Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Kiki ekinaatuyamba okufuga olulimi lwaffe?
Tusaanidde okukebera omutima gwaffe. Mu kifo ky’okubuusabuusa ebiruubirirwa bya muganda waffe, kiba kirungi okulowooza ku nsonga lwaki tubuusabuusa ebiruubirirwa bye. Kyandiba nti twagala kulaga abalala nti tuli balungi okumusinga? Obutafuga lulimi kisobola okwonoona enkolagana yaffe n’abalala.—8/15, olupapula 21.
Ng’olunaku lwa Yakuwa lusembera, bintu ki bye tusuubira okubaawo mu biseera eby’omu maaso?
Wajja kubaawo okulangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu!’ Amawanga gajja kulumba Babulooni Ekinene gakizikirize. Abantu ba Katonda bajja kulumbibwa. Wajja kubaawo olutalo Kalumagedoni, oluvannyuma Sitaani ne badayimooni basuulibwe mu bunnya.—9/15, olupapula 4.
Obutamanya ddi enkomerero lw’enejja kituganyula kitya?
Kituwa akakisa okwoleka ekyo kyennyini ekiri mu mutima gwaffe. Kituwa akakisa okusanyusa omutima gwa Yakuwa. Kitusobozesa okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Kituyamba okwongera okwesiga Yakuwa n’okukolera ku Kigambo kye mu bulamu bwaffe. Era kituyamba okuyigira ku bizibu bye tufuna n’okunyweza okukkiriza kwaffe.—9/15, olupapula 24-25.
Katonda Anaggyawo Atya Okubonaabona?
Katonda anaatera okuleeta ensi empya ey’obutuukirivu ejja okubaamu abo bokka abaagala Katonda ne bantu bannaabwe. (2 Peet. 3:13) Yesu ajja kufugira mu ggulu, era ajja kuggyawo ebizibu byonna. (Is. 33:24; Kub. 21:4)—10/1, olupapula 7.
Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egisobola okutuyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kunywa sigala?
Katonda ayagala tusse ekitiibwa mu bulamu. (Ma. 5:17) Ayagala tumwagale era twagale ne bantu bannaffe. (Mak. 12:28-31) Ayagala twewalire ddala empisa ezitali nnyonjo. (2 Kol. 7:1)—10/1, olupapula 15.
Okulaga abalala ekisa kituganyula kitya?
Bwe tulaga abalala ekisa, tweyongera okumanya Katonda n’okufuna essanyu. (1 Yok. 4:7; Mat. 5:7, 8) Ate era bwe tulaga abalala ekisa, Yakuwa atusiima. (Nge. 19:17)—10/1, olupapula 20.
Katonda asonyiwa atya aboonoonyi ababa beenenyezza era yeerabira atya ebibi byabwe?
Ng’ayogera ku baweereza be, Yakuwa agamba nti: “Ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” (Yer. 31:34) Yakuwa asonyiwa aboonoonyi ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo. Bw’abasonyiwa, yeerabira mu ngeri nti talibavunaana oba talibabonereza olw’ebibi bye baakola.—10/1, olupapula 32.
“Emmunyeenye omusanvu” ezoogerwako mu Okubikkulirwa 1:16, 20 zikiikirira ki?
Zikiikirira abakadde abaafukibwako amafuta, naye ebyo ebyogerwa ku mmunyeenye ezo bisobola okukwata ne ku bakadde bonna mu bibiina.—10/15, olupapula 14.
Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 50:4, 5, Yesu yayoleka atya obwetoowaze?
Ennyiriri ezo zigamba nti oyo alina ‘olulimi lw’abo abayigirizibwa teyandikyuse kudda nnyuma.’ Yesu yali mwetoowaze era yasangayo nnyo omwoyo nga Kitaawe amuyigiriza. Yesu ateekwa okuba nga yeetegerezanga engeri Yakuwa gye yayolekangamu obwetoowaze ng’alaga abantu abatatuukiridde ekisa.—11/15, olupapula 11.