LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/15 lup. 17-21
  • Okyusiddwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyusiddwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI TWETAAGA OKUKYUSIBWA?
  • KIKI KYE TULINA OKUKYUSA?
  • TUYINZA TUTYA OKUKYUSIBWA?
  • Siguukulula Buli Ndowooza Ewakanya Okumanya Okukwata ku Katonda!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yakuwa Ye Mubumbi Waffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • “Mukyusibwe nga Mufuna Endowooza Empya”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Ndowooza y’Ani gy’Olina?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/15 lup. 17-21

Okyusiddwa?

“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.”​—BAR. 12:2.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

  • Lwaki Abakristaayo bonna beetaaga okukyusibwa?

  • Nkyukakyuka ki buli Mukristaayo z’alina okukola?

  • Kiki ekinaatuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa?

1, 2. Embeera mwe twakulira oba embeera mwe tuli bitukolako ki?

FFENNA embeera mwe twakulira n’embeera mwe tuli birina kinene kye bitukolako. Eyo ye nsonga lwaki engeri gye twambalamu, emmere gye tuwoomerwa, n’engeri gye tweyisaamu oluusi biyinza okwawukana.

2 Kyokka waliwo ebintu ebikulu ennyo n’okusinga engeri gye twambalamu oba emmere etuwoomera. Ng’ekyokulabirako, mu maka mwe tukulira oba mu bitundu gye tubeera wabaawo ebintu bye batwala ng’ebituufu oba ebikyamu. Kyokka abantu balina endowooza za njawulo ku kituufu n’ekikyamu. Ate era omuntu waffe ow’omunda alina kinene ky’akola bwe kituuka ku ekyo kye tutwala ng’ekituufu oba ekikyamu. Bayibuli egamba nti abantu ‘ab’amawanga abatalina mateeka bakola mu butonde ebintu eby’omu mateeka.’ (Bar. 2:14) Naye ekyo kitegeeza nti bwe watabaawo tteeka Katonda ly’atuwadde likwata ku kintu ekimu, tulina kugoberera bugoberezi mpisa z’omu maka mwe twakulira oba ez’omu kitundu gye tubeera?

3. Waayo ensonga bbiri lwaki Abakristaayo tebamala gagoberera mpisa za mu kitundu gye babeera?

3 Waliwo ensonga nga bbiri enkulu lwaki Abakristaayo tebasaanidde kukola bwe batyo. Esooka, Bayibuli egamba nti: “Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” (Nge. 16:25) Olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kuluŋŋamya bigere byaffe mu ngeri etuukiridde. (Nge. 28:26; Yer. 10:23) Ey’okubiri, Bayibuli eraga nti Sitaani ye “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno,” era y’aleetera abantu abasinga obungi okulowooza nga bwe balowooza n’okweyisa nga bwe beeyisa. (2 Kol. 4:4; 1 Yok. 5:19) N’olwekyo, bwe tuba twagala okusiimibwa Yakuwa n’okufuna emikisa gye, tulina okukolera ku ebyo ebiri mu Abaruumi 12:2.​—Soma.

4. Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ensonga enkulu ssatu ezoogerwako mu Abaruumi 12:2. (1) Lwaki twetaaga ‘okukyusibwa’? (2) Kiki kye tulina okukyusa? era (3) Tuyinza tutya okukyusibwa? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino.

LWAKI TWETAAGA OKUKYUSIBWA?

5. Baani Pawulo be yawandiikira ebigambo ebiri mu Abaruumi 12:2?

5 Ebigambo bya Pawulo ebiri mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, awo nga mu mwaka gwa 56 E.E., teyabiwandiikira bantu bonna abaali mu Rooma, wabula yabiwandiikira Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta. (Bar. 1:7) Yabakubiriza okukyusibwa ‘balekere awo okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu.’ ‘Enteekateeka ey’ebintu’ Pawulo gye yali ayogerako yali ezingiramu ebintu abantu b’omu Rooma bye baali batwala okuba ebituufu oba ebikyamu, obulombolombo bwabwe, empisa zaabwe, n’engeri gye baali bambalamu. Okuba nti yakozesa ebigambo “mulekere awo” kiraga nti Abakristaayo abamu baali bakyatwalirizibwa enteekateeka eyo ey’ebintu. Naye ebintu ebyo byali bitwalirizza bitya baganda baffe ne bannyinaffe mu kiseera ekyo?

