Tusaanidde Okusaba Abatukuvu?
FFENNA twali tubaddeko n’ekizibu ne tuwulira nga twagala okukibuulirako omuntu omulala atuyambe. Bwe tuba n’ekizibu, tuba twagala okukibuulirako mukwano gwaffe anaatulumirirwa era eyayitako mu mbeera y’emu. Omuntu ng’oyo aba wa muwendo nnyo gye tuli.
Abamu baba n’enneewulira ng’eyo bwe kituuka ku kusaba. Olw’okuba balowooza nti Katonda wa kitiibwa nnyo era nti tatuukirikika, basalawo okusaba abatukuvu mu kifo ky’okusaba Katonda. Balowooza nti olw’okuba abatukuvu baayitako mu mbeera enzibu abantu ze balimu leero, bajja kubakwatirwa ekisa. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu ababa babuliddwako ebintu byabwe eby’omuwendo basaba “Omutukuvu” Antoniyo ow’e Padua, gwe bagamba nti y’ayamba abantu okuzuula ebibabuzeeko oba ebibbiddwa. Bwe baba basabira ensolo endwadde, basaba “Omutukuvu” Francis ow’e Assisi, oba bwe baba abennyamivu basaba “Omutukuvu” Yuda Tadeewo.
Naye, okusaba abatukuvu kikkirizibwa mu Bayibuli? Okuva bwe kiri nti bwe tusaba tuba twagala Katonda atuwulire, tusaanidde okwebuuza: Ddala Katonda awulira essaala zaffe? Katonda awulira atya bw’alaba nga tusaba abatukuvu?
BAYIBULI KY’EGAMBA KU KUSABA ABATUKUVU
Okusaba abatukuvu kwesigamiziddwa ku njigiriza y’Ekikatuliki egamba nti abatukuvu beegayirira Katonda ku lwaffe. Ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kiraga nti omuntu bw’asaba omutukuvu, aba “ayitira mu oyo Katonda gw’atwala nti y’alina ebisaanyizo okumwegayirira ku lw’oyo eyeetaaga okusaasirwa.” Bwe kityo, omuntu ng’oyo aba asuubira nti abatukuvu bwe baneegayirira Katonda ku lulwe, Katonda ajja kumusaasira kubanga asiima abatukuvu abo.
Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza? Abamu bagamba nti ebimu ku ebyo omutume Pawulo bye yawandiika, biraga nti tusobola okusaba abatukuvu. Ng’ekyokulabirako, yawandiikira Abakristaayo ab’omu Rooma nti: “Kaakano ab’oluganda mbakubiriza okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’omwoyo, mufubire wamu nange okunsabira eri Katonda.” (Abaruumi 15:30) Pawulo yali asaba Bakristaayo banne okwegayirira Katonda ku lulwe? N’akatono. Singa ekyo kye yali ategeeza, be bandibadde basaba Pawulo, omutume wa Kristo, okwegayirira Katonda ku lwabwe. Pawulo yali ategeeza nti tusobola okugamba Mukristaayo munnaffe okutusabira. Naye ekyo kya njawulo nnyo ku kusaba omuntu alowoozebwa okuba mu ggulu yeegayirire Katonda ku lwaffe. Lwaki?
Mu Njiri y’omutume Yokaana, Yesu agamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Ate era agamba nti: “Kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.” (Yokaana 15:16, Baibuli y’Oluganda eya 1968) Yesu yali tategeeza nti tusaanidde okusaba ye, oluvannyuma yeegayirire Katonda ku lwaffe. Wabula yali ategeeza nti essaala zaffe bwe ziba ez’okuwulirwa, tulina okusaba Katonda nga tuyitira mu ye, so si mu muntu mulala yenna.
Abayigirizwa ba Yesu bwe baamusaba abayigirize okusaba, Yesu yabagamba nti: “Buli lwe musaba mugambe nti ‘Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.’” (Lukka 11:2) N’olwekyo, “buli” lwe tuba tusaba, tusaanidde okusaba Katonda kennyini, so si Yesu oba omuntu omulala yenna. Ate era tusaanidde okusaba Katonda nga tuyitira mu Yesu Kristo so si mu “batukuvu.”
Okusaba y’emu ku ngeri gye tusinzaamu, n’olwekyo okusinza omuntu omulala yenna atali Katonda kikontana ne Bayibuli. (Yokaana 4:23, 24; Okubikkulirwa 19:9, 10) Eyo y’ensonga lwaki tusaanidde okusaba Katonda yekka.
WANDITIDDE OKUSABA KATONDA BUTEREEVU?
Lumu Yesu bwe yali ayigiriza, yawa ekyokulabirako ky’omwana asaba kitaawe eky’okulya. Taata asobola okuwa omwana we ejjinja mu kifo ky’omugaati? Oba omusota ogw’obusagwa mu kifo ky’ekyennyanja? (Matayo 7:9, 10) Taata ayagala omwana we tayinza kukola kintu ng’ekyo.
Katonda ayagala twogere naye, ng’omwana bw’ayogera ne kitaawe
Lowooza ku kyokulabirako ekyo mu ngeri endala. Ka tugambe nti omwana wo alina ky’ayagala okukusaba. Okolagana bulungi naye era oli muntu atuukirikika. Wadde kiri kityo, mu kifo ky’omwana wo okukutuukirira, asalawo kuyitira mu muntu mulala. Wandiwulidde otya? Watya singa buli lw’aba ayagala okwogera naawe ayitira mu muntu oyo era nga kirabika nti bw’atyo bwajja okukolanga? Ekyo kyandikusanyusizza? N’akatono! Abazadde baagala abaana baabwe babatuukirire era babe nga tebatya kubasaba kintu kyonna kye baba beetaaga.
Okusobola okuyamba abaali bamuwuliriza okufuna eky’okuyiga mu kyokulabirako ekyo, Yesu yabagamba nti: “N’olwekyo, oba nga mmwe ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebintu ebirungi abo abamusaba!” (Matayo 7:11) Awatali kubuusabuusa, abazadde baagala nnyo okuwa abaana baabwe ebintu ebirungi. Naye ate Kitaffe ow’omu ggulu asingawo nnyo era ayagala nnyo okuwulira essaala zaffe n’okuziddamu.
Katonda ayagala tusabe ye kennyini ne bwe tuba nga twennyamidde olw’ensobi zaffe. Tewali gwe yawa buyinza kuwuliriza ssaala zaffe. Bayibuli egamba nti: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.” (Zabbuli 55:22) Mu kifo ky’okusaba abatukuvu oba omuntu omulala yenna yeegayirire Katonda ku lwaffe, tusaanidde okwongera okumanya Katonda kitusobozese okusaba ye kennyini awatali kutya.
Kitaffe ow’omu ggulu atufaako kinnoomu. Ayagala okutuyamba bwe tuba n’ebizibu era atukubiriza okumusemberera. (Yakobo 4:8) Tuli basanyufu nnyo olw’okuba n’enkizo ey’okutuukirira Katonda waffe era Kitaffe, “awulira okusaba.”—Zabbuli 65:2.