LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 9/15 lup. 23-27
  • “Temumanyi Lunaku Wadde Essaawa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Temumanyi Lunaku Wadde Essaawa”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI TUSAANIDDE OKUBA OBULINDAALA?
  • ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BAKIRAZE NTI BALI BULINDAALA
  • ENGERI GYE TULAGA NTI TULI BULINDAALA
  • NAAWE BEERA BULINDAALA
  • ‘Omuddu Omwesigwa’ Asiimibwa mu Kiseera eky’Okukeberebwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Okolera ku Kulabula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • ‘Beera Bulindaala’—Ekiseera eky’Okusala Omusango Kituuse!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 9/15 lup. 23-27

“Temumanyi Lunaku Wadde Essaawa”

“N’olwekyo, mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”​—MAT. 25:13.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Obutamanya ddi enkomerero lw’enejja kituganyula kitya?

  • Abaafukibwako amafuta bakiraze batya nti bali bulindaala?

  • Tuyinza tutya okulaga nti twetegekedde enkomerero y’enteekateeka eno?

1-3. (a) Byakulabirako ki ebiyinza okutuyamba okutegeera amakulu agali mu ngero za Yesu ebbiri? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

KUBA akafaananyi nga waliwo omukungu wa gavumenti akusabye okumutwalako ku lukuŋŋaana olukulu ennyo. Kyokka essaawa ey’okusimbula eba enaatera okutuuka, okebera mu mmotoka yo n’osanga nga temuli mafuta gamala. Odduka n’ogenda okugula amafuta. Oba wa kagenda, omukungu oyo ajja ewuwo. Akunoonya nga takulabako. Olw’okuba obudde bumuyiseeko, afuna omuntu omulala alina emmotoka n’amutwala. Ogenda okukomawo osanga bamututte. Wandiwulidde otya?

2 Kati kuba akafaananyi nga ggwe mukungu oyo. Bw’oba tonnagenda ku lugendo, olagira abasajja bo basatu okubaako omulimu omukulu gwe bakukolera. Obabuulira ky’oyagala bakole, era bonsatule ne bakkiriza okukikola. Naye bw’okomawo oluvannyuma lw’ekiseera, osanga babiri bokka be baakola omulimu gwe wabalekera okukola. Kyokka oyo eyagaana okukola omulimu ogwo, atandika okwekwasa obusongasonga. Mu butuufu, ogenda okwetegereza nga teyagezanako kukola mulimu ogwo. Wandiwulidde otya?

3 Ebyokulabirako ebyo bifaananako olugero lwa Yesu olw’abawala ekkumi n’olwa ttalanta. Engero ezo zombi zikwata ku kiseera eky’enkomerero, era ziraga ensonga lwaki Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta bandibadde beesigwa era nga ba magezi ate ng’abalala si beesigwa era nga si ba magezi.a (Mat. 25:1-30) Yesu yakkaatiriza ensonga enkulu eyali mu ngero ezo ng’agamba nti: “Mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.” Ebigambo bye ebyo biraga nti abayigirizwa be tebanditegedde kiseera kyennyini mwe yandijjidde okuzikiriza ensi ya Sitaani. (Mat. 25:13) N’olwekyo, tusaanidde okuba obulindaala. Lwaki tusaanidde okuba obulindaala, nga Yesu bwe yatukubiriza okukola? Baani abakiraze nti bali bulindaala? Era kiki kye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli bulindaala?

LWAKI TUSAANIDDE OKUBA OBULINDAALA?

4. Lwaki tekitwetaagisa kumanya ddi enkomerero lw’enejja okusobola okuba obulindaala?

4 Ebiseera ebimu kiba kikulu okutunula ku ssaawa. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ogenda ku mulimu, oba ng’ogenda okulaba omusawo, oba ng’ogenda kulinnya ennyonyi, weetaaga okumanya essaawa osobole okutuukira mu budde. Kyokka omuntu aba azikiza omuliro oba aba adduukirira abantu abagwiriddwako akatyabaga aba teyeetaaga kutunula ku ssaawa, kubanga ekyo kiyinza okumuwugula era kiyinza okuvaamu obuzibu obw’amaanyi. Mu mbeera ng’ezo, kiba kikulu okussa ebirowoozo ku mulimu ogulina okukolebwa mu kifo ky’okumanya essaawa. Mu ngeri y’emu, omulimu gwaffe ogw’okubuulira guyamba abantu okumanya ebyo Yakuwa by’akoze okusobozesa abantu okulokolebwa. Omulimu ogwo mukulu nnyo leero okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka. Okusobola okuba obulindaala tekitwetaagisa kusooka kumanya ddi nkomerero lw’enejja. Mu butuufu, obutamanya lunaku oba essaawa zennyini enkomerero lw’enejja kituganyula mu ngeri nga ttaano.

