EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24
Siguukulula Buli Ndowooza Ewakanya Okumanya Okukwata ku Katonda!
“Tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda.”—2 KOL. 10:5.
OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa
OMULAMWAa
1. Kulabula ki Pawulo kwe yawa Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
OMUTUME PAWULO yagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.” (Bar. 12:2) Okulabula okwo Pawulo yakuwa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Lwaki yabawa okulabula okwo okw’amaanyi ng’ate baali baamala dda okwewaayo eri Katonda era nga baafukibwako omwoyo omutukuvu?—Bar. 1:7.
2-3. Sitaani agezaako atya okutuggya ku Yakuwa, naye tuyinza tutya okweggyamu “ebintu ebyasimba amakanda” mu birowoozo byaffe?
2 Pawulo yakiraba nti Abakristaayo abamu baali batwaliriziddwa endowooza enkyamu n’obufirosoofo eby’ensi ya Sitaani. (Bef. 4:17-19) Ekyo naffe kisobola okututuukako. Sitaani, katonda w’enteekateeka eno, akozesa obukodyo obutali bumu ng’ayagala okutuggya ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala nnyo ettutumu n’ekitiibwa, ayinza okukozesa ebintu ebyo okutuggya ku Yakuwa. Ayinza n’okukozesa ebintu bye twayigira awaka, obuyigirize bwaffe, n’abantu abatwetoolodde okutuleetera okulowooza nga bw’ayagala.
3 Ddala tusobola okweggyamu “ebintu ebyasimba amakanda” mu birowoozo byaffe? (2 Kol. 10:4) Pawulo yagamba nti: “Tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda, era tuwangula buli kirowoozo ne tukifuula kiwulize eri Kristo.” (2 Kol. 10:5) Yakuwa asobola okutuyamba okweggyamu endowooza enkyamu. Ng’eddagala bwe lisobola okusaabulula obutwa, n’Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okusaabulula obutwa bw’ensi ya Sitaani.
‘MUFUNE ENDOWOOZA EMPYA’
4. Nkyukakyuka ki bangi ku ffe ze twalina okukola nga tuyize amazima agali mu Bayibuli?
4 Lowooza ku nkyukakyuka ze walina okukola bwe wayiga Bayibuli ky’eyigiriza era n’osalawo okuweereza Yakuwa. Bangi ku ffe twalina okulekayo ebintu ebibi bye twali tukola. (1 Kol. 6:9-11) Tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okulekayo ebintu ebyo ebibi.
5. Bintu ki ebibiri ebyogerwako mu Abaruumi 12:2, bye tusaanidde okukola?
5 Kyokka tetusaanidde kweyibaala. Wadde nga twalekera awo okukola ebibi eby’amaanyi bye twakolanga nga tetunnaba kubatizibwa, twetaaga okweyongera okufuba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okuddamu okukola ebibi bye twaleka edda. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Pawulo yagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.” (Bar. 12:2) N’olwekyo twetaaga okukola ebintu bibiri. Ekisooka, tulina ‘okulekera awo okutwalirizibwa’ ensi eno. Eky’okubiri, tulina ‘okukyusibwa’ ne tufuna endowooza empya.
6. Kiki kye tuyigira mu bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 12:43-45?
6 Okukyusibwa Pawulo kwe yayogerako, kusingawo ku kukyusa endabika yaffe ey’okungulu. Tulina okukyukira ddala munda ne kungulu. (Laba akasanduuko “Wakyuka oba Weefuula Bwefuuzi?”) Tulina okukyusiza ddala endowooza yaffe, enneewulira yaffe, n’ebintu bye twagala ne bye twegomba. N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Enkyukakyuka ze nnakola okufuuka Omukristaayo za kungulu oba ziviira ddala ku mutima?’ Mu Matayo 12:43-45 (Soma), Yesu yalaga ekyo kye tusaanidde okukola. Ebigambo bya Yesu ebyo bituyigiriza ekintu kino ekikulu: Tekimala kweggyamu birowoozo bibi; bwe tumala okuggya mu mitima gyaffe ebirowoozo ebibi, tulina okugijjuza endowooza ya Katonda.
‘MUFUULIBWE BAGGYA MU NDOWOOZA YAMMWE’
7. Tuyinza tutya okukyusa ekyo kye tuli munda?
7 Ddala tusobola okukyusa ekyo kye tuli munda? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mulina okweyongera okufuulibwa abaggya mu ndowooza yammwe, era mulina okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Bef. 4:23, 24) N’olwekyo tusobola okukyusa ekyo kye tuli munda, wadde nga si kyangu. Tetulina kukoma ku kuziyiza kwegomba kubi na kwewala kukola bintu bibi kyokka. Tulina okukyusa ‘endowooza yaffe.’ Ekyo kizingiramu okukyusa bye twagala, bye twegomba, n’ebiruubirirwa byaffe. Kino tulina okukikola obulamu bwaffe bwonna.
