Nkola Ekimala?
1. Biki ebiyinza okweraliikiriza Omukristaayo omwesigwa?
1 Wali weebuuzizzaako ekibuuzo ekyo? Oboolyawo tokyenyigira nnyo mu buweereza nga bwe wakolanga edda olw’obukadde, obulwadde, oba olw’obuvunaanyizibwa bw’amaka okweyongera, era nga bino bikuleetedde okuggwamu amaanyi. Mwannyinaffe omu alina abaana abasatu yawandiika ng’agamba nti emirundu egimu kimulumiriza kubanga ebiseera n’amaanyi by’akozesa okulabirira ab’omu maka ge bimulemesa okukola ekisingawo mu buweereza. Kiki ekinaatuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri etegudde lubege?
2. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu?
2 Ekyo Yakuwa ky’Atusuubiramu: Awatali kubuusabuusa, ffenna twandyagadde okukola ekisingawo mu buweereza. Naye waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’ekyo kye twandyagadde okukola n’ekyo kye tusobolera ddala okukola. Eky’okuba nti twandyagadde okukola ekisingawo kiraga nti tufaayo, so si nti twesuuliddeyo ogwa nnagamba. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa amanyi bulungi obusobozi bwaffe we bukoma era tatusaba kukola kye tutasobola. (Zab. 103:13, 14) Kiki ky’atusuubiramu? Ayagala tumuweereze n’omutima gwaffe gwonna, tumuwe ekisingayo obulungi.—Bak. 3:23.
3. Tuyinza tutya okumanya ekyo kye tusobola okukola mu buweereza?
3 Kiki ekinaatuyamba okumanya ekyo kye tusobola okukola? Tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okulaba ekyo kye tusobola okukola okusinziira ku mbeera yaffe. (Zab. 26:2) Tuyinza okusaba obuyambi okuva eri Omukristaayo akuze mu by’omwoyo, gwe twesiga era nga mukwano gwaffe, oyo atumanyi obulungi era atatya kutubuulira we twetaaga okulongoosaamu. (Nge. 27:9) Era, kijjukire nti, olw’okuba embeera zikyuka, kiba kirungi okwekenneenya embeera yaffe buli luvannyuma lw’ekiseera.—Bef. 5:10.
4. Tusaanidde kutwala tutya okujjukizibwa okutuweebwa okukwata ku buweereza okwesigamiziddwa ku Baibuli?
4 Engeri gye Tusaanidde Okutwalamu Okujukizibwa: Mu mbiro, abawagizi batera okuzzaamu abaddusi amaanyi. Ekigendererwa kwe kuyamba abaddusi okutuuka ku buwanguzi so si kubamalamu maanyi. Mu ngeri y’emu okukubirizibwa n’okujjukizibwa okwesigamiziddwa ku Baibuli kwe tufuna okuyitira mu nkuŋŋaana ne mu bitabo byaffe okukwata ku ‘kubuulira ekigambo n’obunyiikivu’ biganyula ffe era ekyo tekitegeeza nti oluusi okufuba kwaffe kuba kutono. (2 Tim. 4:2) Tusobola okuba abakakafu nti kasita tweyongera okukola kyonna kye tusobola, Yakuwa ajja kujjukira ‘omulimu gwaffe n’okwagala’ kwe tumulaga era atuwe empeera.—Beb. 6:10.