5. Obutamanya lunaku na ssaawa enkomerero lw’enejja kituyamba kitya okwoleka ekyo ekiri mu mutima gwaffe?

5 Esooka, obutamanya ddi enkomerero lw’enejja kituwa akakisa okwoleka ekyo kyennyini ekiri mu mutima gwaffe. Yakuwa atuwa akakisa okukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo okulaga nti tuli beesigwa gy’ali. Wadde nga twesunga nnyo okuwonawo ng’enteekateeka eno ey’ebintu ezikirizibwa, tuweereza Yakuwa lwa kuba tumwagala, so si lwa kwagala bwagazi kufuna bulamu butaggwaawo. (Soma Zabbuli 37:4.) Kitusanyusa okukola by’ayagala, era tukimanyi nti Katonda atuyigiriza tusobole okuganyulwa. (Is. 48:17) Mu butuufu, ebiragiro bye tebizitowa.​—1 Yok. 5:3.

6. Bwe tuweereza Katonda olw’okuba tumwagala, awulira atya, era lwaki?

6 Ey’okubiri, obutamanya lunaku oba ssaawa enkomerero lw’enejja kituwa akakisa okusanyusa omutima gwa Yakuwa. Bwe tuweereza Yakuwa olw’okuba tumwagala, so si lwa kuba nti enkomerero eneetera okutuuka oba lwa kuba nti twagala okufuna empeera, tuwa Yakuwa eky’okuddamu eri omulabe we, Sitaani. (Yob. 2:4, 5; soma Engero 27:11.) Bwe tulowooza ku kubonaabona Sitaani kw’aleetedde abantu, kitukubiriza okuba abamalirivu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’okugaana obufuzi bwa Sitaani.

7. Lwaki osaanidde okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza?

7 Ey’okusatu, obutamanya lunaku lwennyini enkomerero lw’enejja kitusobozesa okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Abantu abamu abatamanyi Katonda nabo bakkiriza nti ensi eno eneetera okuzikirizibwa. Olw’okuba batya nti waliwo ekintu ekiyinza okuzikiriza ensi essaawa yonna, balina endowooza egamba nti: “Ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (1 Kol. 15:32) Naye ffe tetutya era tetwerowoozaako ffekka. (Nge. 18:1) Mu kifo ky’ekyo, tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala era tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Soma Matayo 16:24.) Kituleetera essanyu lingi okuweereza Katonda, naddala bwe tuyamba abalala okumumanya.

8. Kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekiraga nti tulina okwongera okwesiga Yakuwa awamu n’Ekigambo kye?

8 Ey’okuna, obutamanya lunaku oba ssaawa enkomerero lw’enejja kituyamba okwongera okwesiga Yakuwa n’okukolera ku Kigambo kye mu bulamu bwaffe. Olw’okuba tetutuukiridde, tutera okwagala okukola ebintu mu magezi gaffe. Paul yagamba Abakristaayo nti: “Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.” Yayogera ku bantu 23,000 abaajeemera Yakuwa ne bafiirwa obulamu bwabwe nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Pawulo yagamba nti ‘ebintu ebyo byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’omulembe guno.’​—1 Kol. 10:8, 11, 12.

9. Ebizibu bye tufuna biyinza bitya okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwongera okusemberera Katonda?

9 Ey’okutaano, obutamanya ddi enkomerero lw’enejja kituyamba okuyigira ku bizibu bye tufuna n’okunyweza okukkiriza kwaffe. (Soma Zabbuli 119:71.) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma twolekagana n’ebizibu bingi. (2 Tim. 3:1-5) Abantu bangi abali mu nsi ya Sitaani tebatwagala era bayinza okutuyigganya olw’okukkiriza kwaffe. (Yok. 15:19; 16:2) Bwe tuba abawombeefu era ne tukolera ku bulagirizi bwa Katonda nga twolekagana n’ebizibu, okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera. Ebizibu tebijja kutuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, bijja kutuyamba okwongera okumusemberera.​—Yak. 1:2-4; 4:8.

10. Kiki ekiyinza okuleetera ebiseera okulabika ng’ebidduka?

10 Oluusi ebiseera biyinza okulabika ng’ebidduka oba ng’ebigenda empola. Bwe tuba n’eby’okukola ebingi era nga tetutunula ku ssaawa buli kiseera, obudde buyinza okulabika ng’obudduka ennyo. Mu ngeri y’emu, bwe tuba n’eby’okukola bingi mu mulimu Yakuwa gwe yatuwa, enkomerero ejja kutuuka mangu okusinga bwe tusuubira. Abaafukibwako amafuta bangi batuteereddewo ekyokulabirako ekirungi nga baba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Yakuwa. Kati ka tulabe ekyo ekyaliwo nga Yesu yaakafuuka Kabaka mu 1914 era tulabe engeri abamu gye baakiraga nti baali bulindaala ate ng’abalala tebaali bulindaala.

ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BAKIRAZE NTI BALI BULINDAALA

11. Oluvannyuma lw’omwaka 1914, lwaki abamu ku baafukibwako amafuta baalowooza nti Mukama waffe yali aluddewo okutuuka?

11 Kati ddamu olowooze ku lugero lwa Yesu olukwata ku bawala ekkumi n’olwa ttalanta. Singa abawala oba abaddu aboogerwako mu ngero ezo baali bamanyi ddi omugole omusajja oba mukama waabwe lwe yandizze, kyandibadde tekibeetaagisa kusigala nga bali bulindaala. Naye ekyo baali tebakimanyi, bwe kityo baali balina okusigala nga bali bulindaala. Wadde ng’okumala emyaka mingi abaafukibwako amafuta baali bamanyi nti omwaka gwa 1914 gwali gujja kuba gwa njawulo nnyo, baali tebamanyidde ddala kiki ekyandibaddewo mu mwaka ogwo. Ebintu bwe bitaagenda nga bwe baali basuubira, abamu bayinza okuba nga baalowooza nti Omugole Omusajja yali aluddewo okutuuka. Ow’oluganda omu yagamba nti, “Abamu ku ffe twali tulowooza nti tugenda mu ggulu mu wiiki eyasooka eya Okitobba [1914].”

12. Abaafukibwako amafuta baakyoleka batya nti baali beesigwa era ba magezi?

12 Ab’oluganda abo bateekwa okuba nga baawulira bubi nnyo ng’enkomerero tezze mu kiseera ekyo. Ate era, ab’oluganda baayigganyizibwa nnyo mu Ssematalo I. Omulimu gw’okubuulira gwaddirira ne guba ng’ogwali guyimiridde. Mu kiseera ekyo, abaafukibwako amafuta baali ng’abeebase. Naye mu 1919, waliwo ekyabaleetera okuzuukuka! Yesu yali amaze okulambula abo bonna abaali beeyita Abakristaayo. Kyokka, kyeyoleka lwatu nti abamu ku bo tebaali Bakristaayo ba mazima, era bwe kityo Mukama waffe Yesu yali takyasobola kwongera kubakozesa. Tebaali bulindaala; baafaananako abawala abasirusiru abataalina mafuta mu ttaala zaabwe. Era okufaananako omuddu omugayaavu ataali mwesigwa eri Mukama we, tebaali beetegefu kwefiiriza ku lw’Obwakabaka. Kyokka, abaafukibwako amafuta abasinga obungi baali beesigwa nnyo era baakiraga nti baali beetegefu okuweereza Mukama waabwe ne mu biseera ebyo ebizibu eby’olutalo.

13. Ndowooza ki abaafukibwako amafuta gye baalina oluvannyuma lwa 1914, era balina ndowooza ki leero?

13 Oluvannyuma lwa 1914, magazini ya Watchtower emu yagamba nti: “Ab’oluganda, ffe abalina endowooza ennuŋŋamu eri Katonda tetuweddemu maanyi olw’okuba Katonda takoze nga bwe tubadde tusuubira. Twali tetwagala bintu bikolebwe nga ffe bwe twagala; n’olwekyo bwe twakitegeera nti kye twali tusuubira okubaawo mu Okitobba, 1914, tekyali kituufu, twali basanyufu okulaba nga Mukama waffe teyakyusa nteekateeka ye kutuukana na yaffe. Era ekyo twali tetumusuubira kukikola. Twagala okwongera okutegeera enteekateeka ze n’ebigendererwa bye.” N’okutuusa leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bawombeefu era beemalidde ku kukola Katonda by’ayagala. Tebeetwala kuba nti baaluŋŋamizibwa, naye bamalirivu okwongera okukola omulimu Mukama waffe gwe yabawa. Leero Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, “ekibiina ekinene” ‘eky’ab’endiga endala,’ bakoppa ekyokulabirako kyabwe nga nabo baba bulindaala era nga booleka obunyiikivu.​—Kub. 7:9; Yok. 10:16.

