EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI
Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 11:35, lwaki Yesu yakaaba amaziga bwe yali tannazuukiza Lazaalo?
Kya bulijjo okukaaba nga tufiiriddwa omuntu waffe kubanga aba atuvuddeko. Wadde nga Yesu yali ayagala nnyo Lazaalo, okufa kwa Lazaalo si kwe kwamuleetera okukaaba. Yakaaba olw’okuba yalumirirwa abo abaali bakungubaga, nga bwe kiragibwa mu Yokaana essuula 11.—Yok. 11:36.
Yesu bwe yawulira nti Lazaalo mulwadde nnyo, teyayanguwa kugenda kumuwonya. Bayibuli egamba nti: “[Yesu] bwe yawulira nti Lazaalo mulwadde, yasigala mu kifo gye yali okumala ennaku bbiri.” (Yok. 11:6) Lwaki Yesu yalwawo okugenda eri Lazaalo? Yalina ensonga lwaki yakola bw’atyo. Yagamba nti: “Obulwadde buno tebumukutte olw’ekigendererwa eky’okumutta, naye olw’okugulumiza Katonda. Era okuyitira mu bwo Omwana wa Katonda ajja kugulumizibwa.” (Yok. 11:4) N’olwekyo, Yesu yali ayagala okufa kwa Lazaalo kuviireko ‘Katonda okugulumizibwa.’ Mu ngeri ki? Yesu yali anaatera okukola ekyamagero ng’azuukiza mukwano gwe okuva mu ntana.
Bwe yali ayogera n’abayigirizwa be, Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka. Eyo ye nsonga lwaki bwe baamubuulira nti Lazaalo afudde yagamba nti: “Ŋŋenda gy’ali mmuzuukuse.” (Yok. 11:11) Eri Yesu, okuzuukiza Lazaalo kyandibadde ng’omuzadde bw’azuukusa omwana we aba yeebase. N’olwekyo, tewali nsonga lwaki Yesu yandibadde anakuwala olw’okufa kwa Lazaalo.
Kati olwo kiki ekyaleetera Yesu okukaaba? Era eky’okuddamu tukisanga mu bigambo bya Yokaana. Yesu bwe yalaba mwannyina wa Lazaalo Maliyamu awamu n’abantu abalala nga bakaaba, “[y]asinda mu nda ye era n’anakuwala nnyo.” Okulaba ennaku ey’amaanyi gye baalimu, kyaleetera Yesu ‘okusinda mu nda ye.’ Eyo ye nsonga lwaki ‘Yesu yakaaba.’ Yesu yawulira bubi nnyo okulaba mikwano gye nga bali mu nnaku ey’amaanyi.—Yok. 11:33, 35.
Ebyo ebyaliwo biraga nti mu nsi empya, Yesu ajja kusobola okuzuukiza abaagalwa baffe abaafa era abayambe okuba abalamu obulungi. Era biraga nti Yesu alumirirwa abo ababa bafiiriddwako abantu baabwe. Ekirala kye tuyigira mu ebyo bye tusoma ku kufa kwa Lazaalo kiri nti tusaanidde okulumirirwa abo ababa bafiiriddwa abantu baabwe.
Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuzuukiza Lazaalo. Wadde kyali kityo, yakaaba amaziga, olw’okuba yali ayagala nnyo mikwano gye era yali abalumirirwa. Mu ngeri y’emu, okulumirirwa balala kijja kutukubiriza ‘okukaaba n’abo abakaaba.’ (Bar. 12:15) Omuntu bw’akaaba kiba tekitegeeza nti takkiririza mu kuzuukira. N’olwekyo, Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kulumirirwa abalala bwe yakaaba amaziga wadde nga yali agenda kuzuukiza Lazaalo.