LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/15 lup. 7-11
  • Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABAISIRAERI BAATWALA BATYA EBYO KATONDA BYE YABAJJUKIZANGA
  • GONDERA KATONDA OBE MULAMU
  • BYE BAJJUKIZIBWA BYABAYAMBA OKUSIGALA NGA BEESIGWA
  • WEESIGE YAKUWA
  • Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Nsanyukira Nnyo Okujjukizibwa Kwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Nkola Ekimala?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/15 lup. 7-11

Yakuwa By’atujjukiza Byesigika

“Yakuwa by’atujjukiza byesigika, bigeziwaza atalina bumanyirivu.”​—ZAB. 19:7, NW.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Bintu ki Yakuwa by’atujjukiza okuyitira mu Byawandiikibwa?

  • Ebyo Yakuwa by’atujjukiza bituganyula bitya leero?

  • Lwaki tusaanidde okukolera ku ebyo Yakuwa by’atujjukiza?

1. Bintu ki bye tutera okuyigako mu nkuŋŋaana zaffe, era okuddiŋŋana ebintu ebyo kituganyula kitya?

WALI otegeseeko ekitundu mu Omunaala gw’Omukuumi n’okiraba nti ekintu ekyogerwako kyayogerwako emabega? Bwe kiba nti oludde mu kibiina Ekikristaayo oteekwa okuba ng’okirabye nti ebintu ebimu biddiŋŋanwa enfunda n’enfunda. Tutera okuyiga ku Bwakabaka bwa Katonda, ku kinunulo, ku mulimu gw’okubuulira, ne ku ngeri z’Ekikristaayo gamba ng’okwagala n’okukkiriza. Okuyiga ku bintu ebyo enfunda n’enfunda kinyweza okukkiriza kwaffe era kituyamba ‘okubeera abakozi b’ekigambo, so si bawulizi buwulizi.’​—Yak. 1:22.

2. (a) Emirundi egisinga Bayibuli bw’ekozesa ekigambo “okujjukiza” eba etegeeza ki? (b) Amateeka ga Katonda gaawukana gatya ku mateeka g’abantu?

2 Bayibuli etera okukozesa ekigambo “okujjukiza” ng’etegeeza amateeka n’ebiragiro Katonda by’awa abantu be. Obutafaananako mateeka g’abantu agatera okwetaaga okukyusibwamu oba okutereezebwamu, amateeka ga Yakuwa n’ebiragiro bye bulijjo byesigika. Kyo kituufu nti agamu ku mateeka Katonda ge yawa mu biseera by’emabega, abantu be leero tekikyabeetaagisa kugakwata. Naye ekyo tekitegeeza nti gaaliko ekikyamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Obutuukirivu bw’ebyo by’otujjukiza bwa mirembe na mirembe.”​—Zab. 119:144, NW.

3, 4. (a) Ebintu Yakuwa by’atujjukiza bizingiramu ki? (b) Abaisiraeri bwe bandikoledde ku ebyo Yakuwa bye yabajjukizanga, bandiganyuddwa batya?

3 Mu bintu Yakuwa by’atujjukiza mubaamu n’okulabula. Emirundi mingi, Katonda yalabulanga eggwanga lya Isiraeri ng’ayitira mu bannabbi be. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa yabagamba nti: “Mwekuumenga omutima gwammwe guleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza; obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.” (Ma. 11:16, 17) Mu Bayibuli mulimu ebintu bingi Katonda bye yajjukiza abantu be ebisobola okutuganyula.

4 Emirundi mingi, Yakuwa yakubiriza Abaisiraeri okumutya, okuwuliriza eddoboozi lye, n’okutukuza erinnya lye. (Ma. 4:29-31; 5:28, 29) Abaisiraeri bwe bandikoledde ku ebyo Yakuwa bye yabajjukizanga, bandifunye emikisa mingi.​—Leev. 26:3-6; Ma. 28:1-4.

