LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/15 lup. 12-16
  • Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUSABA
  • OKUFUMIITIRIZA KU MATEEKA GA KATONDA
  • OKUGOBERERA OBULAGIRIZI YAKUWA BW’ATUWA
  • Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Weesige Yakuwa Bulijjo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/15 lup. 12-16

Sanyukira Ebintu Yakuwa By’atujjukiza

“By’otujjukiza mbitwala okuba obusika bwange obw’olubeerera.”​—ZAB. 119:111, NW.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki tusaanidde okusanyukira ebintu Yakuwa by’atujjukiza?

  • Biki ebinaatuyamba okwongera okwesiga Yakuwa?

  • Lwaki tusaanidde okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu?

1. (a) Abantu beeyisa batya nga baweereddwa obulagirizi, era lwaki? (b) Omuntu ow’amalala ayinza kweyisa atya ng’awabuddwa?

ABANTU beeyisa mu ngeri za njawulo nga baweereddwa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu batera okukkiriza obulagirizi obuba bubaweereddwa omuntu ali mu buyinza naye ne bagaana obwo obuba bubaweereddwa oyo bwe benkanya emyaka oba oyo atabalinaako buyinza. Abamu bwe bawabulwa bayinza okuwulira obubi, bayinza okwennyamira, oba bayinza okuwulira nga baswadde. Naye ate abalala bayinza okuwulira nga bazziddwamu amaanyi era ne bafuba okutereezaamu. Lwaki abantu beeyisa mu ngeri za njawulo nga bawabuddwa? Ekimu ku bintu ebiyinza okubaleetera okweyisa mu ngeri ez’enjawulo ge malala. Omuntu ow’amalala bw’awabulwa, ayinza okulowooza nti ebimugambiddwa tebimukwatako, n’agaana okubikolerako, bw’atyo n’atafuna miganyulo egiva mu kuwabulwa.​—Nge. 16:18.

2. Lwaki Abakristaayo ab’amazima bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda?

2 Kyokka Abakristaayo ab’amazima bo bafuba okukolera ku bulagirizi obuba bubaweereddwa, naddala bwe buba bwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. Ebyo Yakuwa by’atujjukiza bituyamba okulaba akabi akali mu bintu gamba ng’okululunkanira eby’obugagga, ebikolwa eby’obugwenyufu, n’okukozesa obubi omwenge. (Nge. 20:1; 2 Kol. 7:1; 1 Bas. 4:3-5; 1 Tim. 6:6-11) Ate era bwe tulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku mateeka ga Katonda, kituleetera essanyu lingi.​—Is. 65:14.

3. Ndowooza ki omuwandiisi wa Zabbuli gye yalina gye tusaanidde okuba nayo?

3 Okusobola okukuuma enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, tulina okweyongera okukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “By’otujjukiza mbitwala okuba obusika bwange obw’olubeerera, kubanga bye bisanyusa omutima gwange”! (Zab. 119:111, NW) Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, naffe tusanyukira amateeka ga Yakuwa, oba kyandiba nti ebiseera ebimu tugatwala ng’omugugu? Wadde ng’oluusi kiyinza obutatwanguyira kukkiriza bulagirizi buba butuweereddwa, tetusaanidde kuggwamu maanyi. Tusaanidde bulijjo okukijjukira nti okwesiga Yakuwa n’okukwata amateeka ge kituganyula nnyo! Ka tulabe ebintu bisatu ebinaatuyamba okwongera okwesiga Yakuwa.

OKUSABA

4. Kintu ki Dawudi kye yeeyongera okukola?

4 Kabaka Dawudi yayita mu biseera ebirungi n’ebiseera ebizibu ennyo. Naye mu biseera ebyo byonna yeeyongera okwesiga Omutonzi we. Yagamba nti: ‘Gy’oli, Ai Yakuwa, nnyimusizza emmeeme yange. Ai Katonda wange, nnaakwesiganga ggwe.’ (Zab. 25:1, 2) Kiki ekyayamba Dawudi okwesiga ennyo Kitaawe ow’omu ggulu?

5, 6. Okusinziira ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda, nkolagana ki Dawudi gye yalina ne Yakuwa?