6, 7. Kusoomooza ki Abakristaayo abaali babeera mu Rooma mu kiseera kya Pawulo kwe baayolekagana nakwo?

6 Leero abantu abagenda mu Rooma okulambula balaba ebintu ebyaliwo edda, gamba ng’amasinzizo, amalaalo, ebibumbe, n’ebisaawe by’emizannyo. Ebimu ku bintu ebyo byazimbibwa mu kyasa ekyasooka. Omuntu bwe yeetegereza ebintu ebyo kimuyamba okumanya empisa z’abantu abaabeeranga mu Rooma n’engeri gye baali basinzaamu. Okusinziira ku byafaayo, Abaruumi baazannyanga emizannyo egy’okulwana n’ensolo enkambwe, baabanga n’empaka z’amagaali g’embalaasi, era emizannyo gyabwe n’ennyimba zaabwe ezimu byabangamu ebintu eby’obuseegu. Ate era Rooma kyali kibuga omwali mukolerwa ennyo bizineesi era nga kyangu omuntu okwefunira eby’obugagga.​—Bar. 6:21; 1 Peet. 4:3, 4.

7 Abaruumi baalina yeekaalu nnyingi era baalina ne bakatonda ab’obulimba bangi. Wadde kyali kityo, tebaabanga na mukwano gwa ku lusegere ne bakatonda baabwe abo. Eri Abaruumi, okusinza bakatonda baabwe kyali kibeetaagisa kwenyigira mu bulombolombo, gamba ng’obwo obukwata ku kuzaala, okufumbirwa, oba ku bafu. Ebyo byonna byateekawo okusoomooza kwa maanyi eri Abakristaayo abaali mu Rooma. Omuntu eyali mu kibuga ekifaanana bwe kityo era nga yeetooloddwa abantu abaalina endowooza n’enneeyisa ng’eyo, yali yeetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okufuuka Omukristaayo ow’amazima. Mu butuufu, yali yeetaaga okweyongera okukola enkyukakyuka n’oluvannyuma lw’okubatizibwa.

8. Kusoomooza ki Abakristaayo kwe boolekagana nakwo leero?

8 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’amazima boolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi mu nsi eno embi. Lwaki? Kubanga omwoyo gw’ensi gubunye buli wamu. (Soma Abeefeso 2:2, 3; 1 Yokaana 2:16.) Kyangu okutwalirizibwa endowooza z’abantu b’ensi, empisa zaabwe, n’ebintu bye bettanira. Bwe tuteegendereza tuyinza okwesanga nga tufuuse ng’abantu abo. N’olwekyo, tulina okufuba okulaba nti ‘tetwefaananyiriza nteekateeka eno ey’ebintu’ era n’okufuba okulaba nti ‘tukyusibwa.’ Kiki kye tulina okukola okusobola okukyusibwa?

KIKI KYE TULINA OKUKYUSA?

9. Nkyukakyuka ki bangi ze bakoze okusobola okubatizibwa?

9 Omuntu bw’agenda ayiga Bayibuli era n’atandika okukolera ku ebyo by’ayiga, atandika okukulaakulana mu by’omwoyo. Alekayo enjigiriza ez’obulimba n’emize emibi era afuba okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. (Bef. 4:22-24) Kitusanyusa nnyo okulaba nti buli mwaka abantu nkumi na nkumi bakola enkyukayuka mu bulamu bwabwe ne beewaayo eri Yakuwa Katonda era ne babatizibwa. Tewali kubuusabuusa nti ekyo kisanyusa nnyo Yakuwa. (Nge. 27:11) Naye ezo ze nkyukakyuka zokka omuntu z’alina okukola?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18, 19]

Waliwo abantu bangi abeetaaga okuva mu nsi ya Sitaani bakyusibwe (Laba akatundu 9)

10. Lwaki omuntu okukyusibwa kisingawo ku kulekayo obulesi ebikolwa ebibi?

10 Omuntu okukyusibwa kisingawo ku kulekayo obulesi ebikolwa ebibi. Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Bayibuli egamba nti ekigambo “okukyusibwa” ekyakozesebwa mu Abaruumi 12:2 kisobola okutegeeza okukkiriza omwoyo omutukuvu okuzza obuggya oba okukyusa endowooza yaffe. N’olwekyo, Omukristaayo okusobola okukyusibwa, talina kukoma ku kulekayo bulesi mize mibi, njogera mbi, oba ebikolwa eby’obugwenyufu. N’abantu abamu abatamanyi mazima agali mu Bayibuli bagezaako okwewala okukola ebintu ng’ebyo ebibi. Kati olwo kiki Omukristaayo ky’alina okukola okusobola okukyusibwa?

