Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Bwe twali tetunnayiga mazima, nze ne mukyala wange twali twagala nnyo okuzaala omwana naye nga tulemereddwa. Twasalawo okukozesa enkola eyitibwa IVF (in vitro fertilization). Naye amagi gaffe gonna tegaakozesebwa; agamu abasawo baagatereka mu firiiji. Tuleke abasawo beeyongere okugatereka oba bagasuule?
Omukazi eyasooka okuzaala omwana ng’akozesa enkola eno yali mu Bungereza, era ekyo kyaliwo mu mwaka gwa 1978. Omukazi oyo yali tasobola kufuna lubuto olw’okuba enseke ze zaali zaazibikira, ng’enkwaso tezisobola kuyitamu kutuuka ku magi ge. Abasawo baamuggyamu eggi ne baliteeka mu giraasi, ne bafuna enkwaso za bbaawe nazo ne baziteeka mu giraasi eyo. Eggi lye bwe lyamala okwegatta n’enkwaso ne liba nga lisobola okuvaamu omwana, baaliteeka mu nnabaana we. Oluvannyuma lw’ekiseera omukazi oyo yazaala omwana ow’obuwala. Enkola eyo yatandika okuyitibwa in vitro (in glass) fertilization, oba IVF.
Bino bye bimu ku ebyo ebizingirwa mu nkola ya IVF: Okumala wiiki eziwerako, abasawo bawa omukazi eddagala eriyamba omubiri gwe okuzaala amagi. Omwami we naye bamusaba amazzi g’ekisajja, era ayinza okugafuna ng’atigaatiga obusajja bwe. Abasawo bateeka wamu amagi g’omukazi n’amazzi g’ekisajja omuli enkwaso. Amagi agawerako geegatta n’enkwaso ne gaba nga gasobola okuvaamu omwana. Oluvannyuma lw’olunaku lumu oba n’okusingawo, abasawo beekenneenya amagi ago basobole okulondamu amalamu obulungi. Oluvannyuma lw’ennaku nga ssatu, abasawo baddira amagi abiri oba asatu amalamu obulungi ne bagateeka mu nnabaana w’omukazi. Bateekamu amagi agasukka mu limu okusobola okwongera ku mikisa gye egy’okufuna olubuto. Singa eggi limu oba abiri ku ago ge baba batadde mu nnabaana galama, olwo omukazi afuna olubuto, era oluvannyuma lw’ekiseera aba asuubirwa okuzaala omwana.
Kati olwo amagi agaba gasigaddewo nga tegakozeseddwa bagakolera ki? Singa bagaleka bulesi awo, amagi ago gafa. Ekyo okusobola okukyewala, abasawo batereka amagi ago mu firiiji. Lwaki bagatereka? Singa omukazi aba tafunye lubuto, baddamu ne bamuteekamu agamu ku magi ago, naye ku mulundi guno tebamuggyako ssente nnyingi nga ze baamuggyako mu kusooka. Kyokka ekyo kireetawo ebibuuzo ebiwerako. Okufaananako abafumbo abaabuuza ekibuuzo ekyo waggulu, bangi baba tebamanyi kya kukolera magi abasawo ge baba baterese. Omwami ne mukyala we bayinza okuba nga tebaagala kufuna mwana mulala. Bayinza okuba nga bakaddiye oba nga tebakyalina ssente za kuddamu kukozesa nkola eyo. Bayinza okutya nti omukyala ayinza okufuna olubuto olw’abaana abasukka mu omu.a Oba bayinza okuba nga tebakyabeera wamu oba ng’omu ku bo yafa. Okukozesa enkola eno kuleetawo okusoomooza okw’amaanyi, era abafumbo abamu bamala emyaka mingi nga basasula ssente ez’okubaterekera amagi gaabwe.
Mu 2008, omusawo omu yawandiika mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The New York Times, n’alaga nti abafumbo bangi baba tebamanyi kya kukolera magi gaabwe agaba gaaterekebwa. Yagamba nti: “Amagi nga 400,000 ge gaterekeddwa mu firiiji z’amalwaliro agatali gamu mu Amerika, ate nga buli lunaku omuwendo gw’amagi agaterekebwa gweyongera . . . Amagi gasobola okusigala nga malamu bulungi okumala emyaka kkumi n’okusingawo singa gaba gaterekeddwa bulungi, naye agamu ku go gafa bwe gaggibwa mu firiiji.” (Italiki zaffe.) Ekyo kireetera Abakristaayo abamu abalina amagi gaabwe agaaterekebwa okwebuuza eky’okukola. Lwaki?
