BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Lwaki ensi teriimu mirembe?
Gavumenti esobola okukyusa emitima gy’abantu ye yokka ejja okuleetawo emirembe ku nsi
Bayibuli etuwa ensonga bbiri enkulu. Esooka eri nti, wadde nga waliwo ebintu ebyewuunyisa abantu bye bakoze, tebalina busobozi bwa kweruŋŋamya. Ate ey’okubiri eri nti, “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi,” Sitaani Omulyolyomi.—Soma Yeremiya 10:23; 1 Yokaana 5:19.
Ensonga endala eviiriddeko ensi obutabaamu mirembe kwe kuba nti abantu beefaako bokka era baba n’ebiruubirirwa ebikyamu. Gavumenti esobola okuyigiriza abantu okwagala okukola ebirungi n’okufaayo ku bannaabwe ye yokka ejja okuleeta emirembe ku nsi.—Soma Isaaya 32:17; 48:18, 22.
Ani anaaleetawo emirembe ku nsi?
Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna asuubizza okussaawo gavumenti ejja okufuga ensi yonna. Ejja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna eziriwo. (Danyeri 2:44) Yesu, Omwana wa Katonda, ajja kufuga ng’Omulangira w’Emirembe. Ajja kuggyawo okubonaabona kwonna okuliwo mu nsi era ajja kuyigiriza abantu okuba ab’emirembe.—Soma Isaaya 9:6, 7; 11:4, 9.
Mu kiseera kino, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna abakolera ku bulagirizi bwa Yesu, bakozesa Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, okuyigiriza abantu okuba ab’emirembe. Mu kiseera ekitali kya wala, ensi yonna ejja kubaamu emirembe.—Soma Isaaya 2:3, 4; 54:13.