Ddala Kisoboka Okutegeera Baibuli?
“Twasomanga Baibuli buli lwa Ssande mu maka gaffe. Mu butuufu, nze ssaanyumirwanga nnyo kugisoma. Nnali nkimanyi nti Baibuli Kigambo kya Katonda, naye ebisinga obungi ku ebyo bye nnasomanga byanzibuwaliranga okutegeera.”—Steven, Britain.
“Bwe nnali nga nnina emyaka 17, nnagezaako okusoma Baibuli. Yanzibuwalira nnyo okutegeera era ne ngivaako.”—Valvanera, Spain.
“Nnasoma Baibuli yonna olw’okuba nnali nkimanyi nti ng’Omukatuliki kiŋŋwanidde okugisoma. Kyantwalira emyaka essatu okugimalako! Kyokka, nnategeera bitono nnyo ku bye nnasoma.”—Jo-Anne, Australia.
KYO kituufu nti Baibuli kye kitabo ekisinga okwagalibwa mu nsi yonna. Era Baibuli kye kitabo ekisinga ebirala byonna okutunda, abantu abasinga obungi bagirina, eri mu nnimi nnyingi okusinga ebitabo ebirala, era eri ku CD, DVD ne ku ntambi za kaseti. Kyokka, abantu bangi abalina Baibuli bazibuwalirwa okugitegeera. Naawe bw’otyo bw’oli?
Ddala Nnannyini Kuwandiika Baibuli Ayagala Tugitegeere?
Baibuli egamba nti, “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) N’olwekyo, Yakuwa Katonda ye Nnannyini kuwandiika Baibuli. Ddala ayagala tutegeere Ekigambo kye? Oba yayagala kibeere nga kitegeerwa bamu na bamu, gamba ng’abakulembeze b’eddiini n’abekenneenya ba Baibuli?
Lowooza ku byawandiikibwa bino wammanga:
“Ekiragiro kino kye nkulagira leero tekiiyinze kukukaluubirira, so tekiri wala.”—Ekyamateeka 30:11.
“Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana. Biwa okutegeera abatalina magezi.”—Zabbuli 119:130.
“Mu kiseera ekyo kyennyini [Yesu] n’ajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu, n’agamba nti: ‘Nkutendereza mu lujjudde Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.’”—Lukka 10:21.
Mu butuufu, Nnannyini kuwandiika Baibuli ayagala nnyo otegeere Ekigambo kye! Wadde kiri kityo, abantu bangi abeesimbu bazibuwalirwa okukitegeera. Kiki ekiyinza okubayamba? Ebitundu ebiddako biraga ebintu bisatu ebiyinza okukuyamba okutegeera Baibuli.