YIGIRIZA ABAANA BO
Kiki kye Tuyinza Okuyigira ku Mumenyi w’Amateeka?
Omumenyi w’amateeka gwe tusobola okuyigirako y’oyo gw’olaba mu kifaananyi ayogera ne Yesu. Omumenyi w’amateeka oyo yeenenyezza ebibi bye. Agamba Yesu nti: “Onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” Nga bw’olaba mu kifaananyi, Yesu alina ky’agamba omumenyi w’amateeka oyo. Omanyi ky’amugamba?—a Yesu amusuubiza nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Olowooza olusuku lwa Katonda luliba lufaanana lutya?— Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka tusooke twogera ku lusuku Katonda mwe yateeka Adamu ne Kaawa, abantu abaasooka okutondebwa. Olusuku olwo lwali ludda wa? Lwali mu ggulu, oba wano ku nsi?—
Olusuku olwo lwali wano ku nsi. N’olwekyo, omumenyi w’amateeka ajja kubeera wano ku nsi eriba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Olusuku olwo luliba lufaanana lutya?— Ka tulabe.
Yakuwa Katonda bwe yamala okutonda Adamu ne Kaawa, Bayibuli egamba nti yabateeka mu lusuku olwali wano ku nsi. Lwali luyitibwa ‘olusuku olw’omu Adeni.’ Olowooza ‘olusuku olw’omu Adeni’ lwali lufaanana lutya?— Lwali lulabika bulungi nnyo, era tewali kitundu kyonna ku nsi ekirufaanana!
Olowooza otya? Yesu alibeera wano ku nsi n’omumenyi w’amateeka eyeenenya ebibi bye?— Nedda, Yesu ajja kuba mu ggulu ng’afuga ensi eriba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. N’olwekyo, Yesu ajja kuba n’omumenyi w’amateeka mu ngeri nti ajja kumuzuukiza abeere mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. Naye, lwaki Yesu ajja kukkiriza omusajja eyali omumenyi w’amateeka okubeera mu lusuku lwa Katonda?—Ekyo nakyo ka tukyogereko.
Kyo kituufu, omusajja oyo yakola ebibi bingi okufaananako obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abazze babeerawo ku nsi. Kyokka, abantu abasinga obungi baakolanga ebintu ebibi olw’okuba baali tebayigiriziddwa ebikwata ku Yakuwa n’ebyo bye yali ayagala bakole.
N’olwekyo, abantu ng’abo nga mw’otwalidde omumenyi w’amateeka Yesu gwe yayogera naye ng’awanikiddwa ku muti, bajja kuzuukizibwa babeera mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. Bajja kuyigirizibwa ebyo Katonda by’ayagala. Bwe kityo, bajja kuweebwa akakisa okulaga obanga baagala Yakuwa.
Omanyi engeri gye bajja okulagamu nti baagala Yakuwa?— Nga bakola by’ayagala. Nga kijja kuba kirungi nnyo okuba mu lusuku lwa Katonda nga tuli wamu n’abantu abaagala Yakuwa era abaagalana!
Soma mu Bayibuli yo
a Bw’oba osoma n’omwana, siriikiriramu awali akasittale omuleke awe endowooza ye.