LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 10/1 lup. 6-7
  • 3. Kkiriza Obuyambi bw’Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 3. Kkiriza Obuyambi bw’Abalala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ani Ayinza Okukuyamba?
  • “Ebibuuzo Byange Byonna Byaddibwamu”
  • Ddala Kisoboka Okutegeera Baibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Nywerera ku Kigambo kya Katonda
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/1 lup. 6-7

Engeri gy’Oyinza Okutegeera Baibuli

3. Kkiriza Obuyambi bw’Abalala

Omunoonyereza ayitibwa Edward John Eyre bwe yatindigga olugendo lwe oluzibu ennyo ng’ayita mu Nsenyi za Nullarbor eziri mu Australia, bannansi b’omu kitundu ekyo baamuyigiriza engeri y’okufunamu amazzi okuva mu musenyu ne mu miti gya kalittunsi. Okukkiriza obuyambi bw’abo abaali bamanyi obulungi ekitundu kyawonyawo obulamu bwe.

NGA bwe tulabye okuva mu kyokulabirako ekyo, okusobola okukola obulungi ekintu kyonna ekizibu, emirundi egisinga obungi kiba kikwetaagisa okufuna obuyambi okuva eri oyo alina obumanyirivu. Era bwe kityo bwe kiba ng’otandise okusoma Baibuli.

Yesu yali tasuubira bagoberezi be kutegeera Baibuli nga tebayambiddwako balala. Lumu, ‘yabikkula amagezi gaabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.’ (Lukka 24:45) Yesu yali akimanyi nti abasomi ba Baibuli beetaaga obuyambi okusobola okutegeera enjigiriza z’omu Byawandiikibwa.

Ani Ayinza Okukuyamba?

Yesu yakwasa abagoberezi be abeesigwa obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abo abaagala okutegeera enjigiriza eziri mu Byawandiikibwa. Nga tannalinnya mu ggulu, Yesu yawa ekiragiro kino: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Omulimu gw’Abakristaayo ogusinga obukulu guzingiramu okuyigiriza, nga kino kitwaliramu okunnyonnyola abantu engeri gye bayinza okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Baibuli. Abakristaayo ab’amazima bayamba abalala okutegeera Baibuli.

Nga waakayita ekiseera kitono bukya Yesu awa abagoberezi be omulimu ogwo, waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyabaawo. Baibuli etubuulira ebikwata ku mukungu Omwesiyopiya eyali asoma ekitundu mu bunnabbi bwa Isaaya. Bwe yali asoma, waliwo ekyamuzibuwalira okutegeera. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Baibuli, ennyiriri ezaamuzibuwalira okutegeera zigamba nti: “Yatwalibwa okuttibwa ng’endiga, era teyayasamya kamwa ke ng’omwana gw’endiga ogusirika nga guli mu maaso g’omusazi w’ebyoya by’endiga. Yafeebezebwa era omusango gwe tegwasalibwa mu bwenkanya. Ani alyogera ebikwata ku buzaale bwe? Kubanga obulamu bwe buggibwawo ku nsi.”​—Ebikolwa 8:32, 33; Isaaya 53:7, 8.

Omukungu ono yabuuza Firipo, omusajja Omukristaayo eyali amanyi obulungi Ebyawandiikibwa nti: “Bino nnabbi abyogera ku ani? Ku ye kennyini oba ku muntu mulala?” (Ebikolwa 8:34) Omusajja ono Omwesiyopiya yali ava Yerusaalemi kusinza, era ayinza okuba nga yali asabye Katonda okumuwa obulagirizi. Awatali kubuusabuusa, yali muwombeefu era ng’ayagala nnyo okutegeera by’asoma. Wadde kyali kityo, era omukungu ono yali tasobola kutegeera nnyiriri ezo. N’obuwoombeefu, yasaba Firipo amuyambe. Ebyo Firipo bye yamunnyonnyola byamusanyusa nnyo era ne bimuleetera okufuuka Omukristaayo.​—Ebikolwa 8:35-39.

Abajulirwa ba Yakuwa bagenda mu maaso n’okukola omulimu ogwakolebwanga Firipo n’Abakristaayo abalala ab’omu kyasa ekyasooka. Mu nsi ezisukka mu 235, Abajulirwa ba Yakuwa bayamba abantu okutegeera ekyo kyennyini Baibuli ky’eyigiriza. Kino bakikola nga bakubaganya n’abo ebirowoozo ku nsonga ezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Enkola eno ey’okuyiga n’abantu Baibuli ezingiramu okwekenneenya ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga emu oba endala.a​—Laba akasanduuko “Eby’Okuddamu Ebimatiza mu Bibuuzo Ebikwata ku Baibuli.”

“Ebibuuzo Byange Byonna Byaddibwamu”

Steven, Valvanera, ne Jo-Anne, abaayogeddwako mu kitundu ekyasoose, baatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Steven agamba nti, “Emirundi egimu, kyanneewuunyisanga nnyo okulaba engeri Baibuli gye yaddangamu obulungi ebibuuzo byange nga ngeraageranya ebyawandiikibwa ebitali bimu. Nga sinnatandika kuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, tewali n’omu eyali anjigirizza engeri y’okukikolamu. Kyanzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti okuyiga Baibuli tekyetaagisa kukuba bukubi mpaka nga bwe nnakolanga edda.”

Valvanera agamba nti, “Byonna Abajulirwa ba Yakuwa bye banjigiriza byali bikwatagana bulungi era nga bitegeerekeka. Nnakitegeera nti sirina kumala gakkiriza buli kintu olw’okuba eddiini bw’etyo bw’eyigiriza.” Jo-Anne agamba nti: “Olw’okuba Baibuli yaddamu bulungi ebibuuzo byange byonna, kyandeetera okussa ekitiibwa mu oyo Nnannyini kugiwandiika kubanga yakimanya nti abantu bandyebuuzizza ebibuuzo bingi era n’akakasa nti eby’okuddamu ebimatiza biteekebwa mu Baibuli.”

Waliwo Omujulirwa wa Yakuwa yenna gw’omanyi? Lwaki tomubuuza n’akulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli? Bw’oba nga tolina Mujulirwa wa Yakuwa gw’omanyi, osabibwa okubawandiikira ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 4 mu magazini eno. Baibuli tejja kukuzibuwalira kutegeera, singa ogisoma ng’olina obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ng’olina ekigendererwa ekirungi, era ng’oyambibwako omuntu amanyi obulungi Baibuli. Mu butuufu, osobola okutegeera Baibuli!

[Obugambo obuli wansi]

a Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, kayambye abantu bangi okutegeera enjigiriza za Baibuli.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Eby’Okuddamu Ebimatiza mu Bibuuzo Ebikwata ku Baibuli

Bino bye bimu ku ebyo ebyesigamiziddwa ku Baibuli Abajulirwa ba Yakuwa bye bakubaganyako ebirowoozo n’abantu:

• Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa?

• Abafu bali ludda wa?

• Ddala tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma”?

• Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona?

• Kiki kye nnyinza okukola okusobola okufuna essanyu mu maka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share