5 Abantu abasinga obungi basaba Katonda mu biseera ebyo byokka nga bafunye ebizibu. Abantu ng’abo bafaananako mukwano gwo oba ow’eŋŋanda zo ayogerako naawe mu kiseera ekyo kyokka ng’ayagala omuwe ssente oba ng’aliko ekintu ky’ayagala omukolere. Oyinza okutandika okwebuuza obanga ddala omuntu oyo akwagala. Kyokka ye Dawudi teyali bw’atyo. Mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu, essaala za Dawudi zaalaganga nti yali ayagala nnyo Yakuwa era nti yali amwesiga.​—Zab. 40:8.

6 Lowooza ku bigambo bino Dawudi bye yayogera ng’atendereza Yakuwa era ng’amwebaza: “Ai Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu!” (Zab. 8:1) Ebigambo ebyo biraga nti Dawudi yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe ow’omu ggulu. Ekitiibwa kya Katonda kyawuniikiriza nnyo Dawudi ne kimukubiriza okutendereza Yakuwa “obudde okuziba.”​—Zab. 35:28.

7. Okusaba Yakuwa obutayosa kituyamba kitya?

7 Okufaananako Dawudi, okusaba Yakuwa obutayosa naffe kituyamba okwongera okumwesiga. Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8) Okusaba Yakuwa obutayosa era kituyamba okufuna omwoyo gwe omutukuvu.​—Soma 1 Yokaana 3:22.

8. Lwaki tusaanidde okwewala okuddiŋŋana ebigambo nga tusaba?

8 Otera okukozesa ebigambo bye bimu ng’osaba Yakuwa? Bwe kiba kityo, gezaako okufunangayo akaseera olowooze ku bintu by’oyagala okugamba Yakuwa nga tonnatandika kusaba. Lowooza ku kino: Singa buli lw’oba oyogera ne mukwano gwo oba ow’eŋŋanda zo okozesa ebigambo bye bimu, olowooza anaawulira atya? Ayinza okulekera awo okukuwuliriza. Kya lwatu nti Yakuwa tasobola kugaana kuwuliriza ssaala ya muweereza we omwesigwa gy’aba asabye mu bwesimbu. Naye tusaanidde okwewala okuddiŋŋana ebigambo nga tusaba.

9, 10. (a) Biki bye tuyinza okwogerako nga tusaba? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okusaba essaala ez’amakulu?

9 Kya lwatu nti bwe tuba twagala okusemberera Yakuwa, tulina okukakasa nti essaala zaffe ziviira ddala ku mutima. Gye tukoma okweyabiza Yakuwa, gye tukoma okumusemberera n’okumwesiga. Kati olwo biki bye tusaanidde okwogerako nga tusaba? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” (Baf. 4:6) Mu butuufu, ekintu kyonna ekikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa oba ku bulamu bwaffe, tusobola okukyogerako nga tusaba.

10 Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku ssaala z’abasajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. (1 Sam. 1:10, 11; Bik. 4:24-31) Ng’ekyokulabirako, mu Zabbuli mulimu essaala n’ennyimba nnyingi ezooleka enneewulira z’abantu ezitali zimu, gamba ng’ennaku ey’amaanyi n’essanyu. Okwekenneenya ebintu ng’ebyo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bye baayogera, kisobola okutuyamba okusaba essaala ez’amakulu.

OKUFUMIITIRIZA KU MATEEKA GA KATONDA

11. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku mateeka ga Katonda?

11 Dawudi yagamba nti: “Yakuwa by’atujjukiza byesigika, bigeziwaza atalina bumanyirivu.” (Zab. 19:7, NW) Wadde nga tetulina bumanyirivu, okugondera amateeka ga Katonda kisobola okutuyamba okufuna amagezi. Okufumiitiriza ku mateeka ga Katonda kisobola okutuyamba okuba abeesigwa mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Kituyamba okunywerera ku mateeka ga Yakuwa nga tupikirizibwa ku ssomero oba ku mulimu, okunywerera ku tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi, okusigala nga tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, n’okukolera ku misingi gya Bayibuli egikwata ku nnyambala n’okwekolako. Okufumiitiriza ku mateeka ga Katonda kijja kutuyamba okweteekerateekera embeera ng’ezo. Ekyo kijja kutuyamba okwewala ebizibu bingi.​—Nge. 15:28.