8-9. Ebyo ebyatuuka ku w’oluganda omu biraga bitya nti kikulu okukyusa ekyo kye tuli munda?
8 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda edda eyalina obusungu era ng’ayagala nnyo okulwana. Bwe yalekayo okwekamirira omwenge n’okulwana yabatizibwa, era ekyo kyawa obujulirwa mu kitundu gye yali abeera. Naye lumu akawungeezi nga waakayita ekiseera kitono ng’amaze okubatizibwa, yafuna ekigezo kye yali tasuubira. Waliwo omutamiivu eyajja awaka we n’atandika okumusosonkereza ng’ayagala alwane naye. Mu kusooka muganda waffe oyo yeefuga. Naye omutamiivu oyo bwe yatandika okuvvoola erinnya lya Yakuwa, muganda waffe yawulira nga kimuyitiriddeko. Yafuluma mu nju n’akuba omutamiivu oyo. Buzibu ki ow’oluganda oyo bwe yalina? Wadde ng’okuyiga Bayibuli kwali kumuyambye okuziyiza obusungu n’okulekera awo okulwana, yali tannakyusa ndowooza ye. Yali tannakyusa ekyo kye yali munda.
9 Naye ow’oluganda oyo teyaggwaamu maanyi. (Nge. 24:16) Abakadde baamuyamba okweyongera okukola enkyukakyuka. Oluvannyuma lw’ekiseera yasobola okutuukiriza ebisaanyizo okuweereza ng’omukadde. Naye lumu akawungeezi bwe yali ku Kizimbe ky’Obwakabaka, yayolekagana n’embeera efaananako n’eyo gye yali ayolekaganye nayo emyaka mingi emabega. Omutamiivu yajja n’ayagala okukuba omu ku bakadde. Kiki muganda waffe oyo kye yakola? Mu bukkakkamu, yayogera n’omusajja oyo omutamiivu n’amukkakkanya era n’amuyambako okudda ewuwe. Lwaki ku luno muganda waffe oyo yeeyisa mu ngeri ya njawulo? Yali akyusizza endowooza ye. Yali akyuse munda ng’afuuse omuntu ow’emirembe era omwetoowaze, ekintu ekyaleetera Yakuwa ettendo!
10. Kiki ekyetaagisa okusobola okukyusa ekyo kye tuli munda?
10 Enkyukakyuka ezo tezijjaawo mu kiro kimu era tezijjaawo zokka. Kiyinza okutwetaagisa ‘okufuba ennyo’ okumala emyaka egiwera. (2 Peet. 1:5) Enkyukakyuka ezo okujjawo tekiva ku myaka gye tuba tumaze nga tuweereza Yakuwa. Tulina okufuba ennyo okusobola okukola enkyukakyuka ezo. Waliwo ebintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okuzikola. Ka tulabeyo ebimu ku byo.
ENGERI GYE TUYINZA OKUKYUSAAMU ENDOWOOZA YAFFE
11. Okusaba kutuyamba kutuyamba kutya okukyusa endowooza yaffe?
11 Ekintu ekisooka kye tusaanidde okukola kwe kusaba. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, naffe tusaanidde okusaba Yakuwa nti: “Ntondaamu omutima omulongoofu, Ai Katonda, era nteekaamu omwoyo omuggya, omunywevu.” (Zab. 51:10) Tulina okukikkiriza nti twetaaga okukyusa endowooza yaffe era ne tusaba Yakuwa atuyambe. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okukola enkyukakyuka ezo? Ebigambo Yakuwa bye yagamba Abayisirayiri abaalina emitima emikakanyavu abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri bituzzaamu nnyo amaanyi. Yagamba nti: “Nja kubawa omutima oguli obumu era mbateekemu omwoyo omuggya . . . mbawe omutima omugonvu, [kwe kugamba, omutima ogukolera ku bulagirizi bwa Katonda].” (Ezk. 11:19; obugambo obuli wansi.) Yakuwa yali mwetegefu okuyamba Abayisirayiri abo okukyuka, era naffe mwetegefu okutuyamba okukyuka.
12-13. (a) Okusinziira ku Zabbuli 119:59, biki bye tusaanidde okufumiitirizaako? (b) Bibuuzo ki by’osaanidde okwebuuza?
12 Ekintu eky’okubiri ekisobola okutuyamba kwe kufumiitiriza. Bwe tuba tusoma Bayibuli buli lunaku, tusaanidde okufumiitiriza ennyo ku ebyo bye tusoma tusobole okumanya endowooza n’enneewulira bye twetaaga okukyusa. (Soma Zabbuli 119:59; Beb. 4:12; Yak. 1:25) Tulina okwekebera tulabe obanga tulinamu endowooza z’ensi. Tulina okukikkiriza nti tulina obunafu era tufube okubulwanyisa.