Abakristaayo abalina amagi agaaterekebwa naye nga tebamanyi kya kukola, bayinza okulowooza ku mbeera eno wammanga. Omukristaayo ayinza okwesanga mu mbeera ng’alina okusalawo eky’okukolera omuntu we omulwadde ennyo akuumirwa ku byuma ebiwanirira obulamu. Abakristaayo ab’amazima tebalagajjalira bulamu. Olw’okuba bamanyi omusingi oguli mu Okuva 20:13 n’ogwo oguli mu Zabbuli 36:9, obulamu babutwala nga bwa muwendo. Awake! eya Maayi 8, 1974, yagamba nti: “Abo abaagala okutuukanya obulamu bwabwe n’emisingi egiri mu Bayibuli tebalina kukkiriza kukomya bulamu bw’omuntu omulwadde ennyo gwe balowooza nti ayinza obutawona. Ekyo tebakikola olw’okuba bakimanyi nti obulamu butukuvu mu maaso ga Katonda. Ate era baagala okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era bagondera amateeka ga gavumenti.” Kyokka oluusi kiyinzika okuba nti ebyuma bye biwaniridde obulamu bw’omulwadde era nga tewali ssuubi nti ekiseera kirituuka omulwadde oyo n’aba mulamu nga tali ku byuma. Mu mbeera ng’eyo, ab’eŋŋanda ze bayinza okusalawo okumuleka ku byuma ebiwanirira obulamu oba okumuggyako.
Kyo kituufu nti embeera eyo eyawukana ku mbeera y’abafumbo ababa baakozesa enkola ya IVF ababa balina amagi ge baatereka. Naye ekimu ku bintu abafumbo ng’abo bye bayinza okukola kwe kulagira abasawo okuggya amagi gaabwe mu firiiji. Bwe gaggibwa mu firiiji ne galekebwa awo, amagi ago gafa. Omwami ne mukyala we be balina okusalawo obanga nga banakkiriza amagi gaabwe gaggibwe mu firiiji.—Bag. 6:7.
Abafumbo abamu abaakozesa enkola eya IVF bayinza okusalawo okweyongera okusasula abasawo ssente beeyongere okubaterekera amagi gaabwe basobole okugakozesa we baba baagalidde okufuna omwana. Kyokka, abalala bayinza okusalawo okugamba abasawo baggye amagi ago mu firiiji nga bakitwala nti amagi ago tegandibadde malamu singa tegabadde mu firiiji. Abakristaayo abali mu mbeera eyo basaanidde okukozesa omuntu waabwe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda. Balina okusalawo mu ngeri eneebasobozesa okusigala nga balina omuntu ow’omunda omuyonjo, era balina n’okufaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala.—1 Tim. 1:19.
Omusawo omu yagamba nti abafumbo abasinga obungi “baba tebamanyi kya kukolera magi gaabwe abasawo ge baba baabaterekera [mu firiiji].” Era yagamba nti: “Abafumbo abasinga obungi bagamba nti tebamanyi kituufu kya kukola mu mbeera ng’eyo.”
Kya lwatu nti Omukristaayo yenna alowooza ku ky’okukozesa enkola eyitibwa IVF asaanidde okulowooza ennyo ku bizingirwamu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.”—Nge. 22:3.
Omusajja n’omukazi abatali bafumbo bayiga Bayibuli era baagala okubatizibwa, naye tebasobola kuwandiisa bufumbo bwabwe olw’okuba omusajja ali mu ggwanga mu bukyamu. Gavumenti tekkiriza bagwira abali mu ggwanga mu bukyamu kuwandiisa bufumbo bwabwe. Bakkirizibwe okussa omukono ku kiwandiiko ky’okweyama okuba omwesigwa (Declaration Pledging Faithfulness) basobole okubatizibwa?
Wadde ng’ekyo kiyinza okulabika ng’ekisobola okugonjoola ekizibu kyabwe, okusinziira ku Byawandiikibwa ekyo si kye kintu ekituufu okukola. Okusobola okulaba ensonga lwaki kiri kityo, ka tusooke tutegeere ekiwandiiko ekyo kye ki era na ddi lwe kiyinza okukozesebwa.
Ekiwandiiko ekyo omusajja n’omukazi bakiteekako omukono mu maaso g’abajulirwa singa baba bagaaniddwa okufumbiriganwa olw’ensonga gye tugenda okulaba wammanga. Bwe bassa omukono ku kiwandiiko ekyo, baba beeyamye mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu nti buli omu ajja kuba mwesigwa eri munne era nti bajja kuwandiisa obufumbo bwabwe amangu ddala nga kisobose. Bwe bamala okukissaako omukono, ab’oluganda mu kibiina batandika okubatwala nga gy’obeera bafumbiriganiddwa mu mateeka.
Ddi ekiwandiiko ekyo lwe kiyinza okukozesebwa? Yakuwa ye yatandikawo obufumbo era abutwala nga butukuvu. Yesu yagamba nti: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:5, 6; Lub. 2:22-24) Yagattako nti: “Buli agattulula mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.” (Mat. 19:9) N’olwekyo okusinziira ku Byawandiikibwa, “obwenzi,” oba okwegatta kwonna wabweru w’obufumbo, ye nsonga yokka eyinza okusinziirwako okugattulula obufumbo. Ng’ekyokulabirako, singa omwami ayenda, mukyala we ayinza okusalawo okugattululwa naye oba okusigala naye. Singa asalawo okugattululwa n’omwami we, aba wa ddembe okufumbirwa omusajja omulala.