12. Bwe tuba ab’okweyongera okukwata amateeka ga Katonda, bibuuzo ki bye tusaanidde okufumiitirizaako?

12 Nga bwe tulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda, tusaanidde okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti tutunula mu by’omwoyo. Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: Tukkiriza nti mu kiseera ekitali kya wala Babulooni Ekinene kigenda kuzikirizibwa? Emikisa egy’omu biseera eby’omu maaso, gamba ng’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi, gikyali gya ddala gye tuli nga bwe kyali nga twakasooka okugiwulirako? Tukyali banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, oba kati ebintu ebyaffe ku bwaffe bye tukulembeza mu bulamu? Ate ebintu gamba ng’essuubi ery’okuzuukira, okutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda, n’eky’okuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, tukyabitwala ng’ebikulu ennyo gye tuli? Okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo kijja kutuyamba okweyongera okutwala ebintu Katonda ‘by’atujjukiza ng’obusika bwaffe obw’olubeerera.’​—Zab. 119:111.

13. Lwaki Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka ebintu ebimu byabazibuwalira okutegeera? Waayo ekyokulabirako.

13 Ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli tuyinza obutabitegeera bulungi olw’okuba ekiseera kya Yakuwa eky’okubitubikkulira tekinnatuuka. Emirundi mingi, Yesu yagamba abatume be nti kyali kimugwanira okubonyaabonyezebwa n’oluvannyuma attibwe. (Soma Matayo 12:40; 16:21.) Naye abatume tebaategeera kye yali ategeeza. Ebigambo bye ebyo baabitegeera amaze kufa, n’azuukira, n’abalabikira, era “n’abikkula amagezi gaabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.” (Luk. 24:44-46; Bik. 1:3) Era baamala kufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., olwo ne balyoka bakitegeera nti Obwakabaka bwali bwa kufugira mu ggulu.​—Bik. 1:6-8.

14. Kyakulabirako ki ekirungi baganda baffe abaaliwo ng’ekyasa 20 kyakatandika kye baateekawo?

14 Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, Abakristaayo ab’amazima nabo baalina endowooza ezitaali ntuufu ku “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Tim. 3:1) Ng’ekyokulabirako, abamu baali balowooza nti baali bagenda mu ggulu mu 1914. Ekyo bwe kitaatuukirira, Abakristaayo abo baddamu okwetegereza Ebyawandiikibwa ne bakiraba nti omulimu gw’okubuulira gwali gulina okusooka okukolebwa mu nsi yonna ng’enkomerero tennajja. (Mak. 13:10) Bwe kityo, mu 1922, Ow’oluganda J. F. Rutherford, eyali atwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira, yagamba abo abaali ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point, Ohio, Amerika nti: “Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” Okuva olwo, abaweereza ba Yakuwa babadde bakola omulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka” n’obunyiikivu.​—Mat. 4:23; 24:14.

15. Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’akoledde abantu be kituganyula kitya?

15 Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yakolera abantu be ab’edda n’ebyo by’akoledde abantu be ab’omu kiseera kino, kituyamba okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza ekigendererwa kye. Ate era okufumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda kituyamba okubikuumira mu birowoozo byaffe n’okuba abakakafu nti ebisuubizo bye byonna bijja kutuukirira.

OKUGOBERERA OBULAGIRIZI YAKUWA BW’ATUWA

16. Mikisa ki gye tufuna bwe tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu?

16 Yakuwa, Katonda waffe mukozi. Omuwandiisi wa Zabbuli yabuuza nti: “Ani ow’amaanyi, afaanana nga ggwe, Ai Ya?” Yagattako nti: “Engalo zo za maanyi, n’omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.” (Zab. 89:8, 13) Olw’okuba Yakuwa Katonda mukozi, asanyuka nnyo bwe tumuweereza n’obunyiikivu era atuwa emikisa mingi. Yakuwa akiraba nti abaweereza be, abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, tebalya “mmere ya kugayaala.” (Nge. 31:27) Bwe tuweereza Omutonzi waffe n’obunyiikivu, tuba tumukoppa. Okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, kituleetera essanyu lingi era kisanyusa omutima gwe.​—Soma Zabbuli 62:12.

17, 18. Okugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa kituyamba kitya okwongera okumwesiga? Waayo ekyokulabirako.

17 Okugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa kituyamba kitya okwongera okumwesiga? Lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abaisiraeri bayingira mu Nsi Ensuubize. Yakuwa yali alagidde bakabona abaali basitudde ssanduuko y’endagaano okuyingira mu Mugga Yoludaani. Naye abantu bwe baasembera okumpi ne Yoludaani, baalaba ng’amazzi mangi era nga gadduka ku sipiidi ya waggulu. Kiki Abaisiraeri kye bandikoze? Bandisiisidde okumpi n’omugga okumala wiiki eziwerako okutuusa ng’amazzi gakendedde? Ekyo si kye baakola. Mu kifo ky’ekyo, beesiga Yakuwa era ne bakolera ku bulagirizi bwe. Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Amangu ddala nga bakabona balinnye mu mazzi, omugga gwalekera awo okukulukuta, . . . era bakabona ne basigala nga bayimiridde awakalu wakati mu mugga okumpi ne Yeriko okutuusa abantu bonna lwe baasomoka.” (Yos. 3:12-17, Contemporary English Version) Lowooza ku ssanyu Abaisiraeri lye baafuna bwe baalaba ng’amazzi g’omugga galekedde awo okukulukuta! Mu butuufu, okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa kyabayamba okwongera okumwesiga.

Okufaananako abantu ba Katonda abaaliwo mu kiseera kya Yoswa, naawe onookiraga nti weesiga Yakuwa? (Laba akatundu 17, 18)

18 Kyo kituufu nti Yakuwa tatukolera byamagero ng’ebyo leero, naye bwe twoleka okukkiriza era ne tukolera ku bulagirizi bw’atuwa, atuwa emikisa. Katonda atuwa omwoyo gwe ogutuyamba okukola omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Ne Kristo Yesu, Omujulirwa wa Yakuwa omukulu, yasuubiza okuyamba abayigirizwa be nga bakola omulimu guno omukulu ennyo. Yagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa . . . Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaalina ensonyi oba abaali batya okubuulira, bakirabye nti omwoyo omutukuvu gubayambye okuba abavumu nga bakola omulimu gw’okubuulira.​—Soma Zabbuli 119:46; 2 Abakkolinso 4:7.

19. Wadde ng’embeera y’obulamu bwaffe eyinza obutatusobozesa kuweereza Yakuwa nga bwe twandyagadde, kiki ekituzzaamu amaanyi?

19 Baganda baffe ne bannyinaffe abamu tebasobola kuweereza Yakuwa nga bwe bandyagadde olw’okuba balwadde oba bakaddiye. Naye basaanidde okukijjukira nti “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna” ategeera bulungi embeera ya buli omu ku baweereza be. (2 Kol. 1:3) Yakuwa asiima ebyo byonna bye tukola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Ffenna tusaanidde okukijjukira nti okukkiriza kwe tulina mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo okusingira ddala kwe kujja okutuyamba okulokolebwa nga bwe tukola ekyo kyonna embeera yaffe ky’etusobozesa okukola.​—Beb. 10:39.

20, 21. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?

20 Bwe tuba ab’okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, tuba tulina okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe mu ngeri etuyamba okumuweereza mu bujjuvu. Twagala ‘okukola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri’ n’omutima gwaffe gwonna. (2 Tim. 4:5) Ekyo tukikola olw’okuba twagala okuyamba abalala ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Mu butuufu, okutendereza Yakuwa n’okumuweesa ekitiibwa kituviiramu emikisa mingi. (Nge. 10:22) Era kituyamba okwesiga Omutonzi waffe mu mbeera zonna.​—Bar. 8:35-39.

21 Nga bwe tulabye, okwesiga Yakuwa tekijja kyokka; twetaaga okubaako kye tukolawo. N’olwekyo, okusaba ka kukuyambe okwongera okwesiga Yakuwa. Fumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yakola emabega n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso. Era weeyongere okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa kikuyambe okwongera okumwesiga. Mu butuufu, ebintu Yakuwa by’atujjukiza bya lubeerera era bw’obikolerako naawe osobola okubeerawo emirembe gyonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share