LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 24
  • Lwaki Abantu Tebasobola Kuleeta Mirembe gya Nnamaddala?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Abantu Tebasobola Kuleeta Mirembe gya Nnamaddala?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 24
Ennyonyi y’omu lutalo

Lwaki Abantu Tebasobola Kuleeta Mirembe gya Nnamaddala?

Bayibuli ky’egamba

Abantu balemereddwa okuleetawo emirembe era tebajja kusobola kuleeta mirembe gya nnamaddala. Lwaki?

  • “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.” (Yeremiya 10:23) Abantu tebaatondebwa na busobozi bwa kwefuga bokka, n’olwekyo tebasobola kuleeta mirembe gya nnamaddala.

  • “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola. Omukka gwe gumuvaamu, n’addayo mu ttaka; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bisaanawo.” (Zabbuli 146:3, 4) Abafuzi abantu obuntu, nga mw’otwalidde n’abo abalina ebigendererwa ebirungi, tebasobola kumalirawo ddala ntalo.

  • “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba . . . bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza.” (2 Timoseewo 3:1–4) Tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” ekiseera omuli ebintu ebitasobozesa mirembe gya nnamaddala kubaawo.

  • “Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Sitaani Omulyolyomi, omulabe wa Katonda, yasuulibwa ku nsi era aviiriddeko abantu okukola ebikolwa eby’obukambwe. Nga Sitaani akyafuga ensi eno, ensi tesobola kubaamu mirembe.—Yokaana 12:31.

  • “[Obwakabaka bwa Katonda] bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka [obuziyiza Katonda], era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.” (Danyeri 2:44) Obwakabaka bwa Katonda, so si gavumenti z’abantu, bwe bwokka obujja okuleeta emirembe egya nnamaddala.—Zabbuli 145:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share