ABAISIRAERI BAATWALA BATYA EBYO KATONDA BYE YABAJJUKIZANGA

5. Lwaki Katonda yalwanirira Kabaka Keezeekiya?

5 Yakuwa yatuukirizanga ebintu byonna bye yasuubizanga Abaisiraeri. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli bwe yalumba Yuda era n’ayagala okuggya Keezeekiya ku ntebe ye ey’obwakabaka, Yakuwa yatuma malayika we okuyamba abantu be. Mu kiro kimu kyokka, malayika wa Katonda yatta “abasajja bonna ab’amaanyi abazira” ab’eggye lya Bwasuli, bw’atyo Sennakeribu n’addayo ng’aswadde. (2 Byom. 32:21; 2 Bassek. 19:35) Lwaki Katonda yalwanirira Kabaka Keezeekiya? Kubanga Keezeekiya yanywerera ku Yakuwa era ‘yakwatanga ebiragiro bye.’​—2 Bassek. 18:1, 5, 6.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Ebyo Yakuwa bye yajjukiza Yosiya byamuyamba okunywerera ku kusinza okw’amazima (Laba akatundu 6)

6. Kabaka Yosiya yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa?

6 Omuntu omulala eyakwata amateeka ga Yakuwa ye Kabaka Yosiya. Okuviira ddala nga wa myaka munaana, Yosiya ‘yakola ebyo ebyali ebirungi mu maaso ga Yakuwa era teyakyuka kudda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.’ (2 Byom. 34:1, 2) Yosiya yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa ng’asaanyaawo ebifaananyi eby’omuzizo mu nsi y’abaana ba Isiraeri yonna era n’azzaawo okusinza okw’amazima. Ekyo Yosiya kyamuviiramu emikisa awamu n’eggwanga lya Isiraeri lyonna.​—Soma 2 Ebyomumirembe 34:31-33.

7. Abaisiraeri bwe baagaananga okukwata amateeka ga Yakuwa, biki ebyavangamu?

7 Eky’ennaku kiri nti emirundi mingi abantu ba Katonda baagaana okukwata amateeka ge. Baamujeemera enfunda n’enfunda. Okukkiriza kwabwe bwe kwakendeeranga, kyabanga kyangu abalala okubasendasenda okusinza bakatonda ab’obulimba. (Bef. 4:13, 14) Era nga Katonda bwe yali abagambye, bwe baagaananga okukwata amateeka ge baafunanga ebizibu eby’amaanyi.​—Leev. 26:23-25; Yer. 5:23-25.

8. Kiki kye tufaanaganya Abaisiraeri?

8 Kiki kye tufaanaganya Abaisiraeri? Okufaananako Abaisiraeri, ne leero abantu ba Katonda balina ebintu bye bajjukizibwa. (2 Peet. 1:12) Buli lwe tusoma Bayibuli, tujjukizibwa amateeka ga Katonda. Olw’okuba tulina eddembe ery’okwesalirawo, tusobola okusalawo okukwata amateeka ga Yakuwa oba okusalawo okukola ekyo ffe kye tulowooza nti kye kituufu. (Nge. 14:12) Kati ka tulabe ensonga lwaki tusaanidde okukolera ku bintu Yakuwa by’atujjukiza era tulabe n’emiganyulo egivaamu.

GONDERA KATONDA OBE MULAMU

9. Abaisiraeri bwe baali mu ddungu, Yakuwa yabayamba atya okukijjukira nti yali wamu nabo?

9 Abaisiraeri bwe baatandika olugendo olwabatwalira emyaka 40 nga bayita mu ‘ddungu ery’entiisa,’ Yakuwa teyababuulira butereevu ngeri gye yali agenda kubakulembera, kubakuuma, na kubalabirira. Naye yakiraga mu ngeri ezitali zimu nti bwe bandimwesize era ne bakolera ku bulagirizi bwe, bandiganyuddwa nnyo. Ng’akozesa empagi ey’ekire emisana n’empagi ey’omuliro ekiro, Yakuwa yajjukizanga Abaisiraeri nti yali wamu nabo mu lugendo olwo olutaali lwangu. (Ma. 1:19; Kuv. 40:36-38) Era yakolanga ne ku byetaago byabwe eby’omubiri. Bayibuli egamba nti: “Ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n’ebigere byabwe tebyazimbanga.” Mu butuufu ‘tebaabulwa kintu kyonna.’​—Nek. 9:19-21.

10. Yakuwa awa atya abantu be obulagirizi leero?

10 Abaweereza ba Katonda leero banaatera okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu. Twesiga Yakuwa nti ajja kutuwa byonna bye twetaaga okusobola okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’? (Mat. 24:21, 22; Zab. 119:40, 41) Kituufu nti Yakuwa tatuteereddewo mpagi ya kire oba ey’omuliro kutukulembera kutuuka mu nsi empya. Naye akozesa ekibiina kye okutuyamba okusigala nga tuli bulindaala. Ng’ekyokulabirako, ekibiina kye bulijjo kitukubiriza okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa nga twesomesa Bayibuli, nga tuba n’Okusinza kw’Amaka, nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Tufuba okukolera ku bulagirizi obwo? Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba n’okukkiriza okunaatuyamba okuwonawo tuyingire mu nsi empya.