ENGERI GYE TULAGA NTI TULI BULINDAALA

14. Lwaki kirungi okukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?

14 Okufaananako Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ab’ekibiina ekinene abali obulindaala nabo banywerera ku mukutu Katonda gw’akozesa okuwa abantu be emmere ey’eby’omwoyo. Mu ngeri eyo, nabo baba ng’abongera amafuta mu ttaala zaabwe ez’akabonero okuva mu Kigambo kya Katonda n’omwoyo gwe. (Soma Zabbuli 119:130; Yokaana 16:13.) Bwe kityo, nabo basobola okusigala nga bali bulindaala okutuusa Kristo lw’anajja. Basobola okusigala nga beesigwa ne bwe baba mu mbeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abaali basibiddwa mu nkambi emu ey’Abanazi baalina Bayibuli emu yokka. Baasaba Katonda abayambe okwongera okufuna emmere ey’eby’omwoyo. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, waliwo ow’oluganda omulema eyali yaakaleetebwa mu nkambi eyo eyajja ne magazini za Watchtower ng’azikwese mu kugulu kwe okw’ekiti. Omu ku abo abaali mu nkambi eyo yali wa luganda eyafukibwako amafuta ayitibwa Ernst Wauer. Ow’oluganda oyo yagamba nti: “Yakuwa yatuyamba okukwata mu mutwe ebintu ebyali bizzaamu amaanyi ebyali mu magazini ezo.” Yagattako nti: “Leero, kyangu okufuna emmere ey’eby’omwoyo, naye ddala tulaga nti tusiima emmere eyo? Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa emikisa mingi abo bonna abamwesiga, abasigala nga beesigwa gy’ali, era abalya ku mmeeza ye ey’eby’omwoyo.”

15, 16. Mikisa ki ow’oluganda omu ne mukyala we gye baafuna olw’okwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, era ekyo kikuyigiriza ki?

15 Ab’endiga endala bayambako baganda ba Kristo nga bakola n’obunyiikivu omulimu gwa Mukama waffe. (Mat. 25:40) Obutafaananako omuddu omubi era omugayaavu ayogerwako mu lugero lwa Yesu, beetegefu okubaako bye beefiiriza okusobola okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Jon ne mukyala we Masako baasabibwa okugenda okubuulira mu kitundu ekimu eky’omu Kenya omuli Abakyayina abangi. Mu kusooka baawulira nga batiddemu. Naye oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa n’okutunula mu mbeera yaabwe, baasalawo okugenda.

16 Baafuna emikisa mingi olw’okwoleka obunyiikivu. Baagamba nti: “Tunyumirwa nnyo okubuulira mu kitundu kino.” Baafuna abantu musanvu be bayigiriza Bayibuli era baafuna n’emikisa emirala mingi. Baagattako nti, “Twebaza nnyo Yakuwa buli lunaku olw’okutusobozesa okuweereza mu kitundu kino.” Waliwo n’ab’oluganda abalala bangi abakiraze nti baagala okukola n’obunyiikivu omulimu Katonda gwe yatuwa okutuukira ddala ku nkomerero, k’ebe ng’enejja ddi. Lowooza ku b’oluganda bangi abagenze mu Ssomero lya Gireyaadi ne batandika okuweereza ng’abaminsani. Osobola okusoma ebikwata ku mulimu gw’obuminsani mu kitundu ekirina omutwe, “Tufuba Okukola Ekyo Ekisingayo Okuba Ekirungi!” ekyafulumira mu Watchtower eya Okitobba 15, 2001. Ng’osoma ku bintu omuminsani by’akola buli lunaku, lowooza ku ngeri naawe gy’oyinza okukola ekisingawo mu buweereza bwo, kikuyambe okwongera okufuna essanyu ng’oweereza Yakuwa.

NAAWE BEERA BULINDAALA

17. Obutamanya lunaku oba ssaawa yennyini enkomerero kw’enejjira kituganyudde kitya?

17 Obutamanya lunaku oba ssaawa yennyini enkomerero kw’enejjira tekitumazeemu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, kituyambye okwongera okusemberera Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala, nga tunyiikirira okukola by’ayagala. Olw’okuba twemalidde ku mulimu Mukama waffe gwe yatuwa era twewaze ebintu ebisobola okutuwugula, tufunye essanyu lingi mu buweereza bwaffe.​—Luk. 9:62.

18. Lwaki kikulu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

18 Enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka. Ffenna twagala okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne Yesu. Batuwadde omulimu omukulu ennyo ogw’okukola mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Tuli basanyufu nnyo okuba nti batwesize ne batuwa omulimu ogwo!​—Soma 1 Timoseewo 1:12.

19. Tuyinza tutya okulaga nti twetegekedde olunaku lwa Yakuwa?

19 Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, tusaanidde okuba abamalirivu okweyongera okukola omulimu Katonda gwe yatuwa ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Tetumanyi lunaku lwennyini wadde essaawa enkomerero lw’enejja, era ekyo tetwetaaga na kukimanya. Wadde kiri kityo, tusobola okusigala nga tuli bulindaala. (Mat. 24:36, 44) Tuli bakakafu nti singa tweyongera okwesiga Yakuwa n’okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe, tetujja kwejjusa.​—Bar. 10:11.

a Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, 2004, olupapula 26-31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share