11. Okusinziira ku bigambo bya Pawulo, kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okukyusibwa?

11 Pawulo yawandiika nti: “Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.” “Endowooza” Pawulo gye yayogerako bwe busobozi bwaffe obw’okulowooza. Mu ssuula esooka ey’ebbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yayogera ku bantu abaalina ‘endowooza Katonda gy’atasiima.’ Abantu abo baali bajjudde “obutali butuukirivu, okwonoona, okwegomba, obubi, obuggya, ettemu, okuyomba, obulimba,” n’ebintu ebirala ebibi. (Bar. 1:28-31) Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaali babeera mu bantu ng’abo ‘okukyusibwa nga bafuna endowooza empya.’

‘Okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, n’okuvuma biggyibwe mu mmwe.’​—Bef. 4:31

12. Abantu abasinga obungi leero balina ndowooza ki, era lwaki endowooza ng’eyo ya kabi eri Abakristaayo?

12 Eky’ennaku kiri nti abantu be tubeeramu bali ng’abo Pawulo be yayogerako. Balowooza nti si kya magezi kubaako mitindo oba misingi kwe batambuliza obulamu bwabwe. Abasomesa n’abazadde bangi baleka abaana okukola ekyo kyonna kye baagala. Abamu bayigiriza n’abaana nti buli muntu wa ddembe okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. N’abamu ku abo abeetwala okuba bannaddiini balowooza nti basobola okukola kyonna kye baagala, nga tebafuddeeyo ku mateeka ga Katonda. (Zab. 14:1) Endowooza eyo ya kabi nnyo eri Abakristaayo ab’amazima. Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okwesanga nga tulekedde awo okugoberera obulagirizi obutuweebwa mu kibiina n’okutandika okwemulugunya ku buli kimu ekikolebwa mu kibiina kye tuwulira nti tetwagala. Oba tuyinza n’okugaana okukolera ku bulagirizi obutuweebwa obukwata ku by’okwesanyusaamu, ku kukozesa Intaneeti, oba ku buyigirize obwa waggulu.

13. Lwaki tusaanidde okwekebera mu bwesimbu?

13 Bwe tuba ab’okwewala okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu, tulina okwekebera mu bwesimbu tusobole okumanya obanga endowooza yaffe, ebiruubirirwa byaffe, n’ebyo bye tutwala ng’ebikulu mu bulamu bituukana n’ebyo Katonda by’ayagala. Abantu abalala bayinza obutamanya kiki ddala kye tuli munda era bayinza okutugamba nti tukola bulungi. Naye ffe tuba tusobola bulungi okumanya obanga tukkirizza ebyo bye tuyiga mu Bayibuli okutukyusa.​—Soma Yakobo 1:23-25.

TUYINZA TUTYA OKUKYUSIBWA?

14. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola?

14 Bwe tuba ab’okukyusibwa, tuba tulina okukyusa ekyo kye tuli munda. Kiki ekisobola okutuyamba okukola enkyukakyuka eyo? Bwe tuyiga Bayibuli, tumanya ebyo Yakuwa by’ayagala. Engeri gye tweyisaamu oluvannyuma lw’okumanya ekituufu, etuyamba okutegeera ekyo kyennyini ekiri mu mutima gwaffe. Ekyo kituyamba okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okukola ekyo ‘Katonda ky’ayagala, era ekituukiridde.’​—Bar. 12:2; Beb. 4:12.

15. Yakuwa bw’aba atubumba, kiki ky’akyusa?

15 Soma Isaaya 64:8. Ekyokulabirako nnabbi Isaaya kye yakozesa kituyigiriza ekintu ekikulu. Tulinga ebbumba ate Yakuwa alinga omubumbi. Yakuwa bw’aba atubumba, takyusa ndabika yaffe ey’okungulu, oboolyawo tusobole okwongera okulabika obulungi. Mu kifo ky’ekyo, akyusa ekyo kye tuli munda. Bwe tukkiriza Yakuwa okutubumba, tumukkiriza okukyusa ekyo kye tuli munda. Atuyamba okukyusa endowooza yaffe. Ekyo kyennyini kye twetaaga okusobola okwewala okutwalirizibwa ensi. Yakuwa atubumba atya?

