiza, bafuba okukola ebintu by’ayagala. Basanyufu okuba nti bonna okwetooloola ensi baweereza Yakuwa nga bali bumu. Eyo ye nsonga lwaki bonna okwetooloola ensi baagalana. Abantu abasinga obungi mu nsi tebaagalana era eyo ye nsonga lwaki oluusi beewuunya bwe balaba Abajulirwa ba Yakuwa nga baagalana. Ng’ekyokulabirako, omukazi omu akola mu kitongole ky’Amerika ekimu ekitambuza abalambuzi yeewuunya nnyo bwe yalaba engeri Abajulirwa gye baafaayo ku Bajulirwa bannaabwe abaava mu nsi endala nga bagenze ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu 2009 mu Bugirimaani. Yagamba nti yali amaze emyaka mingi ng’alambuza abalambuzi, naye yali talabangako bantu balinga Bajulirwa ba Yakuwa. Omu ku b’oluganda omukyala oyo be yalambuza yagamba nti: “Buli kimu omukyala oyo kye yatwogerako, yakyogera yeewuunya.” Naawe olina olukuŋŋaana olunene lwe wali obaddeko n’owulira omuntu atali Mujulirwa ng’ayogera bulungi ku Bajulirwa ba Yakuwa?

19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola, era lwaki?

19 Nga bwe tulabye, Abajulirwa ba Yakuwa bakiraze mu ngeri nnyingi nti ‘batuuze ab’akaseera obuseera’ mu nteekateeka ya Sitaani eno embi. Era bamalirivu okusigala nga batuuze ab’akaseera obuseera. Bakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala bajja kufuuka abatuuze ab’enkalakkalira mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu. Naawe ekyo okyesunga?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share