Okukolera ku ebyo Yakuwa by’atujjukiza kituyamba okwewala obubenje ku Kizimbe ky’Obwakabaka (Laba akatundu 11)

11. Katonda akiraze atya nti atufaako nnyo?

11 Ekibiina kya Yakuwa era kituwa obulagirizi obutuyamba mu bulamu obwa bulijjo. Ng’ekyokulabirako, kitukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku by’obugagga, n’okwerekereza ebintu ebimu kituyambe okukendeeza ku bitweraliikiriza. Ate era kituwa obulagirizi obukwata ku nnyambala n’okwekolako, ku kulonda eby’okwesanyusaamu, n’obuyigirize. Ate era lowooza ku kujjukizibwa kwe tuweebwa okukwata ku kwewala obubenje mu maka gaffe ne ku Bizimbe byaffe eby’Obwakabaka, okukuuma ebidduka byaffe nga biri mu mbeera nnungi, n’okwetegekera ebigwa bitalaze. Obulagirizi ng’obwo bulaga nti Katonda atufaako nnyo.

BYE BAJJUKIZIBWA BYABAYAMBA OKUSIGALA NGA BEESIGWA

12. (a) Emirundi mingi kiki Yesu kye yayogerako ng’ali n’abayigirizwa be? (b) Kyakulabirako ki eky’obwetoowaze Yesu kye yateekawo, era ekyo kyanditukubirizza kukola ki?

12 Abantu ba Katonda abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo baalina ebintu bye bajjukizibwanga. Emirundi mingi Yesu yayogera n’abayigirizwa be ku bukulu bw’okuba abeetoowaze. Naye era yabateerawo ekyokulabirako ku ngeri y’okwolekamu obwetoowaze. Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu n’abatume be baakwata embaga ey’Okuyitako. Bwe baali balya, Yesu yasituka ku kijjulo n’atandika okubanaaza ebigere, omulimu ogwakolebwanga abaweereza. (Yok. 13:1-17) Ekyo Yesu kye yakola kyakwata nnyo ku batume be. Nga wayise emyaka nga 30, omutume Peetero, omu ku abo abaaliwo ku kijjulo ekyo, yakubiriza bakkiriza banne okuba abawombeefu oba abeetoowaze. (1 Peet. 5:5) Ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kisaanidde okutukubiriza okwoleka obwetoowaze nga tukolagana n’abalala.​—Baf. 2:5-8.

13. Kintu ki ekirala Yesu kye yateranga okwogerako n’abayigirizwa be?

13 Yesu era yateranga okwogera n’abayigirizwa be ku bukulu bw’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Lumu abayigirizwa be bwe baalemererwa okugoba dayimooni ku mulenzi eyaliko dayimooni, baabuza Yesu nti: “Lwaki twalemereddwa okugigoba?” Yesu yabaddamu nti: “Kubanga okukkiriza kwammwe kutono. Mazima mbagamba nti, singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, . . . tewali kijja kubalema.” (Mat. 17:14-20) Yesu yayamba abayigirizwa be okukiraba nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza. (Soma Matayo 21:18-22.) Tufuba okubaawo mu nkuŋŋaana zonna, ennene n’entono, kituyambe okunyweza okukkiriza kwaffe? Enkuŋŋaana ezo zituleetera essanyu era zituwa akakisa okukyoleka nti twesiga Yakuwa.

14. Lwaki kikulu okwoleka okwagala okwa nnamaddala?

14 Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani mulimu ennyiriri nnyingi ezitukubiriza okwoleka okwagala. Yesu yagamba nti etteeka ery’okubiri ekkulu ennyo kwe ‘kwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’ (Mat. 22:39) Ne Yakobo, muganda wa Yesu, okwagala yakuyita “etteeka ekkulu ennyo.” (Yak. 2:8) Omutume Yokaana yawandiika nti: “Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kipya, wabula ekikadde kye mwawulira okuva ku lubereberye.” (1 Yok. 2:7, 8) ‘Ekiragiro ekikadde’ Yokaana kye yayogerako, kye ki? Kye kiragiro eky’okwagala. Ekiragiro ekyo kyali ‘kikadde’ olw’okuba Yesu yali yakiwa emyaka mingi emabega, “okuva ku lubereberye.” Naye era ekiragiro ekyo kyali “kipya” kubanga abayigirizwa be kyandibadde kibeetaagisa okwoleka okwagala okwa nnamaddala mu mbeera ze baali tebamanyidde. Leero, tuli basanyufu nnyo okuba nti tuweebwa obulagirizi obutuyamba okwewala omwoyo ogw’okwerowoozaako ogubunye ennyo mu nsi. Ekyo kituyambye okwoleka okwagala n’omwoyo ogw’okwefiiriza.