16, 17. (a) Kiki omubumbi ky’akola nga tannabumba kintu? (b) Ekigambo kya Katonda kituyamba kitya okukyusibwa ne tufuuka abantu ab’omuwendo mu maaso ga Yakuwa?

16 Omubumbi bw’aba ayagala okubumba ekintu ekirungi, aba alina okukozesa ebbumba eddungi. Kyokka waliwo ebintu bibiri by’alina okusooka okukola. Aba alina okusooka okulongoosa obulungi ebbumba n’aggyamu ebintu ebiteetaagisa. Oluvannyuma alina okulitabula ng’akozesa ekigero ekituufu eky’amazzi era alina okulisotta obulungi. Ekyo kiyamba ekintu ky’aba agenda okubumba okuguma.

17 Weetegereze nti amazzi gayamba mu kulongoosa ebbumba n’okuligonza ne kiyamba omubumbi okulikolamu ekintu ky’ayagala okubumba. Ekigambo kya Katonda kifaananako amazzi. Kisobola okutuyamba okweggyamu endowooza ze twalina nga tetunnamanya Katonda, ekyo ne kituyamba okufuuka abantu ab’omuwendo mu maaso ga Yakuwa. (Bef. 5:26) Emirundi mingi tukubirizibwa okusoma Bayibuli buli lunaku n’okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Lwaki tukubirizibwa okukola ebintu ebyo? Kubanga bwe tubikola, tuba tukkiriza Yakuwa okutubumba.​—Zab. 1:2; Bik. 17:11; Beb. 10:24, 25.

Bw’okyusibwa kikuyamba okuyiga engeri y’okukwatamu obulungi ensonga (Laba akatundu 18)

18. (a) Ekigambo kya Katonda bwe kiba eky’okutukyusa, lwaki tulina okukifumiitirizaako? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

18 Ekigambo kya Katonda bwe kiba eky’okutukyusa, tetulina kukoma ku kukisoma busomi oba ku kuyiga ebyo ebikirimu. Waliwo abantu bangi abasomye ennyo Bayibuli era nga balina bingi ebigirimu bye bamanyi. Oyinza okuba nga naawe wali osanzeeko abantu ng’abo ng’obuulira. Abantu abamu basobola n’okwogera ebyawandiikibwa ebiwerako nga babiggya mu mutwe.a Naye ekyo oluusi tekibayamba kukyusa bulamu bwabwe. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda bwe kiba eky’okukyusa omuntu, kiba kirina okutuuka ku mutima gwe. N’olwekyo, tulina okufumiitiriza ennyo ku bintu bye tuyiga mu Bayibuli. Buli omu ku ffe bw’abaako ekintu ky’aba asomye mu Bayibuli, asaanidde okwebuuza: ‘Nkiraba nti bino bye nsomye si njigiriza buyigiriza ya ddiini? Nkiraba nti ekintu kino ddala kituufu? Ndaba engeri gye nnyinza okukolera ku ebyo bye njize, ne si kitwala nti ŋŋenda kubikozesa bukozesa kuyigiriza balala? Nkikkiriza nti ebyo bye njize bivudde eri Yakuwa?’ Okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo kijja kutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa era kijja kutuyamba okwongera okumwagala. Ebyo bye tuyiga bwe bituuka ku mitima gyaffe, kijja kutukubiriza okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe.​—Nge. 4:23; Luk. 6:45.

19, 20. Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kituganyula kitya?

19 Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, tujja kusobola okukolera ku bigambo bino: “Mweyambuleko omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, mwambale omuntu omuggya, oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu.” (Bak. 3:9, 10) Bwe tutegeera amazima agali mu Bayibuli era ne tugakolerako, kijja kutukubiriza okwambala omuntu omuggya ekyo kituyambe okuziyiza emitego gya Sitaani.

20 Omutume Peetero yagamba nti: ‘Ng’abaana abawulize, temugobereranga kwegomba kwe mwalina edda, naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna.’ (1 Peet. 1:14, 15) Ekitundu ekiddako kijja kulaga emikisa Yakuwa gy’atuwa bwe tukola kyonna ekisoboka okukyusa endowooza yaffe.

a Laba ekyokulabirako ekiri mu Watchtower eya Febwali 1, 1994, olupapula 9, akatundu 7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share