13 Ng’ekyokulabirako, weebuuze: ‘Mu mutima gwange nninamu obuggya oba ensaalwa?’ (1 Peet. 2:1) ‘Embeera gye nnakuliramu, obuyigirize bwe nnina, oba embeera yange ey’eby’enfuna endeetera okuwulira nti ndi wa waggulu ku balala?’ (Nge. 16:5) ‘Abantu abatalina bintu bye nnina oba ab’eggwanga eddala mbatwala okuba aba wansi?’ (Yak. 2:2-4) ‘Nneegomba ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani?’ (1 Yok. 2:15-17) ‘Nnyumirwa eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu eby’obugwenyufu oba ebikolwa eby’obukambwe?’ (Zab. 97:10; 101:3; Am. 5:15) Engeri gy’oddamu ebibuuzo ebyo eyinza okukuyamba okumanya wa we weetaaga okukyusaamu. Bwe tweggyamu ebintu ebiyinza okuba nga ‘byasimba amakanda’ mu mutima gwaffe, tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu.—Zab. 19:14.
14. Lwaki kikulu okulonda emikwano emirungi?
14 Ekintu eky’okusatu ekisobola okutuyamba kwe kulonda emikwano emirungi. Ka tube nga tukimanyi oba nedda, abo be tufuula mikwano gyaffe balina kinene kye batukolako. (Nge. 13:20) Emirundi mingi abantu be tuba nabo ku mirimu oba ku ssomero tebatuyamba kuba na ndowooza nnungi. Naye bwe tubangawo mu nkuŋŋaana, kisobola okutuyamba okufuna emikwano emirungi. Mu nkuŋŋaana ezo tusobola okukubirizibwa “okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.”—Beb. 10:24, 25.
“TEMUSAGAASAGANA MU KUKKIRIZA”
15-16. Sitaani agezaako atya okwonoona endowooza yaffe?
15 Kijjukire nti Sitaani mumalirivu okukyusa endowooza yaffe. Akozesa endowooza ezitali zimu okwonoona endowooza yaffe eyatereezebwa Ekigambo kya Katonda.
16 Ne leero Sitaani akyeyongera okubuuza ekibuuzo kino kye yabuuza Kaawa mu lusuku Edeni: “Ddala Katonda yagamba nti . . . ?” (Lub. 3:1) Abantu abali mu nsi ya Sitaani batera okutubuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ddala Katonda avumirira eky’abantu abafaanaganya ekikula okufumbiriganwa? Ddala Katonda tayagala okuze Ssekukkulu na mazaalibwa go? Ddala Katonda wo akugaana okussibwako omusaayi? Ddala Katonda ow’okwagala akugaana okukolagana n’omuntu wo eyagobebwa mu kibiina?’
17. Kiki kye tusaanidde okukola nga waliwo atubuuzizza ekibuuzo ekikwata ku nzikiriza yaffe ng’alina ekigendererwa eky’okutuleetera okubuusabuusa, era Abakkolosaayi 2:6, 7 walaga nti kiki ekiyinza okuvaamu?
17 Tulina okuba nga tetubuusabuusa bye tukkiriza. Bwe tutafaayo kufuna bya kuddamu mu bibuuzo ebikulu ebikwata ku ebyo bye tukkiriza, tuyinza okutandika okubibuusabuusa. Okubuusabuusa okwo kusobola okwonoona endowooza yaffe n’okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. Kati olwo kiki kye tusaanidde okukola? Ekigambo kya Katonda kitugamba okukyusa endowooza yaffe, ffe kennyini tukakase “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Bwe twesomesa Bayibuli obutayosa, kisobola okutuyamba okukakasa nti ebyo bye twayiga ge mazima. Tuba bakakafu nti emitindo gya Yakuwa gye mituufu. Era okufaananako omuti ogwasimba emirandira tuba banywevu nga ‘tetusagaasagana mu kukkiriza.’—Soma Abakkolosaayi 2:6, 7.
18. Kiki ekinaatuyamba obutoonoonebwa nsi ya Sitaani?
18 Tewali n’omu ajja kukunywereza kukkiriza kwo. N’olwekyo weeyongere okufuna endowooza empya. Nnyiikirira okusaba; weegayirire Yakuwa akuwe omwoyo gwe. Fumiitiriza nnyo; weeyongere okwekebera olabe obanga endowooza yo n’ebiruubirirwa byo birungi. Londa emikwano emirungi; beera n’abantu abajja okukuyamba okuba n’endowooza ennungi. Bw’onookola bw’otyo, tojja kutwalirizibwa nsi ya Sitaani, era ojja kusobola okusiguukulula “endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda.”—2 Kol. 10:5.
OLUYIMBA 50 Essaala Yange ey’Okwewaayo
a Embeera gye twakuliramu, obuwangwa bwaffe, n’obuyigirize bwaffe birina kye bikola ku ndowooza yaffe. Tuyinza okwesanga ng’endowooza enkyamu zaatusensera era nga kizibu nnyo okuzeggyamu. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okweggyamu endowooza enkyamu.