15. Mulimu ki omukulu ogwaleeta Yesu ku nsi?

15 Yesu yali afaayo nnyo ku bantu. Kino tukirabira mu kuba nti yawonya abalwadde era n’azuukiza n’abafu. Kyokka okuwonya abantu si ye nsonga enkulu eyaleeta Yesu ku nsi. Omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza gwe yakola gwe gwasinga okuganyula abantu. Lwaki? Kubanga abantu be yawonya ne be yazuukiza mu kyasa ekyasooka oluvannyuma baakaddiwa era ne bafa. Kyokka abo abakkiriza ebyo bye yabuulira, baafuna essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yok. 11:25, 26.

16. Omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa gukolebwa ku kigero ki leero?

16 Leero, omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yatandika, gukolebwa ku kigero kya waggulu ennyo. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:19) Mu butuufu, abayigirizwa be baakolera ku ekyo kye yabagamba, era naffe tukola kye kimu leero! Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omusanvu babuulira n’obunyiikivu mu nsi ezisukka mu 230, era bayigiriza abantu bangi Bayibuli. Ekyo kiraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma.

WEESIGE YAKUWA

17. Kiki Pawulo ne Peetero kye bajjukiza Bakristaayo bannaabwe?

17 Tewali kubuusabuusa nti ebintu Abakristaayo abaasooka bye bajjukizibwanga byabayamba okunyweza okukkiriza kwabwe. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yali mu kkomera, yagamba Timoseewo ‘okunywerera ku kyokulabirako ky’ebigambo eby’obulamu bye yawulira okuva gy’ali.’ (2 Tim. 1:13) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Timoseewo amaanyi. Ate era oluvannyuma lw’okukubiriza Bakristaayo banne okukulaakulanya engeri ennungi, gamba ng’obugumiikiriza, okwagala, n’okwefuga, omutume Peetero yagamba nti: “Nja kuba mwetegefu okubajjukizanga ebintu bino wadde nga mubimanyi era nga munyweredde mu mazima.”​—2 Peet. 1:5-8, 12.

18. Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baatwalanga batya ebintu bye bajjukizibwanga?

18 Ebbaluwa Pawulo ne Peetero ze baawandiika zaalimu “ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu.” (2 Peet. 3:2) Baganda baffe abaaliwo mu kyasa ekyasooka beemulugunya olw’okujjukizibwa ebintu ng’ebyo? Nedda. Lwaki? Kubanga baali bakimanyi nti Katonda yali abajjukiza ebintu ng’ebyo olw’okuba yali abaagala era ng’ayagala okubayamba okusigala nga beesigwa gy’ali.​—2 Peet. 3:18.

19, 20. Lwaki tusaanidde okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, era ekyo kituganyula kitya?

19 Leero, tulina ensonga nnyingi ezituleetera okuba abakakafu nti okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli, kya muganyulo gye tuli. (Soma Yoswa 23:14.) Bayibuli eyogera ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu abatatuukiridde okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Ebintu ebyo byawandiikibwa okutuyigiriza. (Bar. 15:4; 1 Kol. 10:11) Ate era tulabye engeri obunnabbi bwa Bayibuli bungi gye butuukiriziddwamu. Ng’ekyokulabirako, ng’obunnabbi bwe bwalaga, abantu bangi nnyo beegasse ku kusinza okw’amazima ‘mu nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (Is. 2:2, 3) Okuba nti ensi yeeyongedde okwonooneka nakyo kituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli. Era nga bwe twalabye, okuba nti omulimu gw’okubuulira gukolebwa mu nsi yonna, kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera.​—Mat. 24:14.

20 Bayibuli eyogera ku bintu bingi Yakuwa by’akoze ebyanditukubirizza okumwesiga. Tufuba okuganyulwa mu bintu ebyo? Mwannyinaffe Rosellen yagamba nti: “Bwe nneeyongera okwesiga Yakuwa, nnakiraba nti yali annyamba era ng’ampanirira.” N’olwekyo, ka ffenna tufube okulaba nti ebyo Yakuwa by’atujjukiza bituganyula.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share