Kyokka mu nsi ezimu, naddala mu biseera by’edda, abakulembeze b’amadiini baabanga n’obuyinza bungi era baagaananga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kugattulula obufumbo. Baayigirizanga nti tewali nsonga yonna esobola kusinziirwako kugattulula bufumbo. Bwe kityo mu nsi ezimu, n’okutuusa leero ssemateeka waazo takkiriza bafumbo kugattululwa ne bwe kiba nti omu ku bo ayenze. Ate mu nsi endala, abafumbo bakkirizibwa okugattululwa naye ng’emitendera gye bayitamu mingi nnyo era nga mizibu okutuukiriza. Omuntu kiyinza okumutwalira emyaka mingi nnyo okusobola okuyita mu mitendera egyo gyonna. Kiba nga gy’obeera nti eddiini oba gavumenti ‘eziyiza’ ekyo Katonda ky’akkiriza.—Bik. 11:17.
Ng’ekyokulabirako, omusajja n’omukazi bayinza okuba nga babeera mu nsi gye kitakkirizibwa oba gye kiri ekizibu ennyo okugattulula obufumbo, oboolyawo nga kitwala emyaka mingi nnyo. Omusajja n’omukazi bwe baba nga bakoze kyonna ekisoboka okugattulula obufumbo ne bannaabwe be baali nabo naye ne kitasoboka, era ng’okusinziira ku Byawandiikibwa ba ddembe okuddamu okuwasa oba okufumbirwa, bakkirizibwa okuteeka omukono ku kiwandiiko ekyo. Ekibiina Ekikristaayo kyassaawo enteekateeka eyo okuyamba abantu abali mu nsi ng’ezo. Kyokka abo abali mu nsi ezikkiriza okugattulula obufumbo tebalina kuteeka mukono ku kiwandiiko ekyo ne bwe kiba ng’okugattulula obufumbo kibeetaagisa okuyita mu mitendera mingi oba nga kibeetaagisa okusasula ssente nnyingi.
Olw’okuba baba tebamanyi ddi ekiwandiiko ekyo lwe kirina kukozesebwa, abamu abali mu nsi gye kikkirizibwa okugattulula obufumbo basabye okuteeka omukono ku kiwandiiko ekyo nga baagala okwewala okutawaanyizibwa.
Mu mbeera eyo eyogeddwako mu kibuuzo, omusajja n’omukazi ababeera awamu nga si bafumbo baagala okuwandiisa obufumbo bwabwe mu mateeka. Okusinziira ku byawandiikibwa, buli omu ku bo wa ddembe okuwasa oba okufumbirwa; tewali n’omu ku bo alina mwami oba mukyala gwe yagattibwa naye. Kyokka omusajja oyo ali mu ggwanga mu bukyamu, era gavumenti egaanye okuwandiisa obufumbo bwe. (Mu nsi nnyingi, gavumenti zikkiriza okugatta omusajja n’omukazi ne bwe kiba nti omu ku bo oba bombi bali mu ggwanga mu bukyamu.) Kyokka omusajja oyo n’omukazi oyo ensi mwe bali ekkiriza okugattulula obufumbo. N’olwekyo, omusajja n’omukazi abo tebalina kuteeka mukono ku kiwandiiko ekyo. Weetegereze nti tekiri nti omusajja n’omukazi abo baagala kugattulula bufumbo naye nga bagaaniddwa okukikola. Buli omu ku bo wa ddembe okuwasa oba okufumbirwa. Naye okuva bwe kiri nti omusajja ali mu ggwanga mu bukyamu, kiki kye bayinza okukola? Bayinza okugenda mu nsi endala eyinza okubakkiriza okuwandiisa obufumbo bwabwe. Oba omusajja ayinza okubaako ky’akolawo okulaba nti afuna obutuuze mu nsi mwe bali basobole okukkirizibwa okugattibwa mu nsi eyo.
N’olwekyo, omusajja n’omukazi abo basaanidde okubaako kye bakolawo okutuukanya obulamu bwabwe n’emitindo gya Katonda awamu n’amateeka ga Kayisaali. (Mak. 12:17; Bar. 13:1) Singa bakola bwe batyo, olwo baba basobola okubatizibwa.—Beb. 13:4.
a Watya singa omwana ali mu lubuto taba mulamu bulungi, oba watya singa omukazi afuna olubuto olw’abaana abangi? Okuggyamu olubuto olwo kiba kikyamu. Abakazi abakozesa enkola ya IVF, batera okufuna olubuto olw’abaana ababiri, abasatu, oba n’okusingawo. Ekyo kireetawo ebizibu ebirala, gamba ng’okuzaala abaana nga tebannatuuka, oba omukazi okuvaamu omusaayi omungi. Omukazi bw’afuna olubuto olw’abaana abasukka mu omu, abasawo bayinza okumuwa amagezi okuggyamu abamu ku bo. Okwo kuba kuggyamu lubuto, era oyo aba akikoze aba asse omuntu.—Kuv. 21:22, 23; Zab. 139:16.
Abakristaayo abali mu mbeera eyo basaanidde okukozesa omuntu waabwe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda