Engeri gy’Oyinza Okutegeera Baibuli
1. Saba Katonda Akuyambe
Omukyala omu ayitibwa Ninfa ow’omu Italy agamba nti “Waaliwo ekiseera lwe nnasomanga Baibuli nga sinnagenda kwebaka. Kino nnakikolanga olw’okuba nnali nkimanyi nti kye Kigambo kya Katonda. Wadde nga ssaanyumirwanga kugisoma, nnali njagala okumanya ebyo Katonda bye yawandiika mu Baibuli. Nnali nduubirira kugisoma yonna. Mu kusooka yali ennyanguyira, naye ate bwe nnatuuka ku bitundu ebyanzibuwalira okutegeera, ne ndekera awo okugisoma.”
NAAWE wali obaddeko mu mbeera ng’eya Ninfa? Abantu bangi bali mu mbeera ng’eyo. Kyokka, nga bwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, Nnannyini kuwandiika Baibuli, Yakuwa Katonda, ayagala otegeere Ekigambo kye. Naye, kiki ekiyinza okukuyamba okugitegeera? Ekisooka, kwe kusaba Nnannyini kugiwandiika akuyambe.
Abatume ba Yesu baali batwalibwa okuba abantu ‘abataayigirizibwa nnyo,’ olw’okuba baali tebasomedde mu masomero ga balabbi agaali gatendeka eby’eddiini. (Ebikolwa 4:13) Wadde kyali kityo, Yesu yabakakasa nti baali basobola okutegeera Ekigambo kya Katonda. Mu ngeri ki? Yesu yabagamba nti: “Omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’alisindika mu linnya lyange, oyo ajja kubayigiriza ebintu byonna.” (Yokaana 14:26) Katonda yakozesa omwoyo guno omutukuvu, oba amaanyi ge agakola, okutonda ensi n’ebintu byonna ebiramu ebigiriko. (Olubereberye 1:2) Era yagukozesa okuluŋŋamya abantu nga 40 okuwandiika ebirowoozo bye mu Baibuli. (2 Peetero 1:20, 21) Omwoyo ogwo gwennyini gusobola okuyamba abo abaagala okutegeera Baibuli.
Osobola otya okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu? Olina okusaba Katonda agukuwe ng’olina okukkiriza. Mu butuufu, kiyinza okukwetaagisa okunyiikirira okugusaba Katonda. Yesu yagamba nti, “Musabenga, muliweebwa, . . . Kale obanga . . . mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!” (Lukka 11:9, 13) Yakuwa ajja kuwa omwoyo gwe omutukuvu abo abagumusaba mu bwesimbu. Amaanyi ago agakola, gasobola okukuyamba okutegeera Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa ekyawandiikibwa emyaka mingi nnyo emabega. Omwoyo gwa Katonda era gusobola okukuyamba okutegeera engeri gy’oyinza okukolera ku bubaka obw’amaanyi obuli mu Baibuli.—Abebbulaniya 4:12; Yakobo 1:5, 6.
N’olwekyo, buli lw’oba ogenda okusoma Baibuli, saba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okutegeera Ekigambo kye.