BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Kisoboka okutegeera Bayibuli?
Bayibuli Kigambo kya Katonda. Eringa ebbaluwa taata gy’awandiikidde abaana be b’ayagala ennyo. (2 Timoseewo 3:16) Mu Bayibuli, Katonda atunnyonnyola engeri gye tusobola okumusanyusaamu, ensonga lwaki aleseewo okubonaabona, n’ebyo by’ajja okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Naye abakulembeze b’amadiini banyoddenyodde enjigiriza za Bayibuli; ekiviiriddeko abantu bangi okulowooza nti tebayinza kugitegeera.—Ebikolwa 20:29, 30.
Yakuwa Katonda ayagala tumanye amazima agamukwatako. Eyo y’ensonga lwaki atuwadde ekitabo kye tusobola okusoma ne tukitegeera.—Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.
Osobola Otya Okutegeera Bayibuli?
Ng’oggyeko okutuwa Bayibuli, Yakuwa atuwa obuyambi tusobole okugitegeera. Ng’ekyokulabirako, yatuma Yesu ku nsi atuyigirize. (Lukka 4:16-21) Yesu yajulizanga Ebyawandiikibwa okusobola okuyamba abo be yabanga ayigiriza okubitegeera.—Soma Lukka 24:27, 32, 45.
Yesu yatandikawo ekibiina Ekikristaayo kisobole okweyongera okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda. (Matayo 28:19, 20) Leero, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bayamba abantu okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku Katonda. Bw’oba nga wandyagadde okutegeera Bayibuli, Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba.—Soma Ebikolwa 8:30, 31.